Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’OMWENDA

Yali Mukazi Mutegeevu

Yali Mukazi Mutegeevu

1-3. (a) Kiki ekyali kiviiriddeko akabi akaali koolekedde ab’omu nnyumba ya Nabbali ne Abbigayiri? (b) Kiki kye tugenda okuyiga ku Abbigayiri?

ABBIGAYIRI bwe yatunuulira omuvubuka eyali azze gy’ali, yakitegeererawo nti waaliwo omutawaana. Omuvubuka yali alabika ng’atidde nnyo. Abasajja abalwanyi nga 400 baali bajja okusaanyaawo buli musajja yenna mu nnyumba ya Nabbali, bba wa Abbigayiri. Kiki ekyali kigenda okubakozesa ekyo?

2 Omutawaana gwali guvudde ku Nabbali. Nga bwe yateranga okuyisa abalala obubi n’okubajolonga, ne ku luno alina gwe yali ajolonze. Yali ajolonze Dawudi, omusajja eyalina eggye ery’abalwanyi abaali abatendeke obulungi. Omu ku bakozi ba Nabbali yajja n’abuulirako Abbigayiri. Yali mukakafu nti Abbigayiri yalina ky’asobola okukolawo okutangira akabi akaali kaboolekedde. Naye kiki omukazi obukazi kye yandikoze ku ggye eddamba?

Omukazi obukazi yandikoze ki okuziyiza eggye okulumba?

3 Ka tusooke tubeeko ebitonotono bye twekenneenya ku mukazi ono. Abbigayiri y’ani? Ekizibu kino kyali kizzeewo kitya? Kiki kye tuyigira ku ngeri gye yayolekamu okukkiriza kwe?

‘Yali Mutegeevu era ng’Alabika Bulungi’

4. Nabbali yali muntu wa ngeri ki?

4 Nabbali yali tagwanira kuba bba wa Abbigayiri, kubanga Abbigayiri yali muntumulamu, so ng’ate Nabbali yali muntu muzibu nnyo. Olw’okuba Nabbali yali mugagga, yali yeetwala nga wa kitalo nnyo. Naye bo abantu abalala baali bamutwala batya? Nabbali y’omu ku bantu ababi aboogerwako mu Bayibuli. Erinnya Nabbali litegeeza “Omusirusiru,” oba “Atalina Magezi.” Bazadde be be baalimutuuma oba abantu be baalimukazaako olw’empisa ze embi? K’ebe nsonga ki eyamutuumisa erinnya eryo, erinnya eryo lyali limusaanira. Bayibuli egamba nti Nabbali yali musajja ‘wa kkabyo era nga mubi mu bikolwa bye.’ Yali mutamiivu, nga mukambwe nnyo, era ng’abantu bamutya.1 Sam. 25:2, 3, 17, 21, 25.

5, 6. (a) Ngeri ki ennungi Abbigayiri ze yalina? (b) Kiki ekiyinza okuba nga kye kyaleetera Abbigayiri okufumbirwa omusirusiru nga Nabbali?

5 Okwawukana ku bba, Abbigayiri ye yali muntu mulungi nnyo. Erinnya Abbigayiri litegeeza nti “Kitange Yeereetedde Essanyu.” Omwana omuwala bw’aba ng’alabika bulungi, kitaawe kimusanyusa nnyo, naye kimusanyusa nnyo n’okusingawo muwala we bw’aba nga wa mpisa. Abantu abalabika obulungi tebatera kulaba bukulu bwa kuba beegendereza, kuba bavumu, kuba na kukkiriza, oba okweyisa mu ngeri ey’amagezi. Kyokka Abbigayiri si bwe yali. Bayibuli egamba nti yali mutegeevu era ng’alabika bulungi.Soma 1 Samwiri 25:3.

