Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’OMUSANVU

‘Yeeyongera Okukula ng’Ali mu Maaso ga Yakuwa’

‘Yeeyongera Okukula ng’Ali mu Maaso ga Yakuwa’

1, 2. Kiki ekyali kibaddewo ekyaleetera Samwiri okuyita Abaisiraeri, era lwaki yali yeetaaga okubayamba okukitegeera nti baalina okwenenya?

SAMWIRI yatunuulira abantu abaali bazze mu lukuŋŋaana. Abaisiraeri baali bazze e Girugaali olw’okuba nnabbi oyo omwesigwa eyali amaze emyaka emingi ng’alamula Isiraeri yali abayise abeeko by’abagamba. Olukuŋŋaana olwo lwaliwo mu Maayi oba mu Jjuuni okusinziira ku kalenda gye tugoberera. Kyali kiseera kya musana era eŋŋaano yali etuuse okukungulwa. Bwe yatandika okwogera, abantu baasiriikirira bawulire ky’abagamba. Naye yandisobodde atya okubatuuka ku mitima?

2 Abantu baali bakoze ensobi ey’amaanyi. Baali bakalambidde nti bo baagala kabaka gwe basobola okulabako nga tebakiraba nti mu kukola ekyo baali tebasizza kitiibwa mu Katonda waabwe Yakuwa ne mu nnabbi we. Ekyo kyali kiraga nti baali tebakyayagala Yakuwa abe Kabaka waabwe! Samwiri yandibayambye atya okukitegeera nti baali beetaaga okwenenya?

Samwiri bye yayitamu mu buto bitulaga nti omuntu asobola okuba n’okukkiriza okw’amaanyi ne bwe kiba nti abantu b’alimu beeyisa bubi

3, 4. (a) Lwaki Samwiri yali tasobola kwerabira ebyo ebyaliwo mu buto bwe? (b) Ebyo bye tusoma ku Samwiri bituganyula bitya?

3 Samwiri yabagamba nti: “Nkaddiye era mmeze n’envi.” Ebigambo ebyo byali bisobola okuleetera abaali bamuwuliriza okussaayo ennyo omwoyo ku bye yali ayogera. Yagattako nti: “Mbakulembedde okuva mu buto bwange okutuusa kaakano.” (1 Sam. 11:14, 15; 12:2, NW) Wadde nga Samwiri yali akaddiye, yali akyajjukira bye yayitamu mu buto bwe. Okuweereza Yakuwa Katonda n’obwesigwa okuviira ddala mu buto kyamusobozesa okuba n’okukkiriza okw’amaanyi.

4 Samwiri yalinanga okufuba okunyweza okukkiriza kwe olw’okuba yali mu bantu abataalina kukkiriza era abataali beesigwa. Ne leero kitwetaagisa okufuba ennyo okusobola okuzimba okukkiriza kwaffe olw’okuba ensi gye tulimu ejjudde abantu ababi era abatatya Katonda. (Soma Lukka 18:8.) Ka tulabe ebyaliwo mu bulamu bwa Samwiri okuviira ddala mu buto bwe, ne bye tusobola okumuyigirako.

‘Yaweerereza mu Maaso ga Yakuwa nga Mwana Muto’

5, 6. Embeera Samwiri ze yakuliramu zaali za njawulo zitya, era lwaki bazadde be baali bakakafu nti yali ajja kulabirirwa bulungi?

5 Embeera Samwiri ze yakuliramu zaali za njawulo nnyo bw’ozigeraageranya ku z’abaana abalala. Nnyina bwe yamuggya ku mabeere, oboolyawo nga wa myaka esatu oba ng’asingawo katono, Samwiri yatandika okuweereza ku weema ya Yakuwa e Siiro. Okuva ewaabwe e Laama okutuuka e Siiro waaliwo mayiro ezisukka mu 20. Bazadde be, baamuwaayo aweereze Yakuwa mu ngeri ey’enjawulo. Yali wa kuba Munaziri obulamu bwe bwonna. * Kino kitegeeza nti baali tebamwagala?

