Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Munno bw’Ataba Mwesigwa

Munno bw’Ataba Mwesigwa

Maria, abeera mu Spain yagamba nti: “Omwami wange bwe yaŋŋamba nti yali agenda kundekawo afune omukazi omulala akyali omuto, nnawulira nga njagala kufa. Nnalaba nga si kya bwenkanya, nnaddala bwe nnalowooza ku bye twali tuyiseemu.”

Bill, abeera mu Spain yagamba nti: “Mukyala wange bwe yandekaawo, nnawulira bubi nnyo. Enteekateeka zaffe zonna zaali zigootaanye. Waliwo ebiseera bye nnalowoozanga nti ngumye, kyokka oluusi nnaddangamu ne mmulowoozaako.”

MUKYALA wo oba omwami wo bw’ataba mwesigwa kiruma nnyo. Abafumbo abamu basalawo okusonyiwa bannaabwe ababa beetonze ne baddamu okukolagana obulungi. a Kyokka ne bwe basigala nga bafumbo oba nedda, oyo akitegedde nti munne tabadde mwesigwa gy’ali kimusigala ku mutima. Abantu ng’abo bayinza batya okugumira embeera eyo?

EBYAWANDIIKIBWA EBISOBOLA OKUKUYAMBA

Wadde nga wabaawo obulumi bungi ng’omu ku bafumbo si mwesigwa eri munne, bangi bafunye okubudaabudibwa okuva mu Byawandiikibwa. Bayize nti Katonda alaba amaziga ge bakaaba era nti amanyi obulumi bwe balina.​—Malaki 2:13-16.

“Bwe nnali nneeraliikirira nnyo, wambudaabuda era n’oŋŋumya.”​Zabbuli 94:19.

Bill agamba nti: “Bwe nnasoma olunyiriri olwo, nnawulira nga Yakuwa annyiga ebiwundu nga taata omusaasizi bwe yandikoze.”

“Eri omwesigwa oba mwesigwa.”​Zabbuli 18:25.

Carmen eyalina omwami ataali mwesigwa gy’ali agamba nti: “Omwami wange teyali mwesigwa gye ndi, naye nneesiga Yakuwa kubanga ye mwesigwa era tayinza kunjabulira.”

“Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga yonna mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga; era emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna gijja kukuuma emitima gyammwe.”​Abafiripi 4:6, 7.

Sasha agamba nti: “Nnasoma ennyiriri ezo enfunda n’enfunda, era gye nnakoma okusaba Katonda, naye gye yakoma okumpa emirembe.”

Abo bonna aboogeddwako waggulu oluusi baawuliranga nga baweddemu amaanyi. Naye beesiga Yakuwa Katonda era ne basoma Ekigambo kye ne basobola okufuna amaanyi. Bill agamba nti: “Okuba n’okukkiriza kyannyamba obutaggwaamu ssuubi, wadde nga nnali ng’afiiriddwa buli kimu. Oluusi nnawuliranga ng’atambulira “mu kiwonvu ekikutte enzikiza,” naye Katonda yali wamu nange.”​—Zabbuli 23:4.

a Bw’oba weebuuza obanga onoosonyiwa munno atabadde mwesigwa gy’oli oba nedda laba ebitundu ebirina omutwe, “When a Mate Is Unfaithful” (“Munno mu Bufumbo bw’Ataba Mwesigwa”) ebyafulumira mu Awake! eya Apuli 22, 1999.