Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ebikwata ku Nuuwa n’Amataba—Ddala Byaliyo?

Ebikwata ku Nuuwa n’Amataba—Ddala Byaliyo?

Bayibuli ky’egamba

 Amataba ddala gaaliyo. Katonda yagakozesa okuzikiriza abantu ababi, naye yagamba Nuuwa okuzimba eryato ery’okuwonyezaamu abantu n’ebisolo. (Olubereberye 6:11-20) Tusobola okukkiriza nti ddala Amataba gaaliyo kubanga gaateekebwa mu Byawandiikibwa “ebyaluŋŋamizibwa Katonda.”​—2 Timoseewo 3:16.

 Kituufu oba lugero bugero?

 Bayibuli eraga nti Nuuwa yali muntu wa ddala, era nti n’Amataba gaaliyo, so si lugero bugero oba nfumo bufumo.

  •   Abawandiisi ba Bayibuli baali bakkiriza nti Nuuwa yali muntu wa ddala. Ng’ekyokulabirako, Ezera ne Lukka, abamu ku bawandiisi ba Bayibuli, baanoonyerezanga ku byafaayo basobole okuwandiika ebintu ebituufu. N’olwekyo, bwe kiba nti baawandiika ku Nuuwa bwe baali bawandiika ku nnyiriri z’obuzaale bw’eggwanga lya Isirayiri, ekyo kiraga nti Nuuwa ddala yaliyo. (1 Ebyomumirembe 1:4; Lukka 3:36) Matayo ne Lukka abamu ku bawandiisi b’ebitabo by’Enjiri, baawandiika ku ebyo Yesu bye yayogera ku Mataba.—Matayo 24:37-39; Lukka 17:26, 27.

     Ate era, nnabbi Ezeekyeri n’omutume Pawulo baayogera ku Nuuwa ng’omuntu eyassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka okukkiriza n’obutuukirivu. (Ezeekyeri 14:14, 20; Abebbulaniya 11:7) Ddala kikola amakulu abawandiisi abo okuwandiika ku muntu ataali wa ddala ng’omuntu gwe tusaanidde okukoppa? N’olwekyo, Nuuwa awamu n’abasajja abalala n’abakazi abaayoleka okukkiriza tusobola okubakoppa kubanga baali bantu ba ddala.—Abebbulaniya 12:1; Yakobo 5:17.

  •   Bayibuli ewa kalonda yenna akwata ku Mataba. Bayibuli bw’eba eyogera ku Mataba tetandika ng’egamba nti “Awo olwatuuka,” nga gy’obeera nti lugero bugero. Mu kifo ky’ekyo, Bayibuli eyogera omwaka, omwezi, n’olunaku Amataba lwe gaabeererawo. (Olubereberye 7:11; 8:4, 13, 14) Ate era eyogera ne ku bipimo by’eryato Nuuwa lye yazimba. (Olubereberye 6:15) Kalonda oyo yenna alaga nti Bayibuli bw’eba eyogera ku Mataba egoogerako ng’ekintu ekyaliwo ddala, so si ng’olugero.

 Lwaki Katonda yaleeta Amataba?

 Bayibuli eraga nti ng’Amataba tegannajja ‘ebikolwa by’omuntu ebibi byali biyitiridde mu nsi. (Olubereberye 6:5) Ate era egamba nti “ensi yali eyonoonese mu maaso ga Katonda ow’amazima” olw’okuba yali ejjudde ebikolwa eby’obukambwe n’ebikolwa eby’obugwenyufu.—Olubereberye 6:11; Yuda 6, 7.

 Bayibuli egamba nti ebizibu ebisinga obungi byajjawo olw’okuba bamalayika ababi baaleka ebifo byabwe mu ggulu ne bajja ku nsi ne beegatta n’abawala b’abantu. Bamalayika abo baazaala abaana abayitibwa Abanefuli, abaaleetera abantu okubonaabona ennyo mu kiseera ekyo. (Olubereberye 6:1, 2, 4) Katonda yasalawo okuzikiriza abantu ababi asobozese abantu abalungi okuddamu okuba n’obulamu obulungi.—Olubereberye 6:6, 7, 17.

 Abantu baali bamanyi nti wagenda kubeerawo Amataba?

 Yee. Katonda yabuulira Nuuwa kye yali agenda okukola era n’amugamba okuzimba eryato ery’okuwonyezaamu ab’omu maka ge n’ebisolo. (Olubereberye 6:13, 14; 7:1-4) Nuuwa yalabula abantu ku kuzikirizibwa okwali kugenda okubaawo naye bo tebeefiirayo. (2 Peetero 2:5) Bayibuli egamba nti: “Ne batafaayo okutuusa Amataba lwe gajja ne gabasaanyaawo bonna.”—Matayo 24:37-39.

 Eryato lya Nuuwa lyali lifaanana litya?

 Eryato lyali lya nsonda nnya era nga ddene nnyo. Era lyali lya mita nga 133 (ffuuti 437) obuwanvu, mita 22 (ffuuti 73) obugazi, ne mita 13 (ffuuti 44) obugulumivu. a Eryato lyali lyakolebwa mu miti gya goferi, era nga lyasiigibwa envumbo munda ne kungulu. Lyali lya myaliiro essatu era nga lirimu ebisenge ebiwerako. Omulyango gw’eryato gwateekebwa mu mbirizi zaalyo era kirabika eddirisa lyali wagguluko. Kirabika eryato lyaliko akasolya akasituse mu makkati okusobozesa amazzi okuyiika wansi.—Olubereberye 6:14-16.

 Nuuwa kyamutwalira bbanga ki okuzimba eryato?

 Bayibuli teyogera bbanga Nuuwa lye yamala ng’azimba eryato, naye kirabika yamala emyaka mingi ng’alizimba. Nuuwa yali asussa emyaka 500 we yazaalira omwana we asooka, era yalina emyaka 600 Amataba lwe gaabeererawo. bOlubereberye 5:32; 7:6.

 Katonda we yagambira Nuuwa okuzimba eryato, abaana ba Nuuwa abasatu abalenzi baali bakuze era nga bamaze n’okuwasa. Era bayinza okuba nga baali mu myaka nga 50 oba 60 we baawasiza. (Olubereberye 6:14, 18) Ekyo bwe kiba nga kyali kituufu, kiba kitegeeza nti Nuuwa yatwala emyaka 40 oba 50 okumaliriza okuzimba eryato.

a Bayibuli ewa ebipimo by’eryato ng’ekozesa ekipimo ky’emikono. Okusinziira ku bipimo by’Abebbulaniya, omukono gwali gwenkana inci 17.5 (sentimita 44.45).—The Illustrated Bible Dictionary, Ekyalongoosebwamu, Ekitundu 3, olupapula 1635.

b Ku bikwata ku myaka abantu ab’edda gye baawangaalanga gamba nga Nuuwa, laba ekitundu, “Ddala Abantu Abaaliwo mu Biseera Bya Bayibuli Baawangaalanga Nnyo?” ekiri mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ddesemba 1, 2010.