Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’EKKUMI N’EBBIRI

Katonda We Yamugumya

Katonda We Yamugumya

1, 2. Biki ebyaliwo ku lunaku olwo olwali olw’ebyafaayo mu bulamu bwa Eriya?

ERIYA yali adduka ng’agenda e Yezuleeri. Enkuba yali ekyatonnya era n’obudde bwali bugenda bukwata, naye olugendo olwali lukyasigaddeyo lwali luwanvu ddala. Wadde nga yali musajja mukadde yadduka awatali kuwummulamu, olw’okuba ‘omukono gwa Yakuwa’ gwamuliko. Amaanyi ge yali awulira yali tabangako nago. Ggwe ate oba yadduka n’ayisa n’eggaali lya Kabaka Akabu eryali lisikibwa embalaasi!Soma 1 Bassekabaka 18:46.

2 Kuba akafaananyi ng’adduka, nga bw’afumiitiriza ku byali bibaddewo ku lunaku olwo. Yakuwa Katonda wa Eriya yali yeeraze nga ye Katonda agwanidde okusinzibwa. Mu kiseera ekyo Eriya yali takyasobola kulengera Lusozi Kalumeeri olw’okuba ebire byali birusiikirizza. Yakuwa yali azzeemu okusaba kwe ku lusozi olwo n’akola ekyamagero ekyalaga nti Bbaali yali katonda wa bulimba, era ne bannabbi ba Bbaali bangi baali battiddwa. Oluvannyuma Eriya yasaba Yakuwa akomye ekyeya ekyali kimaze emyaka esatu n’ekitundu, era Yakuwa yaddamu okusaba okwo n’atonnyesa enkuba!1 Bassek. 18:18-45.

3, 4. (a) Bwe yali agenda e Yezuleeri, lwaki Eriya ayinza okuba nga yali asuubira nti embeera mu Isiraeri yali egenda kulongooka? (b) Biki bye tugenda okulaba?

3 Eriya bwe yali adduka mayiro ezo 19 okugenda e Yezuleeri, ayinza okuba nga yali asuubira nti embeera mu Isiraeri yali egenda kulongooka. Ateekwa okuba nga yali asuubira nti ebyo Akabu bye yali alabye byali bigenda kumuleetera okukyusaamu alekere awo okusinza Bbaali, era akome ne ku mukazi we Yezeberi n’abalala abaali bayigganya abaweereza ba Yakuwa.

‘Eriya yadduka ng’akulembeddemu Akabu okutuukira ddala awayingirirwa e Yezuleeri’

4 Ebintu bwe biba bitugendera bulungi, mu kiseera ekyo tuyinza n’obutakirowoozaako nti embeera esobola okukyuka. Eriya bw’aba nga yalina endowooza ng’eyo, tekyewuunyisa, kubanga naye “yali muntu nga ffe.” (Yak. 5:17) Kyokka nno ebizibu bya Eriya byali bigenda kweyongera bweyongezi. Mu butuufu oluvannyuma lw’ekiseera kitono nnyo, Eriya yafuna entiisa ey’amaanyi n’aggweramu ddala amaanyi era n’awulira ng’ayagala na kufa. Kiki ekyamutuukako, era Yakuwa yakola ki okumuyamba okuddamu amaanyi n’okunyweza okukkiriza kwe? Ka tulabe.

Waaliwo Ebyali Bitasuubirwa

5. Ebyo ebyali bibaddewo ku Lusozi Kalumeeri byali biyigirizza Akabu okutya Yakuwa?

5 Akabu bwe yatuuka mu lubiri lw’e Yezuleeri, alina kyonna kye yakola ekyalaga nti yali akyusizza amakubo ge amabi? Bayibuli egamba nti: “Awo Akabu n’abuulira Yezeberi byonna Eriya bye yakola era [ne] bwe yatta bannabbi bonna n’ekitala.” (1 Bassek. 19:1) Weetegereze nti Akabu bwe yali ayogera ku byali bibaddewo ku lunaku olwo, Yakuwa, Katonda wa Eriya teyamwogerako. Olw’okuba Akabu ebintu yali abitunuulira mu ngeri ya mubiri, ye yakitwala nti eby’amagero ebyali bibaddewo ‘Eriya ye yali abikoze.’ Kyeyoleka kaati nti Akabu yali tayize kutya Yakuwa. Ate ye Yezeberi yakola ki nga bamubuulidde ebyali bibaddewo?

