Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bw’Owulira ng’Obulamu Bukalubye

Bw’Owulira ng’Obulamu Bukalubye

OBULAMU bunyuma nga buli kimu kigenda bulungi. Naye bw’ofuna ebizibu, oyinza okuwulira ng’obulamu bukalubye nnyo.

Ng’ekyokulabirako, Sally, a abeera mu Amerika, eyafiirwa ebintu bye ebisinga obungi mu muyaga, agamba nti: “Nnawulira nga nsobeddwa era nnamala ennaku nnyingi nga simanyi kya kukola.”

Ate kiba kitya ng’ofiiriddwa omuntu wo gw’oyagala ennyo? Janice, abeera mu Australia, agamba nti: “Bwe nnafiirwa batabani bange bombi, nnawulira ng’ennaku empitiriddeko era kyantwalira ekiseera okuguma. Nnasaba Katonda ne mugamba nti: ‘Mpulira sikyasobola kugumira mbeera eno! Nkwegayiridde, ndeka nfe nneme kuba mulamu.’”

Ate ye Daniel yasoberwa nnyo bwe yakimanya nti mukyala we teyali mwesigwa gy’ali. Agamba nti: “Mukyala wange bwe yaŋŋamba nti tabadde mwesigwa gye ndi, nnawulira nga gwe bafumise ekiso ku mutima. Ekintu ekyo kyannuma nnyo.”

Mu katabo kano, tugenda kulaba ensonga lwaki tosaanidde kuggwaamu maanyi wadde nga

Ka tusooke tulabe ekiyinza okutuyamba okugumiikiriza nga tukoseddwa akatyabaga.

a Amanya agamu gakyusiddwa.