Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’EKKUMI N’ETTAANO

Yalwanirira Abantu ba Katonda

Yalwanirira Abantu ba Katonda

1-3. (a) Lwaki Eseza ateekwa okuba nga yalimu okutya bwe yali agenda eri bbaawe? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?

ESEZA amameeme gateekwa okuba nga gaali gamukuba ng’agenda okuyingira mu luggya lw’omu lubiri lw’e Susani. Olubiri olwo lwawuniikirizanga omuntu yenna eyaluyingirangamu olw’engeri ennungi ennyo gye lwali lwazimbibwamu era n’engeri gye lwali lwayooyootebwamu. Ku bisenge byalwo kwaliko ebifaananyi ebirabika obulungi ennyo eby’ente ezaalina ebiwaawaatiro, eby’abalasi b’obusaale, n’eby’empologoma. Lwalimu empagi z’amayinja ezaali zitonaatoneddwa obulungi ennyo, era lwalimu n’ebibumbe ebinene ddala. Olubiri olwo lwali kumpi n’ensozi eziyitibwa Zagulosi era nga luli kumpi n’omugga Kowasipesi. Engeri gye lwali lwazimbibwamu yali ekyoleka kaati nti kabaka eyali alubeeramu yali wa kitiibwa nnyo. Oyo nno ye kabaka Eseza gwe yali azze okulaba era ye yali bbaawe.

2 Bba wa Eseza, Akaswero, si ye musajja omuwala Omuyudaaya atya Katonda gwe yandibadde ayagala okufumbirwa. * Akaswero teyali nga Ibulayimu, omusajja eyali omwetoowaze, eyakkiriza ekyo Katonda kye yamugamba n’awuliriza mukazi we Saala. (Lub. 21:12) Akaswero ayinza okuba nga yali talina ky’amanyi ku Yakuwa Katonda wa Eseza era n’amateeka ge. Naye go amateeka g’Abaperusi yali agamanyi bulungi nnyo, nga mw’otwalidde n’eryo Eseza lye yali agenda okumenya. Eseza yali agenda eri kabaka nga tamuyise, ate ng’etteeka lyali ligamba nti omuntu yenna eyagendanga eri kabaka nga tamuyise yalinanga okuttibwa. Eseza bwe yali anaatera okutuuka mu luggya olw’omunda, kabaka we yali asobola okumulengerera, ayinza okuba nga muli yawulira ng’eyali asemberedde entaana ye.Soma Eseza 4:11; 5:1.

3 Lwaki Eseza yassa obulamu bwe mu kabi? Kiki kye tuyigira ku ngeri omukyala ono gye yayolekamu okukkiriza kwe? Ka tusooke tulabe engeri gye yatuuka okuba Nnaabakyala mu Buperusi.

Ebikwata ku Eseza

4. Kiki kye tumanyi ku Eseza era yatuuka atya okubeera ne Moluddekaayi?

4 Eseza yali mulekwa. Tewali nnyo kimanyiddwa ku bazadde be abaamutuuma erinnya Kadassa. Bazadde ba Eseza bwe baafa, omu ku b’eŋŋanda ze eyali ayitibwa Moluddekaayi yamutwala ewuwe n’amukuza ng’omwana we. Moluddekaayi yali mwana wa muganda wa taata wa Eseza, era nga yali mukulu ddala ku Eseza.Es. 2:5-7, 15.

Moluddekaayi ateekwa okuba nga yali yeenyumiririza nnyo mu mwana oyo gwe yakuza

5, 6. (a) Moluddekaayi yakuza atya Eseza? (b) Eseza ne Moluddekaayi baali mu bulamu bwa ngeri ki mu Susani?

5 Moluddekaayi ne Eseza baali mu buwaŋŋanguse mu kibuga ekikulu ekya Buperusi era nga kirabika abantu abamu mu kibuga ekyo baali tebaagala Bayudaaya olw’eddiini yaabwe n’olw’amateeka ge baali bagoberera. Moluddekaayi ateekwa okuba nga yabuuliranga Eseza ebikwata ku Yakuwa, Katonda omusaasizi, eyanunulanga abantu be mu biseera eby’emabega, era eyandibanunudde ne mu biseera eby’omu maaso. (Leev. 26:44, 45) Awatali kubuusabuusa, Eseza ne Moluddekaayi baalina enkolagana ey’oku lusegere.

