Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 8

Bwe Mufuna Ekizibu eky’Amaanyi

Bwe Mufuna Ekizibu eky’Amaanyi

“Musanyuka nnyo wadde nga kaakano okumala akaseera katono, kibeetaagisa okunakuwala olw’okugezesebwa okutali kumu.”—1 Peetero 1:6

Amaka gammwe ne bwe gabaamu essanyu, muyinza okufuna ebizibu ne bibamalako essanyu. (Omubuulizi 9:11) Katonda atuwa amagezi agasobola okutuyamba bwe tuba tufunye ebizibu. Bwe munaakolera ku magezi gano agasangibwa mu Byawandiikibwa, mujja kusobola okuyita ne mu bizibu eby’amaanyi.

1 MWESIGE YAKUWA

BAYIBULI KY’EGAMBA: ‘Mumukwase byonna ebibeeraliikiriza kubanga abafaako.’ (1 Peetero 5:7) Bulijjo mukijjukirenga nti Katonda si y’abaleetera ebizibu. (Yakobo 1:13) Bwe munaakola by’ayagala ajja kubayamba nga mufunye ebizibu. (Isaaya 41:10) Mumusabe, era mumubuulire ebibali ku mutima.—Zabbuli 62:8.

Bwe munaasoma Bayibuli buli lunaku mujja kubudaabudibwa. Mujja kulaba engeri Yakuwa ‘gy’atubudaabudamu mu kubonaabona kwaffe kwonna.’ (2 Abakkolinso 1:3, 4; Abaruumi 15:4) Ate era mujja kufuna “emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna.”—Abafiripi 4:6, 7, 13.

BYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Musabe Katonda abayambe okusigala nga mulina endowooza ennuŋŋamu

  • Mulowooze ku bintu eby’enjawulo bye muyinza okukola okugonjoola ekizibu kye mulina

2 FAAYO KU BULAMU BWO NE KU BW’AB’OMU MAKA GO

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Omutima gw’omutegeevu gufuna okumanya; n’okutu kw’ab’amagezi kunoonya okumanya.” (Engero 18:15) Manya buli omu ku b’omu maka go bye yeetaaga. Yogera nabo era bawulirize bulungi.—Engero 20:5.

Watya singa omu ku b’omu maka gammwe afa? Tekiba kikyamu kukaaba. Ne Yesu bwe yafiirwa mukwano gwe, ‘yakaaba.’ (Yokaana 11:35; Omubuulizi 3:4) Ate era kikulu nnyo okuwummula n’okwebaka ekimala. (Omubuulizi 4:6) Bwe munaakola bwe mutyo, kijja kubabeerera kyangu okugumira ekizibu kye mulina.

BYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Bulijjo fuba okunyumyako n’ab’omu maka go. Bwe wanaagwaawo ekizibu, kijja kubabeerera kyangu okukweyabiza

  • Mwogereko n’abantu abaafunako ekizibu kye mulina

3 MUSABE ABALALA BABAYAMBE

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ebbanga lyonna, era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.” (Engero 17:17, NW) Mikwano gyammwe bayinza okwagala okubayamba naye nga tebamanyi kya kukola. Mubabuulire ebyo byennyini bye bayinza okukola okubayamba. (Engero 12:25) Ate era, mutuukirire abo abasobola okubayamba nga bakozesa Bayibuli. Amagezi ageesigamiziddwa ku Bayibuli ge banaabawa gajja kubayamba nnyo.—Yakobo 5:14.

Ekirala ekinaabayamba kwe kukuŋŋaananga obutayosa n’abo abaweereza Katonda ow’amazima era abakkiririza mu bisuubizo bye. Ate era mujja kubudaabudibwa bwe munazzaamu abalala amaanyi nga mubabuulirako ebikwata ku Yakuwa n’ebisuubizo bye. Mufube okuyamba abantu abalala abali mu bwetaavu, era temweyawula ku abo ababaagala era ababafaako.—Engero 18:1; 1 Abakkolinso 15:58.

BYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Musabe mukwano gwammwe ow’oku lusegere abayambe

  • Mumubuulire ekyo kyennyini kye mwagala abakolere