Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bw’Oba n’Obulwadde obw’Amaanyi

Bw’Oba n’Obulwadde obw’Amaanyi

Linda, ow’emyaka 71 yagamba nti: “Omusawo bwe yaŋŋamba nti nnina kookolo ow’amawuggwe n’ow’omu kyenda, nnawulira nga gwe basalidde ogw’okufa. Naye bwe nnaddayo eka, nnalowooza ku ekyo omusawo kye yali aŋŋambye. Wadde nga si kye nnali nsuubira, nnalina okufuna engeri ey’okukigumira.”

Elise, ow’emyaka 49 yagamba nti: “Nnina obulwadde obuleetera oluba lwange olwa kkono okunnuma ennyo. Oluusi obulumi obungi bwe nnina bundeetera okwennyamira n’okulowooza ku ky’okwetta.”

KYERALIIKIRIZA nnyo bw’okimanya nti olina obulwadde obw’amaanyi obuyinza okukuviirako okufa oba nti omuntu gw’oyagala ennyo y’abulina. Ng’oggyeeko obulwadde, oba olina okugumira enneewulira ezikyukakyuka olw’obulwadde obwo. Oyinza okweyongera okweraliikirira n’okutya olw’okuba olina okugendanga mu ddwaliro buli kiseera, olw’okuzibuwalirwa okufuna obujjanjabi oba okubusasulira, oba olw’ebizibu ebirala ebijjawo olw’obujjanjabi bw’okozesa. Obulwadde buyinza okukuleetera okuwulira nga weetamiddwa obulamu.

Wa w’oyinza okufuna obuyambi? Bangi bakizudde nti okwesiga Katonda n’okumusaba, era n’okusoma ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi ebiri mu Bayibuli, kibudaabuda nnyo. Ab’omu maka go ne mikwano gyo nabo basobola okukuyamba.

EBIYAMBYE ABAMU OKUGUMA

Robert ow’emyaka 58 agamba nti: “Bw’oba omulwadde weesige Katonda nti ajja kukuyamba era mubuulire engeri gy’owuliramu. Musabe akuwe omwoyo gwe omutukuvu, era akuyambe okuguma osobole okuzzaamu ab’omu maka go amaanyi.”

“Kizzaamu nnyo amaanyi ab’omu maka go bwe bakubudaabuda era ne bakulaga nti bakufaako. Buli lunaku wabaawo abankubira essimu nga baagala okumanya bwe ndi. Mikwano gyange nabo banzizaamu nnyo amaanyi ne kinnyamba okuguma.”

Bw’oba ogenda okulaba omulwadde weetegereze Linda ky’agamba. Agamba nti: “Omulwadde aba tayagala kwogera ku bulwadde bwe buli kiseera. N’olwekyo, bw’oba onyumya naye yogera ku bintu ebirala.”

Amaanyi Katonda g’atuwa okuyitira mu kusaba n’okusoma Ebyawandiikibwa, awamu n’obuyambi bwe tufuna okuva mu b’omu maka gaffe ne mikwano gyaffe, bisobola okutuyamba okuguma nga tulina obulwadde obw’amaanyi.