Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’OKUSATU

‘Kitaawe w’Abo Bonna Abalina Okukkiriza’

‘Kitaawe w’Abo Bonna Abalina Okukkiriza’

1, 2. Ensi yali ekyuse etya mu kiseera kya Ibulayimu, era Ibulayimu ateekwa okuba nga yali awulira atya?

IBULAYIMU yatunuulira essinzizo eddene ennyo erya katonda w’obulimba eryali mu kibuga Uli. * Yali awulirayo oluyogaano, era ng’alabayo n’omukka ogunyooka. Bakabona ba katonda w’omwezi baali bawaayo ebiweebwayo. Mukube akafaananyi nga musunguwavu era nga yeesooza. Bwe yali atambula okudda eka, ayinza okuba nga yalowooza ku kusinza ebifaananyi okwali kubunye wonna mu Uli. Okuviira ddala mu biseera bya Nuuwa okusinza okw’obulimba kwali kweyongedde nnyo.

2 Ibulayimu yazaalibwa nga waakayita emyaka ebiri gyokka nga Nuuwa amaze okufa. Nuuwa n’ab’omu maka ge bwe baava mu lyato oluvannyuma lw’Amataba, yawaayo ekiweebwayo eri Yakuwa Katonda era oluvannyuma Katonda yaleeta musoke ku ggulu. (Lub. 8:20; 9:12-14) Mu kiseera ekyo okusinza okulongoofu kwe kwokka okwaliwo ku nsi. Wadde nga mu kiseera kya Ibulayimu abantu baali baaze ku nsi, abantu abaali basinza Yakuwa baali batono nnyo. Abantu abasinga baali basinza bakatonda ab’obulimba. Teera kitaawe wa Ibulayimu naye yali asinza bifaananyi, oboolyawo ng’abikola n’okubikola.Yos. 24:2.

Ibulayimu yasobola atya okuba n’okukkiriza okw’amaanyi?

3. Mu ngeri ki Ibulayimu gye yali ow’enjawulo ku bantu abalala, era kiki kye tugenda okulaba?

3 Ibulayimu yali wa njawulo ku bantu abalala olw’okukkiriza okw’amaanyi kwe yayoleka. Omutume Pawulo yamuyita ‘kitaawe w’abo bonna abalina okukkiriza.’ (Soma Abaruumi 4:11.) Ka tulabe ekyayamba Ibulayimu okuba n’okukkiriza okw’amaanyi bwe kutyo. Kino kijja kutuyamba okulaba engeri naffe gye tusobola okuba n’okukkiriza okw’amaanyi.

Yaweereza Yakuwa Oluvannyuma lw’Amataba

4, 5. Ani ayinza okuba nga ye yabuulira Ibulayimu ebikwata ku Yakuwa, era lwaki tugamba bwe tutyo?

4 Ibulayimu yategeera atya ebikwata ku Yakuwa Katonda? Mu biseera ebyo Yakuwa yalina abaweereza be abeesigwa ku nsi, era Seemu ye yali omu ku bo. Wadde nga si ye yali omwana wa Nuuwa omubereberye, Bayibuli bw’eba emenya amannya g’abaana ba Nuuwa, erya Seemu ly’esoosa. Ekyo kiri bwe kityo olw’okuba Seemu yalina okukkiriza okw’amaanyi. * Nuuwa yayita Yakuwa “Katonda wa Seemu.” (Lub. 9:26) Seemu yali atya Yakuwa era ng’ayagala nnyo okusinza okw’amazima.

5 Ibulayimu yali amanyi Seemu? Kirabika yali amumanyi. Bwe yali akyali mulenzi muto, kiteekwa okuba nga kyamusanyusa nnyo okukimanya nti jjajjaawe oyo Seemu, eyali asussa mu myaka ebina egy’obukulu, yali alabye ebintu bingi ebyali bibaddewo emabega! Seemu yalaba ebintu ebibi abantu bye baali bakola ng’Amataba tegannabaawo. Yalaba Amataba agaasaanyaawo abantu ababi ku nsi; yaliwo ng’amawanga ag’enjawulo gatandikawo, era yaliwo nga Nimuloodi ajeemera Katonda n’azimba omunaala gw’e Baberi. Seemu teyeetaba mu kuzimba munaala ogwo, era wadde Yakuwa yatabulatabula olulimi lw’abo abaali bazimba omunaala, Seemu n’ab’olulyo lwe baasigala boogera olulimi olwasooka, olulimi Nuuwa lwe yayogeranga. Ibulayimu yali wa mu lulyo lwa Seemu, era ateekwa okuba nga yali amwenyumiririzaamu nnyo. Seemu yagenda okufa nga Ibulayimu musajja mukulu ddala, bwe kityo Seemu ayinza okuba nga ye yabuulira Ibulayimu ebikwata ku Yakuwa.

