Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’OKUBIRI

‘Yatambula ne Katonda ow’Amazima’

‘Yatambula ne Katonda ow’Amazima’

1, 2. Nuuwa n’ab’omu maka ge baali bakola mulimu ki, era bizibu ki bye baayolekagana nabyo?

NUUWA yayimiriramu katono ne yeegolola. Mukube akafaananyi ng’atudde ku kiti awummuddemuko era ng’atunuulira eryato ye ne batabani be lye baali bazimba. Envumbo yali ewunya buli wamu. Yali awulira batabani be nga basala embaawo era nga bazikomerera. Ye ne mukazi we awamu ne batabani be ne bakazi baabwe baali bamaze emyaka egiwerera ddala nga bazimba eryato eryo. Kye baali baakakolako kyali kinene ddala, naye era nga ne kye bakyabuzaayo kinene ddala.

2 Nuuwa ne batabani be bwe baali bazimba eryato, abantu baabasekereranga, naddala bwe baabawulira nga bagamba nti waali wagenda kubaawo amataba ku nsi yonna. Nuuwa bwe yabalabula ku kabi ako akaali kaboolekedde, baamutwala ng’eyali alogootana obulogootanyi. Kye yali akola baali bakiraba ng’eky’obusirusiru ennyo. Baali balaba nga ye n’ab’omu maka ge kye baali bakola kyali tekirina mugaso. Kyokka Yakuwa, Katonda wa Nuuwa, bw’atyo si bwe yali akitwala.

3. Mu ngeri ki Nuuwa gye yatambula ne Katonda?

3 Bayibuli egamba nti: ‘Nuuwa yatambula ne Katonda ow’amazima.’ (Soma Olubereberye 6:9.) Ebigambo ebyo bitegeeza ki? Tebitegeeza nti Katonda yakka wano ku nsi n’atambula ne Nuuwa, oba nti Nuuwa yagenda mu ggulu gy’ali. Wabula bitegeeza nti Nuuwa yali muwulize eri Katonda era nti yali ayagala nnyo Katonda. Olw’enkolagana ey’oku lusegere Nuuwa gye yalina ne Yakuwa, baali ng’abantu ab’omukwano abatambulira awamu. Nga wayiseewo ebikumi n’ebikumi by’emyaka, Bayibuli yayogera bw’eti ku Nuuwa: “Okuyitira mu kukkiriza [kwe] yasalira ensi omusango.” (Beb. 11:7) Mu ngeri ki Nuuwa gye yasalira ensi omusango? Tuyinza tutya okwoleka okukkiriza okulinga okukwe?

Omusajja Ataaliko kya Kunenyezebwa mu Nsi Eyali Embi Ennyo

4, 5. Kiki ekyaleetera ensi okwonooneka ennyo mu kiseera kya Nuuwa?

4 Mu biseera bya Nuuwa ensi yali mbi nnyo era nga yeeyongera okwonooneka buli lukya. Ensi yali yatandika dda okwonooneka mu biseera bya jjajjaawe Enoka, omusajja omulala omutuukirivu eyatambula ne Katonda. Enoka yali yalagula nti olunaku lwali lugenda kutuuka Katonda abonereze abantu ababi. Mu kiseera kya Nuuwa ensi yali yeeyongeredde ddala okwonooneka. Bayibuli egamba nti Yakuwa yalaba nti ensi yali eyonoonese nnyo, kubanga yali ejjudde ebikolwa eby’obukambwe. (Lub. 5:22; 6:11; Yud. 14, 15) Kiki ekyali kiviiriddeko ensi okwonooneka ennyo bw’etyo?

5 Omutawaana ogw’amaanyi gwali gubaluseewo mu baana ba Katonda, bamalayika. Omu ku bo yali yajeemera dda Yakuwa, n’afuuka Sitaani Omulyolyomi, bwe yayogera eby’obulimba ku Katonda, n’aleetera n’abantu okwonoona. Mu kiseera kya Nuuwa bamalayika abalala nabo baali beegasse ku Sitaani ne bajeemera Yakuwa. Baava mu ggulu gye baalina okubeera ne bajja ku nsi nga beeyambazza emibiri gy’abantu, era ne bawasa abakazi abaali balabika obulungi. Bamalayika abo abajeemu baaleetera abantu okukola ebintu ebibi ennyo.Lub. 6:1, 2; Yud. 6, 7.

