Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuyita Obulungi mu Mwaka Ogusooka mu Bufumbo

Okuyita Obulungi mu Mwaka Ogusooka mu Bufumbo

Engeri Y’okufuna Essanyu Mu Maka

Okuyita Obulungi mu Mwaka Ogusooka mu Bufumbo

Omwami agamba: “Kinneewuunyisa nti nze ne mukyala wange tuli ba njawulo nnyo! Ng’ekyokulabirako, nze nkeera nnyo, naye ye alwawo okwebaka. Era embeera ye ekyukakyuka buli kiseera sigitegeera! Ng’oggyeko ekyo, bwe mba nfumba emmere, anvumirira nnyo naddala bwe nsiimuuza engalo zange akatawulo akasiimuula ebintu.”

Omukyala agamba: “Omwami wange musajja wa bigambo bitono. Naye nze nninga ab’ewaffe. Boogera nnyo naddala mu biseera eby’okulya. Ate omwami wange bw’afumba, akatawulo akasiimuula ebintu k’asiimuuza engalo ze! Ekyo kinnyiiza nnyo! Lwaki abasajja bazibu okutegeera? Omuntu asobola atya okubeera n’obufumbo obulungi?”

BW’OBA nga waakayingira obufumbo, ofunyeeko obuzibu ng’obwo? Kikulabikira nti kati munno alina obunafu n’emize gy’ataalina bwe mwali mwogerezeganya? Oyinza otya okukendeeza ku ‘bizibu ebya buli lunaku abafumbo bye baba nabyo’?​—1 Abakkolinso 7:28.

Okusooka, tolowooza nti olw’okuba mwayingira obufumbo, gwe ne munno mwafuuka bakugu mu by’obufumbo. Oyinza okuba wafuna obumanyirivu ku ngeri y’okukolaganamu n’abantu bwe wali okyali bwannamunigina, era obumanyirivu obwo buyinza okuba bweyongera bwe mwali mwogerezeganya. Naye obufumbo bujja kuleetawo embeera ezijja okukwetaagisa okukozesa obumanyirivu obwo, era ezijja okwetaagisa okweyongera okukuguka mu ngeri gy’okolaganamu ne munno. Olowooza onookola ensobi? Awatali kubuusabuusa ojja kuzikola. Onoosobola okufuna obumanyirivu obwetaagisa? Mazima ddala ojja kusobola okubufuna!

Engeri esingayo obulungi ey’okwongera ku bumanyirivu bw’olina kwe kwebuuza ku mukugu era n’oteeka mu nkola amagezi g’akuwa. Asingayo okuba omukugu ku nsonga y’obufumbo ye Yakuwa Katonda. Kiri kityo kubanga ye yatutonda nga tulina obwagazi bw’okuyingira obufumbo. (Olubereberye 2:22-24) Weetegereze engeri Ekigambo kye, Baibuli, gye kiyinza okukuyamba okuvvuunuka embeera enzibu era n’okufuna obumanyirivu bwe weetaaga okusobola okuyita obulungi mu mwaka ogusooka ogw’obufumbo n’okweyongerayo.

EKISOOKA. MUYIGE BULI OMU OKWEBUUZA KU MUNNE

Kizibu ki ekiriwo? Omwami ayitibwa Keiji, * abeera mu Japan, emirundi egimu yeerabiranga nti bye yasalangawo byali bikwata ne ku munne. Agamba nti, “Nnakkirizanga okugenda gye bampise nga sseebuuzizza ku mukyala wange. Oluvannyuma, nnakiraba nti yazibuwalirwanga okugenda nange gye baabanga bampise.” Omwami abeera mu Australia ayitibwa Allen agamba: “Nnalowooza nti kyali tekisaanira omusajja okwebuuza ku mukyala we ng’alina by’asalawo.” Endowooza eyo yava ku ngeri gye yakuzibwamu. Ne Dianne, abeera e Bungereza yalina endowooza efaananako eyo. Agamba nti: “Nnali mmanyidde kubuuza bazadde bange okumpa ku magezi. N’olwekyo, bwe nnabanga n’eky’okusalawo, be nnasookanga okwebuuzaako so si mwami wange.”