Ibulayimu yeesamba okusinza ebifaananyi okwali kubunye wonna mu Uli

6. (a) Kiki ekiraga nti Ibulayimu alina bye yayigira ku ebyo ebyaliwo mu kiseera ky’Amataba? (b) Obulamu bwa Ibulayimu ne Saala bwali butya?

6 Ibulayimu alina bye yayigira ku ebyo ebyaliwo mu kiseera ky’Amataba. Okufaananako Nuuwa, Ibulayimu naye yafuba okutambula ne Katonda. Eyo ye nsonga lwaki yeesamba okusinza ebifaananyi. Ekyo kyamufuula wa njawulo ku bantu b’omu kibuga Uli, era oboolyawo ne ku bamu ku b’eŋŋanda ze ab’oku lusegere. Ibulayimu yawasa Saala omukazi eyali alabika obulungi ennyo, era eyalina okukkiriza okw’amaanyi. * Wadde nga tebaalina mwana, bateekwa okuba nga baafuna essanyu lingi mu kuweereza Yakuwa. Baakuza ne Luti, omwana wa mukulu wa Ibulayimu eyali yafa.

7. Mu ngeri ki abagoberezi ba Yesu gye bayinza okukoppa Ibulayimu?

7 Ibulayimu teyava ku Yakuwa n’atandika okusinza ebifaananyi ng’abantu b’omu Uli. Ye ne Saala baali bamalirivu okusigala nga ba njawulo ku bantu b’omu kitundu ekyo. Bwe tuba twagala okuba n’okukkiriza okwa namaddala, naffe tulina okuba n’obumalirivu bwe bumu. Yesu yagamba nti abaweereza be ‘si ba nsi’ era nti olw’ensonga eyo ensi yandibakyaye. (Soma Yokaana 15:19.) Singa abo b’obeera nabo oba abantu b’omu kitundu ky’olimu bakuyigganya olw’okuba oweereza Yakuwa, jjukira nti kino si ggwe gwe kisoose okutuukako. Bwe weeyongera okuweereza Yakuwa, oba okoppa Ibulayimu ne Saala abaatambula ne Katonda.

“Va mu Nsi Yo”

8, 9. (a) Kintu ki ekikulu ennyo ekyaliwo mu bulamu bwa Ibulayimu? (b) Kiki Yakuwa kye yagamba Ibulayimu?

8 Lumu waaliwo ekintu ekikulu ennyo mu bulamu bwa Ibulayimu. Yafuna obubaka okuva eri Yakuwa Katonda! Bayibuli tetubuulira ngeri gye yabufunamu, naye egamba nti “Katonda ow’ekitiibwa” yamulabikira. (Soma Ebikolwa 7:2, 3.) Oboolyawo malayika ye yasobozesa Ibulayimu okulaba ekitiibwa ky’Omufuzi w’obutonde bwonna. Kiteekwa okuba nga kyasanyusa nnyo Ibulayimu okulaba nti Katonda omulamu yali wa njawulo nnyo ku bifaananyi abantu ab’omu kiseera kye bye baali basinza.

9 Kiki Yakuwa kye yagamba Ibulayimu? Yamugamba nti: “Va mu nsi ya nnyo, era awali ekika kyo, n’ennyumba ya kitaawo, oyingire mu nsi gye ndikulaga.” Yakuwa teyamubuulira nsi ki gye yali amutwalamu; yamugamba bugambi nti yali agenda kugimulaga. Ibulayimu yali alina okuva mu nsi mwe yali abeera, aleke n’ab’eŋŋanda ze. Edda ennyo mu kitundu ekyo, ab’eŋŋanda baatwalibwanga nga kintu kikulu nnyo. Omuntu eyalekanga ab’eŋŋanda ze n’agenda okusenga mu kitundu eky’ewala ennyo yatwalibwanga ng’eyazaawa.

