Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okwogera ku nsonga ezitali zimu n’omulwadde nga bukyali kiyamba

Okulabirira Omuntu Alina Obulwadde Obutaawone

Okulabirira Omuntu Alina Obulwadde Obutaawone

DOREEN yatya nnyo abasawo bwe baamugamba nti omwami we Wesley, ow’emyaka 54, alina ekizimba ku bwongo. * Abasawo baamugamba nti omwami we yali abuzaayo myezi mitono afe. Doreen agamba nti: “Bwe nnakiwulira nnawunga, era nnalwawo okukikkiriza.”

Abantu bangi beesanze mu mbeera Doreen gye yalimu. Omuntu yenna asobola okulwala obulwadde obw’amaanyi. Kisanyusa nnyo okulaba nti abantu bangi beewaayo okulabirira abantu baabwe abalina obulwadde obw’amaanyi, wadde nga si kyangu. Abalina omulwadde ng’oyo basobola batya okumulabirira obulungi? Kiki ekisobola okubayamba okugumira embeera? Biki ebiyinza okulaga nti omulwadde anaatera okufa? Ka tusooke tulabe okusoomooza okuli mu kulabirira omuntu alina obulwadde obw’amaanyi.

OKUSOOMOOZA OKULIWO

Olw’okuba waliwo okukulaakulana mu by’obujjanjabi, leero abantu bawangaala emyaka mingiko okusinga bwe kyalinga edda. Emyaka nga kikumi emabega, abantu bwe baakwatibwanga obulwadde oba bwe baafunanga akabenje baafanga mangu, wadde ne mu nsi ezaakulaakulana edda. Amalwaliro gaali matono, era abantu abasinga obungi bajjanjabirwanga waka era we bafiiranga.

Leero abasawo basobola okulwanyisa endwadde ezattanga abantu amangu. Endwadde ng’ezo kati zisobola okufunirwa eddagala erizirwanyisa, omuntu n’abeerawo okumala emyaka. Kyokka olw’okuba abalwadde ng’abo baba tebawonedde ddala, baba beetaaga okulabirirwa. Okulabirira abalwadde ng’abo kyeyongedde okuba ekizibu.

Ekyo kiviiriddeko abalwadde bangi okuba nga bajjanjabirwa mu malwaliro, era eyo gye bafiira. Abantu abasinga obungi tebamanyi bibaawo ng’omuntu anaatera okufa, era bangi tebalabangako muntu ng’afa. Ekyo kireetera abantu abamu okutya okulabirira omulwadde omuyi. Kiki ekisobola okubayamba?

WEETEEKETEEKE NGA BUKYALI

Okufaananako Doreen gwe twogeddeko mu ntandikwa, abantu bangi beeraliikirira nnyo bwe bakitegeera nti omulwadde waabwe tajja kuwona. Bwe weesanga mu mbeera ng’eyo, kiki ky’oyinza okukola? Omuweereza wa Katonda omu yasaba nti: “Tuyigirize engeri gye tusaanidde okubalamu ennaku zaffe tusobole okufuna omutima ogw’amagezi.” (Zabbuli 90:12) Saba Katonda akuyambe okumanya eky’okukola mu kiseera omulwadde wo ky’aba asigazizza.

Ekyo kyetaagisa okukirowoozaako nga bukyali. Omulwadde bw’aba ng’akyasobola okwogera, kiba kirungi okumubuuza ani gw’ayagala amusalirewo ku nsonga enkulu singa ekiseera kituuka n’aba nga takyasobola kwogera. Ate era kirungi okumubuuza obujjanjabi bwe yandyagadde okuweebwa oba obutaweebwa. Olwo nno ekiseera bwe kituuka n’aba nga takyasobola kweyogerera, abantu be bakolera ku ebyo bye yasalawo, ne kibayamba okwewala obutakkaanya obuyinza okubaawo. Okwogera ku nsonga ezitali zimu n’omulwadde, kiyamba okukola enteekateeka ennungi ez’okumulabirira. Bayibuli egamba nti: “Awatali kuteesa enteekateeka zigwa butaka.”​—Engero 15:22.