6. Ensi yali mu mbeera ki olw’Abanefuli, era kiki Yakuwa kye yasalawo okukola?

6 Bamalayika abo abajeemu bwe beegatta n’abakazi baazaala abaana abaali abawagguufu era nga ba maanyi nnyo. Abaana abo Bayibuli ebayita Abanefuli, ekitegeeza “Abasuuzi,” oba abo abaleetera abalala okugwa. Olw’okuba Abanefuli abo baali bantu babi nnyo era nga bakambwe, baaviirako ensi okwonooneka ennyo. Bwe kityo Katonda ‘yalaba ng’obubi bw’omuntu bungi mu nsi, era nga na buli kufumiitiriza kw’ebirowoozo by’omu mutima gwe kubi kwereere bulijjo.’ Yakuwa yasalawo nti yali agenda kuzikiriza abantu abo ababi oluvannyuma lw’emyaka 120.Soma Olubereberye 6:3-5.

7. Lwaki tekyali kyangu eri Nuuwa ne mukazi we kukuza baana baabwe mu nsi eyo eyali embi ennyo?

7 Abazadde baayolekagananga n’obuzibu bwa maanyi nnyo okukuliza abaana baabwe mu nsi efaanana bw’etyo! Eyo ye nsi Nuuwa gye yakulizaamu abaana be. Nuuwa yawasa omukazi omulungi eyamuzaalira abaana basatu ab’obulenzi—Seemu, Kaamu, ne Yafesi. Abaana abo baazaalibwa nga Nuuwa amaze okuweza emyaka 500. * Nuuwa ne mukazi we baalina okufuba ennyo okulaba nti abantu ababi teboonoona baana baabwe. Abaana abalenzi batera nnyo okwagala okukoppa abantu ‘ab’amaanyi’ era ‘abaatiikirivu’ ng’Abanefuli bwe baali. Wadde nga Nuuwa ne mukazi we baali tebasobola kutangira baana baabwe kulaba oba kuwulira bintu byonna ebibi Abanefuli bye baali bakola, baali basobola okubayigiriza amazima agakwata ku Yakuwa Katonda, atayagalira ddala bikolwa bibi. Baalina okuyamba abaana baabwe okukitegeera nti Yakuwa yali awulira bubi nnyo olw’ebikolwa eby’obukambwe n’ebintu ebirala ebibi ebyali bikolebwa ku nsi.Lub. 6:6.

Nuuwa ne mukyala we baalina okufuba okulaba nti abantu ababi teboonoona baana baabwe

8. Abazadde bayinza batya okukoppa Nuuwa ne mukazi we?

8 Abazadde bategeera bulungi obuzibu Nuuwa ne mukazi we bwe baalimu. Ne leero ensi gye tulimu ejjudde ebikolwa eby’obukambwe n’eby’obujeemu. Ebibuga bingi birimu obubondo bw’abavubuka ab’effujjo. N’eby’okwesanyusaamu bingi ennaku zino bibaamu ebikolwa eby’ettemu. Okusobola okuyamba abaana baabwe obutoonooneka, abazadde ab’obuvunaanyizibwa bafuba okubayigiriza amazima agakwata ku Yakuwa, Katonda ow’emirembe, ajja okuggirawo ddala ebikolwa byonna eby’obukambwe ebikolebwa mu nsi. (Zab. 11:5, NW; 37:10, 11) Wadde ensi gye tulimu mbi, abaana basobola okuyiga okukyawa ebintu ebibi. Nuuwa ne mukazi we baasobola okutendeka obulungi abaana baabwe. Abaana baakula nga ba mpisa nnungi, era baawasa abakazi abaali bakulembeza ebyo Yakuwa, Katonda ow’amazima, by’ayagala.

“Weekolere Eryato”

9, 10. (a) Kiki Katonda kye yalagira Nuuwa okukola ekyakyusiza ddala obulamu bwe? (b) Eryato Nuuwa lye yazimba lyali lifaanana litya, era lwaki Yakuwa yamulagira okulizimba?

9 Lumu Nuuwa aliko kye yagambibwa ekyakyusiza ddala obulamu bwe. Yakuwa yayogera naye n’amutegeeza nti yali agenda kuzikiriza ensi. Yamugamba nti: ‘Weekolere eryato mu muti gwa goferi.’Lub. 6:14.