6 Kirabika Moluddekaayi yali akola mu lubiri lw’e Susani, era yatuulanga ku mulyango gw’olubiri awamu n’abaweereza ba kabaka abalala. (Es. 2:19, 21; 3:3) Bayibuli tetubuulira bikwata ku bulamu bwa Eseza ng’akyali muto, naye tuba batuufu okulowooza nti yayambangako Moluddekaayi emirimu egitali gimu awaka. Kirabika baabeeranga mitala w’omugga ogwali guyita okumpi n’olubiri, mu kitundu ekyabangamu abaavu. Eseza ayinza okuba nga yayagalanga nnyo okugenda mu katale k’omu Susani awaabanga abo abaweesa ebintu ebya zzaabu ne ffeeza era n’abasuubuzi abalala. Mu kiseera ekyo yali tayinza na kukiteebereza nti ekiseera kyandituuse n’aba n’ebintu ebyo mu bungi.

‘Yali Alabika Bulungi Nnyo’

7. Lwaki Vasuti yaggibwako obwannaabakyala, era kiki ekyaddirira?

7 Lumu waaliwo oluvuuvuumo mu Susani, ng’abantu boogera ku kizibu ekyali kigudde mu maka ga kabaka. Kabaka Akaswero yali agabudde abakungu be ekijjulo makeke. Nga bali ku kijjulo ekyo, kabaka yalagira bayite mukyala we Vasuti, eyali alabika obulungi ennyo, nga mu kiseera ekyo naye yali ne bakyala banne ku kijjulo ekirala. Kyokka Vasuti yagaana okujja. Kabaka yawulira ng’aweebuddwa nnyo, era yasunguwala nnyo, bw’atyo yabuuza abawabuzi be ki ekyali kigwana okukolerwa Vasuti. Baamugamba nti aggibwe ku bwannaabakyala, era bw’atyo Vasuti n’aggibwa ku bwannaabakyala. Abaweereza ba kabaka baatandika okunoonya mu bwakabaka bwonna obwa Buperusi abawala embeerera abalabika obulungi, era nga mu abo kabaka mwe yandibadde alonda eyandizze mu kifo kya Vasuti.Es. 1:1–2:4.

8. (a) Lwaki Moluddekaayi ayinza okuba yeeraliikiriramu Eseza bwe yakula n’avaamu omuwala alabika obulungi ennyo? (b) Bayibuli eyogera ki ku bulungi? (Laba ne Engero 31:30.)

8 Eseza bwe yakula n’avaamu omuwala alabika obulungi ennyo, Moluddekaayi ateekwa okuba nga yali amwenyumiririzaamu nnyo, naye era ayinza okuba nga yeeraliikirirangamuko. Tusoma nti: “Omuwala oyo yali mulungi nnyo.” (Es. 2:7) Bayibuli ekiraga nti omuntu ne bw’aba ng’alabika bulungi, asaanidde okuba n’amagezi era n’okuba omwetoowaze. Bwe kitaba kityo, obulungi bwe buyinza okumuleetera okwetwala nti wa kitalo nnyo. (Soma Engero 11:22.) Ekyo otera okukiraba mu bantu? Obulungi bwa Eseza bwandimuyambye oba bwandimuleetedde okuba ow’amalala? Ekituufu kyali kigenda kweyoleka.

9. (a) Abaweereza ba kabaka bwe baalaba Eseza kiki kye baakola, era lwaki kiteekwa okuba nga tekyali kyangu eri Eseza ne Moluddekaayi okwawukana? (b) Lwaki Moluddekaayi yakkiriza Eseza okufumbirwa omuntu eyali tasinza Yakuwa? (Laba n’akasanduuko akali mu ssuula 16.)