6. Bubaka ki Yezeberi bwe yasindikira Eriya, era bw’alina makulu ki?

6 Yezeberi yeecwacwana! Yasindikira Eriya obubaka obugamba nti: ‘Bakatonda bankole bwe batyo n’okukirawo, enkya mu kiseera nga kino bwe siifuule bulamu bwo kuba ng’obulamu bwa buli omu ku bo.’ (1 Bassek. 19:2) Yezeberi yeewerera okutta Eriya. Yagamba nti singa yandiremereddwa okumutta enkeera ng’obudde tebunnaziba ye kennyini yali wa kufa. Yali ayagala kumutta olw’okuba yali asse bannabbi ba Bbaali. Kuba akafaananyi ng’omubaka atuuse Eriya gye yali asuze ekiro ekyo, n’amuzuukusa n’amutegeeza obubaka obwo obw’entiisa. Obubaka obwo bwamuyisa butya?

Yatya Nnyo

7. Eriya yawulira atya bwe yakitegeera nti Yezeberi yali ayagala kumutta, era yakola ki?

7 Eriya bw’aba nga yali alowooza nti olutalo olw’okusaanyaawo okusinza Bbaali lwali luwedde, mu kaseera ako yakitegeera nti si bwe kyali. Yezeberi yali tannapondooka. Yali amaze okutta bannabbi abalala abeesigwa bangi era nga kirabika Eriya gwe yali agenda okuzzaako. Eriya yawulira atya ng’akitegedde nti Yezeberi yali ayagala kumutta? Bayibuli egamba nti: ‘Yatya nnyo.’ Eriya yandiba nga yalowooza ku ngeri ey’obukambwe Yezeberi gye yali agenda okumuttamu? Bwe kiba kityo, tekyewuunyisa nti yatya nnyo. Ka kibe ki kye yali alowooza, Eriya ‘yadduka okutaasa obulamu bwe.’1 Bassek. 18:4; 19:3, NW.

Bwe tuba twagala okusigala nga tuli bavumu, tetusaanidde kumalira birowoozo byaffe ku bintu ebituleetamu okutya

8. (a) Peetero yalina kizibu ki ekifaananako ekya Eriya? (b) Kiki kye tuyigira ku Peetero ne Eriya?

8 Eriya si ye muweereza wa Yakuwa yekka eyatya ekisukkiridde. Nga wayiseewo ebyasa bingi, omutume Peetero naye yayolekagana n’ekizibu kye kimu. Ng’ekyokulabirako, Yesu bwe yamugamba okutambulira ku mazzi, Peetero “yatunuulira omuyaga” n’atya n’atandika okubbira. (Soma Matayo 14:30.) Tulina kye tuyigira ku Eriya ne Peetero. Bwe tuba twagala okusigala nga tuli bavumu, tetusaanidde kumalira birowoozo byaffe ku bintu ebiyinza okutuleetamu okutya. Ebirowoozo byaffe tusaanidde kubissa ku Yakuwa ensibuko y’amaanyi gaffe.

‘Kimala!’

9. Eriya yaddukira wa, era yali awulira atya?

9 Olw’okutya, Eriya yadduka n’agenda e Beeruseba, akabuga akaali okumpi n’ensalo ya Yuda ey’ebukiikaddyo, era nga kaali mayiro nga 95 okuva e Yezuleeri. Eyo gye yaleka omuweereza we, ye ne yeeyongerayo mu ddungu yekka. Bayibuli egamba nti yatambula ‘olugendo lwa lunaku lumu.’ Olugendo olwo ayinza okuba nga yalutandika ku makya nnyo, era ayinza okuba nga teyatwala kya kulya kyonna wadde eky’okunywa. Ng’ali eyo mu ddungu ng’omusana gumwokya, Eriya yali amala gatambula era nga mwennyamivu. Enjuba yagenda okugwa, ng’amaanyi gamuweddemu era yasalawo okutuula wansi w’akati.1 Bassek. 19:4.