10. Lwaki Ibulayimu ne Saala balina okuba nga tebaakisanga nga kyangu okuva mu Uli?

10 Ibulayimu alina okuba nga teyakisanga nga kyangu okuva mu Uli. Waliwo obukakafu obulaga nti ekibuga Uli kyalingamu abantu bangi era nga kirimu n’eby’obugagga bingi nnyo. (Laba akasanduuko  Ekibuga Ibulayimu ne Saala Kye Baabeerangamu.”) Ebyo bye bayiikudde mu kitundu ekibuga ekyo we kyali biraga nti kyalimu amayumba amalungi ennyo; agamu gaabangamu ebisenge bingi nnyo ebisulwamu, era nga gaabangako n’empya ezaabanga enjooyoote obulungi. Ekibuga ekyo kyalimu amazzi ag’emidumu, ne kaabuyonjo ez’amazzi. Ate n’ekirala Ibulayimu ne Saala baali bakulu ddala; Ibulayimu yali atemera mu myaka 70 ate nga ye Saala atemera mu myaka 60. Ibulayimu ateekwa okuba nga yali ayagala mukyala we Saala okubeera obulungi—ekintu buli musajja kye yandibadde ayagaliza mukyala we. Lowooza ku bye baali beebuuza ku nsi eyo Yakuwa gye yali abagambye okugenda. Ibulayimu ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo Saala bwe yakkiriza okuleka obulamu obulungi bwe baalimu bagende Yakuwa gye yali abagambye.

11, 12. (a) Nteekateeka ki ezaalina okukolebwa era biki ebyalina okusalibwawo nga Ibulayimu ne Saala tebannava mu Uli? (b) Nnyonnyola ebiyinza okuba nga bye byaliwo ku lunaku lwe baasitula okuva mu Uli?

11 Nga bamaze okusalawo okuva mu Uli, Ibulayimu ne Saala baalina eby’okukola bingi. Baalina okuteekateeka bye baali bagenda nabyo ate babisibeko. Kyokka n’ekisinga obukulu, baalina okusalawo bantu ki be baalina okugenda nabo. Mu abo be baasalawo okutwala mwe mwali ne Teera, kitaawe wa Ibulayimu. Baasalawo okugenda naye bamulabirire. Teera ateekwa okuba ng’eky’okugenda nabo yakisemba, kubanga ye ng’omukulu w’ennyumba, Bayibuli ate gw’eraga okuba nga ye yaggya ab’omu nnyumba ye mu Uli. Mu kiseera ekyo ateekwa okuba nga yali yalekayo okusinza ebifaananyi. Ne Lutti omwana wa muganda wa Ibulayimu yagenda nabo.Lub. 11:31.

12 Kyaddaaki olunaku lwe baalina okusitula lwatuuka. Eŋŋamira n’endogoyi baali bazitisse ebintu, era nga n’ebisolo byabwe ebirala babikuŋŋaanyirizza wamu. Ibulayimu n’ab’omu nnyumba ye, awamu n’abaweereza be nabo baali beetegese era nga beesunga okugenda. * Oboolyawo bonna amaaso baali bagatadde ku Ibulayimu, nga balinda abagambe basimbule. Baalwaddaaki ne basimbula ne bava mu Uli obutaddayo.

13. Abaweereza ba Yakuwa bangi leero balaga batya omwoyo ogulinga ogwa Ibulayimu ne Saala?

13 Leero, abaweereza ba Yakuwa bangi basalawo okugenda mu bitundu ewali obwetaavu bw’ababuulizi b’Obwakabaka. Abalala basalawo okuyiga ennimi endala basobole okubuulira abantu ab’amawanga amalala. Ate abalala basalawo okwenyigira mu buweereza bwe batamanyiridde. Emirundi mingi abo abasalawo okukola bwe batyo baba balina okubaako bye beefiiriza. Abo abakola bwe batyo baba booleka omwoyo ng’ogwa Ibulayimu ne Saala, era ekyo kye bakola kisiimibwa nnyo. Bwe twoleka okukkiriza okulinga okwa Ibulayimu ne Saala, Yakuwa ajja kutuwa emikisa mingi. (Beb. 6:10; 11:6) Yakuwa yawa Ibulayimu emikisa?

Basomoka Omugga Fulaati

14, 15. Oyinza kunnyonnyola otya olugendo okuva e Uli okutuuka e Kalani bwe lwali, era kiki ekiyinza okuba nga kye kyaleetera Ibulayimu okusalawo okubeera e Kalani okumala ebbanga?