6 Nedda! Baali bakimanyi nti omwana waabwe yali ajja kulabirirwa bulungi ng’ali e Siiro, olw’okuba baali bamulese mu mikono gya Eli Kabona Asinga Obukulu. Ate era n’abakazi abaakolanga emirimu egitali gimu ku weema bandibadde bamufaako.Kuv. 38:8; Balam. 11:34-40.

7, 8. (a) Kiki bazadde ba Samwiri kye baakolanga buli mwaka ekyalaga nti baali bamwagala nnyo? (b) Kiki abazadde kye bayinza okuyigira ku bazadde ba Samwiri?

7 Kaana ne Erukaana tebeerabira mwana waabwe oyo omuggulanda Katonda gwe yali abawadde. Kaana yali asabye Katonda amuyambe afune omwana era ne yeeyama okumuwaayo aweereze Katonda obulamu bwe bwonna. Kaana bwe yagendanga e Siiro buli mwaka, yatwaliranga Samwiri ekizibaawo eky’okwambala ng’aweereza ku weema entukuvu. Samwiri alina okuba nga yasanyukanga nnyo nnyina bwe yagendanga okumulaba. Bazadde be baamuyamba okukiraba nti okuweereza Yakuwa ku weema entukuvu yali nkizo ya maanyi nnyo, era ekyo awamu n’okwagala kwe baamulaganga biteekwa okuba nga byamuyamba okuba omusanyufu.

8 Waliwo bingi abazadde bye basobola okuyigira ku Kaana ne Erukaana. Abazadde bangi bafaayo nnyo ku byetaago by’abaana baabwe eby’omubiri kyokka ne balagajjalira ebyetaago byabwe eby’omwoyo. Naye bazadde ba Samwiri baakulembeza eby’omwoyo, era eyo ye nsonga lwaki naye yayagala nnyo eby’omwoyo.Soma Engero 22:6.

9, 10. (a) Weema entukuvu yali efaanana etya, era enkizo ey’okuweereza mu kifo ekyo ekitukuvu Samwiri yagitwala atya? (Laba n’obugambo obuli wansi.) (b) Egimu ku mirimu Samwiri gye yakolanga ku weema gye giruwa, era abato bayinza batya okumukoppa?

9 Samwiri bwe yagenda akula, ateekwa okuba nga yatambulangako n’agenda ku busozi obwali okumpi n’e Siiro. Bwe yayimanga eyo n’alengera akabuga ako, ateekwa okuba nga yawuliranga essanyu okulaba weema ya Yakuwa. Weema eyo yali ntukuvu. * Yali yazimbibwa emyaka nga 400 emabega era nga Musa ye yalabirira omulimu gw’okugizimba. Ye yali entabiro y’okusinza okw’amazima mu nsi yonna.

10 Samwiri yali ayagala nnyo weema ya Yakuwa. Era tusoma nti: “Samwiri n’aweerezanga mu maaso ga Yakuwa nga mwana muto, ng’ayambadde efodi eya kitaani.” (1 Sam. 2:18, NW) Okwambala efodi kyali kiraga nti yali ayambako bakabona abaaweerezanga ku weema. Wadde nga teyali wa mu lunyiriri lwa bakabona, Samwiri alina emirimu gye yakolanga ku weema entukuvu, nga muno mwe mwali okuggulangawo enzigi z’oluggya lwa weema buli ku makya, n’okubaako obulimulimu bw’akolera Eli eyali akaddiye. Wadde nga yali ayagala nnyo okuweereza ku weema, waaliwo ebintu ebibi ebyali bikolebwa mu nnyumba ya Yakuwa ebyamunakuwaza ennyo.

Yakuuma Empisa Ze mu Bantu ab’Empisa Ennyonoonefu

11, 12. (a) Lwaki Kofuni ne Finekaasi baakola ebibi eby’amaanyi? (b) Bintu ki ebibi ennyo Kofuni ne Finekaasi bye baakolanga ku weema entukuvu? (Laba n’obugambo obuli wansi.)

