Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ENGERI Y’OKUFUNA ESSANYU MU MAKA

Omwana Wo bw’Aba Aliko Obulemu

Omwana Wo bw’Aba Aliko Obulemu

CARLO * agamba nti: “Mutabani waffe, Angelo, aliko obulemu. Embeera gy’alimu etumalamu nnyo amaanyi. Lowooza ku maanyi ge weetaaga okulabirira omwana omulamu obulungi, ogakubiseemu emirundi kikumi. Oluusi kikosa obufumbo bwaffe.”

MIA agamba nti: “Kyetaagisa okufuba n’okuba omugumiikiriza ennyo okusobola okuyigiriza Angelo ekintu ekisingayo obwangu. Bwe nkoowa ennyo oluusi nnyiiga mangu era ekyo kindeetera obutakkiriziganya n’omwami wange Carlo ku bintu ebimu, n’ekivaamu tuyomba.”

Okyajjukira olunaku omwana wo lwe yazaalibwa? Oteekwa okuba nga wali weesunga okumulera. Kyokka eri abazadde nga Carlo ne Mia, essanyu lifuuka lufumo bwe bakitegeera nti omwana waabwe mulwadde oba aliko obulemu.

Olina omwana aliko obulemu? Oyinza okuba nga weebuuza obanga onoosobola okwaŋŋanga ekizibu ekyo. Toggwamu maanyi. Abazadde abalina ekizibu ng’ekikyo basobodde okukyaŋŋanga. Weetegereze okusoomoozebwa kwa mirundi essatu kw’oyinza okwolekagana nakwo n’engeri Bayibuli gy’eyinza okukuyambamu.

OKUSOOMOOZEBWA 1: KIKUZIBUWALIRA OKUKIKKIRIZA NTI OMWANA WO ALIKO OBULEMU.

Abazadde bangi bayisibwa bubi nnyo bwe bakimanya nti omwana waabwe aliko obulemu. Maama omu ayitibwa Juliana abeera mu Mexico yagamba nti: “Abasawo bwe baŋŋamba nti mutabani wange Santiago alina obuzibu ku bwongo, saakikkiriza. Nnawulira nga sikyetegeera.” Abalala bayinza okuwulira nga maama omu ayitibwa Villana abeera mu Yitale eyagamba nti: “Nnasalawo okuzaala omwana wadde ng’abakyala ab’emyaka gyange batera okufuna ebizibu mu kuzaala, naye kati nnejjusa olw’okuba nnazaala omwana aliko obulemu.”

Bw’oba oli mu mbeera ng’eyo, kijjukire nti si kikyamu kuba na nneewulira ng’ezo. Tekyali kigendererwa kya Katonda abantu okulwala. (Olubereberye 1:27, 28) Abazadde tebaali ba kufuna bizibu ng’ebyo. N’olwekyo, omwana wo bw’ataba mulamu bulungi nga bwe wali osuubira, tekyewalika kunakuwala. Kiyinza okukutwalira ekiseera okumanyiira embeera gy’olimu.

Watya singa muli owulira nti ggwe waviirako omwana wo okuzaalibwa ng’aliko obulemu? Kijjukire nti tewali n’omu asobola kumanya mu bujjuvu ebiviirako omwana okulwala oba okufuna obulemu. Ku luuyi olulala, oyinza okunenya munno mu bufumbo ng’olowooza nti ye yaviirako omwana wammwe okuzaalibwa ng’aliko obulemu. Mu kifo ky’okunenya munno, mukolaganire wamu musobole okulabirira omwana wammwe.​—Omubuulizi 4:9, 10.

EKINAAKUYAMBA: Faayo okumanya ebikwata ku bulwadde omwana wo bw’alina. Bayibuli egamba nti: “Kyetaagisa amagezi okusobola okuba n’amaka amalungi, era kyetaagisa okuba n’okutegeera okusobola okuganyweza.”​—Engero 24:3, New Century Version.

Osobola okubuuza abasawo abakugu oba okunoonyereza mu bitabo ebyesigika. Okuyiga ebikwata ku bulwadde obuluma omwana wo oyinza okukigeraageranya ku kuyiga olulimi olupya. Mu kusooka luba luzibu, naye osobola okuluyiga.