Kinaagonjoolebwa kitya? Kijjukire nti Yakuwa atunuulira abafumbo ‘ng’omubiri ogumu.’ (Matayo 19:3-6) Akitwala nti enkolagana gy’olina ne munno mu bufumbo nkulu nnyo okusinga enkolagana yonna gy’oyinza okuba n’omuntu omulala yenna, nga mw’otwalidde bazadde bo n’emikwano gyo. Okusobola okukuuma enkolagana eyo nga nnywevu, kyetaagisa okubeera n’empuliziganya ennungi ne munno.

Omwami n’omukyala balina kye bayinza okuyiga bwe beetegereza engeri Yakuwa Katonda gye yakolaganamu ne Ibulayimu. Ng’ekyokulabirako, soma ebyo ebiri mu Olubereberye 18:17-33. Weetegereze nti Katonda yawa Ibulayimu ekitiibwa mu ngeri ssatu. (1) Yamunnyonnyola kye yali agenda okukola. (2) Yawuliriza Ibulayimu ng’awa endowooza ye. (3) Yakolera ku ekyo Ibulayimu kye yali agamba. Oyinza okukoppa Yakuwa mu ngeri ezo bw’oba weebuuza ku munno mu bufumbo?

GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Bw’oba oyogera ne munno mu bufumbo ku nsonga emukwatako, (1) nnyonnyola engeri gye wandyagadde okukwatamu ensonga, naye si mu ngeri eraga nti ky’ogambye oba ky’osazeewo kye ky’enkomerero; (2) saba munno awe endowooza ye era kimanye nti ayinza okuba n’endowooza eyawukana ku yiyo; era (3) ‘laga nti toli mukakanyavu’ ng’okolera ku ekyo munno ky’agambye buli lwe kiba kisoboka. ​—Abafiripi 4:5.

EKY’OKUBIRI. YIGA OKUBEERA OMWEGENDEREZA.

Kizibu ki ekiriwo? Okusinziira ku mpisa y’ewammwe, kiyinzika okuba nti bw’oba olina ky’ogamba teweegendereza, omala googera. Ng’ekyokulabirako, Liam abeera mu Bulaaya agamba: “Ewaffe, abantu tebeegendereza, bamala googera. Nange nnina omuze ogwo era ekyo kiyisa bubi mukyala wange. Nnalina okuyiga okuba omukkakkamu.”

Kinaagonjoolebwa kitya? Tokitwala nti munno ayagala oyogere naye mu ngeri ggwe gy’omanyidde okwogeramu. (Abafiripi 2:3, 4) Okubuulirira omutume Pawulo kwe yawa omuminsani kwa muganyulo eri abaakayingira obufumbo. Yagamba: “Omuddu wa Mukama tekimwetaagisa kuyomba, wabula alina okuba omukkakkamu.” Mu luyonaani, ekigambo ekivvuunulwa ‘omukkakkamu’ kiyinza okutegeeza ‘omwegendereza.’ (2 Timoseewo 2:24) Omuntu omwegendereza amanya embeera lw’eba emwetaagisa okulaga ekisa, bw’atyo ne yeewala okunyiiza abalala.

GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Munno bw’aba akunyiizizza, kuba akafaananyi nga mu kiseera ekyo toyogera naye wabula ng’oyogera ne mukwano gwo oba akukozesa ku mulimu. Wandyogedde mu ngeri y’emu? Ate lowooza ku nsonga lwaki ogwanidde okuwa munno ekitiibwa era n’okwegendereza ng’oyogera naye okusinga ne bw’okola ng’oyogera ne mukwano gwo oba oyo akukozesa.​—Abakkolosaayi 4:6.

EKY’OKUSATU. YIGA OKUTUUKANA N’EMBEERA EMPYA

Kizibu ki ekiriwo? Mu kusooka, omwami ayinza obutatuukiriza bulungi buvunaanyizibwa bwe ng’omutwe gw’amaka, oba omukyala ayinza okuba tamanyidde kuwa magezi na bwegendereza. Ng’ekyokulabirako, omwami ayitibwa Antonio abeera mu Italy agamba: “Taata wange teyeebuuzanga ku maama wange ng’alina by’asalawo ebikwata ku maka. N’olwekyo, nange mu kusooka nnali nnaakyemalira mu maka.” Debbie, omukyala abeera mu Canada, agamba: “Nnanenyanga nnyo bba wange nga njagala ayongere ku mutindo gwe ogw’obuyonjo. Naye ekyo kyayongera kumufuula mukakanyavu.”

