Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuba n’Enneewulira Ennungi

Okuba n’Enneewulira Ennungi

Bayibuli etukubiriza okwewala enneewulira embi n’okufuba okuba n’enneewulira ennungi.

OBUSUNGU

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Omuntu alwawo okusunguwala asinga omusajja ow’amaanyi.”​—Engero 16:32.

KYE KITEGEEZA: Tuganyulwa nnyo bwe tuyiga okufuga enneewulira yaffe. Wadde ng’oluusi tuba n’ensonga entuufu okusunguwala, obutafuga busungu kya mutawaana nnyo. Okunoonyereza kulaga nti omuntu bw’aba omusunguwavu emirundi mingi aba talowooza bulungi, era ayogera oba akola ekintu kye yejjusa oluvannyuma.

BY’OSOBOLA OKUKOLA: Yiga okufuga obusungu, mu kifo ky’obusungu okukufuga. Wadde ng’abantu abamu balowooza nti obutafuga busungu kyoleka maanyi, tusaanidde okukijjukira nti obutafuga busungu kyoleka bunafu. Bayibuli egamba nti: “Omuntu atafuga busungu bwe, aba ng’ekibuga ekiriko bbugwe eyabomolwabomolwa.” (Engero 25:28) Ekintu ekimu ekisobola okutuyamba okufuga obusungu kwe kusooka okumanya ebizingirwa mu nsonga. “Obutegeevu bw’omuntu bukkakkanya obusungu bwe.” (Engero 19:11) Bwe tumanya ebizingirwa mu nsonga kisobola okutuyamba okukkakkana.

OKUSIIMA

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Mulage nti musiima.”​—Abakkolosaayi 3:15.

KYE KITEGEEZA: Kigambibwa nti abantu abasiima be bokka abasobola okuba abasanyufu. Bangi ku abo abafiiriddwa abantu baabwe oba ebintu byabwe eby’omuwendo bagamba nti ekyo kituufu. Bagamba nti ekibayambye okukendeeza ku nnaku gye baba balina kwe kussa ebirowoozo byabwe ku bintu bye bakyalina mu kifo ky’okubimalira ku bye baafiirwa.

BY’OSOBOLA OKUKOLA: Buli lunaku lowooza oba wandiika ebintu ebirungi by’ofunye. Ebintu ebyo tebirina kuba binene. Lowooza ne ku bintu ebirabika ng’ebitono, gamba ng’okulaba enjuba ng’evaayo, emboozi ennungi gye wanyumizza n’omuntu akufaako, oba okuba nti oli mulamu. Ebintu ebyo birina kinene kye bisobola okukola okukuyamba okuba n’enneewulira ennungi singa ofaayo okubirowoozaako era n’obisiima.

Kisobola okukuganyula ennyo singa olowooza ku bintu ebikusanyusa ku b’omu maka mw’obeera oba ku mikwano gyo. Ebintu ebyo bibabuulire butereevu oba okuyitira mu kabaluwa oba mesegi. Ekyo kiyinza okwongera okunyweza enkolagana yo nabo, era ojja kufuna essanyu eriva mu kugaba.​—Ebikolwa 20:35.

AMAGEZI AMALALA OKUVA MU BAYIBULI

Osobola okuwanula Bayibuli ey’okuwuliriza. Eri mu nnimi nga 40 ku jw.org

WEEWALE ENKAAYANA.

“Okutandika olutalo kuba nga kuggulira mazzi. Ovangawo ng’oluyombo terunnabalukawo.”​—ENGERO 17:14.

WEEWALE OKWERALIIKIRIRA EKITEETAAGISA KU BIKWATA KU BISEERA EBY’OMU MAASO.

“Temweraliikiriranga bya nkya, kubanga olunaku olw’enkya lunaaba n’ebyeraliikiriza ebyalwo. Buli lunaku luba n’emitawaana egirumala.”​—MATAYO 6:34.

WEEWALE OKUSALAWO NG’OSINZIIRA KU NGERI GYE WEEWULIRAMU, ERA FUMIITIRIZA NNYO KU KY’OGENDA OKUKOLA.

“Obusobozi bw’okulowooza obulungi bunaakukuumanga n’okutegeera kunaakukuumanga.”​—ENGERO 2:11.