Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuwa Munno mu Bufumbo Ekitiibwa

Okuwa Munno mu Bufumbo Ekitiibwa

Engeri Y’okufuna Essanyu Mu Maka

Okuwa Munno mu Bufumbo Ekitiibwa

Omwami ayitibwa Will * agamba nti: “Mukyala wange Rachel bw’anyiiga, akaaba okumala ekiseera kiwanvu. Bwe tutuula tukyogereko, aba munyiivu nnyo oba asirika busirisi, era tewali kalungi kavaamu. Mpulira nga njagala na kubivaako.”

Omukyala ayitibwa Rachel agamba nti: “Omwami wange Will we yakomeddewo awaka, nnabadde nkaaba. Nnagezezaako okumunnyonnyola ekyabadde kinkaabya, naye ye n’ansala ekirimi. Yaŋŋambye nti ekyo si kikulu nnyo, era nti nkiveeko. Ekyo kyayongedde kunnyiiza bunnyiiza.”

EMBEERA gy’olimu efaananako eya Will ne Rachel? Bombi baagala okuba n’empuliziganya ennungi, naye tebatera kukwatagana. Lwaki?

Abasajja n’abakazi boogera mu ngeri ya njawulo era balina ebyetaago bya njawulo. Abakazi batera okwagala okwogera ekibali ku mutima. Ku luuyi olulala, abasajja bangi bagezaako okugonjoola mangu ebizibu nga baagala okukuuma emirembe n’okwewala ebizibu ebirala eby’amaanyi ebiyinza okuvaamu. Wadde nga muli ba njawulo, kiki ekiyinza okukusobozesa okuba n’empuliziganya ennungi ne mwami wo oba ne mukyala wo? Kwe kuwa munno mu bufumbo ekitiibwa.

Omuntu bw’aba awa abalala ekitiibwa aba abatwala nga ba muwendo era aba afaayo okutegeera enneewulira yaabwe. Okuva mu buto, oyinza okuba nga wayiga okuwa ekitiibwa abantu abakusingako obukulu oba obumanyirivu. Kyokka, mu bufumbo kiyinza obutakubeerera kyangu kuwa kitiibwa muntu gwe wenkanankana naye​—omwami wo oba mukyala wo. Omukyala ayitibwa Linda, eyaakamala emyaka omunaana mu bufumbo agamba nti, “Nnali nkimanyi bulungi nti omwami wange Phil abantu abalala yabawulirizanga bulungi era yafaangayo okutegeera enneewulira yaabwe. Nange nnali njagala abe ng’ampuliriza mu ngeri y’emu.” Kiyinzika okuba nti mikwano gyo n’abantu abalala bootamanyi obawuliriza bulungi era oyogera nabo mu ngeri eraga nti obawa ekitiibwa. Naye, bw’otyo bw’okola ng’oyogera ne munno mu bufumbo?

Obutawaŋŋana kitiibwa buleetawo ebizibu mu maka era buvaamu enkaayana ez’amaanyi. Omufuzi omu ow’amagezi yagamba nti: “Akatono k’olya ng’olina emirembe, ne bwe kaba kaluma kakira embaga gy’oliira mu maka omuli okuyomba.” (Engero 17:1, Bayibuli y’Oluganda eya 2003) Bayibuli ekubiriza omwami okuwa mukyala we ekitiibwa. (1 Peetero 3:7) ‘Omukazi naye asaanidde okussaamu nnyo bbaawe ekitiibwa.’​—Abeefeso 5:33.

Oyinza otya okwogera ne munno mu ngeri eraga nti omuwa ekitiibwa? Lowooza ku gamu ku magezi ag’omuganyulo agali mu Bayibuli.

Munno mu Bufumbo bw’Aba Alina ky’Akugamba

Ekireetawo Okusoomooza: Abantu bangi baagala nnyo okwogera okusinga okuwuliriza. Ggwe omu ku bo? Bayibuli eraga nti omuntu “addamu nga tannawulira,” aba musirusiru. (Engero 18:13) N’olwekyo, nga tonnayogera, sooka owulirize. Lwaki? Omukyala ayitibwa Kara eyaakamala emyaka 26 mu bufumbo agamba nti, “Kinsanyusa nnyo omwami wange bw’atayanguyiriza kugonjoola bizibu byange. Ssandyagadde akkirize bukkiriza oba ateebereze ekiviiriddeko ebizibu ebyo. Mba njagala ampulirize bulungi era ategeere engeri gye mba nneewuliramu.”

Ku luuyi olulala, abasajja n’abakazi abamu balwawo okwogera ebibali ku mitima era kibayisa bubi bannaabwe mu bufumbo bwe babapikiriza okwogera engeri gye baba beewuliramu. Lorrie, eyali yaakafumbirwa, yakizuula nti omwami we alwawo okwogera ekimuli ku mutima. Agamba nti, “Nnina okuba omugumiikiriza, era n’okulinda okutuusa lw’ambuulira ekimuli ku mutima.”

