Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Yakuwa Ampadde Emikisa Mingi Nnyo

Yakuwa Ampadde Emikisa Mingi Nnyo

We nnawereza emyaka 17, nnalina ebiruubirirwa abavubuka bangi bye babeera nabyo. Nnali njagala nnyo okubeera ne mikwano gyange, okuwuga, n’okusamba omupiira. Naye mu lunaku lumu, obulamu bwange bwakyuka mbagirawo. Bwe nnali nvuga pikipiki, nagwa ku kabenje ne nsannyalala okuva ku nsingo okutuuka ku bigere. Ekyo kyaliwo emyaka nga 30 emabega, era okuva olwo ndi ku ndiri.

Nnakulira mu kibuga Alicante, ekiri mu buvanjuba bwa Sipeyini. Ewaka tewaaliwo nkolagana nnungi era ebiseera ebisinga nnabeeranga ku nguudo. Okumpi ne we twali tubeera waaliwo ekifo we baali baddaabiririza emipiira gy’ebidduka. Omu ku abo abaali bakolera mu kifo ekyo ayitibwa José María yafuuka mukwano gwange. Yali wa kisa era yanfangako nnyo n’okusinga ab’omu maka gaffe. Mu biseera ebizibu yannyambanga ng’ayamba muganda we—yali mukwano gwange nfiirabulago wadde nga yali ansinga emyaka 20.

Mu kiseera ekyo, José María yali atandise okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Nnakiraba nti yali ayagala nnyo Bayibuli olw’okuba yateranga okumbuulira ku ebyo bye yabanga ayize. Nnamuwulirizanga bulungi okulaga nti mmussaamu ekitiibwa, naye saafangayo ku ebyo bye yaŋŋambanga. Nnali nkyali muvubuka era nga nnina ebiruubirirwa birala nnyo. Nnali simanyi nti obulamu bwange bwali bunaatera okukyuka.

AKABENJE AKAAKYUSA OBULAMU BWANGE

Sitera kwagala kwogera ku kabenje ke nnafuna. Akabenje ako kaava ku butaba mwegendereza. Mu lunaku lumu, obulamu bwange bwakyukira ddala. Nnali muvubuka wa maanyi naye oluvannyuma lw’akabenje nnasannyalala era nnabeeranga mu ddwaliro. Nnalwawo okukkiriza nti nnali mu mbeera eyo. Nneebuuzanga nti, ‘Mazima ddala obulamu bulina makulu ki?’

José María yankyalirako, era amangu ddala n’akola enteekateeka Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kitundu ekyo bankyalirenga mu ddwaliro. Bankyalira emirundi mingi era ekyo kyansanyusa nnyo. Bwe nnava mu woodi mwe bajjanjabira abalwadde abayi, nnatandikirawo okuyiga Bayibuli. Nnategeera ensonga lwaki abantu babonaabona era ne bafa era n’ensonga lwaki Katonda aleka ebintu ebibi okubaawo. Ate era nnayiga ku bisuubizo bya Katonda eby’omu biseera eby’omu maaso, ensi lw’eriba ng’ejjudde abantu abatuukiridde era nga tewali agamba nti: “Ndi mulwadde.” (Isaaya 33:24) Ebyo bye nnayiga mu Bayibuli byampa essuubi.

Bwe nnava mu ddwaliro, nneeyongera okuyiga Bayibuli. Nga nkozesa akagaali k’abalema, nnatandika okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa n’okubuulirako abalala bye nnali njiga. Nga Noovemba 5, 1988, nga ndi wa myaka 20, nnabatizibwa nga nnyinyikibwa mu bbaafu ennene. Yakuwa Katonda yannyamba okufuna endoowoza ennuŋŋamu wadde nga nnali mu mbeera enzibu ennyo. Naye kiki kye nnandikoze okulaga nti nsiima Katonda bye yankolera?

MPEEREZA YAKUWA WADDE NGA SITAMBULA

Nnali mumalirivu obutakkiriza mbeera yange kunnemesa kukulaakulana mu kuweereza Yakuwa. (1 Timoseewo 4:15) Mu kusooka tekyali kyangu kubanga ab’ewaffe baali tebaagala mbeere Mujulirwa wa Yakuwa. Naye Abajulirwa ba Yakuwa be baafuuka baganda bange ne bannyinaze. Bantwalanga mu nkuŋŋaana okusinza era bantwalanga ne tubuulira abantu amawulire amalungi.

Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, nnakiraba nti nnali nneetaaga okulabirirwa buli kiseera. Oluvannyuma lw’okunoonyeza akabanga, nnafuna ekifo awalabirirwa abantu abaliko obulemu mu kibuga Valencia, ekyesudde mayiro 100 ebukiikakkono bw’ekibuga Alicante. N’okutuusa leero, nkyabeera mu kifo ekyo.

