Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 7

Engeri y’Okutendekamu Abaana Bammwe

Engeri y’Okutendekamu Abaana Bammwe

“Ebigambo bino bye nkulagira leero binaabanga ku mutima gwo: era onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo.”—Ekyamateeka 6:6, 7

Yakuwa Katonda yakwasa abazadde obuvunaanyizibwa obw’okutendeka abaana baabwe. (Abakkolosaayi 3:20) Abazadde musaanidde okuyigiriza abaana bammwe okwagala Yakuwa n’okubagunjula basobole okufuuka abantu ab’obuvunaanyizibwa. (2 Timoseewo 1:5; 3:15) Ate era musaanidde okufuba okutegeera ebyo abaana bammwe bye balowooza. Kikulu nnyo okubateerawo ekyokulabirako ekirungi. Okusobola okuyigiriza obulungi abaana bammwe, musaanidde okusooka okutegeera obulungi ebiri mu Kigambo kya Katonda.—Zabbuli 40:8.

1 MUKIRAGE NTI MUTUUKIRIKIKA

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Buli muntu abe mwangu wa kuwuliriza, alwewo okwogera.” (Yakobo 1:19) Muleke abaana bammwe bakimanye nti basobola okwogera nammwe awatali kutya, era nti muli beetegefu okubawuliriza bwe baba balina kye baagala okubagamba. Mukirage nti mutuukirikika, abaana bammwe basobole okubabuulira ebibali ku mutima. (Yakobo 3:18) Bwe bakimanya nti mujja kubakambuwalira oba kubanenya, bajja kutya okubabuulira bye balowooza. Mubeere bagumiikiriza era mukakase abaana bammwe nti mubaagala nnyo.—Matayo 3:17; 1 Abakkolinso 8:1.

BYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Omwana wo bw’aba alina ky’ayagala okukugamba, sooka oleke ky’obadde okola omuwulirize

  • Munyumyengako n’abaana bammwe buli lunaku, so si mu kiseera ekyo kyokka nga waliwo ekizibu

2 MUFUBE OKUTEGEERA EKYO KYENNYINI KYE BALOWOOZA

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Assaayo omwoyo eri ekigambo anaalabanga ebirungi.” (Engero 16:20) Oluusi ebigambo omwana by’aba ayogedde si bye biraga ekyo kyennyini ky’alowooza. Abaana batera okusavuwaza oba okwogera ebintu naye nga si bye bategeeza. Bayibuli egamba nti: ‘Addamu nga tannawulira; aba musirusiru.’ (Engero 18:13) N’olwekyo, muwulirize bulungi musobole okumanya ekyo omwana ky’alowooza, era temunyiiga mangu.—Engero 19:11.

BYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Omwana bw’aba ayogera, temumusala kirimi. Ne bwe kiba nti by’ayogera tebibasanyusa, temunyiiga

  • Mujjukire bye mwakolanga ne bye mwayogeranga nga mukyali bato

3 MUKOLERE WAMU

BAYIBULI KY’EGAMBA: ‘Wuliriza okuyigiriza kwa kitaawo, so tova ku tteeka lya nnyoko.’ (Engero 1:8) Obuvunaanyizibwa obw’okugunjula abaana Yakuwa yabukwasa abazadde bombi, taata ne maama. Mulina okuyigiriza abaana bammwe okubassaamu ekitiibwa n’okubagondera. (Abeefeso 6:1-3) Abazadde bwe baba tebali “bumu mu ndowooza,” abaana basobola okukiraba. (1 Abakkolinso 1:10) N’olwekyo, bwe muba mulina obutakkaanya, temukiraga baana bammwe kubanga kiyinza okubaviirako obutabassaamu kitiibwa.

BYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri gye munaagunjulamu abaana bammwe

  • Bwe muba temukkiriziganyizza, gezaako okutegeera endowooza ya munno

4 MUBEERE N’ENTEEKATEEKA

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu.” (Engero 22:6) Bwe muba ab’okuyigiriza n’okugunjula obulungi abaana bammwe, mulina okukola enteekateeka ennungi. (Zabbuli 127:4; Engero 29:17) Okugunjula abaana tekitegeeza kubabonereza bubonereza, wabula kizingiramu n’okubayamba okumanya ensonga lwaki mwabateerawo amateeka ag’okugoberera. (Engero 28:7) Ate era mubayigirize okwagala Ekigambo kya Katonda, era mubayambe okukitegeera. (Zabbuli 1:2) Ekyo kijja kuyamba abaana bammwe okuba n’omuntu ow’omunda omulungi.—Abebbulaniya 5:14.

BYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Muyambe abaana bammwe okwagala Katonda n’okumwesiga

  • Mubayambe okutegeera n’okwewala ebintu ebiyinza okwonoona empisa zaabwe, gamba ng’okukozesa obubi Intaneeti. Mubayigirize engeri gye bayinza okwewalamu abantu abayinza okubasendasenda okwenyigira mu bikolwa eby’obuseegu

“Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu”