Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

E+/taseffski/via Getty Images (Stock photo. Posed by model.)

BEERA BULINDAALA!

Obulwadde Obukosa Ebirowoozo Okweyongera Ennyo mu Batiini—Bayibuli Ekyogerako Ki?

Obulwadde Obukosa Ebirowoozo Okweyongera Ennyo mu Batiini—Bayibuli Ekyogerako Ki?

 Ku Mmande Febwali 13, 2023, ekitongole ekiyitibwa Centers for Disease Control and Prevention (CDC) ekiri mu Amerika kyafulumya lipoota ekwata ku bulwadde obukosa ebirowoozo mu batiini. Lipoota yalaga nti abayizi abasukka mu bitundu 40 ku buli kikumi baabanga banakuwavu buli kiseera era nga tebalina ssuubi.

 Dr. Kathleen Ethier, akulira Division of Adolescent and School Health (DASH) ekiri wansi wa (CDC) yagamba nti: “Mu myaka ekkumi egiyise abavubuka beeyongedde okulwala obulwadde obukosa ebirowoozo. Naye obulwadde obwo bweyongedde nnyo mu bawala abatiini okusinga bwe kyali kibadde, era bangi bagezezzaako okwetta.”

 Lipoota era yalaga nti:

  •   Abawala ebitundu 14 ku buli kikumi bawaliriziddwa okwegatta nga tebeeyagalidde. Dr. Ethier yagamba nti: “Kino kyeraliikiriza nnyo. Kubanga ku buli bawala 10 b’omanyi, omu ku bo, oboolyawo n’okusingawo, yakwatibwa.”

  •   Abawala abatiini ebitundu 30 ku buli kikumi baalowooza ku kwetta.

  •   Abawala abatiini ebitundu 57 ku buli kikumi baabanga banakuwavu oba nga tebalina ssuubi.

 Emiwendo egyo ginakuwaza nnyo. Ekiseera ky’obuvubuka kirina kuba kiseera kya ssanyu. Kiki ekisobola okuyamba abatiini okwaŋŋanga ebibeeraliikiriza leero? Bayibuli ekyogerako ki?

Bayibuli erimu amagezi agasobola okuyamba abatiini

 Bayibuli eyogera ku biseera bye tulimu leero. Yagamba nti byandibadde ‘biseera bizibu nnyo.’ (2 Timoseewo 3:1-5) Wadde kiri kityo, Bayibuli erimu amagezi amalungi agayamba abatiini bukadde na bukadde okwetooloola ensi okwaŋŋanga ebizibu bye boolekagana nabyo leero. Lowooza ku bitundu bino ebyesigamiziddwa ku Bayibuli.

 Ebisobola okuyamba abatiini abafuna ebirowoozo by’okwetta

 Ebisobola okuyamba abatiini abennyamivu, abanakuwavu, oba abafuna ebirowoozo ebimalamu amaanyi

 Ebiyamba abatiini be bayiikiriza oba be baweereza obubaka obufeebya ku mitimbagano

 Ebiyamba abatiini be bakabasanya

Bayibuli erimu amagezi agasobola okuyamba abazadde

 Bayibuli erimu amagezi amalungi abazadde ge bayinza okukozesa okuyamba abaana baabwe abatiini okwaŋŋanga ebibasoomooza mu bulamu. Lowooza ku bintundu bino ebyesigamiziddwa ku Bayibuli.