Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

2 Bassekabaka

Essuula

Ebirimu

  • 1

    • Eriya alagula okufa kwa Akaziya (1-18)

  • 2

    • Eriya atwalibwa mu mbuyaga (1-18)

      • Erisa afuna ekyambalo kya Eriya (13, 14)

    • Erisa alongoosa amazzi g’omu Yeriko (19-22)

    • Eddubu litta abaana mu Beseri (23-25)

  • 3

    • Yekolaamu, kabaka wa Isirayiri (1-3)

    • Mowaabu ejeemera Isirayiri (4-25)

    • Mowaabu ewangulwa (26, 27)

  • 4

    • Erisa ayaza amafuta ga nnamwandu (1-7)

    • Omukazi Omusunamu akyaza Erisa (8-16)

    • Omukazi afuna omwana; omwana afa (17-31)

    • Erisa azuukiza omwana (32-37)

    • Erisa akola ekyamagero enva ne zisobola okuliika (38-41)

    • Erisa akola ekyamagero emmere n’eba nnyingi (42-44)

  • 5

    • Erisa awonya Naamani ebigenge (1-19)

    • Gekazi ow’omululu afuna ebigenge (20-27)

  • 6

    • Erisa abbulula embazzi mu mazzi (1-7)

    • Erisa n’Abasuuli (8-23)

      • Amaaso g’omuweereza wa Erisa gazibulwa (16, 17)

      • Abasuuli baziba amaaso (18, 19)

    • Enjala egwa mu Samaliya (24-33)

  • 7

    • Erisa alagula nti enjala ejja kukoma (1, 2)

    • Emmere esangibwa mu lusiisira lw’Abasuuli lwe baabulidde (3-15)

    • Obunnabbi bwa Erisa butuukirira (16-20)

  • 8

    • Omukazi Omusunamu addizibwa ettaka lye (1-6)

    • Erisa, Beni-kadadi, ne Kazayeeri (7-15)

    • Yekolaamu, kabaka wa Yuda (16-24)

    • Akaziya, kabaka wa Yuda (25-29)

  • 9

    • Yeeku afukibwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri (1-13)

    • Yeeku atta Yekolaamu ne Akaziya (14-29)

    • Yezebeeri attibwa; embwa zirya omulambo gwe (30-37)

  • 10

    • Yeeku atta ab’ennyumba ya Akabu (1-17)

      • Yekonadaabu yeegatta ku Yeeku (15-17)

    • Yeeku atta abasinza ba Bbaali (18-27)

    • Obufuzi bwa Yeeku (28-36)

  • 11

    • Asaliya awamba obwakabaka (1-3)

    • Yekowaasi afuulibwa kabaka mu kyama (4-12)

    • Asaliya attibwa (13-16)

    • Yekoyaada aleetawo enkyukakyuka (17-21)

  • 12

    • Yekowaasi, kabaka wa Yuda (1-3)

    • Yekowaasi addaabiriza yeekaalu (4-16)

    • Abasuuli balumba Yerusaalemi (17, 18)

    • Yekowaasi attibwa (19-21)

  • 13

    • Yekoyakazi, kabaka wa Isirayiri (1-9)

    • Yekowaasi, kabaka wa Isirayiri (10-13)

    • Erisa agezesa Yekowaasi (14-19)

    • Erisa afa; omusajja akoona ku magumba ge n’azuukira (20, 21)

    • Obunnabbi bwa Erisa obwasembayo butuukirira (22-25)

  • 14

    • Amaziya, kabaka wa Yuda (1-6)

    • Olutalo ne Edomu ne Isirayiri (7-14)

    • Yekowaasi afa (15, 16)

    • Amaziya afa (17-22)

    • Yerobowaamu II, kabaka wa Isirayiri (23-29)

  • 15

    • Azaliya, kabaka wa Yuda (1-7)

    • Bakabaka ba Isirayiri abaasembayo: Zekkaliya (8-12), Salumu (13-16), Menakemu (17-22), Pekakiya (23-26), Peka (27-31)

    • Yosamu, kabaka wa Yuda (32-38)

  • 16

    • Akazi, kabaka wa Yuda (1-6)

    • Akazi agula Abaasuli (7-9)

    • Akazi akoppa ekyoto ky’abasinza ab’obulimba (10-18)

    • Akazi afa (19, 20)

  • 17

    • Koseya, kabaka wa Isirayiri (1-4)

    • Okugwa kwa Isirayiri (5, 6)

    • Abayisirayiri bawaŋŋangusibwa olw’okuva ku Katonda (7-23)

    • Abagwira basenzebwa mu bibuga by’omu Samaliya (24-26)

    • Okusinza kw’Abasamaliya (27-41)

  • 18

    • Keezeekiya, kabaka wa Yuda (1-8)

    • Okugwa kwa Isirayiri (9-12)

    • Sennakeribu alumba Yuda (13-18)

    • Labusake asoomooza Yakuwa (19-37)

  • 19

    • Keezeekiya anoonya obuyambi bwa Yakuwa okuyitira mu Isaaya (1-7)

    • Sennakeribu atiisatiisa Yerusaalemi (8-13)

    • Essaala ya Keezeekiya (14-19)

    • Isaaya ayogera Yakuwa ky’agambye (20-34)

    • Malayika atta Abaasuli 185,000 (35-37)

  • 20

    • Keezeekiya alwala ate n’assuuka (1-11)

    • Ababaka okuva e Babulooni (12-19)

    • Keezeekiya afa (20, 21)

  • 21

    • Manase kabaka wa Yuda; ayiwa omusaayi (1-18)

      • Yerusaalemi kya kuzikirizibwa (12-15)

    • Amoni kabaka wa Yuda (19-26)

  • 22

    • Yosiya, kabaka wa Yuda (1, 2)

    • Ebikwata ku kuddaabiriza yeekaalu (3-7)

    • Ekitabo ky’Amateeka kizuulibwa (8-13)

    • Obunnabbi bwa Kuluda (14-20)

  • 23

    • Yosiya aleetawo enkyukakyuka (1-20)

    • Okuyitako kukwatibwa (21-23)

    • Yosiya aleetawo enkukakyuka endala (24-27)

    • Yosiya afa (28-30)

    • Yekoyakazi, kabaka wa Yuda (31-33)

    • Yekoyakimu, kabaka wa Yuda (34-37)

  • 24

    • Yekoyakimu ajeema era afa (1-7)

    • Yekoyakini, kabaka wa Yuda (8, 9)

    • Okuwaŋŋangusibwa e Babulooni okwasooka (10-17)

    • Zeddeekiya, kabaka wa Yuda; ajeema (18-20)

  • 25

    • Nebukadduneeza azingiza Yerusaalemi (1-7)

    • Yerusaalemi ne yeekaalu bizikirizibwa; okuwaŋŋangusibwa okw’okubiri (8-21)

    • Gedaliya afuulibwa gavana (22-24)

    • Gedaliya atemulwa; abantu baddukira e Misiri (25, 26)

    • Yekoyakini ateebwa e Babulooni (27-30)