Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AMAGEZI AGAYAMBA AMAKA | OBUFUMBO

Engeri gy’Oyinza Okulaga nti Osiima

Engeri gy’Oyinza Okulaga nti Osiima

OBUZIBU

Omwami n’omukyala bwe baba ab’okuba n’obufumbo obulimu essanyu, buli omu alina okulaga nti asiima ebyo munne by’akola. Eky’ennaku kiri nti abasajja bangi n’abakazi bangi ekiseera bwe kigenda kiyitawo balekera awo okulaba ebirungi mu bannaabwe, era balekera awo n’okulaga nti basiima ebirungi bannaabwe bye bakola. Mu kitabo ekiyitibwa Emotional Infidelity, omukugu omu ku nsonga z’amaka yagamba nti: “Abafumbo abatera okujja okunneebuuzaako, okusingira ddala, batera kwemulugunya ku ebyo bannaabwe mu bufumbo bye batakola. Abafumbo abasinga obungi beemulugunya nti bannaabwe tebasiima ebyo bye bakola.”

Ggwe ne munno muyinza mutya okwewala embeera eyo?

KY’OLINA OKUMANYA

Okusiima kimalawo obunkenke mu maka. Omwami n’omukyala buli omu bw’akiraga nti asiima ebirungi munne by’akola, enkolagana yaabwe yeeyongera okunywera. Mu butuufu, singa waliwo obunkenke bwonna mu maka, busobola okuggwaawo singa buli omu akiraba nti munne asiima by’akola.

Eri abakyala. Ekitabo ekiyitibwa Emotional Infidelity kigamba nti “Abakazi bangi babuusa amaaso obuzibu basajja baabwe bwe bayitamu okulabirira ab’omu maka gaabwe.” Abasajja batera okweraliikirira ennyo ne bwe kiba nti bakyala baabwe nabo bakola.

Eri abaami. Abasajja batera okubuusa amaaso emirimu bakyala baabwe gye bakola awaka, gamba ng’okulabirira abaana n’okuyonja awaka. Fiona, * amaze emyaka ng’esatu mu bufumbo agamba nti: “Ffenna tukola ensobi, era bwe nkola ensobi kimpisa bubi. N’olwekyo, omwami wange bw’ansiima olw’ebirungi bye mba nkoze, gamba olw’emirimu gye mba nkoze awaka, kindeetera okuwulira nti akyanjagala wadde nga nkola ensobi. Era ekyo kindeetera okuwulira obulungi!”

Kyokka singa omwami oba omukyala awulira nti munne tasiima by’akola, kisobola okuteeka obufumbo bwabwe mu kabi. Omukyala ayitibwa Valerie agamba nti: “Munno bw’aba tasiima by’okola, kyangu okutwalirizibwa omuntu omulala asiima by’okola.”

KY’OYINZA OKUKOLA

Fuba Okwetegereza. Mu nnaku omusanvu eziddako, weetegereze engeri ennungi munno mu bufumbo z’ayoleka. Ate era weetegereze ebintu by’akola okusobozesa amaka gammwe okutambula obulungi, nga mw’otwalidde n’ebyo bulijjo by’obadde totwala ng’ebikulu. Ku nkomerero ya wiiki wandiika olukalala (1) olw’engeri ennungi munno z’ayoleka (2) n’olw’ebintu by’akoze ebiyambye amaka gammwe.Amagezi okuva mu Bayibuli: Abafiripi 4:8.

Lwaki kikulu okwetegereza? Omukyala ayitibwa Erika agamba nti: “Emyaka bwe gigenda giyitawo, kyangu okutandika okubuusa amaaso ebintu ebirungi omwami wo oba mukyala wo by’akola, essira n’otandika okulissa ku ebyo by’atakola.”

Weebuuze: ‘Emirimu mukyala wange oba omwami wange gy’akola ngitwala nga mikulu?’ Ng’ekyokulabirako, watya singa omwami wo aliko ekintu ekibadde ky’onoonese ky’akanise; tofaayo kumwebaza oboolyawo ng’ogamba nti ekyo abadde alina okukikola? Ate bw’oba omwami; teweebaza mukyala wo olw’ebyo by’akola okulabirira abaana bammwe oboolyawo ng’ogamba nti emirimu egyo alina okugikola? Fuba okwetegereza ebintu ebirungi munno by’akola okuyamba amaka gammwe, ka bibe binene oba bitono.Amagezi okuva mu Bayibuli: Abaruumi 12:10.

Kirage nti Osiima. Bayibuli tetugamba bugambi kusiima balala, wabula etukubiriza okukiraga nti tusiima abalala. (Abakkolosaayi 3:15) N’olwekyo, gifuule mpisa yo okwebazanga munno. Omwami ayitibwa James agamba nti, “Mukyala wange bw’akiraga nti asiima bye nkola, kinkubiriza okwongera okukola kyonna ekisoboka okuba omwami omulungi n’okunyweza obufumbo bwaffe.”Amagezi okuva mu Bayibuli: Abakkolosaayi 4:6.

Omwami n’omukyala buli omu bw’aba ng’asiima munne olw’ebirungi by’akola, enkolagana yaabwe yeeyongera okunywera. Omwami ayitibwa Michael agamba nti: “Singa abafumbo bonna essira balissa ku birungi bannaabwe bye bakola, obufumbo bungi bwandibadde tebusasika. Bwe bandifunyenga ebizibu, tebandirowoozezzanga ku kya kwawukana, kubanga bulijjo bandibadde bajjukira ebirungi bannaabwe bye bakola.”

^ lup. 9 Amannya agamu gakyusiddwa.