10 Eryato eryo teryali ng’amaato aga bulijjo ng’abamu bwe balowooza. Lyali lifaanana ng’ekibookisi ekinene ennyo. Yakuwa yawa Nuuwa ebipimo byalyo, n’amulagirira n’engeri gye yalina okulizimbamu, era n’amugamba alisiige envumbo kungulu ne munda. Yamutegeeza n’ensonga lwaki yali amulagira okulizimba. Yamugamba nti: “Laba, nze ndireeta amataba ag’amazzi ku nsi . . . Buli ekiri mu nsi kirifa.” Ate era yamugamba nti: “Oliyingira mu lyato, ggwe n’abaana bo, ne mukazi wo, n’abakazi b’abaana bo wamu naawe.” Nuuwa yalina n’okuyingiza ensolo eza buli kika mu lyato. Abo bokka abandibadde mu lyato eryo be baali bajja okuwonawo!Lub. 6:17-20.

Nuuwa n’ab’omu maka ge baakolera wamu omulimu Katonda gwe yabawa

11, 12. Mulimu ki Katonda gwe yagamba Nuuwa okukola, era yagukola atya?

11 Omulimu Katonda gwe yagamba Nuuwa okukola tegwali mwangu. Eryato eryo lyali ddene nnyo—obuwanvu lyali ffuuti 437, obugazi ffuuti 73, ate obugulumivu ffuuti 44. Lyali lisinga ekisaawe ky’omupiira obunene. Nuuwa yagaana okukola omulimu ogwo ng’agamba nti muzibu nnyo? Yagezaako okukyusa mu ngeri gye yali alagiddwa okulizimba aleme kumenyeka nnyo? Bayibuli egamba nti: ‘Nuuwa yakola byonna nga Katonda bwe yamulagira; bw’atyo bwe yakola.’Lub. 6:22.

12 Omulimu gw’okuzimba eryato gwamala emyaka nga 40 oba 50. Nuuwa yalina okutema emiti, okugiggya mu kibira, n’okugisalamu embaawo. Eryato lye yali agenda okuzimba lyali lya kubaako emyaliiro esatu, nga lya kubaamu ebisenge ebiwerako, era nga liriko n’oluggi mu mbiriizi. Kirabika lyali lya kubaako amadirisa waggulu, era akasolya kaalyo kaali kajja kuba nga keesulise eruuyi n’eruuyi.Lub. 6:14-16.

13. Mulimu ki Nuuwa gwe yakola ogwali omuzibu n’okusinga ogw’okuzimba eryato, era abantu baakola ki nga Nuuwa akola omulimu ogwo?

13 Emyaka bwe gyagenda giyitawo, Nuuwa ateekwa okuba nga yali musanyufu nnyo okulaba nti omulimu gw’okuzimba eryato gwe yali akola n’ab’omu maka ge gwali gugenda bulungi. Kyokka yalina n’omulimu omulala gwe yalina okukola, oguyinza okuba nga gwali muzibu n’okusinga ogw’okuzimba eryato. Bayibuli egamba nti Nuuwa yali ‘mubuulizi wa butuukirivu.’ (Soma 2 Peetero 2:5.) Yalabula abantu abaali batatya Katonda ku kabi akaali kaboolekedde. Abantu abo baakola ki ng’ababuulidde ekyali kigenda okubatuukako? Yesu yagamba nti ‘tebaafaayo.’ Yagamba nti baali beemalidde ku bintu ebya bulijjo, gamba ng’okulya, okunywa, n’okuwasa, ne batassaayo mwoyo ku ebyo Nuuwa bye yali abagamba. (Mat. 24:37-39) Awatali kubuusabuusa, abantu bangi baasekereranga Nuuwa n’ab’omu maka ge. Abalala bayinza n’okuba nga baamutiisatiisanga, oba nga baagezaako n’okumulemesa okuzimba eryato.

Wadde nga kyeyoleka kaati nti Nuuwa bye yali akola Yakuwa yali abiwa omukisa, abantu tebaamuwuliriza

14. Kiki Abakristaayo kye bayinza okuyigira ku Nuuwa n’ab’omu maka ge?

14 Kyokka Nuuwa n’ab’omu maka ge tebaalekera awo kuzimba lyato wadde ng’abantu abalala baali babalaba ng’abeetawaanyiza obwereere. Abakristaayo balina bingi bye basobola okuyigira ku Nuuwa. Ebiseera bye tulimu Bayibuli ebiyita “ebiseera ebizibu.” (2 Tim. 3:1) Yesu yagamba nti ebiseera byaffe byandibadde ng’ebiseera Nuuwa bye yazimbiramu eryato. Bwe tubuulira abantu ku Bwakabaka bwa Katonda ne bateefiirayo, oba ne batusekerera, oba ne batuyigganya, tusaanidde okujjukira Nuuwa. Tusaanidde okukijjukira nti si ffe tuba tusoose okwolekagana n’obuzibu ng’obwo.