11 Ng’akyali mwana muto, Samwiri alina ebintu ebibi ennyo bye yalaba nga bikolebwa. Eli yalina batabani be babiri, Kofuni ne Finekaasi. Samwiri yawandiika nti: “Batabani ba Eli baali baana ba Beriali; tebaamanya Mukama.” (1 Sam. 2:12) Kofuni ne Finekaasi baayitibwa “baana ba Beriali,” ekirina amakulu nti ‘abaana abatagasa,’ olw’okuba baali tebawa Yakuwa kitiibwa. Baali banyooma emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu, era ekyo kyabaviirako okukola ebibi ebirala bingi.

12 Emirimu gya bakabona n’engeri ssaddaaka gye zaali zirina okuweebwayo byali birambikiddwa bulungi mu Mateeka. Waliwo ensonga lwaki kyali bwe kityo. Okuwaayo ssaddaaka yali nteekateeka Yakuwa gye yali ataddewo okusobozesa abantu okusonyiyibwa ebibi, bwe batyo babe nga bagwanira okufuna obulagirizi bwe n’emikisa gye. Kyokka Kofuni ne Finekaasi enteekateeka eyo tebaagissaamu kitiibwa, era ne bakabona abalala baagoberera ekyokulabirako kyabwe ekibi. *

13, 14. (a) Abantu baayisibwanga batya olw’ebintu ebibi ebyakolebwanga ku weema? (b) Eli yalemererwa atya okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe nga kabona era nga taata?

13 Samwiri ateekwa okuba nga yeewuunyanga nnyo okulaba nga bakabona bakola ebintu ebibi bwe bityo naye nga tewali abagambako. Ateekwa okuba nga yalabanga abantu abatali bamu abajjanga ku weema entukuvu—omwalinga n’abanaku ennyo—nga basuubira nti bajja kuzzibwamu amaanyi mu by’omwoyo, naye ebikolwa ebyo ebibi ne byongera bwongezi kubamalamu maanyi era ne baddayo nga bali mu nnaku etagambika! Ate era ateekwa okuba nga yawulira bubi nnyo bwe yakitegeera nti Kofuni ne Finekaasi baali beebaka n’abakazi abaaweerezanga ku weema, ekintu ekyali kimenya amateeka ga Yakuwa. (1 Sam. 2:22) Oboolyawo yalowooza nti Eli yali ajja kubaako ky’akolawo.

Kiteekwa okuba nga kyanakuwazanga nnyo Samwiri okulaba ebintu ebibi batabani ba Eli bye baakolanga

14 Eli ye yalina okugonjoola ekizibu ekyo. Olw’okuba ye yali kabona asinga obukulu, ye yali avunaanyizibwa ku ebyo ebyakolebwanga ku weema entukuvu. Ate era olw’okuba ye yali taata wa Kofuni ne Finekaasi, ye yalina okubagolola. Ebyo bye baali bakola byali birumya abalala, era nabo byali bigenda kubaleetera emitawaana. Kyokka Eli obuvunaanyizibwa bwe obwo bwombi yalemererwa okubutuukiriza. Abaana be yabanenyaako katono. (Soma 1 Samwiri 2:23-25.) Baali beetaaga okukangavvula okw’amaanyi. Ebibi bye baali bakola byali bisaana kibonerezo kya kuttibwa!

15. (a) Bubaka ki Eli bwe yafuna okuva eri Yakuwa? (b) Eli ne batabani be baakyusa mu nneeyisa yaabwe?

15 Embeera yayonoonekera ddala Yakuwa n’atuuka n’okusindikira Eli nnabbi Bayibuli gw’etetubuulira linnya, amutegeeze omusango gwe yali amusalidde. Yakuwa yagamba Eli nti: ‘Owa batabani bo ekitiibwa okukira nze.’ Era yagamba nti batabani ba Eli abo ababi baali ba kufa ku lunaku lumu, era nti ab’ennyumba ye bandifunye ebizibu bingi, era ne bafiirwa n’enkizo ey’okuweereza nga bakabona. Ebigambo ebyo byaleetera Eli ne batabani be okukyusa mu nneeyisa yaabwe? Bayibuli teraga nti baakyusaamu.1 Sam. 2:27–3:1.