10, 11. (a) Ebigambo Eriya bye yakozesa mu ssaala ye bitegeeza ki? (b) Ebyawandiikibwa ebiragiddwa biraga bitya engeri abamu ku baweereza ba Yakuwa gye baawuliramu nga bafunye ebizibu eby’amaanyi?

10 Eriya yawulira nga yeetamiddwa obulamu era bw’atyo n’asaba afe. Yagamba nti: ‘Sisinga bajjajjange bulungi.’ Yali akimanyi nti bajjajjaabe abaafa baali baafuuka dda nfuufu, era nga tebalina kirungi kyonna kye basobola kukolera muntu. (Mub. 9:10) Eriya naye yawulira nga takyalina mugaso. Tekyewuunyisa nti yagamba nti: ‘Kimala!’ Yali talaba nsonga lwaki yeeyongera okuba omulamu.

11 Kyanditwewuunyisizza nti omuweereza wa Katonda oyo yennyamira okutuuka awo? Nedda. Waliwo n’abaweereza ba Katonda abalala Bayibuli b’eyogerako abennyamira ennyo ne batuuka n’okwagala okufa. Mu abo mwe muli Lebbeeka, Yakobo, Musa, ne Yobu.Lub. 25:22; 37:35; Kubal. 11:13-15; Yob. 14:13.

12. Bw’ofuna ebizibu ebikuleetera okwennyamira, oyinza otya okukoppa Eriya?

12 Olw’okuba tuli mu ‘biseera ebizibu,’ abantu bangi, nga mw’otwalidde n’abaweereza ba Katonda abeesigwa, bafuna ebizibu ebibaleetera okwennyamira. (2 Tim. 3:1) Bwe weesanga mu mbeera ng’eyo, koppa Eriya; tegeeza Katonda byonna ebikuli ku mutima. Bayibuli egamba nti Yakuwa ye “Katonda ow’okubudaabuda kwonna.” (Soma 2 Abakkolinso 1:3, 4.) Yabudaabuda Eriya?

Yakuwa Yawa Nnabbi We Amaanyi

13, 14. (a) Yakuwa yakiraga atya nti yali afaayo ku muweereza we eyali omwennyamivu ennyo? (b) Lwaki kizzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa amanyi byonna ebitukwatako nga mw’otwalidde n’obusobozi bwaffe?

13 Olowooza Yakuwa yawulira atya bwe yayima mu ggulu n’alaba nnabbi we oyo omwesigwa ng’agalamidde wansi w’akati mu ddungu ng’asaba afe? Tekitwetaagisa na kuteebereza. Otulo nga tumaze okutwala Eriya, Yakuwa yamusindikira malayika. Malayika yakwata ku Eriya n’amugamba nti: “Golokoka olye.” Eriya yagolokoka n’alya. Malayika yali amuleetedde omugaati n’amazzi. Eriya yeebaza malayika oyo? Bayibuli tetubuulira; egamba bugambi nti Eriya yalya n’anywa n’addawo ne yeebaka. Yandiba nga yali talina googera? Ekituufu tetukimanyi, naye malayika yamuzuukusa omulundi ogw’okubiri, oboolyawo ng’obudde bukya, n’amugamba nti, “Golokoka olye; kubanga olugendo lukuyinze obunene.”1 Bassek. 19:5-7.

14 Katonda yasobozesa malayika we okutegeera wa Eriya gye yali agenda, era malayika oyo yali akimanyi nti Eriya yali tayinza kutambula lugendo olwo mu maanyi ge. Nga kizzaamu amaanyi okukimanya nti tuweereza Katonda ategeera obulungi ebiruubirirwa byaffe era n’obusobozi bwaffe! (Soma Zabbuli 103:13, 14.) Emmere eyo Eriya gye yalya yamuyamba etya?

15, 16. (a) Emmere Yakuwa gye yawa Eriya yamusobozesa kukola ki? (b) Lwaki tusaanidde okusiima emmere ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atuwa leero?