6 Abantu abamu bayinza okwebuuza ensonga eyaleetera omukazi oyo eyali omutegeevu bw’atyo okufumbirwa omusajja omusirusiru nga Nabbali. Tulina okukijjukira nti edda mu Isiraeri abazadde be baateranga okufunira abaana baabwe omuntu ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa. Naye ne bwe baabanga si be bafunidde omwana bwabwe omuntu ow’okufumibiriganwa naye, baalinga basobola okugaana omwana waabwe okufumbiriganwa n’omuntu gwe yabanga afunye. Kyandiba nti bazadde ba Abbigayiri baayagala muwala waabwe afumbirwe Nabbali olw’okuba yali mugagga, era kyandiba nga be baamumufunira? Kyandiba nti obwavu bwe bwabawaliriza okuleka muwala waabwe okufumbirwa omusajja ng’oyo? K’ebe nsonga ki eyaleetera Abbigayiri okufumbirwa Nabbali, Nabbali teyali musajja mulungi wadde nga yali mugagga.

7. (a) Kiki abazadde kye basaanidde okwewala bwe baba baagala abaana baabwe babeere n’endowooza ennungi ku bufumbo? (b) Kiki Abbigayiri kye yali amaliridde okukola?

7 Abazadde ab’amagezi bafuba okuyamba abaana baabwe okuba n’endowooza ennungi ku bufumbo. Tebabapikiriza kufumbirwa oba kuwasa muntu olw’okuba mugagga, era tebabawaliriza kuyingira bufumbo nga bakyali bato. (1 Kol. 7:36) Kyokka ye Abbigayiri yali takyalina ky’asobola kukyusa, kuba yali yamala dda okufumbirwa. Yali mumalirivu okunywerera ku mwami we, Nabbali, wadde nga teyali muntu mulungi.

‘Yabakayukira’

8. Ani Nabbali gwe yayogerera amafuukuule, era lwaki ekyo kye yakola kyali kibi nnyo?

8 Nabbali bwe yayogerera Dawudi amafuukuule yayongera ku bizibu Abbigayiri bye yalina. Dawudi yali muweereza wa Yakuwa omwesigwa, nnabbi Samwiri gwe yali yafukako amafuta okulaga nti Katonda gwe yali alonze okudda mu kifo kya Kabaka Sawulo. (1 Sam. 16:1, 2, 11-13) Mu kiseera ekyo Dawudi yali abeera mu ddungu n’abasajja be abalwanyi 600 nga yeekwese Kabaka Sawulo eyali ayagala okumutta.

9, 10. (a) Ekitundu Dawudi n’abasajja kye baabeerangamu kyali kifaanana kitya? (b) Lwaki Nabbali yandibadde asiima ekyo Dawudi n’abasajja be kye baali bakoze? (Laba obugambo obuli wansi obukwata ku katundu 10.)

9 Nabbali yali abeera Mawoni naye ng’emirimu gye agikolera Kalumeeri, era nga kirabika yalinayo n’ettaka. * Mu bubuga obwo mwalimu ebifo ebirungi okulundiramu endiga, era nga Nabbali yalina endiga 3,000. Kyokka ebitundu ebyali biriraanyewo tebyalimu bantu. Ebukiikaddyo waaliyo eddungu ly’e Palani, ate ebuvanjuba okwolekera Ennyanja ey’Omunnyo lwali lukoola era nga lulimu enkonko n’empuku. Eyo Dawudi n’abasajja be gye baabeeranga. Obulamu mu kitundu kino bwali buzibu, era kirabika baalinanga kuyigga okusobola okufuna eky’okulya. Emirundi mingi baasanganga abasumba abaalundanga endiga za Nabbali.