16. (a) Bayibuli etubuulira ki ku kukulaakulana kwa Samwiri mu by’omwoyo? (b) Owulira otya bw’osoma ku ebyo ebikwata ku Samwiri? Nnyonnyola.

16 Ebintu ebyo ebibi byakwata bitya ku Samwiri eyali akyali omuto? Bayibuli etubuulira ku ngeri gye yeeyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Jjukira nti mu 1 Samwiri 2:18 twasomye nti Samwiri ‘yaweerezanga mu maaso ga Mukama nga mwana muto,’ era nga kino yakikolanga n’obwesigwa. Ne bwe yali akyali muto, okuweereza Katonda kyali kikulu nnyo gy’ali. Mu 1 Samwiri 2:21 (NW) tusoma ku kintu ekirala ekisanyusa ennyo. Olunyiriri olwo lugamba nti: ‘Omwana Samwiri yeeyongera okukula ng’ali mu maaso ga Yakuwa.’ Samwiri bwe yagenda akula, enkolagana ye ne Yakuwa yeeyongera okunywera. Okubeera n’enkolagana ng’eyo ne Yakuwa kituyamba okwewala ebintu ebisobola okutwonoona.

17, 18. (a) Abavubuka bayinza batya okukoppa ekyokulabirako kya Samwiri singa baba mu bantu abeeyisa obubi? (b) Kiki ekiraga nti Samwiri yasalawo okutambulira mu kkubo eddungi?

17 Olw’okuba kabona asinga obukulu n’abaana be baali bakola ebintu ebibi, kyandibadde kyangu Samwiri naye okweyisa nga bw’ayagala. Abantu abalala, omuli n’abo abali mu bifo eby’obuvunaanyizibwa, bayinza okuba nga bakola ebintu ebibi, naye ekyo tekyandibadde kyekwaso naffe kweyisa mu ngeri y’emu. Leero abavubuka bangi Abakristaayo bakoppa ekyokulabirako kya Samwiri ‘ne beeyongera okukulira mu maaso ga Yakuwa,’ wadde ng’oluusi abantu be babeeramu tebabateerawo kyakulabirako kirungi.

18 Mikisa ki Samwiri gye yafuna olw’okusalawo okugondera Yakuwa? Tusoma nti: ‘Omwana Samwiri ne yeeyongera okukula n’okuba omuganzi eri Katonda n’eri abantu.’ (1 Sam. 2:26) Abantu abaalina endowooza ennungi baali baagala Samwiri. Yakuwa naye yali amwagala nnyo olw’okuba yali mwesigwa gy’ali. Samwiri ateekwa okuba nga yali mukakafu nti Katonda yandibaddeko ky’akolawo ku bintu ebibi ebyali bikolebwa mu Siiro, era oboolyawo yali yeebuuza ddi ekyo lwe kyandibaddewo. Lwali lumu ekiro, ebibuuzo Samwiri by’ayinza okuba nga yali yeebuuza ne biddibwamu.

“Yogera; Kubanga Omuddu Wo Awulira”

19, 20. (a) Nnyonnyola ekyaliwo lumu ekiro nga Samwiri yeebase. (b) Samwiri yali atwala atya Eli? (c) Samwiri yategeera atya eyali amuyita?

19 Obudde bwali bukyakutte nga n’ettaala ennene ey’omu weema ekyayaka, Samwiri n’awulira omuntu amuyita. Yalowooza nti Eli ye yali amuyita. Mu kiseera ekyo Eli yali akaddiye nnyo era nga kumpi takyalaba. Samwiri yasituka ‘n’adduka mbiro’ n’agenda eri Eli. Omukuba akafaananyi ng’adduka okugenda eri Eli okulaba ky’agamba? Kisanyusa nnyo okulaba nti Samwiri yali agondera Eli era ng’amussaamu nnyo ekitiibwa. Wadde nga waaliwo ensobi Eli ze yali akoze, mu maaso ga Yakuwa yali akyali kabona asinga obukulu.1 Sam. 3:2-5.

