Buuka ogende ku bubaka obulimu

Abakazi Aboogerwako mu Bayibuli—Biki Bye Tuyinza Okubayigirako?

Abakazi Aboogerwako mu Bayibuli—Biki Bye Tuyinza Okubayigirako?

Bayibuli ky’egamba

 Bayibuli eyogera ku bakazi bangi be tusobola okuyigirako. (Abaruumi 15:4; 2 Timoseewo 3:16, 17) Mu kitundu kino, tugenda kwetegereza abamu ku bakazi aboogerwako mu Bayibuli. Bangi ku bo bassaawo ekyokulabirako ekirungi era tusaanidde okubakoppa. Ate abalala tebassaawo kyakulabirako kirungi era tetwagala kuba nga bo.—1 Abakkolinso 10:11; Abebbulaniya 6:12.

  Abbigayiri

 Abbigayiri yali ani? Yali mukyala wa Nabbali eyali omusajja omugagga ennyo naye nga mukambwe nnyo. Naye Abbigayiri yali mukyala mutegeevu, muwombeefu, ng’alabika bulungi nnyo, era ng’alina engeri ennungi.—1 Samwiri 25:3.

 Biki bye yakola? Abbigayiri yakozesa amagezi n’okutegeera okusobola okwewala akabi. Ye n’omwami we Nabbali baali babeera mu kitundu Dawudi, eyali agenda okuba kabaka wa Isirayiri, gye yali yeekwese ng’abundabunda. Nga bali mu kitundu ekyo, Dawudi n’abasajja be baakuuma endiga za Nabbali ne zitabbibwa. Naye Dawudi bwe yasindika abaweereza be okugenda okusaba Nabbali abawe ku mmere, Nabbali yabakambuwalira era n’agaana okugibawa. Dawudi yanyiiga nnyo! Bwe kityo, Dawudi n’abasajja be baagenda okutta Nabbali awamu n’abasajja bonna ab’omu nnyumba ye.—1 Samwiri 25:10-12, 22.

 Abbigayiri bwe yawulira ekyo omwami we kye yali akoze yasitukiramu n’abaako ky’akolawo. Yawa abaweereza be emmere okutwalira Dawudi n’abasajja be, era ye n’abavaako emabega asobole okwegayirira Dawudi abalage ekisa. (1 Samwiri 25:14-19, 24-31) Dawudi bwe yalaba ekirabo kya Abbigayiri, obwetowaaze bwe yayoleka, era n’amagezi amalungi ge yamuwa, yakiraba nti Yakuwa yali amukozesezza okumuziyiza obutatuusa kabi ku bantu. (1 Samwiri 25:32, 33) Nga wayiseewo ekiseera kitono, Nabbali yafa era Abbigayiri n’afuuka mukyala wa Dawudi.—1 Samwiri 25:37-41.

 Biki bye tuyigira ku Abbigayiri? Wadde nga Abbigayiri yali alabika bulungi ate nga mugagga, teyeetwala kuba wa kitalo. Okusobola okukuuma emirembe yali mwetegefu okwetonda olw’ensobi gye yali takoze. Yakwata embeera enzibu mu ngeri ey’obukkakkamu, eyoleka amagezi era n’obuvumu.

  Debola

 Debola yali ani? Yali nnabbi Yakuwa Katonda wa Isirayiri gwe yakozesa okubuulira abantu be bye yali ayagala bakole. Ate era Katonda yamukozesa okugonjoola ebizibu by’Abayisirayiri.—Ekyabalamuzi 4:4, 5.

 Biki bye yakola? Nnabbi Debola yayoleka obuvumu n’awagira abantu ba Katonda. Ng’agoberera obulagirizi bwa Katonda, yagamba Balaka okukulembera eggye ly’Abayisirayiri okugenda okulwanyisa Abakanani abaali babayigganya. (Ekyabalamuzi 4:6, 7) Balaka bwe yamusaba abawerekereko, teyatya wabula yakkiriza okugenda nabo.—Ekyabalamuzi 4:8, 9.

 Oluvannyuma lwa Katonda okusobozesa Abayisirayiri okuwangula, Debola yayiiya ekitundu ky’oluyimba ye ne Balaka lwe baayimba nga boogera ku bintu ebyali bibaddewo. Mu luyimba olwo yayogera ku ekyo Yayeeri, omukazi omulala eyali omuvumu, kye yakola okusobola okuwangula Abakanani.—Ekyabalamuzi, essuula 5.

 Biki bye tuyigira ku Debola? Debola yali mukazi muvumu ate ng’alina omwoyo gw’okwefiiriza. Yakubiriza abalala okukola ekituufu mu maaso ga Katonda. Era bwe baakolanga ekituufu, yabasiimanga.

  Derira

 Derira yali ani? Ye mukazi Samusooni omulamuzi wa Isirayiri gwe yaganza.—Ekyabalamuzi 16:4, 5.