9 Abaweereza ba kabaka baalaba Eseza, era baamuggya ku Moluddekaayi ne bamutwala mu lubiri emitala w’omugga. (Es. 2:8) Akaseera ako kateekwa okuba nga kaali kazibu nnyo, kubanga Eseza yali nga muwala wa Moluddekaayi. Moluddekaayi ateekwa okuba nga yali tayagala mwana oyo gwe yali akuzizza afumbirwe omuntu atasinza Yakuwa, naye yali talina ky’ayinza kukikolera. * Nga Eseza tannatwalibwa, Moluddekaayi ateekwa okuba ng’aliko bye yamubuulirira era Eseza n’abiwuliriza n’obwegendereza. Eseza bwe yali atwalibwa mu lubiri, ateekwa okuba nga muli yali yeebuuza ebintu bingi. Obulamu bwali bugenda kuba butya?

‘Yaganja mu Maaso g’Abo Bonna Abaamulabanga’

10, 11. (a) Embeera empya Eseza gye yalimu yali eyinza kumukolako ki? (b) Moluddekaayi yakiraga atya nti omwoyo gwamulumiranga nnyo Eseza?

10 Eseza gye yatwalibwa obulamu bwali bwa njawulo nnyo ku obwo bwe yali amanyidde. Yabeeranga wamu n’abawala abalala bangi abaali baggiddwa mu bitundu ebitali bimu mu bwakabaka bwa Buperusi. Baali ba mawanga ga njawulo, nga boogera ennimi za njawulo, era n’engeri gye baali batunuuliramu ebintu yali ya njawulo. Abawala abo bonna baakwasibwa omukungu eyali ayitibwa Kegayi, era ensusu zaabwe zaali zigenda kukolebwako okumala omwaka mulamba okusobola okwongera okubalungiya, era nga mu kino mwali muzingiramu n’okubasiiga omuzigo ogw’akaloosa. (Es. 2:8, 12) Kino kiyinza okuba nga kyaleetera abawala abamu okufaayo ennyo ku ndabika yaabwe, era n’okwetwala nti ba kitalo nnyo. Ate era kiyinza okuba ng’abamu kyabaleetamu omwoyo gw’okuvuganya. Embeera eno erina kye yakola ku Eseza?

11 Moluddekaayi ateekwa okuba ng’omwoyo gwamulumiranga nnyo Eseza. Bayibuli eraga nti buli lunaku yagendanga okumpi n’ennyumba abawala mwe baabeeranga asobole okumanya ebimufaako. (Es. 2:11) Moluddekaayi ateekwa okuba nga yasanyukanga buli lwe yafunanga amawulire agakwata ku Eseza, era ng’oboolyawo yagafunanga okuva eri omu ku bakozi b’omu lubiri.

12, 13. (a) Abantu Eseza be yalimu baamutwala batya? (b) Lwaki Moluddekaayi ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo bwe yakitegeera nti Eseza yali tabuulidde balala nti yali Muyudaaya?

12 Eseza yaganja nnyo eri Kegayi, era Kegayi yamulaga ekisa kingi n’amuwa abazaana musanvu era n’ekifo ekyali kisingayo obulungi mu nnyumba y’abawala. Bayibuli era egamba nti: ‘Eseza yaganja mu maaso g’abo bonna abaamulabanga.’ (Es. 2:9, 15) Endabika ya Eseza yokka ye yaleetera abantu okumwagala? Nedda, waliwo n’ekirala.

Eseza yali akimanyi nti obwetoowaze n’amagezi bikulu nnyo okusinga endabika ennungi

13 Bayibuli egamba nti: “Eseza teyayogera bikwata ku bantu be wadde ab’eŋŋanda ze, kubanga Moluddekaayi yali amulagidde obutayogera.” (Es. 2:10, NW) Moluddekaayi yali agambye Eseza obutabuulira bantu nti yali Muyudaaya, kubanga yali akimanyi nti bangi baali tebaagalira ddala Bayudaaya. Nga Moluddekaayi ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okukimanya nti wadde nga Eseza teyali naye, yali akyali muwulize.