Carlo ne Mia, aboogeddwako ku ntandikwa, beebuuza ku musawo waabwe ne ku kibiina ekiyamba abantu abalina obulwadde ng’obw’omwana waabwe. Bagamba nti: “Ekyo tekyakoma ku kutuyamba kutegeera bizibu bye twali twolekedde, naye era kyatuyamba okukitegeera nti omwana waffe alina ebintu ebirungi by’asobola okukola. Ekyo kyatuzzaamu nnyo amaanyi.”

GEZAAKO KINO: Essira lisse ku bintu omwana wo by’asobola okukola. Mukolere wamu emirimu ng’amaka. Omwana wo bw’abaako ekintu ky’akoze, ne bwe kiba kitono kitya, mwebaze.

OKUSOOMOOZEBWA 2: OKOOWA NNYO ERA OWULIRA NTI TERI ATEGEERA MBEERA GY’OLIMU.

Owulira ng’okulabirira omwana wo kikukooya nnyo? Maama omu ayitibwa Jenney, abeera mu New Zealand, agamba nti, “Mu kusooka nnakoowanga nnyo olw’okuba nnalina okulabira omwana wange aliko obulemu nga kw’otadde n’okukola emirimu emirala egy’awaka, era ng’oluusi njagala na kukaaba.”

Ekizibu ekirala kiri nti oba owulira ekiwuubaalo. Omwami ayitibwa Ben alina omwana aliko obulemu agamba nti: “Abantu abasinga obungi tebayinza kutegeera mbeera gye tulimu.” Oyinza okwagala okubuulirako mikwano gyo ekizibu kyo. Naye olw’okuba abasinga obungi baba n’abaana abalamu obulungi, oba otya okubeeyabiza.

EKINAAKUYAMBA: Saba abalala bakuyambeko. Bwe wabaawo ayagala okukuyamba, kkiriza akuyambe. Juliana, eyayogeddwako waggulu agamba nti, “Oluusi nze n’omwami wange kitukwasa ensonyi okusaba abalala batuyambeko. Naye twayiga nti tetusobola kwemalirira. Abalala bwe batuyambako kituzzaamu nnyo amaanyi.” Mukwano gwo oba omuntu omulala bw’akusaba okukusitulirako omwana nga muli ku mukolo oba mu lukuŋŋaana lw’Ekikristaayo, kkiriza. Bayibuli egamba nti: “Ab’omukwano baagalana ennaku zonna, n’abooluganda babaawo kuyambagana mu bizibu.”​—Engero 17:17. (Bayibuli y’Oluganda eya 2003)

Faayo ku bulamu bwo. Ambyulensi bw’eba ey’okutwala abalwadde mu ddwaliro, erina okunywa amafuta. Mu ngeri y’emu, bw’oba ow’okulabirira obulungi omwana wo, olina okukola ebintu ebikuyamba okuddamu amaanyi gamba ng’okulya obulungi, okukola dduyiro [exercise], n’okuwummula ekimala. Omwami ayitibwa Javier alina omwana omulema agamba nti: “Okuva bwe kiri nti omwana wange tasobola kutambula, nfuba okulya obulungi kubanga nze mmusitula. Ebigere byange bye bigere bye!”

Oyinza otya okufuna obudde obw’okwerabirira? Abazadde abamu balabirira omwana waabwe mu mpalo. Ekyo kisobozesa omuzadde omu okuwummulako oba okukola ku byetaago bye ebirala. Wadde nga si kyangu, osaanidde okwerekereza ebintu ebitali bikulu nnyo. Naye nga maama omu ayitibwa Mayuri, abeera mu Buyindi bw’agamba, “Oluvannyuma omanyiira.”

Yogerako ne mikwano gyo be weesiga. Ne bwe kiba nti tebalina baana balwadde, basobola okukubudaabuda. Ate era osobola okusaba Yakuwa Katonda. Omukyala ayitibwa Yazmin ow’abaana ababiri abalina obulwadde bw’amawuggwe agamba nti: “Wabaawo ebiseera bye mpulira ng’ebirowoozo bijula kunzita. Naye nsaba Yakuwa aŋŋumye era ampe amaanyi. Oluvannyuma lw’okusaba, mpulira nga nzizeemu amaanyi.”​—Zabbuli 145:18.

