Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abaami—Amaka Gammwe Galimu Emirembe?

Abaami—Amaka Gammwe Galimu Emirembe?

OMWAMI alina buvunaanyizibwa ki mu maka? Abantu bangi balowooza nti obuvunaanyizibwa obukulu omwami bw’alina mu maka kwe kuyamba ab’omu maka ge mu by’ensimbi. Kyokka abakyala abamu si basanyufu wadde ng’amaka gaabwe magagga. Ng’ekyokulabirako, omukyala omu ayitibwa Rosa abeera mu Sipeyini bw’ati bw’ayogera ku mwami we: “Abantu abalala abayisa bulungi, naye awaka aba mukambwe nnyo.” Ate ye Joy, abeera mu Nigeria agamba nti, “Bwe nnabanga sikkiriziganyizza n’omwami wange ku kintu ekimu yaŋŋambanga nti, ‘Olina okukola buli kye nkugamba kubanga nze balo.’”

Abaami bayinza batya okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka? Kiki abaami kye bayinza okukola, bakyala baabwe basobole okuwulira nti amaka gaabwe ‘kifo kya kuwummuliramu’?Luusi 1:9.

BAYIBULI KY’EYOGERA KU BUYINZA OMWAMI BW’ALINA MU MAKA

Wadde ng’omwami n’omukyala bombi benkanankana mu maaso ga Katonda, Bayibuli eraga nti buli omu alina obuvunaanyizibwa bwe mu maka. Mu Abaruumi 7:2, Bayibuli egamba nti omukazi omufumbo aba wansi “w’etteeka ly’omwami we.” Ng’amakampuni agatali gamu bwe galonda maneja okuddukanya emirimu gyago, ne Katonda yalonda omusajja okuba omutwe gwa mukazi we. (1 Abakkolinso 11:3) Omwami y’asaanidde okukulembera amaka.

Abaami, musaanidde kukozesa mutya obuyinza Katonda bwe yabawa? Bayibuli egamba nti: “Mwagalenga bakazi bammwe nga Kristo bwe yayagala ekibiina.” (Abeefeso 5:25) Wadde nga Yesu teyali mufumbo, ekyokulabirako kye yassaawo kisobola okuyamba abaami. Mu ngeri ki?

ENGERI YESU GYE YAYISANGAMU ABALALA

Yesu yazzangamu abalala amaanyi era yabayambanga. Abo bonna abaali banyigirizibwa era nga bazitoowereddwa olw’ebizibu, Yesu yabagamba nti: “Mujje gye ndi . . . nnaabawummuza.” (Matayo 11:28, 29) Yesu yayambanga abantu okufuna obuweerero n’okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Tekyewuunyisa nti abantu bangi bajjanga eri Yesu basobole okufuna obuweerero!

Engeri abaami gye bayinza okukoppamu Yesu. Mukyala wo muyambeko ku mirimu gy’awaka. Abakyala abamu bawulira nga Rosa, eyamba nti: “Omwami wange yali antwala ng’omukozi w’awaka.” Okwawukana ku ekyo, ye omwami ayitibwa Kweku ali mu bufumbo obw’essanyu agamba nti: “Ntera okubuuza mukyala wange emirimu gye yandyagadde mmuyambeko. Olw’okuba mmwagala nnyo, mmuyambako ku mirimu gy’awaka.”

Yesu yali afaayo ku balala era nga wa kisa. Omukyala omu yali amaze emyaka 12 ng’atawaanyizibwa obulwadde obw’amaanyi. Omukyala oyo bwe yawulira ku byamagero Yesu bye yali akola, “yagambanga nti: ‘Ne bwe nnaakwata obukwasi ku kyambalo kye eky’okungulu nja kuwona.’” Yali mutuufu. Yasemberera Yesu n’akwata ku kyambalo kye, era n’awonerawo. Wadde ng’abamu ku bantu abaaliwo baali balowooza nti ekyo omukyala oyo kye yakola kyali tekisaana, ye Yesu yamukwatirwa ekisa. * Mu ngeri ey’ekisa, Yesu yamugamba nti: “Omuwala, . . . wonera ddala obulwadde obubadde bukubonyaabonya.” Yesu yamanya obulumi omukyala oyo bwe yalimu, teyamukambuwalira, era teyamuswaza. Bwe kityo Yesu yakiraga nti yali muntu wa kisa.Makko 5:25-34.