14. Leero abaana basobola batya okukoppa Eseza?

14 Okufaananako Eseza, ne leero abaana basobola okuleetera bazadde baabwe oba abantu ababalabirira essanyu. Ne bwe baba nga tebali na bazadde baabwe—nga bali mu bantu ab’empisa embi, abagwenyufu, oba abakambwe ennyo—basobola okunywerera ku ekyo kye bamanyi nti kye kituufu. Bwe bakola bwe batyo, basanyusa Kitaabwe ow’omu ggulu.Soma Engero 27:11.

15, 16. (a) Lwaki Eseza yaganja mu maaso ga kabaka? (b) Enkyukakyuka ey’amaanyi eyaliwo mu bulamu bwa Eseza yaleetawo kusoomooza ki gy’ali?

15 Ekiseera bwe kyatuuka Eseza okutwalibwa eri kabaka, yaweebwa eddembe okusaba kyonna kye yali awulira nti akyetaaga, oboolyawo okumuyamba okwongera okulabika obulungi. Kyokka Eseza yasaba ebyo byokka Kegayi bye yamugamba asabe. (Es. 2:15) Oboolyawo yakitegeera nti obulungi bwokka si bwe bwandisikirizza kabaka. Abantu abasinga mu lubiri olwo tebaali beetoowaze era Eseza ayinza okuba yakiraba nti obwetoowaze bwali bwa muwendo nnyo okusinga endabika ennungi.

16 Bayibuli egamba nti: “Awo kabaka n’ayagala Eseza okusinga abakazi bonna, n’alaba ekisa n’okuganja mu maaso ge okusinga abawala bonna: n’okuteeka n’ateeka engule ey’obwakabaka ku mutwe gwe n’amufuula [nnaabakyala] mu kifo kya Vasuti.” (Es. 2:17) Ng’eno yali nkyukakyuka ya maanyi mu bulamu bw’omuwala oyo Omuyudaaya eyali omwetoowaze! Eseza yali afuuse nnaabakyala, mukazi wa kabaka eyali asingayo okuba ow’amaanyi mu nsi yonna mu kiseera ekyo! Ekyo kyamuleetera okufuna amalala? Nedda.

17. (a) Eseza yakyoleka atya nti yali akyali muwulize eri Moluddekaayi? (b) Lwaki tusaanidde okukoppa ekyokulabirako kye yassaawo?

17 Eseza yeeyongera okuba omuwulize eri Moluddekaayi eyamukuza. Eky’okuba Omuyudaaya yeeyongera okukikuuma nga kyama. Ate era, Moluddekaayi bwe yamubuulira ku lukwe olwali lukoleddwa okutta Kabaka Akaswero, ensonga eyo Eseza yagitegeeza kabaka, abo abaali bakoze olukwe olwo ne bakwatibwa. (Es. 2:20-23) Eseza yasigala mwetoowaze era nga muwulize, bw’atyo n’akyoleka nti yali yeesiga Katonda we. Nga kiba kirungi nnyo okuba abawulize nga Eseza, naddala mu kiseera kino ng’abantu abasinga obungi tebakitwala nti kikulu okuba abawulize. Okufaananako Eseza, abantu abaagala Yakuwa bakitwala nti kikulu okuba abawulize.

Okukkiriza kwa Eseza Kugezesebwa

18. (a) Kiki ekiyinza okuba nga kye kyaviirako Moluddekaayi okugaana okuvunnamira Kamani? (Laba n’obugambo obuli wansi ku lupapula 131.) (b) Abaweereza ba Yakuwa abeesigwa leero bakoppa batya ekyokulabirako kya Moluddekaayi?