10 Dawudi n’abasajja be baayisanga batya abasumba abo? Singa baali baagala okulya ku ndiga zaabwe tekyandibabeeredde kizibu, naye tebaakikola. Bayibuli egamba nti baakuumanga endiga za Nabbali n’abaweereza be. (Soma 1 Samwiri 25:15, 16.) Abasumba baafunanga ebizibu bingi nga bali ku ttale. Ensolo enkambwe zaalinga nnyingi mu biseera ebyo. Ate era ekitundu ekyo kyali kumpi n’ensalo ya Isiraeri ey’ebukiikaddyo, era abazigu okuva mu nsi endala baateranga okulumba ebitundu ebyo. *

11, 12. (a) Ebigambo Dawudi bye yakozesa mu bubaka bwe eri Nabbali byalaga bitya nti yali amuwa ekitiibwa? (b) Lwaki tuyinza okugamba nti engeri Nabbali gye yaddamu Dawudi yali mbi?

11 Kiteekwa okuba nga tekyali kyangu kuliisa basajja abo bonna mu ddungu. Bwe kityo, lumu Dawudi yatuma ababaka eri Nabbali ng’amusaba obuyambi. Ekiseera ekyo kyali kirungi kubanga kyali kya kusala byoya ku ndiga. Okusala ebyoya ku ndiga kyabanga kiseera kya ssanyu, era abantu baabanga n’omwoyo omugabi. Ebigambo Dawudi bye yakozesa byali birungi. Yeeyita na “mutabani” wa Nabbali, oboolyawo okulaga nti gwe yali asaba obuyambi yali amusinga obukulu. Nabbali yakolawo ki?1 Sam. 25:5-8.

12 Yeecwacwana! Omuvubuka eyayogeddwako ku ntandikwa, eyattottolera Abbigayiri ebyaliwo, yagamba nti Nabbali ‘yakayukira’ abasajja ba Dawudi. Omusajja oyo omunaganya yagamba nti yali tasobola kuwa Dawudi mmere ye, mazzi ge, wadde ennyama ye. Yayogera ebigambo ebyali birengezza Dawudi, era n’agamba nti yali ng’omuddu eyali adduse ku mukama we. Kirabika Nabbali yalina endowooza ng’eya Sawulo eyali tayagalirako ddala Dawudi. Abasajja abo bombi tebaalina ndowooza ng’eya Yakuwa. Katonda yali ayagala nnyo Dawudi. Yali tamutunuulira ng’omuddu eyali yeewaggudde ku mukama we, wabula nga kabaka eyali agenda okufuga Isiraeri.1 Sam. 25:10, 11, 14.

13. (a) Dawudi yakola ki bwe baamubuulira ebyo Nabbali bye yali ayogedde? (b) Okusinziira ku musingi oguli mu Yakobo 1:20, obusungu bwa Dawudi bwali busobola kumuviiramu ki?

13 Ababaka Dawudi be yatuma bwe baamubuulira engeri Nabbali gye yali yeeyisizzaamu, obusungu bwamukwata. Yagamba abasajja be nti: “Mwesibe buli muntu ekitala kye.” Yakwata ebyokulwanyisa bye n’akwata eryali ligenda ewa Nabbali ng’ali n’abasajja 400. Yeerayirira okutta buli musajja mu nnyumba ya Nabbali. (1 Sam. 25:12, 13, 21, 22) Dawudi yali mutuufu okusunguwala, naye ekyo kye yali agenda okukola olw’obusungu kyali kikyamu. Bayibuli egamba nti: “Obusungu bw’omuntu tebuleeta butuukirivu bwa Katonda.” (Yak. 1:20) Naye Abbigayiri yandikoze ki okuwonyaawo ab’omu nnyumba ye?

‘Amagezi Go Gatenderezebwe’

14. (a) Mu ngeri ki Abbigayiri gye yakiraga nti ye yali ayinza okugonjoola ekizibu ekyali kizzeewo olwa Nabbali? (b) Kiki kye tuyigira ku ngeri Nabbali gye yeeyisaamu, n’engeri Abbigayiri gye yeeyisaamu? (Laba obugambo obuli wansi.)