ENGERI GY’OYINZA OKUMUYAMBAMU

Obuvunaanyizibwa obukulu alabirira omulwadde bw’alina kwe kumubudaabuda. Omulwadde aba yeetaaga okukimanya nti abalala bamwagala era nti bamufaako. Kiki ekiyinza okukolebwa? Oyinza okumuyimbira ennyimba ezimunyumira oba okubaako by’omusomera ebimuzzaamu amaanyi. Abalwadde bangi bawulira bulungi omuntu bw’abakwata ku mukono n’ayogera nabo mu ngeri ey’ekisa.

Kiba kirungi n’obuulira omulwadde abagenyi ababa bazze okumulabako. Lipoota emu eraga nti “omuntu ne bw’aba ng’anaatera okufa, aba akyawulira. Ne bw’alabika ng’eyeebase, aba awulira ebyogerwa. N’olwekyo, kikulu okwegendereza by’oyogera.”

Bwe kiba kisoboka, sabira wamu naye. Lumu omutume Pawulo ne banne baali mu kabi, nga balowooza nti bayinza n’okufa. Baakola ki mu mbeera eyo? Pawulo yagamba Bakristaayo banne nti: “Nammwe muyinza okutuyamba nga mwegayirira ku lwaffe.” (2 Abakkolinso 1:8-11) Kikulu nnyo okusaba nga tuli mu mbeera enzibu, era n’okusabira awamu n’omulwadde.

KKIRIZA EMBEERA ERIWO

Okukimanya nti omuntu wo anaatera okufa kinakuwaza nnyo. Ekyo kiri bwe kityo olw’okuba okufa tekwatutonderwa, era tetusobola kukumanyiira. (Abaruumi 5:12) Mu Bayibuli, okufa kuyitibwa “omulabe.” (1 Abakkolinso 15:26) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti kituzibuwalira okukkiriza nti omuntu waffe agenda kufa.

Wadde kiri kityo, okumanya obubonero obulaga nti omulwadde anaatera okufa kisobola okuyamba abo abamulabirira okumanya eky’okukola n’obuteeraliikirira nnyo. Obumu ku bubonero obwo bulagibwa ku lupapula 9 wansi w’omutwe, “ Ebiraga nti Omulwadde Anaatera Okufa.” Kyokka tekiri nti buli mulwadde anaatera okufa alaga obubonero obwo bwonna, era tekitegeeza nti ku buli mulwadde, obubonero obwo buddiriŋŋana nga bwe bulagiddwa awo. Kyokka, abalwadde abasinga obungi balaga obumu ku bubonero obwo.

Omulwadde bw’afa, kiba kirungi n’otegeeza mukwano gwo abadde amanyi ku mbeera eriwo era omwetegefu okukuyamba. Kikulu ababadde balabirira omulwadde n’ab’eŋŋanda ze okukimanya nti omuntu waabwe takyali mu bulumi, awummudde. Bayibuli egamba nti “abafu tebaliiko kye bamanyi.”​—Omubuulizi 9:5.

OMUJJANJABI ASINGA BONNA

Togaana buyambi bwa muntu yenna

Kikulu nnyo okwesiga Katonda ng’olina omulwadde omuyi, era n’oluvannyuma lw’omulwadde okufa. Katonda asobola okukozesa abantu abalala okukubudaabuda n’okukuyamba mu ngeri endala. Doreen agamba nti: “Saagaana buyambi bwa muntu yenna. Mu butuufu abantu bangi baatuyamba nnyo, era nze n’omwami wange twali bakakafu nti Yakuwa Katonda yali naffe. Yali ng’atugamba nti, ‘Ndi wamu nammwe; nja kubayisa mu mbeera eno enzibu.’ Siryerabira ngeri gye twayambibwamu.”

Yakuwa Katonda ye mujjanjabi asinga bonna. Ye yatutonda era ategeera bulungi obulumi bwe tuwulira n’ennaku gye tubaamu. Asobola okutuyamba n’okutubudaabuda. N’ekisinga obukulu, asuubiza okuggirawo ddala okufa n’okuzuukiza obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu abaafa. (Yokaana 5:28, 29; Okubikkulirwa 21:3, 4) Mu kiseera ekyo, ffenna tulyogera ebigambo by’omutume Pawulo bino: “Ggwe Okufa, obuwanguzi bwo buli wa? Ggwe Okufa, obulumi bwo buli wa?”​—1 Abakkolinso 15:55.

^ lup. 2 Amannya gakyusiddwa.