18 Mu lubiri mwalimu omusajja eyali ayitibwa Kamani, Kabaka Akaswero gwe yali awadde ekifo ekya waggulu. Yali amufudde katikkiro era omuwabuzi we omukulu, bw’atyo n’aba nga ye yali amuddirira mu bwakabaka bwe. Kabaka yateekawo ekiragiro nti buli muntu yalina okuvunnamiranga omukungu ono. (Es. 3:1-4) Naye etteeka eryo Moluddekaayi yalisangamu obuzibu. Yali muwulize nnyo eri kabaka, naye yali tayinza kumenya tteeka lya Katonda. Anti Kamani yali Mwagagi. Kirabika yali muzzukulu wa Agagi, kabaka w’Abamaleki, nnabbi Samwiri gwe yatta. (1 Sam. 15:33) Abamaleki baali bantu babi nnyo, era nga baali balabe ba Yakuwa ne Isiraeri. Eggwanga ly’Abamaleki Yakuwa yali yalisalira dda omusango ogw’okuzikirizibwa. * (Ma. 25:19) Tewaaliwo Muyudaaya mwesigwa yali ayinza kuvunnamira Mwamaleki. N’olwekyo Moluddekaayi yagaanira ddala okuvunnamira Kamani. Ne leero abaweereza ba Yakuwa abeesigwa banywerera ku musingi ogugamba nti: “Tuteekwa okugondera Katonda ng’omufuzi okusinga abantu.”Bik. 5:29.

19. Kiki Kamani kye yali ayagala okukola, era biki bye yayogera ku Bayudaaya eri kabaka?

19 Kamani yasunguwala nnyo era n’akola olukwe okutta Moluddekaayi. Naye era yawulira ng’ekyo tekimumala. Yayagala asaanyeewo n’abantu b’eggwanga lya Moluddekaayi bonna. Yayogera eby’obulimba ku Bayudaaya aleetere kabaka okulowooza nti baali bantu babi. Wadde ng’erinnya ly’eggwanga lyabwe teyalyogera butereevu, yagamba kabaka nti baali bantu abataalina mugaso gy’ali, ‘abaali basaasaanye era nga ba njawulo ku bantu b’amawanga amalala gonna.’ N’ekyali kisingira ddala obubi, yagamba nti baali tebagondera mateeka ga kabaka, era nga kino kyali kiraga nti baali bantu bajeemu era ba mutawaana nnyo. Yeeyama okuteeka mu ggwanika lya kabaka ssente nnyingi ezandikozeseddwa mu kusanjaga Abayudaaya bonna abaali mu bwakabaka bwa Buperusi. * Kabaka Akaswero yawa Kamani empeta ye eramba, agikozese okuteeka akabonero ku biwandiiko byonna ebyali byetaagisa mu kutuukiriza ekyo kye yali ateesezza.Es. 3:5-10.

20, 21. (a) Amabaluwa Kamani ge yaweereza gaayisa gatya Abayudaaya mu Bwakabaka bwa Buperusi, nga mw’otwalidde ne Moluddekaayi? (b) Kiki Moluddekaayi kye yagamba Eseza okukola?

20 Mangu ddala ababaka baatalaaga obwakabaka bwonna obwa Buperusi nga basaasaanya amabaluwa agaalimu ekiragiro ky’okutta Abayudaaya. Teeberezaamu bwe kyali e Yerusaalemi ng’amawulire ago gatuuse ku Bayudaaya abaali bavudde mu buwaŋŋanguse e Babulooni era abaali bagezaako okuddamu okuzimba ekibuga ekyo ekitaaliko na bbugwe. Moluddekaayi bwe yawulira amawulire ago amabi ayinza okuba nga yalowooza ku Bayudaaya abo awamu ne mikwano gye era n’ab’eŋŋanda ze abaali babeeera mu Susani. Yayuza ebyambalo bye, n’ayambala ebibukutu ne yeeyiira evvu mu mutwe, n’agenda wakati mu kibuga n’atema emiranga. Kyokka ye Kamani yali atudde ne kabaka nga yeenywera mwenge, era nga teyeefiirayo, wadde nga yali akiraba nti Abayudaaya bangi mu Susani awamu ne mikwano gyabwe baali mu buyinike obutagambika.Soma Eseza 3:12–4:1.

21 Moluddekaayi yakiraba nti yali ateekwa okubaako ky’akolawo. Naye kiki kye yandikoze? Eseza bwe yawulira nti Moluddekaayi yali ayambadde ebibukutu era ng’ali mu kukungubaga, yamuweereza engoye ayambale naye Moluddekaayi n’agaana okuzambala. Oboolyawo Moluddekaayi yali amaze ekiseera nga yeebuuza ensonga lwaki Katonda we, Yakuwa, yali akkirizza Eseza okumuggibwako n’afumbirwa kabaka eyali asinza bakatonda ab’obulimba. Kaakano ensonga yali atandise okugitegeera. Yaweereza Eseza obubaka, n’amugamba agende eri kabaka amwegayirire ‘ku lw’abantu be.’Es. 4:4-8.