20 Samwiri yazuukusa Eli n’amugamba nti: “Nzuuno; kubanga ompise.” Naye Eli yagamba nti si ye yali amuyise era n’amugamba addeyo yeebake. Samwiri yaddamu era n’awulira omuntu amuyita omulundi omulala, era n’omulundi omulala, era nga ku buli mulundi yadduka n’agenda eri Eli. Eli yalwaddaaki n’ategeera eyali ayita Samwiri. Yakuwa yali amaze ebbanga nga talina gw’ayolesa wadde gw’awa obubaka okubutegeeza abantu be, era ekyo kyali tekyewuunyisa. Naye kati Eli yakitegeera nti Yakuwa yali azzeemu okwogera n’abantu be okuyitira mu mwana ono! Eli yagamba Samwiri addeyo yeebake era n’amubuulira n’engeri gye yali asaanidde okwanukula ng’awulidde amuyita. Samwiri yaddayo ne yeebaka, era oluvannyuma lw’ekiseera kitono n’awulira amuyita nti: “Samwiri, Samwiri!” Samwiri yaddamu nti: “Yogera; kubanga omuddu wo awulira.”1 Sam. 3:1, 5-10.

21. Yakuwa tumuwuliriza tutya leero, era lwaki ekyo kya muganyulo?

21 Kyaddaaki mu Siiro Yakuwa yali afunyeeyo omuweereza we amuwuliriza. Samwiri yawuliriza Yakuwa obulamu bwe bwonna. Naawe bw’otyo bw’oli? Tetulina kulinda kuwulira ddoboozi liva mu ggulu nga lyogera naffe ekiro. Katonda ayogera naffe bulijjo ng’ayitira mu Kigambo kye, Bayibuli. Gye tukoma okuwuliriza Katonda era ne tukola by’atulagira, okukkiriza kwaffe gye kukoma okweyongera okunywera. Bwe kityo bwe kyali eri Samwiri.

Wadde nga Samwiri yalimu okutya, yategeeza Eli ebyo Yakuwa bye yali amugambye

22, 23. (a) Ebyo Samwiri bye yali asoose okutya okutegeeza Eli byatuukirizibwa bitya? (b) Kiki ekyaleetera Samwiri okumanyibwa nga nnabbi omwesigwa?

22 Olunaku olwo lwali lwa byafaayo mu bulamu bwa Samwiri, kubanga olwo lwe yatandika okumanya Yakuwa mu ngeri ey’enjawulo, era n’afuuka nnabbi we era omwogezi we. Okusooka Samwiri yatya okutegeeza Eli obubaka Yakuwa bwe yali amuwadde, kubanga Yakuwa yali amugambye nti bye yali ayogedde ku nnyumba ya Eli byali binaatera okutuukirira. Naye Samwiri yafuna obuvumu n’amubuulira byonna, era Eli yakkiriza Yakuwa kye yali asazeewo okukola. Waayita ekiseera kitono byonna Yakuwa bye yayogera ne bituukirira. Kofuni ne Finekaasi battibwa mu lutalo ku lunaku lwe lumu nga Abaisiraeri balwana n’Abafirisuuti. Eli naye yafa bwe yawulira nti essanduuko y’endagaano yali ewambiddwa.1 Sam. 3:10-18; 4:1-18.

23 Samwiri yeeyongera okwekolera erinnya eddungi nga nnabbi omwesigwa. Bayibuli egamba nti ‘Mukama yali naye,’ era nti teyaganya kigambo kya Samwiri na kimu kugwa butaka.Soma 1 Samwiri 3:19.

‘Samwiri Yasaba Yakuwa’

24. Kiki Abaisiraeri kye baakola, era lwaki kyali kibi?

24 Abaisiraeri baakoppa ekyokulabirako kya Samwiri nabo ne baba bawulize eri Yakuwa? Nedda. Ekiseera kyatuuka ne basalawo nti baali tebakyayagala nnabbi kubakulembera. Okufaananako amawanga amalala, nabo baali baagala babeere ne kabaka. Yakuwa yagamba Samwiri abawe kye baali baagala, kyokka yalina okubalaga nti baali basobezza nnyo. Yakuwa kennyini gwe baali bagaanye okuba kabaka waabwe! Bw’atyo Samwiri yabayita bagende e Girugaali.