 Biki bye yakola? Yakkiriza ssente okuva ku bakungu Abafirisuuti okusobola okulyamu Samusooni olukwe, Katonda gwe yali akozesa okununula Abayisirayiri okuva mu mikono gy’Abafirisuuti. Abafirisuuti tebaasobola kumuwangula olw’amaanyi Katonda ge yali amuwadde. (Ekyabalamuzi 13:5) N’olwekyo, abakungu baabwe baasaba Derira abayambe.

 Abafirisuuti baawa Derira enguzi asobole okuzuula wa Samusooni gye yali aggya amaanyi ge. Derira yakkiriza ssente ezo, era oluvannyuma olw’okugezaako emirundi egiwera, yasobola okuzuula wa Samusooni gye yali aggya amaanyi. (Ekyabalamuzi 16:15-17) Oluvannyuma yabuulira Abafirisuuti ekyama kya Samusooni, ne bamukwata era ne bamusiba mu kkomera.—Ekyabalamuzi 16:18-21.

 Biki bye tuyigira ku Derira? Ekyokulabirako kya Derira kyali kibi era tetusaanidde kukikoppa. Olw’okuba yali ayagala nnyo ssente, yalyamu omuweereza wa Katonda olukwe, teyali mwesigwa, era yali yeefaako yekka.

  Eseza

 Eseza yali ani? Yali mukyala Muyudaaya Kabaka Akaswero gwe yalonda okuba nnaabakyala.

 Biki bye yakola? Nnaabakyala Eseza yakozesa obuyinza bwe yalina okuyamba abantu be baleme kuttibwa. Yakizuula nti waaliwo etteeka eryali lyayisibwa eryali liraga olunaku Abayudaaya bonna abaali ababeera mu Ssaza lya Buperusi lwe baalina okuttibwa. Olukwe olwo lwali lwakolebwa omusajja eyali ayitibwa Kamani, eyali katikkiro. (Eseza 3:13-15; 4:1, 5) Eseza ng’ayambibwako Moluddekaayi, gwe yalinako oluganda, yateeka obulamu bwe mu kabi n’abuulira omwami we, Kabaka Akaswero, olukwe olwo. (Eseza 4:10-16; 7:1-10) Oluvannyuma Akaswero yakkiriza Eseza ne Moluddekaayi okuyisa etteeka eddala eryali likkiriza Abayudaaya okwerwanako. Abayudaaya baawangula abalabe baabwe.—Eseza 8:5-11; 9:16, 17.

 Biki bye tuyigira ku Eseza? Nnaabakyala Eseza yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obuvumu, obuwombeefu n’obwetowaaze. (Zabbuli 31:24; Abafiripi 2:3) Wadde nga yali alabika bulungi nnyo era ng’alina obuyinza, yasaba obuyambi. Bwe yali ayogera n’omwami we yamussaamu ekitiibwa, era yayogera naye mu ngeri ey’amagezi era ey’obuvumu. Era ne mu kiseera Abayudaaya bwe baabeerera mu kabi, yayoleka obuvumu ne yeemanyisa nti yali omu ku bo.

  Kaana

 Kaana yali ani? Yali mukazi wa Erukaana era yali maama wa Samwiri, eyafuuka nnabbi ow’amaanyi mu Isirayiri ey’edda.—1 Samwiri 1:1, 2, 4-7.

 Biki bye yakola? Kaana bwe yali akyali mugumba, yasaba Katonda amubudeebude. Omwami wa Kaana yalina abakazi babiri. Mukazi we omulala, ayitibwa Penina ye yalina abaana; kyokka, ye Kaana yamala emyaka mingi nga tazaala. Penina yamuyeeyanga ng’ayagala okumunyiiza, naye Kaana yasabanga Katonda amubudeebude. Yeeyama eri Katonda ng’agamba nti bw’anaamuwa omwana omulenzi, ajja kumuwaayo gy’ali amuweereze ku weema entukuvu, Abayisirayiri gye baakozesanga mu kusinza.—1 Samwiri 1:11.

 Katonda yaddamu essaala ya Kaana, era n’amusobozesa okuzaala omwana omulenzi gwe yatuuma Samwiri. Kaana yatuukiriza obweyamo bwe n’atwala Samwiri okuweereza ku weema entukuvu ng’akyali mwana muto. (1 Samwiri 1:27, 28) Buli mwaka yamutungiranga ekizibaawo ekitaaliko mikono n’akimutwalira. Oluvannyuma lw’ekiseera, Katonda yasobozesa Kaana okuzaala abaana abalala bataano—abalenzi basatu n’abawala babiri.—1 Samwiri 2:18-21.

 Biki bye tuyigira ku Kaana? Kaana yategeezanga Katonda ebyamuli ku mutima ne kimuyamba okugumira ebizibu bye yalina. Essaala gye yasaba nga yeebaza Katonda eri mu 1 Samwiri 2:1-10 eraga nti yalina okukkiriza okw’amaanyi mu Katonda.

  •   Okumanya ebisingawo ebikwata ku Kaana, laba ekitundu, “Yategeeza Katonda Ebyamuli ku Mutima.”