14 Nga bwe tulabye, Abbigayiri yategeezebwa ekizibu kino ekyali kizzeewo. Obutafaananako bbaawe Nabbali, ye yawuliriza. Omuvubuka yawa ensonga lwaki yali tasobola kubuulira Nabbali kizibu ekyo. Yagamba nti: “Omusajja oyo atalina mugaso tetusobola kwogera naye.” * (1 Sam. 25:17, NW) Olw’okuba Nabbali yali yeetwala okuba owa waggulu ennyo, teyawulirizanga ng’abalala baliko kye bamugamba. Ne leero waliwo abantu bangi ab’amalala nga Nabbali. Naye omuvubuka oyo yali akimanyi nti Abbigayiri yali wa njawulo, era eyo eteekwa okuba nga ye nsonga lwaki yatuukirira ye.

Obutafaananako Nabbali, Abbigayiri ye yawuliriza

15, 16. (a) Abbigayiri yalaga atya nti yali ng’omukazi omwegendereza ayogerwako mu kitabo ky’Engero? (b) Lwaki ekyo Abbigayiri kye yakola kyali tekiraga nti yali tawa mwami we kitiibwa?

15 Abbigayiri yayimukirawo mangu n’abaako ky’akolawo. Bayibuli egamba nti: “Awo Abbigayiri n’alyoka ayanguwa.” Bwe tusoma ebikwata ku Abbigayiri tukiraba nti yali muntu asitukiramu okubaako ky’akolawo nga waliwo ensonga ezzeewo. Yateekateeka ebintu eby’okuwa Dawudi n’abasajja be: emigaati, omwenge, endiga, emmere ey’empeke, ebitole by’ezzabbibu, n’ebitole by’ettiini. Okufaananako omukazi omwegendereza ayogerwako mu kitabo ky’Engero, Abbigayiri yali amanyi ebintu bye yalina mu nnyumba ye, era ng’atuukiriza bulungi obuvunaanyizibwa bwe obw’omu maka. (Nge. 31:10-31) Ebintu yabikwasa abaweereza be ne bamukulemberamu, ye n’abavaako emabega. Kyokka Bayibuli egamba nti ‘teyabuulirako bba Nabbali.’1 Sam. 25:18, 19.

16 Ekyo kitegeeza nti Abbigayiri yali tawa mwami kitiibwa? Nedda; kijjukire nti ekyo Nabbali kye akoze omuweereza wa Yakuwa eyafukibwako amafuta kyali kibi nnyo, era nga kyali kiyinza n’okuviirako abantu bangi ab’omu nnyumba ye abataaliko musango okuttibwa. Singa Abbigayiri yalemererwa okubaako ky’akolawo, naye teyandibaddeko omusango? Mu nsonga eno yalina okugondera Katonda okusinga bba.

17, 18. (a) Kiki Abbigayiri kye yakola ng’atuuse mu maaso ga Dawudi, era yamugamba ki? (b) Lwaki tuyinza okugamba nti engeri Abbigayiri gye yayanjaamu ensonga ze yali nnungi?

17 Abbigayiri yalwaddaaki n’asisinkana Dawudi wamu n’abasajja be. Yayanguwa mangu n’ava ku ndogoyi, n’avunnama mu maaso ga Dawudi. (1 Sam. 25:20, 23) Yamwegayirira asaasire omwami we n’ab’omu nnyumba ye.

‘Omuzaana wo k’ayogere gy’oli’

18 Abbigayiri yagamba Dawudi nti ensobi agivunaane ye, era n’amusaba amusonyiwe. Yamugamba nti omwami we yali musirusiru ng’amakulu g’erinnya lye bwe gaali, era oboolyawo ng’alinga agamba nti Dawudi yandibadde yeeweebuula okubonereza omuntu ng’oyo. Mu bye yayogera yakiraga nti Dawudi yali ‘alwana ntalo za Yakuwa,’ era nti Yakuwa yali amusuubizza obwakabaka, kubanga yamugamba nti: ‘Mukama agenda kukuteekawo obeere omukulu mu Isiraeri.’ Ate era yeegayirira Dawudi aleme kukola kintu kyonna ekyandimuleetedde okubaako omusango ogw’okuyiwa omusaayi, oba ‘okulumwa mu mwoyo,’ nga kirabika yali ategeeza okulumirizibwa omuntu we ow’omunda. (Soma 1 Samwiri 25:24-31.) Ebigambo ebyo ddala byali bya magezi!

