Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

1 Samwiri

Essuula

Ebirimu

  • 1

    • Erukaana ne bakazi be (1-8)

    • Kaana omugumba asaba afune omwana (9-18)

    • Samwiri azaalibwa n’aweebwayo eri Yakuwa (19-28)

  • 2

    • Essaala ya Kaana (1-11)

    • Ebibi bya batabani ba Eli (12-26)

    • Yakuwa asalira ennyumba ya Eli omusango (27-36)

  • 3

    • Samwiri ayitibwa okuba nnabbi (1-21)

  • 4

    • Abafirisuuti bawamba Essanduuko (1-11)

    • Eli ne batabani be bafa (12-22)

  • 5

    • Essanduuko etwalibwa mu nsi y’Abafirisuuti (1-12)

      • Dagoni afeebezebwa (1-5)

      • Abafirisuuti babonerezebwa (6-12)

  • 6

    • Abafirisuuti bakomyawo Essanduuko mu Isirayiri (1-21)

  • 7

    • Essanduuko mu Kiriyasu-yalimu (1)

    • Samwiri abakubiriza nti: ‘Muweereze Yakuwa yekka’ (2-6)

    • Isirayiri ewangula Abafirisuuti e Mizupa (7-14)

    • Samwiri alamula Isirayiri (15-17)

  • 8

    • Isirayiri esaba kabaka (1-9)

    • Samwiri alabula abantu (10-18)

    • Yakuwa abawa kabaka (19-22)

  • 9

    • Samwiri asisinkana Sawulo (1-27)

  • 10

    • Sawulo afukibwako amafuta okuba kabaka (1-16)

    • Sawulo ayanjulwa eri abantu (17-27)

  • 11

    • Sawulo awangula Abaamoni (1-11)

    • Sawulo akakasibwa nga kabaka (12-15)

  • 12

    • Samwiri ayogera eri abantu ng’abasiibula (1-25)

      • ‘Temugoberera bitaliimu nsa’ (21)

      • Yakuwa tajja kwabulira bantu be (22)

  • 13

    • Sawulo alonda ab’omu ggye (1-4)

    • Sawulo yeetulinkiriza (5-9)

    • Samwiri anenya Sawulo (10-14)

    • Isirayiri terina bya kulwanyisa (15-23)

  • 14

    • Yonasaani alwana e Mikumasi (1-14)

    • Katonda afufuggaza abalabe ba Isirayiri (15-23)

    • Sawulo akola obweyamo nga tasoose kulowooza (24-46)

      • Abantu balya ennyama erimu omusaayi (32-34)

    • Entalo za Sawulo; ab’ennyumba ye (47-52)

  • 15

    • Sawulo ajeema n’atatta Agagi (1-9)

    • Samwiri anenya Sawulo (10-23)

      • “Okuba omuwulize kisinga ssaddaaka” (22)

    • Sawulo aggibwako obwakabaka (24-29)

    • Samwiri atta Agagi (30-35)

  • 16

    • Samwiri afukako Dawudi amafuta okuba kabaka (1-13)

      • “Yakuwa alaba ekiri mu mutima” (7)

    • Sawulo aggibwako omwoyo gwa Katonda (14-17)

    • Dawudi atandika okukubira Sawulo entongooli (18-23)

  • 17

    • Dawudi awangula Goliyaasi (1-58)

      • Goliyaasi asoomooza Isirayiri (8-10)

      • Dawudi yeewaayo okulwana ne Goliyaasi (32-37)

      • Dawudi alwana mu linnya lya Yakuwa (45-47)

  • 18

    • Omukwano gwa Dawudi ne Yonasaani (1-4)

    • Sawulo afuna obuggya nga Dawudi awangudde (5-9)

    • Sawulo agezaako okutta Dawudi (10-19)

    • Dawudi awasa Mikali muwala wa Sawulo (20-30)

  • 19

    • Sawulo yeeyongera okukyawa Dawudi (1-13)

    • Dawudi adduka Sawulo (14-24)

  • 20

    • Obwesigwa bwa Yonasaani eri Dawudi (1-42)

  • 21

    • Dawudi alya emigaati egy’okulaga e Nobu (1-9)

    • Dawudi yeefuula ng’omulalu e Gaasi (10-15)

  • 22

    • Dawudi mu Adulamu n’e Mizupe (1-5)

    • Sawulo atta bakabona b’e Nobu (6-19)

    • Abiyasaali addukira eri Dawudi (20-23)

  • 23

    • Dawudi anunula ekibuga ky’e Keyira (1-12)

    • Sawulo awondera Dawudi (13-15)

    • Yonasaani agumya Dawudi (16-18)

    • Dawudi awona okukwatibwa Sawulo (19-29)

  • 24

    • Dawudi agaana okutta Sawulo (1-22)

      • Dawudi awa ekitiibwa oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta (6)

  • 25

    • Samwiri afa (1)

    • Nabbali agaana okuwa abasajja ba Dawudi obuyambi (2-13)

    • Abbigayiri akola ekintu eky’amagezi (14-35)

      • “Yakuwa Katonda wo ajja kukukuuma” (29)

    • Yakuwa atta Nabbali omusirusiru (36-38)

    • Abbigayiri afuuka muka Dawudi (39-44)

  • 26

    • Dawudi agaana okutta Sawulo (1-25)

      • Dawudi awa ekitiibwa oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta (11)

  • 27

    • Abafirisuuti bawa Dawudi ekibuga Zikulagi (1-12)

  • 28

    • Sawulo agenda ew’omulaguzi mu Eni-doli (1-25)

  • 29

    • Abafirisuuti beekengera Dawudi (1-11)

  • 30

    • Abamaleki balumba Zikulagi ne bakyokya (1-6)

      • Dawudi afuna amaanyi okuva eri Yakuwa (6)

    • Dawudi awangula Abamaleki (7-31)

      • Dawudi anunula abaali bawambiddwa (18, 19)

      • Etteeka erikwata ku munyago Dawudi lye yassaawo (23, 24)

  • 31

    • Okufa kwa Sawulo ne batabani be abasatu (1-13)