  •   Okumanya ensonga lwaki Katonda yakkirizanga abantu be ab’edda okuwasa abakazi abangi, laba ekitundu, “Does God Approve of Polygamy?”

  Kaawa

 Kaawa yali ani? Ye mukazi eyasooka era ye mukazi asooka okwogerwako mu Bayibuli.

 Biki bye yakola? Kaawa yajeemera etteeka lya Katonda eryali litegeerekeka obulungi. Okufaananako omwami we Adamu, Kaawa yali yatondebwa ng’atuukiridde, ng’alina eddembe ery’okwesalirawo, n’obusobozi obw’okwoleka engeri ennungi, gamba ng’okwagala n’amagezi. (Olubereberye 1:27) Kaawa yali akimanyi nti Katonda yali yagamba Adamu nti bwe bandiridde ku muti ogumu bandifudde. Kyokka, yalimbibwa n’atuuka okukkiriza nti tajja kufa. Mu butuufu, yasendebwasendebwa okukkiriza nti bwe yandijeemedde Katonda yandibadde bulungi. Bwe kityo, yalya ku kibala era oluvannyuma bwe yali n’omwami we, yamusendasenda naye n’akirya.—Olubereberye 3:1-6; 1 Timoseewo 2:14.

 Biki bye tuyigira ku Kaawa? Ekyokulabirako kya Kaawa kiraga akabi akali mu kuleka okwegomba okubi okusigala mu birowoozo byaffe. Yeegomba okutwala ekitaali kikye, n’ajeemera etteeka lya Katonda eryali litegeerekeka obulungi.—Olubereberye 3:6; 1 Yokaana 2:16.

  Laakeeri

 Laakeeri yali ani? Yali muwala wa Labbaani era ye mukazi Yakobo gwe yali asinga okwagala.

 Biki bye yakola? Laakeeri yafumbirwa Yakobo era n’amuzaalira abaana ab’obulenzi babiri, abaali abamu ku abo abaatandikawo ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri. Laakeeri bwe yali alunda endiga za Kitaawe, yasisinkana oyo eyali agenda okuba omwami we. (Olubereberye 29:9, 10) Yali ‘alabika bulungi’ nnyo okusinga mukulu we Leeya.—Olubereberye 29:17.

 Yakobo yali ayagala nnyo Laakeeri, era yakolera emyaka musanvu asobole okumuwasa. (Olubereberye 29:18) Kyokka, Labbaani yalimbalimba Yakobo n’amuleetera okusooka okuwasa Leeya, oluvannyuma Labbaani n’akkiriza Yakobo okuwasa Laakeeri.—Olubereberye 29:25-27.

 Yakobo yayagala nnyo Laakeeri ne batabani be ababiri okusinga Leeya n’abaana be. (Olubereberye 37:3; 44:20, 27-29) N’ekyavaamu, abakazi abo baakwatirwagana obuggya.—Olubereberye 29:30; 30:1, 15.

 Biki bye tuyigira ku Laakeeri? Laakeeri yagumira ebizibu ebyali mu maka ge era yasigala alina essuubi nti Katonda ajja kuddamu essaala ze. (Olubereberye 30:22-24) Ebikwata ku Laakeeri biraga ebizibu ebiva mu kuwasa abakazi abangi. Ate era biraga amagezi agali mu nteekateeka ya Katonda eyasooka ekwata ku bufumbo—eraga nti omusajja alina okuba n’omukazi omu.—Matayo 19:4-6.

  •   Okumanya ebisingawo ebikwata ku Laakeeri, laba ekitundu, “Distressed Sisters Who ‘Built the House of Israel.’”

  •   Okumanya ensonga lwaki Katonda yakkirizanga abantu be ab’edda okuwasa abakazi abangi, laba ekitundu, “Does God Approve of Polygamy?”

  Lakabu

 Lakabu yali ani? Yali malaaya eyali abeera mu kibuga Yeriko eky’omu Kanani, era yafuuka muweereza wa Yakuwa Katonda.

 Biki bye yakola? Lakabu yakweka Abayisirayiri babiri abaali bazze okuketta ensi eyo. Ekyo yakikola olw’okuba yali awuliddeko ebikwata ku ngeri Katonda wa Isirayiri, Yakuwa, gye yali anunuddemu abantu be okuva e Misiri era oluvannyuma n’abayamba okuwangula Abaamoli abaali babalumbye.

 Lakabu yayamba abakessi era n’abeegayirira okumuwonyaawo ye n’ab’eŋŋanda ze ng’Abayisirayiri bazze okuzikiriza Yeriko. Bakkiriza, naye waliwo bye yali alina okukola: Teyalina kubuulirako muntu yenna ku kye baali bazze okukola, ye n’ab’eŋŋanda ze baalina okusigala mu nnyumba ye ng’Abayisirayiri bazze okulumba ensi eyo, era yalina okuteeka omuguwa omumyufu ku ddirisa lye basobole okutegeera ennyumba ye. Lakabu yakola byonna bye baali bamugambye, era ye n’ab’eŋŋanda ze baawonawo Abayisirayiri bwe baazikiriza Yeriko.