19. Dawudi yatwala atya Abbigayiri bye yamugamba, era lwaki yamutendereza?

19 Dawudi yakola ki? Yakkiriza ebintu Abbigayiri bye yali amuleetedde, era n’agamba nti: “Atenderezebwe Mukama, Katonda wa Isiraeri, akutumye leero okusisinkana nange: era gatenderezebwe n’amagezi go, naawe otenderezebwe ankuumye leero, obutabaako musango gwa musaayi.” Dawudi yasiima Abbigayiri olw’okwoleka obuvumu n’ayanguwa okujja okumusisinkana, era yamwebaza olw’okumuyamba okwewala okubaako omusango ogw’okuyiwa omusaayi. Yamugamba nti: “Yambuka mu nnyumba yo mirembe,” era n’agattako nti: “Mpulidde eddoboozi lyo.”1 Sam. 25:32-35.

“Laba, Omuzaana Wo”

20, 21. (a) Eky’okuba nti Abbigayiri yali mwetegefu okuddayo ewa bbaawe kitulaga ki ku mukazi oyo? (b) Abbigayiri yalaga atya amagezi ng’asalawo ddi lwe yandyogedde ne bba?

20 Nga bamaze okwawukana, Abbigayiri ateekwa okuba nga yafumiitiriza ku byali bibaddewo. Ateekwa okuba nga yali akirabye nti Dawudi yali wa njawulo nnyo ku mwami we Nabbali; Dawudi yali mwesigwa eri Katonda era nga wa kisa. Naye ekyo teyeeyongera kukirowoozaako nnyo. Bayibuli egamba nti: “Awo Abbigayiri n’ajja eri [Nabbali].” Abbigayiri yaddayo eri bba nga mumalirivu okweyongera okuba omukyala omulungi. Yalina okumutegeeza ku bintu bye yali awadde Dawudi n’abasajja be. Ekyo Nabbali yalina okukimanya. Yalina n’okumubuulira ku kabi ke baali bawonye era ng’ekyo yalina okukimubuulira nga tewannabaawo mulala yenna amubuulira. Kyokka ebyo Abbigayiri teyasobola kubimubuulira ku olwo, kubanga yali akoze embaga ekirako eya kabaka, era ng’atamidde nnyo.1 Sam. 25:36.

Abbigayiri yayoleka obuvumu n’abuulira Nabbali kye yali akoze okumuwonya okuttibwa

21 Yayoleka amagezi n’alinda okutuusa enkeera nga bbaawe omwenge gumuweddeko. Awo bye yandimunnyonnyodde yandibadde asobola okubitegeera, wadde ng’ate osanga obusungu bwe bwandibadde bulinnya. Wadde kyali kityo, yamutuukirira n’amubuulira ebyali bibaddewo. Abbigayiri ateekwa okuba nga yali asuubira omwami we okumuboggolera, oboolyawo n’okumukuba, kyokka si bwe kyali. Nabbali yatuula awo butuuzi nga tanyega wadde okwenyeenya.1 Sam. 25:37.

22. Kiki ekyatuuka ku Nabbali, era ekyo kituyigiriza ki?

22 Kiki ekyali kituuse ku Nabbali? Bayibuli egamba nti, ‘omutima gwe gwafiira munda ye n’afuuka ng’ejjinja.’ Nabbali yandiba nga yagwirwa ekirwadde ekyamuleetera okusannyalala. Yafa oluvannyuma lw’ennaku kkumi, naye ekirwadde ekyamutta tekyajja kyokka. Bayibuli egamba nti: ‘Mukama yakuba Nabbali n’afa.’ (1 Sam. 25:38) Nabbali bwe yafa, Abbigayiri yawona obufumbo obwo obwalimu ebizibu ebingi. Wadde nga Yakuwa tayingira mu nsonga z’abafumbo mu ngeri eyo, ebyatuuka ku Nabbali bitulaga nti omukyala oba omwami bw’aba atulugunya munne, Yakuwa aba akiraba, era ekiseera kituuka n’abaako ky’akolawo.Soma Lukka 8:17.