“Yingira . . . mu Lyato”

15. Baani Nuuwa be yafiirwa ng’anaatera okuweza emyaka 600?

15 Nga wayiseewo emyaka egiwerera ddala, eryato lyaggwa okuzimbibwa. Nuuwa bwe yali anaatera okuweza emyaka 600, yafiirwa kitaawe Lameka. * Ate nga wayise emyaka etaano gyokka yafiirwa jjajjaawe Mesuseera, eyafa ng’aweza emyaka 969. Mu bantu aboogerwako mu Bayibuli, Mesuseera ye yasinga okuwangaala. (Lub. 5:27) Mesuseera ne Lameka baalaba ku Adamu.

16, 17. (a) Bubaka ki Nuuwa bwe yafuna ng’alina emyaka 600? (b) Nnyonnyola ekintu Nuuwa n’ab’omu maka ge kye baalaba kye baali batayinza kwerabira.

16 Bwe yali ng’alina emyaka 600, Nuuwa yafuna obubaka obulala okuva eri Yakuwa Katonda. Yamugamba nti: “Yingira ggwe n’ennyumba yo yonna mu lyato.” Ate era Katonda yagamba Nuuwa okuyingiza n’ensolo eza buli kika—ng’ensolo ennongoofu ezaali ziyinza okuweebwayo nga ssaddaaka yali wa kuyingiza musanvu musanvu, ate ng’endala ezitaali nnongoofu yali wa kuyingiza bbiri bbiri.Lub. 7:1-3.

17 Abantu abaalaba ensolo nga ziyingira mu lyato bateekwa okuba nga baawuniikirira nnyo. Ensolo ezajja okuyingira mu lyato zaali nnyingi nnyo. Ezimu zajja zitambula, endala nga zibuuka, endala nga zeewalula, ate endala nga zibuukabuuka. Ezimu zaali nnene nnyo, ate endala nga ntono ddala; ezimu zaali nkambwe, ate ng’endala za mirembe. Kyokka tetusaanidde kulowooza nti Nuuwa yalina okuzigoba oba okuzitaayiza okusobola okuziyingiza mu lyato. Bayibuli egamba nti: ‘Zaayingira eri Nuuwa mu lyato.’Lub. 7:9.

18, 19. (a) Abo abatakkiriza ebyo ebyaliwo mu kiseera kya Nuuwa tuyinza kubannyonnyola tutya? (b) Yakuwa yayoleka atya amagezi ge mu ngeri gye yawonyaawo ensolo?

18 Abamu bayinza okwebuuza nti: ‘Ekyo kyasoboka kitya? Ensolo ennyingi bwe zityo zaasobola zitya okubeera awamu mu mirembe munda mu lyato?’ Lowooza ku kino: Oyo eyatonda ebintu byonna ayinza okulemererwa okufuga ensolo, oba ayinza okulemererwa okuzifuula ez’emirembe? Tukijjukire nti Yakuwa ye yatonda ensolo. Nga wayiseewo emyaka mingi oluvannyuma lw’Amataba, Yakuwa yayawulamu Ennyanja Emmyufu, era yayimiriza n’enjuba mu kifo kimu. Ddala ku ebyo Bayibuli by’etugamba nti byaliwo mu kiseera kya Nuuwa waliwo n’ekimu ekyali kiyinza okumulema? Nedda!

19 Oboolyawo Katonda yandibadde asalawo okuwonyaawo ensolo mu ngeri endala, naye si bwe yakola. Engeri gye yasalawo okuziwonyaawo etujjukiza obuvunaanyizibwa bwe yawa abantu ku lubereberye, obw’okulabirira ebiramu byonna ebiri ku nsi. (Lub. 1:28) Ebyo Bayibuli by’eyogera ku Nuuwa abazadde bangi babikozesa okuyigiriza abaana baabwe nti Yakuwa abantu abatwala nga ba muwendo, era nti n’ensolo nazo azitwala nga za muwendo.