 Oluvannyuma Lakabu yafumbirwa omusajja Omuyisirayiri era yafuuka jjajja wa Kabaka Dawudi ne Yesu Kristo.—Yoswa 2:1-24; 6:25; Matayo 1:5, 6, 16.

 Biki bye tuyigira ku Lakabu? Bayibuli eyogera ku Lakabu ng’eyassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka okukkiriza. (Abebbulaniya 11:30, 31; Yakobo 2:25) Ebimukwatako biraga nti Katonda asonyiwa era nti tasosola, era awa emikisa abo abamwesiga ka babe nga baakulira mu mbeera ki.

  •   Okumanya ebisingawo ebikwata ku Lakabu, laba ekitundu, “She Was ‘Declared Righteous by Works.’”

  Lebbeeka

 Lebbeeka yali ani? Yali mukazi wa Isaaka era yazaala abalongo, Yakobo ne Esawu.

 Biki bye yakola? Lebbeeka yakola ebyo Katonda bye yali ayagala ne bwe kyali nga si kyangu. Bwe yali asena amazzi mu luzzi, omusajja yamusaba ku mazzi anyweko. Amangu ddala Lebbeeka yawa omusajja amazzi era n’asenera n’eŋŋamira z’omusajja oyo amazzi. (Olubereberye 24:15-20) Omusajja oyo yali muweereza wa Ibulayimu era yali atambudde olugendo luwanvu okunoonyeza mutabani wa Ibulayimu, Isaaka, omukazi. (Olubereberye 24:2-4) Ate era yali asabye Katonda amuwe omukisa. Bwe yalaba obunyiikivu Lebbeeka bwe yayoleka n’omwoyo gw’okusembeza abagenyi gwe yalina, yakiraba nti Katonda yali azzeemu essaala ye, era nti Lebbeeka Katonda gwe yali alondedde Isaaka.—Olubereberye 24:10-14, 21, 27.

 Bwe yategeera ensonga lwaki omusajja oyo azze, Lebbeeka yakkiriza okuddayo naye asobole okufuuka mukazi wa Isaaka. (Olubereberye 24:57-59) Oluvannyuma Lebbeeka yazaala abaana abalongo ab’obulenzi. Katonda yali yagamba Lebbeeka nti omulenzi omukulu, Esawu, yandiweerezza muto we, Yakobo. (Olubereberye 25:23) Isaaka bwe yali agenda kuwa Esawu omukisa gw’omwana omubereberye, Lebbeeka alina kye yakolawo okulaba nti Yakobo y’afuna omukisa ogwo, atuukirize ekyo kye yali amanyi nti kye kyali ekigendererwa kya Katonda.—Olubereberye 27:1-17.

 Biki bye tuyigira ku Lebbeeka? Lebbeeka yali mwetowaaze, munyiikivu, era ng’asembeza abagenyi—engeri ezaamuyamba okubeera omukyala omulungi, maama omulungi, era omuweereza wa Katonda ow’amazima.

  •   Okumanya ebisingawo ebikwata ku Lebbeeka, laba ekitundu, Nja Kugenda Naye.”

  Leeya

 Leeya yali ani? Ye mukazi Yakobo gwe yasooka okuwasa. Muto we Laakeeri, ye yali mukazi wa Yakobo ow’okubiri.—Olubereberye 29:20-29.

 Biki bye yakola? Leeya yazaalira Yakobo abaana ab’obulenzi mukaaga. (Luusi 4:11) Mu kusooka Yakobo yali ayagala kuwasa Laakeeri, so si Leeya. Kyokka, taata waabwe, Labbaani, yateekateeka Leeya okutwala ekifo kya Lebbeeka. Yakobo bwe yamanya nti yali aweereddwa Leeya, yanenya Labbaani olw’okumulimba. Labbaani yagamba nti si mpisa yaabwe okuwaayo omuwala omuto n’asooka omukulu okufumbirwa. Oluvannyuma lwa wiiki, Yakobo yawasa Laakeeri.—Olubereberye 29:26-28.

 Yakobo yali ayagala nnyo Laakeeri okusinga Leeya. (Olubereberye 29:30) N’ekyavaamu, Leeya yakwatirwa muganda we obuggya n’atandika okuvuganya naye, nga buli omu ayagala Yakobo amwagale era amufeeko. Katonda yalaba ebyo Leeya bye yali ayitamu era n’amuwa omukisa n’azaala abaana musanvu—abalenzi mukaaga n’omuwala omu.—Olubereberye 29:31.

 Biki bye tuyigira ku Leeya? Leeya yeesiganga Katonda okuyitira mu kusaba, era teyakkiriza mbeera nzibu gye yali ayitamu kumulemesa kulaba ngeri Katonda gye yali amuyambamu. (Olubereberye 29:32-35; 30:20) Bye yayitamu biraga bulungi ebizibu ebiva mu kuba n’abakazi abangi, enteekateeka Katonda gye yakkiriza okumala ekiseera. Omutindo gwa Katonda ogukwata ku bufumbo guli nti, omusajja alina okuba n’omukazi omu era n’omukazi alina okuba n’omusajja omu.—Matayo 19:4-6.