22. Lwaki Eseza yali atya okugenda eri bbaawe, kabaka Akaswero? (Laba n’obugambo obuli wansi.)

22 Eseza ateekwa okuba nga yatekemuka bwe yafuna obubaka obwo. Kino kyali kigezo kya maanyi nnyo gy’ali, era ebyo bye yaddamu Moluddekaayi biraga nti yali atidde nnyo. Yamujjukiza etteeka lya kabaka. Etteeka eryo lyali ligamba nti omuntu yenna eyandigenze eri kabaka nga tayitiddwa yalinanga okuttibwa okuggyako nga kabaka amuwanikidde omuggo gwe. Eseza teyalina nsonga yonna kwe yandisinzidde kulowooza nti ye kabaka yandimuwanikidde omuggo gwe, nnaddala bwe yalowooza ku kyatuuka ku Vasuti bwe yajeemera ekiragiro kya kabaka. Yagamba Moluddekaayi nti kabaka yali amaze ennaku 30 nga tamuyitanga kugenda gy’ali. Olw’okuba kabaka yali amusuuliridde bw’atyo, ayinza okuba nga yalowooza nti oboolyawo yali takyamwagala. *Es. 4:9-11.

23. (a) Biki Moluddekaayi bye yayogera okusobola okunyweza okukkiriza kwa Eseza? (b) Lwaki tuyinza okugamba nti Moluddekaayi yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi?

23 Moluddekaayi yaddamu Eseza mu ngeri eyali esobola okunyweza okukkiriza kwe. Yamukakasa nti bw’atandibaddeko ky’akolawo, okulokolebwa kw’Abayudaaya kwandivudde awalala. Naye ye Eseza yandisuubidde okuwonawo nga batandise okutta Abayudaaya? Moluddekaayi yakyoleka bulungi nti yalina obwesige bwa maanyi nti Yakuwa yali tayinza kuleka bantu be kusaanyizibwawo, era nti yali ajja kutuukiriza ebisuubizo bye. (Yos. 23:14) Moluddekaayi yagamba Eseza nti: “Ani amanyi obanga eno ye nsonga lwaki wafuuka nnaabakyala?” (Es. 4:12-14, NW) Mazima ddala Moluddekaayi yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo. Yassa obwesige bwe bwonna mu Yakuwa, Katonda we. Naffe tussa obwesige bwaffe mu Yakuwa?Nge. 3:5, 6.

Teyatya Kufa

24. Eseza yalaga atya okukkiriza okw’amaanyi era n’obuvumu?

24 Eseza yasalawo okubaako ky’akolawo. Yagamba Moluddekaayi nti yali agenda kusiiba okumala ennaku ssatu, era n’amugamba agambe Bayudaaya banne nabo basiibe. Yafundikira n’ebigambo ebyali byoleka okukkiriza okw’amaanyi n’obuvumu, bwe yagamba nti: ‘Bwe nnaaba wa kufa, kale nnaafa.’ (Es. 4:15-17) Mu nnaku ezo essatu ateekwa okuba nga yasaba nnyo Yakuwa. Kyaddaaki ekiseera kyatuuka Eseza okugenda mu maaso ga kabaka. Yayambala ebyambalo bye ebyali bisingayo okulabika obulungi era ne yeekolako bulungi nnyo, oluvannyuma n’atambula okugenda eri kabaka.