Ekinaabayamba: Bwe kiba nti ggwe ne munno mu bufumbo mwetaaga okwogera ku kintu ekiyinza okuleetawo obutakkaanya, kyogereko nga mwembi muli bakkakkamu. Watya singa munno taba mwetegefu kukyogerako? Kimanye nti “omuntu by’alowooza, biringa amazzi agali mu luzzi oluwanvu; omutetenkanya ye agasenayo.” (Engero 20:5, Bayibuli y’Oluganda eya 2003) Bw’oyanguyiriza okusikayo amazzi g’oba osenye mu luzzi, ofiirwa amazzi mangi nnyo. Mu ngeri y’emu, bw’owaliriza munno okukubuulira ekimuli ku mutima, ayinza okutandika okwewolereza n’olemererwa okumanya engeri gye yeewuliramu. Mu kifo kyekyo, mubuuze ebibuuzo mu ngeri ey’omukwano era eraga nti omuwa ekitiibwa, era beera mugumiikiriza singa munno alwawo okwogera ekimuli ku mutima.

Munno mu bufumbo bw’atandika okwogera, ‘beera mwangu wa kuwuliriza, olwewo okwogera, olwewo okusunguwala.’ (Yakobo 1:19) Omuwuliriza omulungi takoma ku kuwuliriza buwuliriza na matu gokka naye era assaayo n’omwoyo. Munno bw’aba ayogera, gezaako okutegeera engeri gy’aba yeewuliramu. Engeri gy’owulirizaamu munno ng’ayogera ejja kumulaga oba nga omuwa ekitiibwa oba nedda.

Yesu yatuyigiriza engeri y’okuwulirizaamu. Ng’ekyokulabirako, omusajja omulwadde bwe yamutuukirira ng’amusaba obuyambi, Yesu teyagonjoolerawo kizibu kye. Okusooka, yawuliriza bulungi ekyo omusajja kye yali amusaba, ne kiba nti yakwatibwako. Oluvannyuma, n’alyoka amuwonya. (Makko 1:40-42) Munno mu bufumbo bw’aba ayogera, kola kye kimu. Kijjukire nti, yandiba ng’ayagala otegeere engeri gye yeewuliramu, so si kugonjoolerawo kizibu kye. N’olwekyo, muwulirize bulungi kikusobozese okuwulira nti okwatiddwako. Ng’omaze okukola ekyo, kola ku byetaago bya munno. Bw’onookola bw’otyo, ojja kulaga nti owa munno ekitiibwa.

GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Omulundi oguddako munno mu bufumbo bw’anaaba ayogera naawe, weewale okumusala ekirimi. Muwulirize okutuusa ng’amaze okwogera era ng’otegedde bulungi ky’akugamba. Nga wayiseewo ekiseera, mutuukirire omubuuze nti, “Muli owulira nti nnakuwulirizza bulungi?”

Bw’Oba Olina ky’Omugamba

Ekireetawo Okusoomooza: Linda, eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Programu ezimu ezibeera ku ttivi zireetera omuntu okulowooza nti kya bulijjo okwogera obubi ku munno mu bufumbo, okwogera oba okukola ebimulumya, n’okumukiina.” Abamu bakulira mu maka omuli abantu abaamanyiira okwogera mu ngeri etaweesa balala kitiibwa. Bwe bayingira obufumbo, bakisanga nga kizibu okwewala okwogera mu ngeri eyo mu maka gaabwe. Omukyala ayitibwa Ivy, abeera mu Canada, agamba nti: “Gye nnakulira, kyali kya bulijjo okukiina, okuyomba, n’okuyita omuntu amanya agamufeebya.”

Ekinaabayamba: Bw’oba oyogera ku munno mu bufumbo, mwogereko “ekirungi ekizimba abalala nga bwe kiba kyetaagisa, kisobole okuganyula abawuliriza.” (Abeefeso 4:29) Yogera ku munno mu ngeri eneereetera abalala okumuwa ekitiibwa.

Ne bwe muba nga muli mwekka, weewale okukiina munno n’okumuyita amanya agamufeebya. Mu Isiraeri ey’edda, Mikali yanyiigira bba, Kabaka Dawudi. Yamukiina era n’agamba nti yali yeeyisizza “ng’omu ku basajja abataliiko kye bagasa.” Ebigambo bye tebyanyiiza Dawudi yekka, naye era byanyiiza ne Katonda. (2 Samwiri 6:20-23) Kiki kye tuyigamu? Bw’oba oyogera ne munno, weegendereze ebigambo by’okozesa. (Abakkolosaayi 4:6) Omwami ayitibwa Phil, eyaakamala emyaka munaana mu bufumbo, agamba nti obutakkaanya tebubulawo mu maka, era nga ye ne mukyala we oluusi babufuna. Akyetegerezza nti ebiseera ebimu, by’ayogera byonoona bwonoonyi mbeera. Agamba nti: “Nkitegedde nti okuwakana olw’okwagala okulaga ani mutuufu, kyongera kwonoona nkolagana yaffe. Nkizudde nti kya muganyulo nnyo okuzimba enkolagana yaffe.”