  •   Okumanya ebisingawo ebikwata ku Leeya, laba ekitundu, “Distressed Sisters Who ‘Built the House of Israel.’”

  •   Okumanya ensonga lwaki Katonda yakkirizanga abantu be ab’edda okuwasa abakazi abangi, laba ekitundu, “Does God Approve of Polygamy?”

  Luusi

 Luusi yali ani? Yali mukazi Mumowaabu eyaleka bakatonda be n’ensi ye n’afuuka omuweereza wa Yakuwa mu nsi ya Isirayiri.

 Biki bye yakola? Luusi yalaga nnyazaala we, Nawomi, okwagala okutajjulukuka. Nawomi ng’ali wamu n’omwami we ne batabani baabwe babiri, baasengukira mu nsi ya Mowaabu nga badduka enjala eyali mu Isirayiri. Oluvannyuma batabani baabwe baawasa abakazi Abamowaabu—Luusi ne Olupa. Oluvannyuma lw’ekiseera, omwami wa Nawomi ne batabani baabwe ababiri baafa, ne baleka bannamwandu basatu.

 Nawomi yasalawo okuddayo mu Isirayiri kubanga enjala yali yaggwayo. Luusi ne Olupa baasalawo okugenda naye. Naye Nawomi yabagamba baddeyo eri ab’eŋŋanda zaabwe. Olupa yaddayo. (Luusi 1:1-6, 15) Naye Luusi yanywerera ku nnyazaala we. Yali ayagala nnyo Nawomi era ng’ayagala okuweereza Yakuwa, Katonda Nawomi gwe yali asinza.—Luusi 1:16, 17; 2:11.

 Olw’okuba Luusi yanywerera ku nnyazaala we era nga mukozi munyiikivu, yakola erinnya eddungi mu Besirekemu, ekibuga Nawomi gye yali ava. Bowaazi, omusajja eyali omugagga era ng’alina ettaka yakwatibwako nnyo olw’ebirungi Luusi bye yali akoze era yawanga Luusi ne Nawomi emmere. (Luusi 2:5-7, 20) Oluvannyuma Luusi yafumbirwa Bowaazi era yafuuka jjajja wa Kabaka Dawudi ne Yesu Kristo.—Matayo 1:5, 6, 16.

 Biki bye tuyigira ku Luusi? Luusi yali mwetegefu okuleka obulamu bwe yakuliramu olw’okuba yali ayagala nnyo Nawomi ne Yakuwa. Yali mukazi mukozi nnyo era nga mwesigwa ne bwe yabanga alina ebizibu.

  Maliyamu (maama wa Yesu)

 Maliyamu yali ani? Yali muwala Omuyudaaya era mu kiseera we yazaalira Yesu yali mbeerera olw’okuba olubuto yali alufunye mu ngeri ey’ekyamagero.

 Biki bye yakola? Maliyamu yakola Katonda by’ayagala. Yali ayogereza Yusufu mu kiseera malayika we yamulabikira n’amugamba nti aliba olubuto n’azaala omwana aliba Masiya. (Lukka 1:26-33) Yakkiriza obuvunaanyizibwa obwo. Maliyamu bwe yamala okuzaala Yesu, ye ne Yusufu baazaala abaana abalala, abalenzi bana n’abawala nga babiri. N’olwekyo, Maliyamu teyasigala nga mbeerera. (Matayo 13:55, 56) Wadde nga yalina enkizo eyo ey’enjawulo, teyeenoonyeza bitiibwa oba okwagala okuyisibwa mu ngeri ey’enjawulo, mu kiseera ky’obuweereza bwa Yesu wano ku nsi oba bwe yali mu kibiina Ekikristaayo ekyasooka.

 Biki bye tuyigira ku Maliyamu? Maliyamu yali mukyala mwesigwa eyakkiriza obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Yali amanyi bulungi Ebyawandiikibwa. Kirabika Maliyamu yajuliza ebyawandiikibwa nga 20 bwe yayogera ebigambo ebisangibwa mu Lukka 1:46-55.

  •   Okumanya ebisingawo ebikwata ku Maliyamu, laba ekitundu, “What Mary’s Example Can Teach Us.”

  Maliyamu Magudaleena

 Maliyamu Magudaleena yali ani? Yali muyigiriza wa Yesu omwesigwa.

 Biki bye yakola? Maliyamu Magudaleena yali omu ku bakazi abaatambulanga ne Yesu n’abayigirizwa be. Yakozesa ebintu bye okukola ku byetaago byabwe eby’omubiri. (Lukka 8:1-3) Yagoberera Yesu okutuukira ddala ku nkomerero y’obuweereza bwe, era yaliwo nga Yesu attibwa. Yafuna enkizo ey’okuba omu ku abo abasooka okulaba Yesu oluvannyuma lw’okuzuukizibwa.—Yokaana 20:11-18.