GEZAAKO KINO: Weebuuze: Ndya bulungi, nkola dduyiro, era mpummula ekimala? Lowooza ku bintu ebitali bikulu nnyo by’oyinza okwerekereza osobole okufuna obudde obumala okulabirira obulamu bwo. Kyusakyusanga mu nteekateeka zo nga bwe kiba kyetaagisizza.

OKUSOOMOOZEBWA 3: OMWANA WO OMULWADDE OMUFAAKO NNYO OKUSINGA ABALALA.

Olw’omwana omulwadde, ab’awaka bayinza obutasobola kulya ku mmere nnungi, obutafuna biseera kwesanyusaamu ng’amaka, n’abazadde obutaba na biseera bimala kubeerako n’abaana abalala. N’ekivaamu, abaana abalala bayinza okuwulira nti tebafiibwako. Okugatta ku ekyo, abazadde bayinza okumala ebiseera bingi nnyo nga balabirira omwana waabwe omulwadde ne kikosa obufumbo bwabwe. Omwami ayitibwa Lionel abeera mu Liberia agamba nti: “Oluusi mukyala wange aŋŋamba nti mmulekera obuvunaanyizibwa obusinga obungi era nti sifaayo kulabirira mwana waffe. Bw’ayogera bw’atyo, mba mpulira nga tampadde kitiibwa, era oluusi muddamu bubi.”

EKINAAKUYAMBA: Okusobola okukakasa abaana bammwe nti bonna mubaagala, mubategekereyo ekintu ekibanyumira. Jenney, eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Oluusi mutabani waffe omukulu tumukolerayo ekintu eky’enjawulo, gamba ng’okumutwala ku ky’emisana mu kifo ky’asinga okwagala.”

Okusobola okukuuma obufumbo bwo, fubanga okunyumyako ne munno era musabirenga wamu. Omwami ayitibwa Aseem, abeera mu Buyindi, era ng’alina omwana agwa ensimbu, agamba nti: “Wadde nga nze ne mukyala wange oluusi tuwulira nga tukooye nnyo era nga tuweddemu amaanyi, tufuna akadde ne tunyumyako era ne tusabira wamu. Buli ku makya ng’abaana baffe tebannazuukuka, tubaako n’olunyiriri okuva mu Bayibuli lwe tukubaganyaako ebirowoozo.” Abafumbo abamu bafuna akadde ne banyumyako nga tebanneebaka. Buli omu bwe yeeyabiza munne era ne musabira wamu mu kiseera ekyo ekizibu, mujja kunyweza obufumbo bwammwe. (Engero 15:22) Waliwo abafumbo abaagamba nti: “Buli lwe tuba n’ebizibu eby’amaanyi tukolaganira wamu era ekyo kinywezezza omukwano gwaffe.”

GEZAAKO KINO: Weebaze abaana bo abalala olw’okuyamba munnaabwe omulwadde. Abaana bo ne munno mu bufumbo bulijjo basiime era obalage nti obaagala.

BEERA N’ESSUUBI

Bayibuli eraga nti Katonda anaatera okuggyawo obulemu bwonna n’endwadde eziruma abato n’abakulu. (Okubikkulirwa 21:3, 4) Mu kiseera ekyo, tewaliba muntu agamba nti: “Ndi mulwadde.” *​—Isaaya 33:24.

Ne mu kiseera kino, osobola okufuna essanyu wadde ng’olina omwana aliko obulemu. Carlo ne Mia abaayogeddwako waggulu bagamba nti: “Toggwamu maanyi bwe kiba nti buli kimu kirabika ng’ekitakugendera bulungi. Lowooza ku bintu ebirungi omwana wo by’alina gamba nga, engeri ennungi.”

^ Amannya agali mu kitundu kino gakyusiddwa.

^ Okumanya ebisingawo ku bikwata ku kisuubizo kya Katonda eky’obulamu obutuukiridde, soma essuula 3 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

WEEBUUZE . . .

  • Biki bye nnyinza okukola okulaba nti mba mulamu bulungi, seeraliikirira nnyo, era nti mba n’enkolagana ennungi ne Katonda?

  • Nnasemba ddi okusiima abaana bange abalala olw’okuyamba munnaabwe omulwadde?