15 Bayibuli egamba nti: “N’agolokoka n’alya n’anywa, n’atambula mu maanyi ag’emmere eyo ennaku amakumi ana emisana n’ekiro n’atuuka e Kolebu olusozi lwa Katonda.” (1 Bassek. 19:8) Okufaananako Musa ne Yesu, Eriya naye yasiiba ennaku 40. (Kuv. 34:28; Luk. 4:1, 2) Emmere eyo gye yalya teyaggyawo bizibu bye byonna, naye yamubeesaawo okumala ekiseera kiwanvu. Mukube akafaananyi ng’atambula okumala omwezi nga gumu n’ekitundu mu ddungu!

16 Leero Yakuwa awa abaweereza be amaanyi okuyitira mu mmere ey’eby’omwoyo. (Mat. 4:4) Bwe tuyiga ebikwata ku Katonda mu Kigambo kye ne mu bitabo ebinnyonnyola Bayibuli, tunywezebwa mu by’omwoyo. Kyo kituufu nti okulya emmere ey’eby’omwoyo tekiggyawo bizibu byaffe byonna, naye kituyamba okugumira ebyo bye tutandisobodde kugumira. Ate era kijja kutusobozesa okufuna “obulamu obutaggwaawo.”Yok. 17:3.

17. Wa Eriya gye yagenda, era lwaki ekifo gye yagenda kyali kya byafaayo?

17 Eriya yatambula mayiro nga 200 okutuuka ku Lusozi Kolebu. Ekifo kino kyali kya byafaayo, kubanga eyo Yakuwa Katonda gye yalabikira Musa mu kisaka ekyali kyaka omuliro ng’ayitira mu malayika. Era eyo Yakuwa gye yakolera n’abaana ba Isiraeri endagaano. Nga Eriya atuuse ku lusozi olwo, yayingira mu mpuku n’abeera omwo.

Engeri Yakuwa Gye Yagumyamu Nnabbi We

18, 19. (a) Kibuuzo ki malayika kye yabuuza Eriya, era yakiddamu atya? (b) Eriya yawa nsonga ki essatu ezaamuviirako okwennyamira?

18 Nga Eriya ali mu Kolebu, “ekigambo” kya Yakuwa kyajja gy’ali, era nga kirabika malayika ye yakireeta. Yawulira eddoboozi nga limubuuza nti: “Okola ki wano, Eriya?” Ekibuuzo ekyo kirabika kyabuuzibwa mu ngeri ey’ekisa, olw’okuba Eriya yasobola okwogera ekyamuli ku mutima. Yagamba nti: “Nkwatiddwa obuggya bungi ku lwa Mukama Katonda ow’eggye; kubanga abaana ba Isiraeri balese endagaano yo, basudde ebyoto byo, era basse bannabbi bo n’ekitala: nange, nze nzekka, nze nsigaddewo; n’obulamu bwange babunoonya okubuggyawo.” (1 Bassek. 19:9, 10) Ebigambo bya Eriya biraga nti waliwo ensonga ssatu ezaamuleetera okwennyamira.

19 Esooka, Eriya yawulira nti obuweereza bwe bwali tebuvuddeemu kirungi kyonna. Yali amaze emyaka mingi ng’alina “obuggya bungi,” kwe kugamba, ng’aweereza Yakuwa n’obunyiikivu, era ng’erinnya lya Katonda n’okusinza okw’amazima bye bintu ebyali bisinga obukulu mu bulamu bwe. Embeera yali yeeyongera bweyongezi kwonooneka. Abantu baali bajeemu nga tebalina kukkiriza, era nga n’okusinza okw’obulimba kweyongera kutinta. Ensonga ey’okubiri, Eriya yali awulira nti yali asigadde yekka. Yagamba nti, “nze nzekka, nze nsigaddewo.” Kirabika Eriya yali alowooza nti ye muntu yekka mu ggwanga lya Isiraeri eyali akyaweereza Yakuwa. Ensonga ey’okusatu, Eriya yakiraga nti yalina okutya olw’okuba bannabbi ba Yakuwa bangi baali battiddwa, era ng’amanyi nti ye yali addako. Wadde nga kiyinza okuba nga tekyamwanguyira kwogera ekyamuli ku mutima, teyakkiriza malala oba kutya kuswala kumulemesa kukyogera. Yeeyabiza Yakuwa era bw’atyo n’ateerawo abaweereza ba Yakuwa bonna ekyokulabirako ekirungi.Zab. 62:8.