Wadde nga ndi ku ndiri, ndi mumalirivu okubuulirako abalala ebyo bye nzikiriza

Wadde nga ndi ku ndiri, ndi mumalirivu okweyongera okuweereza Yakuwa. Nga nkozesa ssente gavumenti z’ewa abaliko obulemu nnagula kompyuta n’eteekebwa kumpi n’ekitanda kyange. Ate era nnagulayo n’essimu. Buli ku makya, omu ku abo abandabirira ateekako kompyuta yange n’essimu. Waliwo ekyuma kye nnyigisa akalevu okusobola okukozesa kompyuta yange. Ate era nga nkozesa omumwa waliwo akuuma ek’enjawulo ke nkozesa okuwandiika obubaka oba okunyiga ennamba ku ssimu.

Nga nkozesa akuuma okunyiga ennamba ku ssimu

Tekinologiya oyo annyambye atya? Ansobozesa okugenda ku mukutu jw.org n’okukozesa Layibulale eri ku mukutu ogwo, era ekyo kinnyambye nnyo. Mmala essaawa nnyingi buli lunaku nga nsoma era nga nnoonyereza mu bitabo eby’esigamiziddwa ku Bayibuli nsobole okweyongera okuyiga ebikwata ku Katonda n’engeri ze ennungi. Era buli lwe mpulira nga mpuubadde oba nga mpeddemu amaanyi, ŋŋenda ku mukutu gwaffe ne nfunayo ekinzizaamu amaanyi.

Kompyuta yange era ennyamba okuwuliriza n’okwenyigira mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Nsobola okubaako bye nziramu mu nkuŋŋaana, okusaba, okuyigiriza, oba okusoma Omunaala gw’Omukuumi bwe mba mpeereddwa obuvunaanyizibwa obwo. Wadde nga sikyasobola kugenda mu nkuŋŋaana ezo, mpulira nga nkolera wamu n’ekibiina.

Essimu ne kompyuta era binsobozesa okubuulira n’obunyiikivu. Sisobola kubuulira nnyumba ku nnyumba ng’Abajulirwa ba Yakuwa abalala bwe bakola, naye ekyo tekimmalaamu maanyi. Nnyumirwa nnyo okubuulira abalala nga nkozesa essimu era n’abakadde mu kibiina bampa obuvunaanyizibwa obw’okuwoma omutwe mu kaweefube ow’okubuulira nga tukozesa essimu. Nga beenyigira mu kaweefube ono ab’oluganda abali mu mbeera ezitabasobozesa kuva waka bafuna akakisa okubuulira.

Ng’ayigiriza omuntu Bayibuli

Naye si buli kiseera nti mba nkozesa tekinologiya. Buli lunaku, mikwano gyange bankyalira. Bajja n’ab’eŋŋanda zaabwe oba mikwano gyabwe abaagala okuyiga ebiri mu Bayibuli. Emirundi mingi bwe tuba tusoma, bansaba nze mba nkubiriza. Emirundi egimu, omu ku b’oluganda mu kibiina ankyalira n’ab’omu maka ge ne tukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri m Bayibuli. Kinsanyusa nnyo abaana abato bwe bambuulira ensonga lwaki baagala Yakuwa.

Nga mikwano gyange bankyalidde tukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri mu Bayibuli

Buli kiseera ekisenge kyange kiba kikubyeko olw’abagenyi abava e bule n’e bweya, era ekyo kinsanyusa nnyo. Ekyo kyewuunyisa nnyo abo abandabirira. Buli lunaku nneebaza Yakuwa olwa bakkiriza bannange abanfaako mu ngeri eyo.

NKYALI MU LUTALO

Omuntu yenna bw’ambuuza embeera gye ndimu, mmugamba nti, “Nkyali mu lutalo!” Naye nkimanyi nti siri nzekka. Abakristaayo ffenna ka tube nga tulina bizibu bya ngeri ki, tuli mu lutalo—“olutalo olulungi olw’okukkiriza.” (1 Timoseewo 6:12) Kiki ekinnyambye okugumira embeera eno okumala emyaka gino gyonna? Buli lunaku nsaba Yakuwa nga mmwebaza olw’okunnyamba okuba n’obulamu obw’amakulu. Ate era nfuba okwemalira ku kuweereza Katonda era ekyo kinnyambye okukuumira ebirowoozo byange ku ebyo Katonda by’atusuubizza.

José María

Ntera okulowooza ku nsi empya era ne nkuba akafaananyi nga mbuuka era nga nziruka. Emirundi egimu, ntera okusaaga ne mukwano gwange José María—eyalwala pooliyo—ku ky’okudduka embiro ez’okwetooloola ebyalo. Mmubuuza nti: “Ku nze naawe ani anaawangula? Addamu nti: “Sifaayo ku ani anaawangula. Ekikulu kwe kutuuka mu Lusuku lwa Katonda, tusobole okudduka embiro ezo.”

Tekimbeeredde kyangu kugumira mbeera gye ndimu. Nkimanyi nti bwe nnali nkyali muvubuka, nnakola ekintu eky’obusiru ekyanviirako okufuna ekizibu kye nnina. Kyokka ndi musanyufu nti Yakuwa teyanjabulira. Ampadde ebintu ebirungi bingi nnyo—baganda bange ne bannyinaze Abakristaayo, obulamu bwe nnina, essanyu lye nfuna mu kuyamba abalala, n’essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso. Awatali kubuusabuusa, Yakuwa ampadde emikisa mingi nnyo.