Samwiri yasaba era Yakuwa n’addamu okusaba kwe n’atonnyesa enkuba

25, 26. Nga bali e Girugaali, Samwiri yayamba atya abantu be okukiraba nti baali bakoze ekibi eky’amaanyi mu maaso ga Yakuwa?

25 Ka tuddeyo gye twatandikidde nga Samwiri agenda kwogera eri Abaisiraeri e Girugaali. Samwiri eyali akaddiye yabajjukiza engeri gye yali aweerezza Yakuwa n’obwesigwa. Bayibuli etugamba nti: ‘Samwiri yasaba Yakuwa.’ Yasaba Yakuwa atonnyese enkuba.1 Sam. 12:17, 18, NW.

26 Enkuba yali esobola okutonnya mu kiseera eky’omusana? Ekyo kyali tekiwulirwangako! Bwe kiba nti waaliwo ababuusabuusa, mu kiseera kitono baakiraba nti bakyamu. Ebire byakwata, kibuyaga n’akunta n’ayonoona eŋŋaano mu nnimiro, eggulu ne libwatuka, era enkuba n’eyiika. Abantu baakwatibwako batya? Bayibuli egamba nti: “Abantu bonna ne batya nnyo Mukama ne Samwiri.” Abantu baamala ne bakiraba nti kye baali bakoze kyali kibi nnyo.1 Sam. 12:18, 19.

27. Abo abooleka okukkiriza ng’okwa Samwiri Yakuwa abatwala atya?

27 Yakuwa, so si Samwiri, ye yaleetera abantu abo ab’emitima emikakanyavu okukitegeera nti baali basobezza. Samwiri yayoleka okukkiriza okw’amaanyi okuviira ddala mu buto bwe, era Yakuwa yamuwa emikisa. Yakuwa takyukanga. Aba wamu n’abantu abalina okukkiriza ng’okwa Samwiri.

^ lup. 5 Abanaziri baali tebakkirizibwa kunywa kitamiiza kyonna wadde okusalako enviiri. Abasinga obungi baabanga Banaziri okumala ekiseera ekigere, naye abamu, nga Samusooni, Samwiri, ne Yokaana Omubatiza, baali Banaziri obulamu bwabwe bwonna.

^ lup. 9 Weema entukuvu yali ya nsonda nnya, era nga yakolebwa mu ngoye ennungi ennyo ez’amaliba amagonvu agaali gatonaatoneddwa obulungi. Engoye ezo zaali ziwaniriddwa ku fuleemu ey’embaawo ennungi ennyo ezaali zibikkiddwako ffeeza ne zzaabu. Weema eyo yaliko oluggya era nga nalwo lwa nsonda nnya. Mu luggya mwalimu ekyoto kwe baaweerangayo ssaddaaka. Kirabika oluvannyuma lw’ekiseera, ku mabbali ga weema waazimbibwawo ebisenge ebirala bakabona bye baakozesanga. Samwiri yandiba nga yali asula mu kimu ku bisenge ebyo.

^ lup. 12 Bayibuli etubuulira ebintu bibiri bakabona bye baakolanga ebiraga nti baali tebawa Yakuwa kitiibwa. Amateeka gaali galambika bulungi ebitundu kabona bye yalinanga okufuna ku nsolo eyabanga eweereddwayo. (Ma. 18:3) Naye bakabona abo ababi tebaakolanga nga bwe kyali kirambikiddwa mu Mateeka. Baatumanga abaweereza baabwe ne bagenda n’ekkabi ne bafumita mu ntamu omwabanga mufumbirwa ennyama ey’ekiweebwayo, era ekitundu kyonna kye lyakwasanga nga bakitwala! Ate era abantu bwe baaleetanga ebiweebwayo byabwe ku kyoto, ng’abaweereza ba bakabona babalagira babawe ennyama embisi nga n’amasavu ag’ekiweebwayo tegannaweebwayo eri Yakuwa.Leev. 3:3-5; 1 Sam. 2:13-17.