20, 21. (a) Biki ebyaliwo nga Eriya ali ku mulyango gw’empuku ku Lusozi Kolebu. (b) Ebintu ebyo byayamba Eriya kutegeera ki?

20 Yakuwa yakola ki okuyamba Eriya? Malayika yagamba Eriya ayimirire ku mulyango gw’empuku. Eriya yakola bw’atyo, naye nga tamanyi kiki kyali kigenda kuddirira. Embuyaga yatandika okukunta! Eteekwa okuba nga yali ya maanyi nnyo kubanga yayasaamu ensozi n’enjazi. Mukube akafaananyi nga yeebisse mu maaso olw’embuyaga ey’amaanyi eyali ekunta, ng’eno bw’akwatiridde ekyambalo kye empewo kye yali ewujja. Oluvannyuma musisi yayita era Eriya yalina okwenyweza aleme kugwa olw’okuba ettaka lyali likankana ennyo. Entiisa ya musisi yali tennamuggwamu, ne wayitawo omuliro ogwali gubumbujja, era Eriya yayingira munda mu mpuku olw’ebbugumu eringi.1 Bassek. 19:11, 12.

Yakuwa yakozesa amaanyi ge ag’ekitalo okugumya Eriya

21 Bayibuli etugamba nti Yakuwa teyali mu mbuyaga, teyali mu musisi, era teyali mu muliro. Eriya yali akimanyi nti Yakuwa si Katonda eyeeyolekera mu maanyi g’obutonde, nga Bbaali bwe yatwalibwanga okuba. Abantu abaali basinza Bbaali bamutwalanga okuba nti ye yali “atambuza ebire,” era nti ye yaleetanga enkuba. Yakuwa ye nsibuko y’amaanyi gonna agali mu butonde, naye asingira wala nnyo ebintu bye yakola. Ggwe ate oba n’eggulu taligyamu! (1 Bassek. 8:27) Kati olwo ebyo byonna byayamba bitya Eriya? Kijjukire nti yalimu okutya. Naye ebintu ebyo byonna byakyoleka nti Yakuwa Katonda eyali ku ludda lwe wa maanyi nnyo, n’olwekyo yali tasaanidde kutya Akabu ne Yezeberi!Soma Zabbuli 118:6.

22. (a) ‘Eddoboozi ettono ery’eggonjebwa’ lyakakasa litya Eriya nti yali wa muwendo? (b) ‘Eddoboozi ettono ery’eggonjebwa’ liyinza okuba nga lyali ly’ani? (Laba obugambo obuli wansi.)

22 Ng’omuliro gumaze okuggwawo, waaliwo akasiriikiriro, era Eriya yawulira ‘eddoboozi ettono ery’eggonjebwa.’ Eddoboozi eryo lyamubuuza ekibuuzo, era n’ayanukula. * Ne ku mulundi guno Eriya yayogera ekyamuli ku mutima, era oboolyawo ekyo kyamuleetera okweyongera okuwulira obuweerero. Ebyo ‘eddoboozi ettono ery’eggonjebwa’ bye lyamugamba birina okuba nga byamubudaabuda nnyo. Yakuwa yamukakasa nti yali amutwala nga wa muwendo nnyo. Yamugamba ki? Yamubuulira bye yali agenda okukola okumalawo okusinza kwa Bbaali mu Isiraeri. Ekyo kyalaga nti Eriya bye yali akoze byali tebibadde bya bwereere, kubanga Katonda yali akyagenda mu maaso n’okulwanyisa okusinza kwa Bbaali. Ate era Yakuwa yakiraga nti yali akyakozesa omuweereza we oyo, kubanga alina ebirala bye yamutuma okukola okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye eky’okumalawo okusinza kwa Bbaali mu Isiraeri.1 Bassek. 19:12-17.