20. Biki Nuuwa n’ab’omu maka ge bye bayinza okuba nga baakola mu wiiki eyasembayo?

20 Yakuwa yagamba Nuuwa nti amataba gaali gagenda kujja mu bbanga lya wiiki emu. Mu kiseera ekyo Nuuwa n’ab’omu maka ge bateekwa okuba nga baalina eby’okukola bingi. Baalina okuyingiza ensolo zonna, emmere yaazo, emmere yaabwe, awamu n’ebintu byabwe ebirala, era n’okulaba nti byonna biteekebwa mu kifo ekituufu. Muka Nuuwa ne bakaabaana be, bateekwa okuba nga we baali bagenda okubeera mu lyato baategekawo bulungi.

21, 22. (a) Lwaki tekitwewuunyisa nti abantu b’omu kiseera kya Nuuwa tebaafaayo? (b) Ddi abantu lwe baalekera awo okusekerera Nuuwa n’ab’omu maka ge?

21 Ate bo abantu abalala baali bakola ki mu kiseera ekyo? Baali ‘tebafaayo’ wadde nga kyali kyeyolese kaati nti Nuuwa bye yali akola Yakuwa yali abiwa omukisa. Baatunula butunuzi nga balaba ensolo zeekuluumulula okuyingira mu lyato. Naye ekyo tekyanditwewuunyisizza. Ne leero abantu tebafaayo wadde nga kyeyoleka kaati nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma ez’ensi ya Sitaani eno embi. Ng’omutume Peetero bwe yagamba, waliwo bangi abasekerera abo abakolera ku ebyo Katonda by’abagamba. (Soma 2 Peetero 3:3-6.) Bwe batyo bwe baasekerera Nuuwa n’ab’omu maka ge.

22 Ddi abantu abo lwe baalekera awo okusekerera Nuuwa n’ab’omu maka ge? Bayibuli egamba nti Nuuwa bwe yamala okuyingiza ensolo n’ab’omu maka ge mu lyato, ‘Yakuwa n’aggalawo oluggi.’ Bwe kiba nti abamu ku abo abaali bamusekerera baali kumpi awo, ekyo Yakuwa kye yakola kyabasirisa. Ekyo bwe kiba nga tekyabasirisa, baasirika enkuba bwe yatandika okutonnya. Enkuba yatonnya, n’etonnya, n’etonnya, era amazzi ne ganjaala ku nsi yonna nga Yakuwa bwe yali agambye.Lub. 7:16-21.

23. (a) Tukimanyira ku ki nti Yakuwa yali tayagala bantu abo ababi bafe? (b) Lwaki kya magezi okwoleka okukkiriza okulinga okwa Nuuwa?

23 Yakuwa yali ayagala abantu abo ababi bafe? Nedda! (Ez. 33:11) Yabawa akakisa okukyusa enneeyisa yaabwe. Kiki ekyandibaddewo singa baali bakyusizza enneeyisa yaabwe? Nabo bandiwonyeewo. Nuuwa yawonawo olw’okuba yatambula ne Katonda era n’akola byonna bye yamulagira. Okukkiriza kwe yayoleka kwasalira ensi ey’omu kiseera ekyo omusango. Okukkiriza kwe kwamusobozesa okuwonawo ye n’ab’omu maka ge. Bw’oyoleka okukkiriza okulinga okwa Nuuwa, naawe oyinza okuwonawo era n’oyamba n’abaagalwa bo okuwonawo. Okufaananako Nuuwa, naawe osobola okutambula ne Katonda n’aba mukwano gwo, era omukwano ogwo gusobola okuba ogw’olubeerera!

^ lup. 7 Mu kiseera ekyo abantu baali bawangaala nnyo okusinga bwe kiri leero, olw’okuba obutali butuukirivu bwali tebunneeyongera nnyo.

^ lup. 15 Lameka yatuuma mutabani we erinnya Nuuwa—oboolyawo eritegeeza “Ekiwummulo” oba “Ekikubagizo.” Yagamba nti Nuuwa yandituukanye n’amakulu g’erinnya eryo n’aleetera abantu ekiwummulo, ne bawona okutegana olw’ettaka eryali likolimiddwa. (Lub. 5:28, 29) Lameka yafa ng’ebyo bye yayogera ku mutabani we tebinnatuukirizibwa. Kirabika maama wa Nuuwa ne baganda be ne bannyina baafiira mu Mataba.