Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 3

Engeri y’Okugonjoolamu Ebizibu

Engeri y’Okugonjoolamu Ebizibu

“Mwagalanenga nnyo, kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi.”—1 Peetero 4:8

Bwe mufumbiriganwa, musaanidde okukimanya nti mujja kufuna ebizibu ebitali bimu. Biyinza okubaawo olw’okuba ngeri gye mulowoozaamu, oba gye mukolamu ebintu ya njawulo. Ebizibu ebimu biyinza okuva wabweru w’amaka oba okugwaawo obugwi.

Wadde ng’oluusi kiyinza okubazibuwalira okugonjoola ebizibu mu bufumbo, Bayibuli ebakubiriza okufuba okubigonjoola. (Matayo 5:23, 24) Ka tulabe amagezi agali mu Bayibuli agasobola okubayamba nga mufunye ebizibu.

1 MWOGERE KU KIZIBU KYE MULINA

BAYIBULI KY’EGAMBA: Wabaawo “ekiseera eky’okwogereramu.” (Omubuulizi 3:1, 7) Mufune akadde mwogere ku kizibu kye mulina. Buulira munno ky’olowooza ku kizibu ekyo n’engeri gy’owuliramu. Buli omu ‘ayogere amazima’ eri munne. (Abeefeso 4:25) Ne bwe muba mufunye obutakkaanya obw’amaanyi, mwewale okuyomba. Buli omu bw’addamu munne nga mukkakkamu, kijja kubayamba okwewala okuyomba oba okulwana.—Engero 15:4; 26:20.

Ne bwe muba temukkiriziganyizza ku nsonga gye mubadde mwogerako, musigale nga muli bakkakkamu, era mweyongere okwagalana n’okuwaŋŋana ekitiibwa. (Abakkolosaayi 4:6) Mufube okugonjoola ensonga eyo amangu ddala nga bwe kisoboka.—Abeefeso 4:26.

BY’OYINZA OKUKOLA:

  • Mufuneeyo ekiseera mwogere ku kizibu kye mulina

  • Munno bw’aba ayogera, tomusala kirimi. Mulinde amaleyo naawe olyoke oyogere

2 WULIRIZA BULUNGI

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Mwagalanenga mwekka na mwekka. Mu kuwa abalala ekitiibwa mmwe muba musooka.” (Abaruumi 12:10) Kikulu nnyo okuwuliriza obulungi. Gezaako okutegeera endowooza ya munno era kirage nti ‘omulumirirwa.’ (1 Peetero 3:8; Yakobo 1:19) Toba ng’amuwuliriza naye ng’ebirowoozo byo biri walala. Bwe kiba kisoboka, leka ky’obadde okola osooke owulirize munno ky’agamba, oba oyinza okumusaba ne mukyogerako oluvannyuma. Munno mu bufumbo bw’oba omutwala nga mukwano gwo so si ng’omulabe wo, tojja ‘kusunguwala mangu.’—Omubuulizi 7:9.

BY’OYINZA OKUKOLA:

  • Weeyongere okuwuliriza munno, ne bwe kiba nti ky’ayogerako tekikusanyusa

  • Gezaako okumanya ky’ategeeza. Wuliriza bulungi eddoboozi ly’akozesa era weetegereze endabika ye ey’oku maaso

3 MUKOLERE KU KYE MUBA MUSAZEEWO

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Kya muganyulo okukola omulimu gwonna ogw’amaanyi, naye okwogera obwogezi kwavuwaza.” (Engero 14:23, NW) Bwe muba mumaze okusalawo eky’okukola, musaanidde okukituukiriza. Kino kiyinza okubeetaagisa okufuba, naye kijja kubaganyula nnyo. (Engero 10:4) Bwe munaakolera awamu, mujja kufuna “empeera ennungi” olw’ekyo kye munaaba mukoze.—Omubuulizi 4:9.

BYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Musaleewo buli omu ku mmwe ky’anaakola okusobola okugonjoola ekizibu kye mulina

  • Buli luvannyuma lw’ekiseera mukubaganye ebirowoozo mumanye we mutuuse