Nnamwandu omu omukadde ow’omu biseera eby’edda, yakubiriza baka batabani be ‘okufuna okuwummula buli omu mu nnyumba ya bba.’ (Luusi 1:9) Omwami n’omukyala bwe bawaŋŋana ekitiibwa, bafuula amaka gaabwe ekifo ‘eky’okuwummuliramu.’

GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Ggwe ne munno mu bufumbo, mufune ekiseera mukubaganye ebirowoozo ku magezi agabaweereddwa waggulu. Munno mubuuze nti: “Bwe mba nkwogerako mu bantu, muli owulira nti nkwogerako mu ngeri ekuweesa ekitiibwa oba nkufeebya? Wa we nneetaaga okulongoosaamu?” Wuliriza bulungi nga munno akuddamu. Gezaako okukolera ku ebyo by’akugambye.

Kkiriza Engeri za Munno n’Endowooza gy’Alina Ebyawukana ku Bibyo

Ekireetawo Okusoomooza: Abantu abamu abaakafumbiriganwa bakitwala nti Bayibuli bw’egamba nti bajja kuba “omubiri gumu,” kiba kitegeeza nti bombi bateekwa okuba n’endowooza emu oba n’engeri ze zimu. (Matayo 19:5) Kyokka, oluvannyuma bakizuula nti endowooza ng’eyo eba nkyamu. Bwe bamala okufumbiriganwa, beesanga nga balina endowooza za njawulo n’engeri ez’enjawulo era ng’ekyo kitera okuleetawo enkaayana. Linda agamba nti: “Ekimu ku bintu ebikulu bye tutafaanaganya na mwami wange Phil kwe kuba nti bwe wabaawo ensonga eyeetaaga okukolwako, ye taba mweraliikirivu nga nze. Emirundi egimu, ye aba ng’atakitutte ng’ekikulu. Ekyo kinnyiiza kubanga aba alabika ng’ateefiirayo ate nga nze kiba kinneeraliikiriza.”

Ekinaabayamba: Kkiriza nti gwe ne munno muli ba njawulo, era muwaŋŋane ekitiibwa wadde nga mulina ebintu bye mutafaanaganya. Ng’ekyokulabirako, amaaso go n’amatu go bikola ebintu bya njawulo; naye ate bikolaganira wamu n’oba ng’osobola okusala obulungi oluguudo. Adrienne, eyaakamala emyaka ng’asatu mu bufumbo agamba nti: “Bwe kiba nti endowooza zaffe za njawulo naye nga tezikontana na Kigambo kya Katonda, nze n’omwami wange buli omu takalambira ku ndowooza ye. Ggwe ate oba, eky’okuba nti tuli bafumbo, tekitegeeza nti tufaanaganira ddala.”

Munno mu bufumbo bw’aba ng’alina endowooza ey’enjawulo ku yiyo, leka kufaayo ku ebyo by’oyagala byokka. Faayo ku nneewulira ya munno. (Abafiripi 2:4) Kyle, bba wa Adrienne agamba nti: “Emirundi egimu nnemererwa okutegeera endowooza ya mukyala wange oba okukkiriziganya naye ku bintu ebimu. Naye mmala ne nzijukira nti mmwagala okusinga ekyo kye mba njagala okukola. Bw’aba omusanyufu, nange mba musanyufu.”

GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Wandiika olukalala lw’ebiteeso munno by’alina ebisinga ku bibyo obulungi oba engeri esinga ku yiyo munno gy’akwatamu ensonga ezitali zimu. (Abafiripi 2:3)

Okuwaŋŋana ekitiibwa kye kimu ku bintu ebisinga obukulu ebijja okusobozesa obufumbo bwammwe okubaamu essanyu n’okuwangaala. Omukyala ayitibwa Linda agamba nti: “Okuwaŋŋana ekitiibwa kireetera abafumbo okuba abamativu era n’okwesigaŋŋana. Kya muganyulo nnyo okuwaŋŋana ekitiibwa.”

[Obugambo obuli wansi]

^ Amannya gakyusiddwa.

WEEBUUZE . . .

▪ Engeri n’endowooza munnange by’alina ebyawukana ku byange biganyudde bitya amaka gaffe?

▪ Lwaki kirungi okukkiriziganya ne munnange bwe kiba nti ky’alowooza tekikontana na misingi gya Bayibuli?