Engeri abaami gye bayinza okukoppamu Yesu. Mukyala wo bw’aba teyeewulira bulungi, laga nti omufaako era beera mugumiikiriza. Gezaako okwessa mu bigere bye osobole okutegeera embeera gy’alimu. Ng’ekyokulabirako, Ricardo agamba nti “Bwe nkiraba nti mukyala wange anyiize, nneewala okwogera ebigambo ebiyinza okwongera okumunyiiza.”

Yesu yayogeranga n’abayigirizwa be. Lumu yabagamba nti: “Ebintu byonna bye nnawulira okuva eri Kitange mbibategeezezza.” (Yokaana 15:15) Kyo kituufu nti emirundi egimu Yesu yabeeranga yekka n’asaba. Naye emirundi mingi yabuuliranga abayigirizwa be ebyo ebyamuli ku mutima. Mu kiro ekyasembayo nga tannattibwa, yagamba abatume be nti yalina “ennaku ya maanyi.” (Matayo 26:38) Wadde ng’oluusi abayigirizwa be baakolanga ebintu ebyamunyiizanga, Yesu teyalekera awo kwogera nabo.Matayo 26:40, 41.

Omusajja bw’akoppa Yesu, asobola okuba omwami omulungi era omuzadde omulungi

Engeri abaami gye bayinza okukoppamu Yesu. Yogeranga ne mukyala wo omubuulire ekikuli ku mutima n’engeri gye weewuliramu. Abakyala abamu beemulugunya nti abaami baabwe bwe baba mu bantu boogera nnyo, kyokka bwe batuuka awaka basirika busirisi. Ku luuyi olulala, lowooza ku ngeri Ana gy’awuliramu omwami we bw’amubuulira ekimuli ku mutima. Agamba nti: “Ekyo kinkakasa nti anjagala nnyo, era nti ndi mukwano gwe ow’oku lusegere.”

Mukyala wo bw’aba akunyiizizza, weewale okusirika obusirisi ng’engeri y’okumubonereza. Omukyala omu agamba nti: “Omwami wange bwe yanyiiganga, yagaananga okwogera nange okumala ennaku eziwera. Muli nnawuliranga nga siri wa mugaso era nnawuliranga obuswavu.” Ku luuyi olulala, Edwin ye afuba okukoppa Yesu. Agamba nti: “Mukyala wange bw’annyiiza soogererawo ku kizibu ekyo, naye nfuna ekiseera ekituufu ne tulyoka tukyogerako.”

Joy, gwe twogeddeko ku ntandikwa y’ekitundu kino akirabye nti waliwo enkukakyuka omwami we z’akoze okuva Abajulirwa ba Yakuwa lwe baatandika okumuyigiriza Bayibuli. Joy agamba nti: “Kati afuba nnyo okukoppa Yesu mu kulaga okwagala.” Abafumbo bangi nnyo okwetooloola ensi yonna nabo baganyulwa mu nteekateeka y’emu ey’okuyigirizibwa Bayibuli. Naawe wandyagadde okuganyulwa mu nteekateeka eyo? Osobola okusaba omu ku Bajulirwa ba Yakuwa akuyigirize Bayibuli ku bwereere.

^ lup. 10 Okusinziira ku mateeka Katonda ge yawa Musa, omukyala oyo teyali mulongoofu olw’obulwadde bwe yalina, era omuntu yenna gwe yandikutteko teyandibadde mulongoofu.Eby’Abaleevi 15:19, 25.