 Biki bye tuyigira ku Maliyamu? Maliyamu Magudaleena yayambanga nnyo Yesu bwe yali akyali ku nsi era yali muyigirizwa mwesigwa.

  Maliyamu (muganda wa Maliza era mwannyina wa Laazaalo)

 Maliyamu yali ani? Ye ne mwannyina Laazaalo, era ne muganda we Maliza, baali mikwano gya Yesu egy’oku lusegere.

 Biki bye yakola? Emirundi mingi Maliyamu yakiraga nti yali atwala Yesu nti Mwana wa Katonda. Yayoleka okukkiriza bwe yagamba nti singa Yesu yaliwo mwannyina Laazaalo teyandifudde, era yaliwo nga Yesu azuukiza Laazaalo. Maliyamu bwe yasalawo okuwuliriza Yesu mu kifo ky’okuyambako ku mirimu gya waka, muganda we Maliza yamunenya. Naye Yesu yasiima Maliyamu olw’okukulembeza ebintu eby’omwoyo.—Lukka 10:38-42.

 Ku mulundi omulala, Maliyamu yayoleka omwoyo omugabi bwe yafuka “amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi” ku mutwe gwa Yesu ne ku bigere bye. (Matayo 26:6, 7) Abalala abaliwo baamunenya nti yali ayonoona amafuta. Naye Yesu yamuwolereza ng’agamba nti: “Yonna mu nsi amawulire gano amalungi [ag’Obwakabaka bwa Katonda] gye galibuulirwa, omukazi ono ky’akoze nakyo kiryogerwako okumujjukira.”—Matayo 24:14; 26:8-13.

 Biki bye tuyigira ku Maliyamu? Maliyamu yalina okukkiriza okw’amaanyi. Yakulembeza okusinza Katonda mu kifo ky’ebintu ebya bulijjo. Yawa Yesu ekitiibwa ne bwe kyali kimwetaagisa kufulumya ssente nnyingi.

  Maliza

 Maliza yali ani? Yali mwannyina wa Laazaalo era muganda wa Maliyamu, era bonna abasatu baali babeera kumpi ne Yerusaalemi mu kyalo ky’e Bessaniya.

 Biki bye yakola? Maliza yali mukwano gwa Yesu ow’oku lusegere, era “Yesu yali ayagala nnyo Maliza ne muganda we, era ne Laazaalo.” (Yokaana 11:5) Maliza yali mukazi alina omwoyo gw’okusembeza abagenyi. Lumu Yesu bwe yali abakyaliddeko, Maliyamu yasalawo okuwuliriza Yesu, naye Maliza n’akola emirimu gya waka. Maliza yeemulugunyiza Yesu nti Maliyamu yali tamuyambako ku mirimu. Yesu yatereeza endowooza ya Maliza mu ngeri ey’ekisa.—Lukka 10:38-42.

 Mwannyinaabwe Laazaalo bwe yalwala, Maliza ne muganda we baatumya Yesu nga bakakafu nti ajja kumuwonya. (Yokaana 11:3, 21) Naye Laazaalo yafa. Maliza bwe yali ayogera ne Yesu, yakiraga nti yali akkiririza mu kuzuukira okwogerwako mu Bayibuli era yali mukakafu nti Yesu asobola okuzuukiza mwannyinaabwe.—Yokaana 11:20-27.

 Biki bye tuyigira ku Maliza? Maliza yali mukazi asembeza abagenyi. Yakkiriza okuwabulwa. Yayogera ebyamuli ku mutima n’ebikwata ku kukkiriza kwe.

  •   Okumanya ebisingawo ebikwata ku Maliza, laba ekitundu “Nzikiriza.”

  Miriyamu

 Miriyamu yali ani? Yali mwannyina wa Musa ne Alooni. Ye mukazi asooka okwogerwako mu Bayibuli nga nnabbi.

 Biki bye yakola? Olw’okuba yali nnabbi, yalina obuvunaanyizibwa obw’okubuulira abantu obubaka bwa Katonda. Yalina ekifo ekya waggulu mu Isirayiri, era yeegatta ku basajja ne bayimba oluyimba olw’obuwanguzi oluvannyuma lwa Katonda okuzikiriza eggye ly’Abamisiri mu Nnyanja Emmyufu.—Okuva 15:1, 20, 21.

 Oluvannyuma lw’ekiseera, Miriyamu ne Alooni baayogera bubi ku Musa. Kirabika amalala n’obuggya bye byabaleetera okukola ekyo. Katonda “yali awulira,” era yakangavvula Miriyamu ne Alooni. (Okubala 12:1-9) Oluvannyuma Katonda yakuba Miriyamu ebigenge, oboolyawo olw’okuba ye yasooka okwogera obubi ku Musa. Musa bwe yeegayirira Katonda ku lwa Miriyamu, Katonda yamuwonya. Oluvannyuma lw’okumala ennaku musanvu nga yeeyawudde ku balala, yakkirizibwa okuddamu okuyingira mu lusiisira lw’Abayisirayiri.—Okubala 12:10-15.

