Buuka ogende ku bubaka obulimu

Okuba Omulamu Obulungi mu Mubiri ne mu Birowoozo

 

Okuba Omulamu Obulungi

Engeri gy’Oyinza Okwewalamu​—Endwadde

Buli lunaku omubiri gwo gulwanagana n’abalabe oluusi nga tokitegedde.

Obulamu Obulungi​—Okuba n’Enneewulira Ennungi

Kituganyula nnyo bwe tuyiga okufuga obusungu.

Ekkubo Erireeta Essanyu​—Okuba Omulamu Obulungi n’Okugumira Embeera

Omuntu bw’alwala kiba kitegeeza nti tasobola kuba musanyufu?

Obulamu Obulungi—Okuba Abalamu Obulungi mu Mubiri

Bayibuli etukubiriza okufaayo ku mibiri gyaffe.

Okusigala ng’Oli Musanyufu Wadde ng’Okaddiwa

Amagezi ga mirundi mukaaga agali mu Bayibuli agasobola okukuyamba okwaŋŋanga embeera ebaawo ng’okaddiwa.

Obulwadde

Bw’Oba Olina Obulwadde Obutawona, Bayibuli Esobola Okukuyamba?

Yee! Bw’oba olina obulwadde obutawona, laba amagezi agasobola okukuyamba.

Okuyamba Abalina Obulwadde Obukosa Ebirowoozo

Bw’oyamba mukwano gwo alina obulwadde obukosa mu birowoozo kisobola okumubudaabuda.

Ddala Obulamu Bwa Mugaso Wadde ng’Olina Obulwadde obw’Amaanyi?

Weetegereze ebiyambye abamu okugumira obulwadde obw’amaanyi.

Bw'Oba Oliko Obulemu

Nnina Amaanyi Wadde nga Ndi Mulwadde

Soma ku ngeri omukazi atambulira mu kagaali k’abalema, okukkiriza kwe gye kwamuyamba okufuna “amaanyi agasinga ku ga bulijjo.”

Jairo Aweereza Katonda ng’Akozesa Amaaso Ge

Wadde ng’alina obulwadde bw’obwongo obusingayo okuba obw’omutawaana, Jairo musanyufu era obulamu bwe bwa makulu.

Yakuwa Ampadde Emikisa Mingi Nnyo

Félix Alarcón yafuna ekigendererwa mu bulamu oluvannyuma lw’akabenje akaamuleka ng’asanyaladde okuva ku nsingo okutuuka ku bigere.

Okulabirira Omuntu Eyeetaaga Obuyambi

Bayibuli Eyogera ki ku Kulabirira Abazadde Abakaddiye?

Bayibuli erimu ebyokulabirako by’abasajja n’abakazi abaalina okukkiriza abaalabirira bazadde baabwe. Ate era erimu amagezi agasobola okuyamba abo ababalabirira.

Okulabirira Omuntu Alina Obulwadde Obutaawone

Kiki ekisobola okubayamba okulabirira era nʼokubudaabuda omulwadde ataawone? Abo abalabirira omulwadde oyo basobola batya okugumira embeera eyo?

Obulwadde

Okwennyamira

Bw’Owulira ng’Obulamu Bukalubye

Kibeere kizibu ki, obulamu bwa mugaso.

Kiki Ekiviirako—Abavubuka Okwennyamira?

Laba obubonero kw’omanyira omuvubuka alina obulwadde obwo. Era laba abazadde n’abantu abalala bye bayinza okukola okubayamba

Obulwadde Obukosa Ebirowoozo Okweyongera Ennyo mu Batiini—Bayibuli Ekyogerako Ki?

Bayibuli erimu amagezi agasobola okuyamba abatiini okwaŋŋanga obulwadde obukosa ebirowoozo.

Ddala Bayibuli Esobola Okunnyamba nga Ndi Mwennyamivu?

Waliwo ebintu bisatu Katonda by’akola okuyamba abennyamivu.

Njagala Kwetta—Bayibuli Esobola Okunnyamba Bwe Nfuna Ekirowoozo ky’Okwetta?

Magezi ki Bayibuli g’ewa agasobola okuyamba omuntu ayagala okufa?

Okweraliikirira

Okwaŋŋanga Ebitweraliikiriza

Laba agamu ku magezi agasobola okukuyamba okwaŋŋanga okweraliikirira oboolyawo n’okukukendeeza.

Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

Buli muntu afuna ebimweraliikiriza. Waliwo ekisobola okutuyamba obuteeraliikirira nnyo?

Bayibuli Eyogera Ki ku Kweraliikirira

Okweraliikirira kusobola okuba okw’obulabe oba okw’omuganyulo. Oyinza otya okwaŋŋanga okweraliikirira?

Ky’Oyinza Okukola nga Wazzeewo Enkyukakyuka

Tetusobola kwewala nkyukakyuka. Laba engeri abamu gye basobodde okwaŋŋangamu enkyukakyuka ezijjawo mu bulamu bwabwe.

Owulira nga Toli Wa Mugaso

Ebintu bisatu ebisobola okukuyamba.

Eby'Obujjanjabi

Kiba Kikyamu Omukristaayo Okufuna Obujjanjabi?

Obujjanjabi bwe tulondawo bulina kye bukola ku nkolagana yaffe ne Katonda?