Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AMAGEZI AGAYAMBA AMAKA | OBUFUMBO

Oyinza Otya Okulaga nti Ossaamu Munno Ekitiibwa?

Oyinza Otya Okulaga nti Ossaamu Munno Ekitiibwa?

OKUSOOMOOZA

Omwami omu agamba nti: “Bwe twafumbiriganwa, nze ne mukyala wange twalina endowooza za njawulo ku ngeri y’okuwaŋŋanamu ekitiibwa. Tekyali nti endowooza zaffe zaali nkyamu, naye zaali za njawulo. Muli nnali mpulira nti engeri mukyala wange gye yali ayogeramu nange yali eraga nti tanzisaamu kitiibwa.”

Mukyala we agamba nti: “Mu maka mmwe nnakulira twayogereranga waggulu era ng’osobola okusala omulala ekirimi. Ekyo tetwakitwalanga nti kiba butawa mulala kitiibwa. Naye embeera eyo eyawukanira ddala ku eyo omwami wange gye yakuliramu.”

Kikulu nnyo okuwaŋŋana ekitiibwa mu bufumbo. Naye oyinza otya okulaga nti owa munno ekitiibwa?

KY’OSAANIDDE OKUMANYA

Abasajja baagala nnyo okussibwamu ekitiibwa. Bayibuli egamba abasajja nti: “Buli omu ku mmwe agwanidde okwagalanga mukyala we nga bwe yeeyagala kennyini.” Era egamba nti: “Omukyala asaanidde okussaamu ennyo omwami we ekitiibwa.” (Abeefeso 5:33) Wadde ng’abasajja n’abakazi bonna baagala okwagalibwa n’okussibwamu ekitiibwa, abasajja be basinga okwagala okussibwamu ekitiibwa. Omwami omu ayitibwa Carlos * agamba nti: ‘Abasajja kibasanyusa nnyo ab’omu maka gaabwe bwe bakiraga nti babeesiga.’ Omukyala bw’awa omwami we ekitiibwa, kiganyula omwami we era naye kimuganyula. Omukyala ayitibwa Corrine agamba nti: “Bwe nkiraga nti omwami wange mussaamu ekitiibwa, yeeyongera okundaga okwagala.”

N’abakazi baagala okussibwamu ekitiibwa. Ekyo kikulu nnyo, kubanga omusajja tasobola kwagala mukazi gw’atassaamu kitiibwa. Omwami ayitibwa Daniel agamba: “Endowooza za mukyala wange nzitwala nga nkulu. Era nfaayo ku nneewulira ze. Ne bwe mba nga sitegedde nsonga lwaki yeewulira nga bw’aba yeewulira, nfaayo ku nneewulira ye.”

Abantu balina endowooza za njawulo ku ngeri y’okuwaamu abalala ekitiibwa. Kiki omukazi ayogeddwako wansi w’omutwe ogugamba nti “Okusoomooza” kye yayiga? Yayiga nti ekikulu si kwe kulowooza nti owa abalala ekitiibwa, wabula kwe kuba nti abalala bakiraba nti obawa ekitiibwa. Agamba nti: “Wadde nga nnali ndowooza nti engeri gye nnali nneeyisaamu yali teraga nti omwami wange nnali muyisaamu amaaso, okuba nti ye yali alowooza nti muyisaamu amaaso, kyalaga nti nnalina okubaako enkyukakyuka ze nkola.”

KY’OYINZA OKUKOLA

  • Wandiika ebintu bisatu ebikusanyusa ku mwami wo oba ku mukyala wo. Okufumiitiriza ku bintu ebyo kiyinza okukuyamba okwongera okussa ekitiibwa mu munno.

  • Okumala wiiki emu, weekebere (so si munno) mu nsonga zino wammanga.

Ebigambo byo. Okunoonyereza okumu kwalaga nti abafumbo abassa ennyo essira ku bunafu bwa bannaabwe batera okwawukana amangu okusinga abo abatera okussa essira ku birungi ebiri mu bannaabwe. *​—Amagezi okuva mu Bayibuli: Engero 12:18.

Weebuuze: ‘Engeri gye njogeramu n’omwami wange oba ne mukyala wange eraga nti mussaamu ekitiibwa? Ntera kumunenya oba kumusiima? Ddoboozi ki lye nkozesa nga njogera naye?’ Munno akkiriziganya n’ebyo by’ozzeemu?​—Amagezi okuva mu Bayibuli: Abakkolosaayi 3:13.

Gezaako kino: Teekawo ekiruubirirwa eky’okubaako waakiri ekintu kimu ky’osiima ku mwami wo oba ku mukyala wo buli lunaku. Amagezi: Ddamu olowooze ku bintu ebirungi by’oyagala ku munno by’owandiise. Gifuule mpisa yo okutegeezanga munno ebyo by’akola obulungi.​—Amagezi okuva mu Bayibuli: 1 Abakkolinso 8:1.

Engeri gye weeyisaamu. Omukyala ayitibwa Alicia agamba nti: “Mmala ebiseera bingi nga nkola emirimu gy’awaka, era omwami wange bwe yeewala okusuulasuula ebintu buli w’aba asanze oba bw’ayoza ebintu ebikyafu by’aba akozesezza kiba kiraga nti asiima ebyo bye nkola era nti antwala nga ndi wa muwendo.”

Weebuuze: ‘Engeri gye mpisaamu omwami wange oba mukyala wange eraga nti mussaamu ekitiibwa? Muwa obudde obumala era mmuwuliriza bulungi?’ Munno akkiriziganya n’ebyo by’ozzeemu?

Gezaako kino: Wandiika ebintu bisatu by’oyagala munno akole okulaga nti akussaamu ekitiibwa. Ne munno naye mugambe akole kye kimu. Oluvannyuma muwanyise ebyo bye muwandiise era buli omu afube okukola ku bintu munne by’awandiise. Ssa essira ku ebyo ggwe by’osaanidde okukolako mu kifo ky’ebyo munno by’asaanidde okukolako. Bw’ofuba okukola ku ebyo by’osaanidde okukolako, kiyinza okukubiriza ne munno okukola ku ebyo by’asaanidde okukolako.

^ lup. 8 Amannya agamu mu kitundu kino gakyusiddwa.

^ lup. 14 Ekitabo Ten Lessons to Transform Your Marriage.