 Bayibuli eraga nti Miriyamu yakkiriza okukangavvulwa okwo. Oluvannyuma lw’emyaka mingi, Katonda yayogera ku nkizo ey’enjawulo Miriyamu gye yalina bwe yajjukiza Abayisirayiri nti: “Nnatuma Musa ne Alooni ne Miriyamu okubakulembera.”—Mikka 6:4.

 Biki bye tuyigira ku Miriyamu? Ebikwata ku Miriyamu biraga nti Katonda afaayo ku ebyo abaweereza be bye bagambagana oba bye boogera ku bannaabwe. Ate era tuyiga nti okusobola okusanyusa Katonda, tulina okwewala amalala n’obuggya—engeri ezisobola okutuleetera okwonoona erinnya ly’abalala eddungi.

  Mukazi wa Lutti

 Mukazi wa Lutti yali ani? Bayibuli tetubuulira linnya lye. Naye etubuulira nti yalina abawala babiri era nti ye n’ab’omu maka ge baali babeera mu kibuga Sodomu.—Olubereberye 19:1, 15.

 Biki bye yakola? Yajeemera etteeka lya Katonda. Katonda yali agenda kuzikiriza ekibuga Sodomu n’ebibuga ebirala ebyali biriraanyeewo olw’okuba byali bijjuddemu ebikolwa eby’obugwenyufu. Olw’okuba Katonda yali ayagala nnyo Lutti, omusajja eyali omutuukirivu, n’ab’omu maka ge, Katonda yatuma bamalayika babiri okubajja mu kibuga Sodomu baleme okuzikirizibwa.—Olubereberye 18:20; 19:1, 12, 13.

 Bamalayika baagamba Lutti n’ab’omu maka ge okudduka bave mu kitundu ekyo era n’obutatunula mabega; bwe bandikikoze bandifudde. (Olubereberye 19:17) Mukazi wa Lutti ‘yatunula emabega, n’afuuka empagi y’omunnyo.’—Olubereberye 19:26.

 Biki bye tuyigira ku mukazi wa Lutti? Ebimukwatako biraga akabi akali mu kwagala nnyo ebintu ne tutuuka n’okujeemera Katonda. Yesu bwe yali awa okulabula yamwogerako n’agamba nti: “Mujjukire mukazi wa Lutti.”—Lukka 17:32.

  Omuwala Omusulamu

 Omuwala Omusulamu yali ani? Yali muwala alabika obulungi ennyo era y’asinga okwogerwako mu kitabo kya Bayibuli ekiyitibwa Oluyimba lwa Sulemaani. Bayibuli tetubuulira linnya lye.

 Biki bye yakola? Omuwala Omusulamu yasigala mwesigwa eri omulenzi we gwe yali ayagala ennyo eyali omulunzi w’endiga. (Oluyimba lwa Sulemaani 2:16) Olw’okuba yali alabika bulungi nnyo, Kabaka Sulemaani eyali omugagga ennyo yamwegomba era n’agezaako okumusendasenda amwagale. (Oluyimba lwa Sulemaani 7:6) Wadde ng’abalala baagezaako okumupikiriza ayagale Sulemaani, omuwala Omusulamu yagaana. Yali ayagala nnyo omulenzi we eyali omulunzi w’endiga era yasigala mwesigwa gy’ali.—Oluyimba lwa Sulemaani 3:5; 7:10; 8:6.

 Biki bye tuyigira ku muwala Omusulamu? Yasigala mwetowaaze wadde nga yali alabika bulungi nnyo era nga n’abalala bamutendereza. Teyakkiriza kupikirizibwa oba eby’obugagga n’ettutumu kumuleetera kulekera awo kwagala mulenzi we eyali omulunzi w’endiga. Yeefuga n’asobola okunywerera ku mitindo gy’empisa.

  Saala

 Saala yali ani? Yali mukazi wa Ibulayimu era maama wa Isaaka.

 Biki bye yakola? Saala yaleka obulamu obulungi mu kibuga Uli olw’okuba yali akkiririza mu bisuubizo Katonda bye yali asuubizza omwami we Ibulayimu. Katonda yagamba Ibulayimu okuva mu kibuga Uli agende mu nsi ya Kanani. Katonda yamusuubiza okumuwa omukisa era n’okumufuula eggwanga eddene. (Olubereberye 12:1-5) Mu kiseera ekyo, Saala ayinza okuba nga yali mu myaka 60. Okuva olwo n’okweyongerayo, Saala n’omwami we baabeeranga mu weema era nga bava mu kifo ekimu okudda mu kirala.