Omwami anaagonjoola atya ensonga? Abaami abamu balowooza nti obuwulize Baibuli bw’egamba abakyala okulaga babbaabwe bwe bumu n’obwo bw’egamba abaana okulaga bazadde baabwe. (Abakkolosaayi 3:20; 1 Peetero 3:1) Kyokka, Baibuli egamba nti omwami ‘anaabeeranga ne mukazi we era bombi banaabanga omubiri gumu’; teyogera bw’etyo ku muzadde n’omwana. (Matayo 19:5) Yakuwa ayogera ku mukyala ng’omuyambi w’omwami we. (Olubereberye 2: 18) Omwana tamwogerako ng’omuyambi w’abazadde. Olowooza otya​—singa omwami ayisa mukyala we ng’omwana, aba assa ekitiibwa mu nteekateeka y’obufumbo?

Mu butuufu, Ekigambo kya Katonda kikubiriza abaami okuyisa bakyala baabwe mu ngeri y’emu Yesu gye yayisaamu ekibiina Ekikristaayo. Kijja kwanguyira mukyala wo okukutwala ng’omutwe gwe singa (1) tomusuubira nti buli ky’omugamba aggya kukikolerawo era akikolere ddala nga bw’oyagala (2) omwagala nga bw’oyagala omubiri gwo, ne bwe wajjawo ebizibu.​—Abeefeso 5:25-29.

Omukyala anaagonjoola atya ensonga? Kikkirize nti omwami wo ye mutwe gwo eyalondebwa Katonda. (1 Abakkolinso 11:3) Bw’owa bbaawo ekitiibwa, oba owa ne Katonda ekitiibwa. Bw’owakanya obukulembeze bwe, oba olaga engeri gy’otwalamu bbaawo era n’engeri gy’otwalamu Katonda n’ebyo by’akwetaagisa.​—Abakkolosaayi 3: 18.

Bwe muba mwogera ku bizibu ebiriwo, essira liteeke ku kugonjoola ekizibu so si ku bunafu bw’omwami wo. Ng’ekyokulabirako, Kabaka omukazi eyali ayitibwa Eseza yali ayagala omwami we, Kabaka Akaswero, atereeze ensonga emu. Mu kifo ky’okuvunaana omwami we olw’ensobi gye yali akoze, Eseza yategeeza omwami ky’ayagala n’obwegendereza. Omwami we yakkiriza ekirowoozo kye era oluvannyuma n’akola ekituufu. (Eseza 7:1-4; 8:3-8) Omwami wo ajja kukwagala nnyo singa (1) omuwa ekiseera amanye bulungi engeri y’okutuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwe obupya ng’omutwe gw’amaka era (2) omuwa ekitiibwa ne bw’aba ng’akoze ensobi.​—Abeefeso 5: 33.

GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Mu kifo ky’okufa ennyo ku ngeri munno gy’alina okukyusaamu, naawe laba engeri gy’olina okukyusaamu. Abaami: Singa mukyala wo ayisibwa bubi olw’okuba totuukiriza bulungi buvunaanyizibwa bwo ng’omutwe gw’amaka, mubuuze wa w’oyinza okulongoosaamu, era baako w’owandiika ky’aba akugambye. Abakyala: Omwami wo bw’aba awulira nti tomuwa kitiibwa, mubuuze engeri gy’oyinza okulongoosaamu, era baako w’owandiika ky’akugambye.

Beera n’Endowooza Ennuŋŋamu ku Ekyo ky’Osuubira mu Munno

Okuyiga okubeera n’enkolagana ennungi mu bufumbo kifaananako okuyiga okuvuga akagaali. Bw’oba oyiga, osuubira okugwa. Mu ngeri y’emu, wandisuubidde okukola ensobi ng’ogenda ofuna obumanyirivu mu bufumbo.

Muyige okusaagasaaga. Ebiruma munno bitwale nga bikulu, naye ne bw’aba akoze ensobi togikuliriza nnyo. Kozesa omukisa gwonna gw’ofuna okusanyusa munno mu mwaka gwammwe ogusooka ogw’obufumbo bwammwe. (Ekyamateeka 24:5) N’ekisinga byonna, muleke Ekigambo kya Katonda kibawe obulagirizi. Bwe munaakola ekyo, obufumbo bwammwe bujja kweyongera okunywera buli mwaka.

