Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 5

Okukolagana Obulungi ne Bazadde Bammwe

Okukolagana Obulungi ne Bazadde Bammwe

‘Mwambale ekisa, obuwombeefu, obuteefu n’obugumiikiriza.’—Abakkolosaayi 3:12

Bwe mufumbiriganwa, muba mutandiseewo amaka agammwe ku bwammwe. Wadde ng’ojja kweyongera okwagala bazadde bo n’okubassaamu ekitiibwa, munno mu bufumbo ye muntu asinga okuba ow’omuwendo gy’oli. Kino bazadde bammwe kiyinza okubazibuwalira okukkiriza. Naye Bayibuli erimu amagezi agasobola okubayamba okweyongera okukolagana obulungi nabo, era n’okunyweza obufumbo bwammwe. Amagezi agaweereddwa mu kitundu kino era gasobola okubayamba okukolagana obulungi n’ab’eŋŋanda zammwe.

1 BAZADDE BAMMWE MUBASSEEMU EKITIIBWA

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.” (Abeefeso 6:2) Ne bw’oba okuze era ng’ofunye amaka, sigala ng’ossa mu bazadde bo ekitiibwa. Ate era kijjukire nti ne munno yeetaaga okufaayo ku bazadde be n’okubassaamu ekitiibwa. “Okwagala tekukwatibwa buggya,” n’olwekyo munno bw’aba ayagala nnyo bazadde be tokitwala bubi.—1 Abakkolinso 13:4; Abaggalatiya 5:26.

BY’OYINZA OKUKOLA:

  • Weewale okwogera ebigambo nga bino: “Ab’ewammwe buli kiseera banfeebya” oba “Buli kye nkola, maama wo takisiima”

  • Gezaako okwessa mu bigere bya munno

2 MUSALEEWO WE BALINA OKUKOMA

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, [n’anywerera ku] mukazi we: nabo banaabanga omubiri gumu.” (Olubereberye 2:24) Bwe mufumbiriganwa, bazadde bammwe bayinza okulowooza nti balina okweyongera okubawabula mu buli kimu, era bayinza okwagala okumanya buli nsonga ekwata ku bufumbo bwammwe.

Mmwe mulina okusalawo bazadde bammwe we balina okukoma ku bikwata ku bufumbo bwammwe era ne mubategeeza mu bukkakkamu. (Engero 15:1) Bwe muba abawombeefu, abakkakkamu, era abagumiikiriza, musobola okukolagana obulungi ne bazadde bammwe nga buli omu ku mmwe bwe yeeyongera okwagala munne.—Abeefeso 4:2.

BYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Bw’olaba nga bazadde bammwe baagala okumanya buli nsonga ekwata ku bufumbo bwammwe, kyogereko ne munno mu bukkakkamu

  • Mukkiriziganye ku ngeri gye munaakwatamu ensonga eyo