14 Ibulayimu n’ab’ennyumba ye baagendanga basiisira mu bifo eby’enjawulo. Bateekwa okuba nga baagenda banyumya, era oboolyawo Ibulayimu bwe yabanga akooye okutambuza ebigere, nga Saala ava ku ndogoyi ye n’agyebagala, ate oluvannyuma lw’ekiseera nga bawaanyisa. Teera eyali akaddiye naye baalina okumuyambako okwebagala n’okutereera obulungi ku ŋŋamira oba ku ndogoyi. Baatambula badda bukiikakkono nga bagoberera Omugga Fulaati.

15 Oluvannyuma lw’okutambula mayiro nga 600, baatuuka e Kalani. Mu kibuga ekyo enguudo ezaali zidda ebuvanjuba n’ebugwanjuba we zaayawukaniranga. Wano baasiisirawo okumala ebbanga. Oboolyawo Teera yali anafuye nnyo nga takyayinza kweyongerayo.

16, 17. (a) Biki Yakuwa bye yagamba Ibulayimu ebyamuzzaamu ennyo amaanyi? (b) Yakuwa yawa atya Ibulayimu emikisa ng’ali e Kalani?

16 Teera yafa ng’alina emyaka 205. (Lub. 11:32) Oluvannyuma lw’okufa kwe, Yakuwa yaddamu okwogera ne Ibulayimu, era ekyo kirina okuba nga kyamubudaabuda nnyo. Yakuwa yaddamu okugamba Ibulayimu ebigambo bye yali amugambye ng’akyali e Uli, naye n’agattako nti yali ajja kufuuka “eggwanga eddene,” era nti amawanga mangi gandifunye emikisa mingi okuyitira mu ye. (Soma Olubereberye 12:2, 3.) Endagaano eyo Katonda gye yakola naye yamuzzaamu nnyo amaanyi, era yalaba nti ekyo kye kyali ekiseera ekituufu okusitula beeyongereyo ku lugendo lwabwe.

17 Ku luno baalina ebintu bingi nnyo eby’okutwala. Ibulayimu yali afunye ebintu bingi mu Kalani, olw’okuba Yakuwa yali amuwadde omukisa. Bayibuli eyogera ku ‘bintu byabwe byonna bye baali bakuŋŋaanyizza, n’abantu be baali bafunye mu Kalani.’ (Lub. 12:5) Ibulayimu okusobola okufuuka eggwanga kyali kimwetaagisa okuba n’eby’obugagga bingi era n’abaweereza bangi. Kyokka ekyo tekitegeeza nti Yakuwa abaweereza be abawa eby’obugagga, wabula abawa bye beetaaga okusobola okutuukiriza by’ayagala. Ibulayimu yakuŋŋaanya ebintu bye, ye n’ab’omu nnyumba ye ne basitula ne bagenda.

Tekyali kyangu Ibulayimu ne Saala okuleka obulamu obulungi bwe baalimu mu Uli

18. (a) Ekimu ku bintu ebikulu ennyo mu byafaayo by’abantu ba Katonda kyaliwo ddi? (b) Bintu ki ebirala ebikulu ebyaliwo nga Nisaani 14? (Laba akasanduuko “ Olunaku olw’Ebyafaayo.”)

18 Okuva e Kalani baatambula ennaku eziwerako okutuusa lwe baatuuka e Kalukemisi, we baasomokera Omugga Fulaati. Oboolyawo nga Ibulayimu ali mu kifo kino, ekimu ku bintu ebikulu ennyo mu byafaayo by’abantu ba Katonda we kyabeererawo. Kirabika Ibulayimu yasomoka omugga ogwo nga 14, mu mwezi gwa Nisaani, mu 1943 E.E.T. (Kuv. 12:40-43) Ebukiikaddyo we waali ensi Yakuwa gye yali asuubizza okumulaga. Ku olwo endagaano Katonda gye yali akoze ne Ibulayimu lwe yatandika okukola.