[Obugambo obuli wansi]

^ Amannya agamu gakyusiddwa.

WEEBUUZE . . .

▪ Munnange mu bufumbo gwe nneebuuzaako oba nneebuuza ku balala?

▪ Mu ssaawa 24 ezaakayitawo, kiki kye nkoze ekiraga nti munnange mu bufumbo mmwagala era mmuwa ekitiibwa?

[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]

Baibuli Yawonya Obufumbo Bwaffe

Toru ne Akiko baali baagalana nnyo nga baakafumbiriganwa. Naye oluvannyuma lw’emyezi munaana, abafumbo bano okuva mu Japan baasalawo okugattululwa. Boogera ebyaliwo.

Toru: “Nze ne mukyala wange twali tetukwatagana bulungi nga bwe nnali nsuubira. Ng’ekyokulabirako, bwe twalabanga Ttivi, nze nnanyumirwanga bya mizannyo naye ye yanyumirwanga katemba. Nze nnayagalanga nnyo okutambulako, naye ye ng’ayagala kusigala waka.”

Akiko: “Toru yakolanga kyonna ab’ewaabwe kye baamugambanga naye nga tanneebuuzaako. Nnamubuuzanga, ‘Ani asinga obukulu gy’oli, maama wo oba nze?’ Kyaneewuunyisa nnyo nti oluusi teyayogeranga mazima. Era nnamugamba nti singa talekera awo kulimba, obufumbo bwaffe bwali bujja kusasika.”

Toru: “Nnaggwamu amaanyi era nneebuuza ku munnange ku ngeri y’okukwatamu mukyala wange. Yaŋŋamba nti, ‘Mugambe alekere awo okukuddamu era singa yeemulugunya mukube.’ Lumu nnakuba Akiko oluyi era ne nvuunika n’emmeeza. Twayomba nnyo era n’ekyavaamu yagenda. N’amukomyawo okuva mu wooteeri emu mu Tokyo gye yali agenze. Mu nkomerero twasalawo tugattululwe. Era bwe nnagenda mu ofiisi ku makya, mukyala wange yatandika okusibako ebintu bye.”

Akiko: “Akade kaavuga bwe nnali ntwala ebintu byange ku mulyango. Waliwo omukyala eyali ayimiridde ku mulyango. Yali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Nnamugamba ayingire.”

Toru: “Bwe nnatuuka mu ofiisi, nnalaba ng’ekirowoozo ky’okugattululwa tekyali kirungi, n’olwekyo nnaddayo eka. Bwe nnatuuka eka, nnasanga Akiko ayogera n’omukyala oyo. Omukyala yaŋŋamba: ‘Waliwo ekintu mwembi kye mulina okukolera awamu. Wandyagadde okuyiga Baibuli?’ Nnakkiriza era ne mugamba nti, ‘ndi mwetegefu okukola ekintu kyonna ekiyinza okuwonya obufumbo bwaffe!’”

Akiko: “Omukyala yatukolera enteekateeka ez’okusoma Baibuli. Embeera yatandika okukyuka bwe twasoma ekyo Baibuli ky’eyogera ku nteekateeka y’obufumbo. Egamba nti: ‘Eyo ye nsonga lwaki omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina, era anaanywereranga ku mukazi we era banaabanga omubiri gumu.’”​—Olubereberye 2:24.

Toru: “Amakulu g’ebigambo ebyo nnagafuna amangu ago. Abazadde bange nnabagamba nti, ‘Okuva kati, ŋŋenda kwebuuzanga ku mukyala wange nga sinnasalawo.’ Era nnalekera awo okunywa ennyo omwenge. Era bwe nnakimanya nti Katonda akyawa okulimba, nnatandika kwogera mazima gokka.”

Akiko: “Nange nnakola enkyukakyuka. Ng’ekyokulabirako, nnajeemeranga Toru. Naye bwe nnalaba engeri gye yali ateeka mu nkola emisingi gya Baibuli, nnatandika okumuwagira. (Abeefeso 5:22-24) Kati tumaze emyaka 28 mu bufumbo nga tuli basanyufu. Twasobola okuvvuunuka ebizibu bye twalina nga tweyongera okumanyagana era n’okussa mu nkola okubuulirira okulungi okuli mu Baibuli.”