23. Abbigayiri yafuna mukisa ki omulala, era yalaga atya nti eky’okuba nti yali agenda kufumbirwa Dawudi tekyamuleetera malala?

23 Ng’oggyeko okuba nti yawona obufumbo obwo, Abbigayiri alina n’omukisa omulala gwe yafuna. Dawudi bwe yakitegeera nti Nabbali afudde, yatumira Abbigayiri ababaka bamugambe nti yali ayagala kumuwasa. Abbigayiri yaddamu nti: ‘Laba, omuzaana wo k’abe omuweereza okunaazanga ebigere by’abaddu ba mukama wange.’ Eky’okuba nti yali agenda kufumbirwa Dawudi tekyamuleetera malala; yali mwetegefu okubeera omuweereza w’abaweereza ba Dawudi! Bayibuli egamba nti yayanguwa okweteekateeka agende ewa Dawudi.1 Sam. 25:39-42.

24. Bizibu ki Abbigayiri bye yayolekagana nabyo ng’afumbiddwa Dawudi, naye Yakuwa ne Dawudi baali bamutwala batya?

24 Abbigayiri okuba nti yali agenda kufumbirwa Dawudi kyali tekitegeeza nti obulamu bwali tebugenda kubaamu bizibu. Dawudi yalinayo omukyala omulala ayitibwa Akinowamu. Wadde nga mu biseera ebyo Yakuwa yali akkiriza abasajja okuwasa abakazi abasukka mu omu, abakazi abaabeeranga mu bufumbo ng’obwo baayolekagananga n’ebizibu ebitali bimu. Ate n’ekirala Dawudi yali tannafuuka kabaka, era ng’okutuuka okutuula ku nnamulondo yamala kuyita mu bizibu bingi. Abbigayiri yawagira bba mu kiseera ekyo ekyali ekizibu, era yamuzaalira n’omwana ow’obulenzi. Abbigayiri yakiraba nti yali afunye omwami amwagala ennyo era amufaako. Lumu, Dawudi yamununula ne mu mukono gw’abantu abaali bamuwambye! (1 Sam. 30:1-19) Mu kufaayo ennyo ku Abbigayiri Dawudi yali akoppa Yakuwa Katonda. Abakazi abeesigwa, abategeevu, era abooleka obuvumu nga Abbigayiri, Yakuwa abatwala nga ba muwendo nnyo.

^ lup. 9 Kalumeeri ekyogerwako wano si lwe Lusozi Kalumeeri oluli mu bukiikakkono bwa Isiraeri, nnabbi Eriya ne bannabbi ba Baali gye baayolekaganyiza obwanga. (Laba Essuula 10.) Akabuga kano Kalumeeri kaali ku njegoyego z’eddungu ery’omu bukiikaddyo bwa Isiraeri.

^ lup. 10 Kirabika Dawudi yakitwala nti mu kukuuma abantu b’omu kitundu ekyo n’ebisibo byabwe yali aweereza Yakuwa Katonda. Mu biseera ebyo Yakuwa yali ayagala bazzukulu ba Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo babeere mu nsi ya Isiraeri. N’olwekyo, okukuuma ensalo zaayo abazigu baleme kuyingira mu nsi eyo bwali buweereza butukuvu.

^ lup. 14 Ebigambo ‘omusajja atalina mugaso’ bitegeeza “Omwana wa Beriali (oba omwana w’obutagasa).” Enkyusa endala eza Bayibuli bwe zaali zivvuunula ebigambo ebyo zaayongerako nti Nabbali yali musajja “atawuliriza muntu yenna,” n’olw’ensonga eyo kyali “tekigasa kwogera naye.”