Eseza yassa obulamu bwe mu kabi okusobola okulwanirira abantu ba Katonda

25. Nnyonnyola ebyaliwo nga Eseza agenze mu maaso ga bbaawe.

25 Ng’akatundu akasooka mu ssuula eno bwe kalaga, Eseza yagenda mu lubiri lwa kabaka. Bwe yali atambula ng’agenda, ateekwa okuba yali asaba mu mutima gwe era ateekwa okuba nga yalowooza ku bintu bingi. Yayingira mu luggya, n’atuuka we yali asobola okulengerera kabaka ku nnamulondo ye. Oboolyawo yatunuulira kabaka okulaba obanga yali mu mbeera. Bwe kiba nti yalina okulindirira okumala akaseera kabaka amulabe, akaseera ako kaalabika ng’omwaka omulamba gy’ali. Ddaaki bbaawe Akaswero yamulaba, era ateekwa okuba nga yeebuuza ekyali kimuleese, naye teyanyiiga, wabula yamuwanikira omuggo gwe ogwa zzaabu.Es. 5:1, 2.

26. Lwaki Abakristaayo ab’amazima basaanidde okuba abavumu nga Eseza, era lwaki tugamba nti Eseza yali akyalina omulimu munene nnyo?

26 Kabaka yali akkirizza okuwulira ekyo Eseza kye yali azze okumugamba. Eseza yali atadde obulamu bwe mu kabi okusobola okulwanirira abantu be. Yayoleka okukkiriza okw’amaanyi era n’ateerawo abaweereza ba Katonda bonna ekyokulabirako ekirungi. Abakristaayo ab’amazima leero bakoppa ebyokulabirako nga bino ebirungi. Yesu yagamba nti abagoberezi be bandibadde bategeererwa ku kwagala kwe balagaŋŋana. (Soma Yokaana 13:34, 35.) Okusobola okwoleka okwagala okulinga okwo, kyetaagisa okuba n’obuvumu ng’obwa Eseza. Wadde nga Eseza yassa obulamu bwe mu kabi ku lw’abantu be ku lunaku olwo, yali tannabaako we yaabadde. Yandisobodde atya okumatiza kabaka nti omuwabuzi we Kamani yali muntu mukyamu nnyo? Yandisobodde atya okutaasa abantu be? Ebibuuzo bino bigenda kuddibwamu mu ssuula eddako.

^ lup. 2 Kirowoozebwa nti Akaswero ye yali Zakisiisi I, eyafuga obwakabaka bwa Buperusi mu kyasa eky’okutaano ng’embala eno tennatandika.

^ lup. 9 Laba akasanduuko “Ebyebuuzibwa ku Kitabo kya Eseza,” mu Ssuula 16.

^ lup. 18 Oboolyawo Kamani y’omu ku Bamaleki abatono ddala abaali bakyasigaddewo, okuva Bayibuli bw’egamba nti Abamaleki abaali ‘bawonyeewo’ baali bazikiriziddwa mu kiseera kya Kabaka Keezeekiya.1 Byom. 4:43.

^ lup. 19 Kamani yeeyama okuwaayo ebitundu bya ffeeza 10,000, era nga ssente ezo mu kiseera kino ziba doola bukadde na bukadde. Bwe kiba nti Akaswero ye yali Zakisiisi I, ssente ezo ziteekwa okuba nga zaamusikiriza nnyo, kubanga olutalo lwe yali amaze ekiseera kiwanvu ng’ateekateeka okulwana ne Buyonaani lwali lugenda kwetaagisa ssente nnyingi nnyo ddala.

^ lup. 22 Zakisiisi I yali amanyiddwa ng’omuntu eyali akyukakyuka amangu era nga wa busungu bungi. Munnabyafaayo Omuyonaani ayitibwa Herodotus yawandiika ebimu ku ebyo Zakisiisi bye yakola mu lutalo Buperusi lwe yalwana ne Buyonaani. Kabaka oyo yalagira bazimbe olutindo ku mukutu gw’e Hellespont. Omuyaga ogw’amaanyi bwe gwayonoona olutindo olwo, yalagira nti abo abaaluzimba batemweko emitwe. Era yalagira n’abasajja be bakube kibooko amazzi g’omukutu ogwo “okugabonereza,” ng’eno bwe basoma n’ekiwandiiko ekigavumirira. Mu lutalo lwe lumu olwo, nnaggagga omu bwe yamusaba aleme kuyingiza mwana we mu magye, Zakisiisi yasalamu omwana oyo ebitundu bibiri, ebitundu ebyo ne biteekebwa abantu we baali basobola okubirabira, kibe kya kulabirako gye bali.