 Wadde ng’obulamu ng’obwo bwali buteeka Saala mu kabi, yawagira omwami we Ibulayimu bwe yali agoberera obulagirizi bwa Katonda. (Olubereberye 12:10, 15) Okumala emyaka mingi, Saala yali mugumba, era ekyo kyamunakuwazanga nnyo. Kyokka, Katonda yali asuubizza okuwa ezzadde lya Ibulayimu omukisa. (Olubereberye 12:7; 13:15; 15:18; 16:1, 2, 15) Bwe waayitawo ekiseera, Katonda yakikakasa nti Saala yandizaalidde Ibulayimu omwana. Saala yazaala omwana wadde nga yali asussizza emyaka egy’okuzaala. Saala yalina emyaka 90, ate ng’omwami we wa myaka 100. (Olubereberye 17:17; 21:2-5) Omwana baamutuuma Isaaka.

 Biki bye tuyigira ku Saala? Ekyokulabirako kya Saala kituyigiriza nti tusobola okwesiga Katonda nti ajja kutuukiriza ebisuubizo bye, n’ebyo ebirabika ng’ebitasoboka! (Abebbulaniya 11:11) Ate era ekyokulabirako kye kiraga obukulu bw’okuwaŋŋana ekitiibwa mu bufumbo.—1 Peetero 3:5, 6.

  Yayeeri

 Yayeeri yali ani? Yali mukazi wa Kebali, omusajja ataali Muyisirayiri. Yayeeri yayoleka obuvumu n’awagira abantu ba Katonda.

 Biki bye yakola? Yayeeri alina kye yakolawo Sisera omukulu w’eggye ly’Abakanani, bwe yajja mu lusiisira lwe. Sisera yali awanguddwa Abayisirayiri era nga kati anoonya wa kwekweka na wa kuwummulira. Yayeeri yamuleka n’ayingira mu lusiisira lwe yeekweke era awummuleko. Sisera bwe yali yeebase, Yayeeri yamutta.—Ekyabalamuzi 4:17-21.

 Ekyo Yayeeri kye yakola kyatuukiriza obunnabbi Debola bwe yayogera obugamba nti: “Sisera Yakuwa agenda kumuwaayo mu mukono gwa mukazi.” (Ekyabalamuzi 4:9) Olw’ekyo kye yakola, Yayeeri yatenderezebwa n’ayogerwako ‘ng’ow’omukisa okusinga abakazi bonna.’—Ekyabalamuzi 5:24.

 Biki bye tuyigira ku Yayeeri? Yayeeri yayoleka obuvumu n’abaako ky’akolawo. Ebimukwatako biraga nti Katonda asobola okukkiriza embeera ezimu okubaawo okusobola okutuukiriza obunnabbi.

  Yezebeeri

 Yezebeeri yali ani? Yali mukazi wa Akabu, kabaka wa Isirayiri. Teyali Muyisirayiri era yali tasinza Yakuwa. Mu kifo ky’ekyo, yali asinza katonda wa Bakanani ayitibwa Bbaali.

 Biki bye yakola? Nnaabakyala Yezebeeri yali nnaakyemalira era nga mukambwe nnyo. Yatumbula okusinza Bbaali n’ebikolwa eby’obugwenyufu ebyali bikwatagana n’okusinza okwo. Mu kiseera kye kimu, yagezaako okulemesa abantu okusinza Katonda ow’amazima, Yakuwa.—1 Bassekabaka 18:4, 13; 19:1-3.

 Yezebeeri yalimbanga era yattanga okusobola okufuna kye yabanga ayagala. (1 Bassekabaka 21:8-16) Nga Katonda bwe yali agambye, Yezebeeri yafa bubi nnyo era teyaziikibwa.—1 Bassekabaka 21:23; 2 Bassekabaka 9:10, 32-37.

 Biki bye tuyigira ku Yezebeeri? Yezebeeri yassaawo ekyokulabirako ekibi era tetusaanidde ku kikoppa. Yali mukazi mugwenyufu era nga talina mpisa, era nga mwetegefu okukola ekintu kyonna ekibi okusobola okufuna kye yabanga ayagala. Eyo ye nsonga lwaki erinnya lye likozesebwa ku mukazi atakwatibwa nsonyi ng’akoze ekintu ekibi, omugwenyufu, atassa kitiibwa mu b’obuyinza, era atafaayo ku ebyo by’akola wadde nga bibi.

 Ebiseera Abakazi Aboogerwako mu Bayibuli we Baabeererawo

  1.  Kaawa

  2. Amataba (2370 E.E.T.)

  3.  Saala

  4.  Mukazi wa Lutti

  5.  Lebbeeka

  6.  Leeya

  7.  Laakeeri

  8. Okuva e Misiri (1513 E.E.T.)

  9.  Miriyamu

  10.  Lakabu

  11.  Luusi

  12.  Debola

  13.  Yayeeri

  14.  Derira

  15.  Kaana

  16. Kabaka wa Isirayiri eyasooka (1117 E.E.T.)

  17.  Abbigayiri

  18.  Omuwala Omusulamu

  19.  Yezebeeri

  20.  Eseza

  21.  Maliyamu (maama wa Yesu)

  22. Okubatizibwa kwa Yesu (29 E.E.)

  23.  Maliza

  24.  Maliyamu (muganda wa Maliza era mwannyina wa Laazaalo)

  25.  Maliyamu Magudaleena

  26. Okufa kwa Yesu (33 E.E.)