Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

1 Bassekabaka

Essuula

Ebirimu

  • 1

    • Dawudi ne Abisaagi (1-4)

    • Adoniya ayagala okufuuka kabaka (5-10)

    • Nasani ne Basuseba babaako kye bakolawo (11-27)

    • Dawudi alagira bafuke amafuta ku Sulemaani (28-40)

    • Adoniya adduka n’agenda ku kyoto (41-53)

  • 2

    • Dawudi awa Sulemaani ebiragiro (1-9)

    • Dawudi afa; Sulemaani atuula ku ntebe (10-12)

    • Adoniya attibwa (13-25)

    • Abiyasaali agobebwa; Yowaabu attibwa (26-35)

    • Simeeyi attibwa (36-46)

  • 3

    • Sulemaani awasa muwala wa Falaawo (1-3)

    • Yakuwa alabikira Sulemaani mu kirooto (4-15)

      • Sulemaani asaba aweebwe amagezi (7-9)

    • Sulemaani alamula abakazi ababiri (16-28)

  • 4

    • Gavumenti ya Sulemaani (1-19)

    • Embeera ennungi mu bufuzi bwa Sulemaani (20-28)

      • Abantu baba mu mirembe (25)

    • Amagezi ga Sulemaani n’engero ze (29-34)

  • 5

    • Kabaka Kiramu amuwa eby’okuzimbisa (1-12)

    • Sulemaani akuŋŋaanya abakozi (13-18)

  • 6

    • Sulemaani azimba yeekaalu (1-38)

      • Ekisenge ekisingayo okuba eky’omunda (19-22)

      • Bakerubi (23-28)

      • Ebifaananyi ebyole, enzigi, n’oluggya olw’omunda (29-36)

      • Yeekaalu emalirizibwa mu myaka nga musanvu (37, 38)

  • 7

    • Olubiri lwa Sulemaani (1-12)

    • Kiramu omukugu ayamba Sulemaani (13-47)

      • Empagi ebbiri ez’ekikomo (15-22)

      • Ttanka y’amazzi ey’ekikomo (23-26)

      • Ebigaali ekkumi n’ebbenseni ez’ekikomo (27-39)

    • Ebintu by’omu yeekaalu ebya zzaabu bimalirizibwa (48-51)

  • 8

    • Essanduuko etwalibwa mu yeekaalu (1-13)

    • Sulemaani ayogera eri abantu (14-21)

    • Essaala ya Sulemaani nga yeekaalu eweebwayo (22-53)

    • Sulemaani awa abantu omukisa (54-61)

    • Ssaddaaka n’embaga ey’okutongoza yeekaalu (62-66)

  • 9

    • Yakuwa addamu okulabikira Sulemaani (1-9)

    • Ekirabo Sulemaani ky’awa Kabaka Kiramu (10-14)

    • Ebintu eby’enjawulo Sulemaani by’akola (15-28)

  • 10

    • Kabaka omukazi ow’e Seba (1-13)

    • Obugagga bwa Sulemaani (14-29)

  • 11

    • Bakazi ba Sulemaani bakyamya omutima gwe (1-13)

    • Abawakanya Sulemaani (14-25)

    • Yerobowaamu asuubizibwa okuweebwa ebika ekkumi (26-40)

    • Sulemaani afa; Lekobowaamu afuuka kabaka (41-43)

  • 12

    • Lekobowaamu addamu na bukambwe (1-15)

    • Ebika ekkumi byewaggula (16-19)

    • Yerobowaamu afuulibwa kabaka wa Isirayiri (20)

    • Lekobowaamu agaanibwa okulwana ne Isirayiri (21-24)

    • Yerobowaamu atandikawo okusinza ennyana (25-33)

  • 13

    • Obunnabbi obukwata ku kyoto eky’e Beseri (1-10)

      • Ekyoto kyabulukukamu (5)

    • Omusajja wa Katonda ataali muwulize (11-34)

  • 14

    • Obunnabbi bwa Akiya obukwata ku Yerobowaamu (1-20)

    • Lekobowaamu afuga Yuda (21-31)

      • Sisaki alumba Yerusaalemi (25, 26)

  • 15

    • Abiyaamu, kabaka wa Yuda (1-8)

    • Asa, kabaka wa Yuda (9-24)

    • Nadabu, kabaka wa Isirayiri (25-32)

    • Baasa, kabaka wa Isirayiri (33, 34)

  • 16

    • Yakuwa asalira Baasa omusango (1-7)

    • Ela, kabaka wa Isirayiri (8-14)

    • Zimuli, kabaka wa Isirayiri (15-20)

    • Omuli, kabaka wa Isirayiri (21-28)

    • Akabu, kabaka wa Isirayiri (29-33)

    • Kyeri azimba Yeriko (34)

  • 17

    • Nnabbi Eriya alagula nti wajja kubaawo ekyeya (1)

    • Nnamuŋŋoona zireetera Eriya emmere (2-7)

    • Eriya akyalira nnamwandu e Zalefaasi (8-16)

    • Omwana wa nnammwandu afa era n’azuukizibwa (17-24)

  • 18

    • Eriya asisinkana Obadiya ne Akabu (1-18)

    • Eriya ne bannabbi ba Bbaali e Kalumeeri (19-40)

      • “Okutta aga n’aga” (21)

    • Ekyeya ekyamala emyaka esatu n’ekitundu kikoma (41-46)

  • 19

    • Eriya adduka Yezebeeri (1-8)

    • Yakuwa alabikira Eriya e Kolebu (9-14)

    • Eriya afuka amafuta ku Kazayeeri, ku Yeeku, ne ku Erisa (15-18)

    • Erisa alondebwa okusikira Eriya (19-21)

  • 20

    • Abasuuli balwana ne Akabu (1-12)

    • Akabu awangula Abasuuli (13-34)

    • Obunnabbi obukwata ku Akabu (35-43)

  • 21

    • Akabu yeegwanyiza ennimiro ya Nabbosi ey’emizabbibu (1-4)

    • Yezeberi akola olukwe olw’okutta Nabbosi (5-16)

    • Eriya abuulira Akabu ebintu ebibi ebinaamutuukako (17-26)

    • Akabu yeetoowaza (27-29)

  • 22

    • Yekosafaati akolagana ne Akabu (1-12)

    • Mikaaya alagula nti Akabu ajja okuwangulwa (13-28)

      • Malayika alimba Akabu (21, 22)

    • Akabu attibwa e Lamosu-gireyaadi (29-40)

    • Yekosafaati afuga Yuda (41-50)

    • Akaziya kabaka wa Isirayiri (51-53)