19. Kiki Yakuwa kye yasuubiza Ibulayimu, era kiyinza kuba nga kyamujjukiza ki?

19 Ibulayimu n’abantu be baatambula badda bukiikaddyo, era oluvannyuma baagumba okumpi n’emiti eminene egya Moole, egyali okumpi n’e Sekemu. Nga bali mu kifo ekyo, Yakuwa yaddamu n’ayogera ne Ibulayimu. Ku luno Katonda yamusuubiza nti ensi eyo yali ajja kugiwa ezzadde lye. Kyandiba ng’ebigambo ebyo byaleetera Ibulayimu okulowooza ku bigambo by’obunnabbi Yakuwa bye yayogera mu Edeni, nti wandibaddewo “ezzadde” eryandinunudde olulyo lw’abantu? (Lub. 3:15; 12:7) Oboolyawo. Era ayinza okuba nga yatandika okukitegeera nti Yakuwa yaliko bw’agenda okumukozesa mu kutuukiriza ekigendererwa kye ekikulu ennyo.

20. Ibulayimu yakiraga atya nti yali asiima enkizo Yakuwa gye yali amuwadde?

20 Ibulayimu yasiima nnyo enkizo eyo Yakuwa gye yamuwa. Bwe yali ayitaayita mu nsi eyo yazimbira Yakuwa ekyoto e Moole, ate oluvannyuma n’amuzimbira ekirala okumpi n’e Beseri. Naye yeegenderezanga, olw’okuba ensi eyo yali ekyalimu Abakanani. Ate era yakoowoolanga erinnya lya Yakuwa, oboolyawo ng’amwebaza era ng’alowooza ne ku ebyo bye yali amusuubizza ye n’ezzadde lye. Ayinza n’okuba nga yabuuliranga Abakanani ebikwata ku Katonda ow’amazima. (Soma Olubereberye 12:7, 8.) Awatali kubuusabuusa okukkiriza kwa Ibulayimu kwali kujja kugezesebwa. Wadde kyali kityo, teyalowooza ku bulamu obulungi bwe yalimu ng’akyali mu Uli. Ebirowoozo bye yabissa ku ebyo Yakuwa bye yali amusuubizza. Abebbulaniya 11:10 lugamba nti Ibulayimu “yali alindirira ekibuga ekirina emisingi gyennyini, era nga eyakizimba era eyakikola ye Katonda.”

21. Biki bye tumanyi ku Bwakabaka Ibulayimu bye yali tamanyi, era omaliridde kukola ki?

21 Ffe abaweereza ba Yakuwa abaliwo leero tumanyi bingi nnyo ebikwata ku kibuga ekyo eky’akabonero—Obwakabaka bwa Katonda—okusinga Ibulayimu. Tumanyi nti Obwakabaka bufuga mu ggulu era nti mangu bujja kuggyawo enteekateeka y’ebintu eno embi. Era tumanyi nti Yesu Kristo, Ezzadde lya Ibulayimu eryasuubizibwa, kati afuga mu Bwakabaka obwo. Ng’eriba nkizo ya maanyi nnyo okulaba Ibulayimu ng’azuukiziddwa era n’ategeera bulungi ekigendererwa kya Katonda! Wandyagadde okulaba ng’ekigendererwa kya Yakuwa kituukirizibwa? Weeyongere okukola ekyo Ibulayimu kye yakola. Laga omwoyo ogw’okwefiiriza, beera muwulize eri Yakuwa, era laga nti osiima buli nkizo Yakuwa gy’akuwa. Bw’oyoleka okukkiriza okulinga okwa Ibulayimu, ‘kitaawe w’abo bonna abalina okukkiriza,’ naawe ajja kuba afuuse kitaawo!

^ lup. 1 Ebyogerwako wano we byabeererawo, Ibulayimu yali ayitibwa Ibulaamu, naye oluvannyuma Katonda yakyusa erinnya lye n’amutuuma Ibulayimu, ekitegeeza “Kitaawe w’Enkumi.”Lub. 17:5.

^ lup. 4 Mu ngeri y’emu Bayibuli bw’eba emenya amannya g’abaana ba Teera, erya Ibulayimu ly’esoosa wadde nga si ye yali omwana omukulu.

^ lup. 6 Ebyogerwako wano we byabeererawo, Saala yali ayitibwa Salaayi, naye oluvannyuma Katonda yakyusa erinnya lye n’amutuuma Saala, ekitegeeza “Omumbejja.”Lub. 17:15.

^ lup. 12 Abamu bagamba nti mu kiseera kya Ibulayimu abantu tebaabanga na ŋŋamira awaka. Kyokka tebalina kwe basinziira kukiwakanya. Ennyiriri eziwerako mu Bayibuli ziraga nti Ibulayimu yalina eŋŋamira.Lub. 12:16; 24:35.