Buuka ogende ku bubaka obulimu

Obufumbo

Ebiyamba Abafumbo Okuba Obulungi

Mukolere ku Bulagirizi bwa Katonda

Okwebuuza ebibuuzo bibiri kisobola okulongoosa obufumbo bwammwe.

Amagezi Agasobozesa Amaka Okubaamu Essanyu

Amaka okusobola okubaamu essanyu, kiki abaami, abakyala, abazadde, n’abaana kye balina okukola?

Amaka Okuba Amanywevu​—Okukolera Awamu

Omwami wo oba mukyala wo alinga omuntu gwe mubeera naye mu nju y’emu naye nga temuli bafumbo?

Oyinza Otya Okulaga nti Ossaamu Munno Ekitiibwa?

Kikulu abafumbo buli omu okussaamu munne ekitiibwa. Oyinza otya okulaga nti ossaamu munno ekitiibwa?

Okuba n’Obufumbo Obulimu Essanyu: Laga Okwagala

Emirimu, ebyeraliikiriza, era n’ebizibu ebirala ebibaawo mu bulamu bisobola okuleetera abafumbo okuddirira mu kulagaŋŋana okwagala. Kisoboka okuddamu okulagaŋŋana okwagala okwa nnamaddala?

Engeri gy’Oyinza Okulaga nti Osiima

Omwami n’omukyala buli omu bw’afuba okulaba ebirungi mu munne enkolagana yaabwe yeeyongera okunywera. Kiki ekiyinza okukuyamba okusiima munno?

Buli Omu Abe Mwesigwa eri Munne

Okuba omwesigwa mu bufumbo kitegeeza kwewala bwenzi kyokka?

Abaami—Amaka Gammwe Galimu Emirembe?

Amaka gayinza okuba obulungi mu by’enfuna kyokka nga gali bubi mu bintu ebisinga obukulu.

Ekkubo Erireeta Essanyu​—Okwagala

Okwagala abalala n’okwagalibwa kireetera omuntu essanyu.

Bayibuli ky'Egamba

Ddala Bayibuli Erina ky’Eyogera ku Kugattibwa kw’Abantu Abafaanaganya Ekikula?

Oyo eyatandikawo obufumbo amanyi ekisobola okuyamba obufumbo okuwangaala n’okubaamu essanyu.

Ddala Kikkirizibwa Okuba n’Abakazi oba Abasajja Abasukka mu Omu?

Katonda ye yatandikawo enkola ey’okuwasa abakazi oba abasajja abasukka mu omu? Laba ekyo Bayibuli ky’eyogera ku ky’okuwasa abakazi abasukka mu omu.

Bayibuli Eyogera Ki ku ky’Abantu aba Langi ez’Enjawulo Okufumbiriganwa?

Laba ebyawandiikibwa ebituyamba okumanya endowooza Katonda gy’alina ku ky’abantu aba langi ez’enjawulo okufumbiriganwa.

Bayibuli Eyogera ki ku Bufumbo?

Emisingi gya Bayibuli gisobola okuyamba abafumbo okwewala ebizibu n’okubigonjoola.

Ebizibu n'Engeri y'Okubigonjoolamu

Okukolagana Obulungi ne Bazadde Bammwe

Bazadde bammwe musobola okubassaamu ekitiibwa, naye ng’ekyo tekitabangudde bufumbo bwammwe.

Munno mu Bufumbo bw’Aba ng’Alaba Ebifaananyi eby’Obuseegu

Omu ku bafumbo bw’aba ng’alaba ebifaananyi eby’obuseegu, abafumbo bombi bayinza batya okumuyamba okulekayo omuze ogwo, ne munne okuddamu okumwesiga?

Amaka Okuba Amanywevu​—Okusonyiwagana

Kiki ekisobola okukuyamba okubuusa amaaso ensobi za munno mu bufumbo?

Abaana nga Bavudde Awaka

Abafumbo abamu boolekagana n’okusoomooza okw’amaanyi ng’abaana baabwe bavudde awaka. Kiki ekisobola okubayamba mu mbeera ng’eyo?

Bwe Mufuna Ekizibu eky’Amaanyi

Musabe abalala babayambe.

Okwawukana n'Okugattululwa

Ddala Obulamu Bwa Mugaso Wadde nga Munno si Mwesigwa?

Abafumbo abangi abalina bannaabwe abatali beesigwa bafunye okubudaabudibwa okuva mu Byawandiikibwa.

Ddala Bayibuli Ekkiriza Okugattululwa?

Laba ekyo Katonda ky’akkiriza ne kyatakkiriza.