23. Bintu ki ebibiri Yakuwa bye yagamba Eriya okumuyamba okukitegeera nti yali tasigadde yekka?

23 Yakuwa yakola ki okugumya Eriya eyali alowooza nti yali asigadde yekka? Yakola ebintu bibiri. Ekisooka, yamugamba agende afuke amafuta ku Erisa abe nnabbi eyali ow’okumuddira mu bigere. Erisa eyali omuto ku Eriya yali agenda kuweerereza wamu naye okumala emyaka mingi. Kino nga kyali kijja kuyamba nnyo Eriya! Eky’okubiri, Yakuwa yagamba Eriya ebigambo ebizzaamu amaanyi. Yamugamba nti: ‘Nneesigalizza akasanvu mu Isiraeri, amaviivi gonna agataafukaamirira Bbaali, na buli kamwa akataamunywegera.’ (1 Bassek. 19:18) Eriya yali tasigadde yekka nga bwe yali alowooza. Waaliwo abantu bangi abaali baagaana okusinza Bbaali, era ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okukiwulira. Eriya bwe yandyeyongedde okuweereza Yakuwa n’obwesigwa, yandibadde abateerawo ekyokulabirako ekirungi mu biseera ebyo ebyali ebizibu ennyo. Ng’ateekwa okuba nga yaddamu nnyo amaanyi bwe yawulira ebigambo ebyamugambibwa ‘eddoboozi ettono ery’eggonjebwa!’

Bayibuli eba ‘ng’eddoboozi ettono ery’eggonjebwa’ Eriya lye lyawulira bwe tufaayo okugoberera obulagirizi bw’etuwa ky’etugamba

24, 25. (a) Tuyinza tutya okuwuliriza ‘eddoboozi ettono ery’eggonjebwa’ eriva ewa Yakuwa? (b) Lwaki tuyinza okugamba nti ebyo Yakuwa bye yagamba Eriya byamuzzaamu amaanyi?

24 Okufaananako Eriya, naffe tuyinza okuwuniikirira bwe tulaba ebintu ebyoleka amaanyi g’Omutonzi. Obutonde bwoleka amaanyi ga Yakuwa. (Bar. 1:20) Yakuwa ayagala nnyo okukozesa amaanyi ge amangi ennyo okuyamba abaweereza be abeesigwa. (2 Byom. 16:9) Kyokka okusingira ddala atuyamba ng’akozesa Ekigambo kye Bayibuli. (Soma Isaaya 30:21.) Yakuwa akozesa Bayibuli okutuluŋŋamya, okutugolola, okutuzzaamu amaanyi, n’okutukakasa nti atwagala, era bwe tufaayo okugoberera obulagirizi bw’etuwa, eba ‘ng’eddoboozi ettono ery’eggonjebwa’ Eriya lye yawulira.

25 Ebyo Yakuwa bye yagamba Eriya ku Lusozi Kolebu byamuzzaamu amaanyi? Yee, byamuzzaamu amaanyi, kubanga mu kiseera kitono yaddamu okuweereza Yakuwa n’obuvumu, era ne yeeyongera okulabula abantu balekere awo okusinza Bbaali. Naffe bwe tussaayo omwoyo ku ‘kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa,’ tujja kusobola okwoleka okukkiriza okulinga okwa Eriya.Bar. 15:4.

^ lup. 22 Kirabika ‘eddoboozi eryo ettono ery’eggonjebwa’ lyali lya malayika oyo ayogerwako mu 1 Bassekabaka 19:9 (NW) eyasindikibwa okutwalira Eriya “Ekigambo kya Yakuwa.” Olunyiriri 15 (NW) lumuyita “Yakuwa.” Kino kitujjukiza malayika Yakuwa gwe yatuma okukulembera Abaisiraeri mu ddungu era gwe yayogerako ng’agamba nti: “Erinnya lyange liri mu nda ye.” (Kuv. 23:21) Wadde nga tetusobola kwogera na bukakafu nti malayika oyo yali Yesu, tukimanyi nti nga Yesu tannaba kujja ku nsi, ye yali “Kigambo,” oba Omwogezi ow’enjawulo Yakuwa gwe yakozesanga okutuusa ekigambo kye ku baweereza be.Yok. 1:1.