Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | KATONDA ALINA NDOWOOZA KI KU NTALO?

Endowooza Katonda gy’Alina ku Ntalo mu Kiseera Kino

Endowooza Katonda gy’Alina ku Ntalo mu Kiseera Kino

Leero waliwo abantu bangi abanyigirizibwa. Bangi basaba Katonda entakera abayambe era beebuuza obanga ekiseera kirituuka ne bava mu mbeera embi gye balimu. Katonda awulira essaala zaabwe? Ate abo abasalawo okulwana entalo basobole okumalawo okunyigirizibwa? Katonda abawagira?

Kalumagedoni lwe lutalo olujja okukomya entalo zonna

Okusookera ddala, beera mukakafu nti Katonda alaba okubonaabona kwonna okuliwo leero, era anaatera okukuggyawo. (Zabbuli 72:13, 14) Mu kigambo kye Bayibuli, asuubiza nti, “mmwe ababonaabona mujja kufuna obuweerero.” Naye ddi? Bayibuli egamba nti: “Mu kubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu okuva mu ggulu ng’ali wamu ne bamalayika be ab’amaanyi, . . . ng’awoolera eggwanga ku abo abatamanyi Katonda, n’abo abatagondera mawulire malungi agakwata ku Mukama waffe Yesu.” (2 Abassessaloniika 1:7, 8) Okubikkulibwa kwa Yesu kuno kujja kubaawo mu biseera eby’omu maaso ng’azze okulwana “olutalo olugenda okubaawo ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.” Olutalo olwo era luyitibwa Kalumagedoni.Okubikkulirwa 16:14, 16.

Mu lutalo olwo, Katonda tajja kukozesa bantu, wabula ajja kukozesa Omwana we Yesu Kristo, awamu ne bamalayika okulwanyisa abantu ababi. Eggye lino ery’omu ggulu lijja kuzikiriza abo bonna abanyigiriza abalala.Isaaya 11:4; Okubikkulirwa 19:11-16.

N’okutuusa leero, endowooza ya Katonda ku ntalo tekyukanga. Entalo akyazitwala ng’engeri y’okumalawo okunyigirizibwa n’ebikolwa ebibi. Naye nga bwe kyali okuva edda, Katonda y’asalawo ekiseera olutalo ng’olwo we lunaabeererawo ne baani abanaalulwana. Katonda yasalawo dda nti olutalo olugenda okumalawo ebikolwa ebibi n’okunyigirizibwa lwa mu biseera bya mu maaso, era nti Omwana we Yesu Kristo, y’agenda okulwana olutalo olwo. Ekyo kitegeeza nti entalo eziriwo leero Katonda taziwagira, ka kibe nti abazirwana bagamba nti balina ebigendererwa ebirungi.

Lowooza ku kyokulabirako kino: Abaana babiri batandika okulwana nga taata waabwe taliiwo. Balekera awo okulwana ne bakubira taata waabwe essimu. Omu agamba taata waabwe nti munne ye yasoose okumukuba, ate omulala n’agamba nti munne ye yamuyiikirizza. Buli omu ku bo ayagala kitaabwe amuwagire. Naye, kitaabwe abagamba nti balekere awo okulwana bamulinde akomewo agonjoole ensonga. Kyokka oluvannyuma lw’akaseera katono, baddamu okulwana. Kitaabwe bw’akomawo, bombi ababonereza olw’obutamugondera.

Leero, amawanga bwe gaba galwanagana, buli ludda luba lwagala Katonda aluwagire. Naye Katonda talina ludda lw’awagira mu ntalo ezirwanibwa leero. Mu kifo ky’ekyo, okuyitira mu Bayibuli, Katonda agamba nti: “Temukolanga muntu n’omu kibi olw’okuba abakoze ekibi,” era agamba nti “temuwooleranga ggwanga.” (Abaruumi 12:17, 19) Ate era, ayagala abantu ‘bamulindirire n’obugumiikiriza,’ kubanga anaatera okubaako ky’akolawo. (Zabbuli 37:7) Amawanga bwe gatalindirira Katonda ne gasalawo okulwanagana, gaba geetulinkirizza era ekyo tekimusanyusa. N’olwekyo, ku lutalo Kalumagedoni, Katonda ajja kumalirawo ddala enkaayana z’amawanga ‘ng’aggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y’ensi.’ (Zabbuli 46:9; Isaaya 34:2) Kalumagedoni lwe lutalo olujja okukomya entalo zonna.

Ogumu ku mikisa Obwakabaka bwa Katonda gye bugenda okuleeta kwe kumalawo entalo. Yesu yayogera ku gavumenti eyo mu saala emanyiddwa ennyo. Yagamba nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:10) Obwakabaka bwa Katonda tebujja kukoma ku kumalawo ntalo, naye era bujja kuggyawo n’abantu ababi abazireeta. * (Zabbuli 37:9, 10, 14, 15) Twesunga nnyo emikisa Obwakabaka bwa Katonda gye bugenda okuleeta.2 Peetero 3:13.

Kati olwo tunaalindirira kumala bbanga ki Obwakabaka bwa Katonda bulyoke bumalewo okubonaabona, okunyigirizibwa, n’ebikolwa ebibi? Ebigenda mu maaso mu nsi biraga nti tuli mu nnaku ez’enkomeroro. (2 Timoseewo 3:1-5) * Mu kiseera ekitali kya wala, Obwakabaka bwa Katonda bujja kumalawo ebintu ebibi byonna.

Nga bwe kyogeddwako waggulu, abo abagenda okuzikirizibwa ku lutalo Kalumagedoni, beebo “abatagondera mawulire malungi agakwata ku Mukama waffe Yesu.” (2 Abassessaloniika 1:8) Naye kijjukire nti Katonda tayagala muntu yenna afe, nga mw’otwalidde n’abantu ababi. (Ezeekyeri 33:11) Olw’okuba ‘tayagala muntu yenna azikirizibwe’ mu lutalo olusembayo, ayagala ‘amawulire amalungi ag’obwakaba gabuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna’ ng’enkomerero tennajja. (2 Peetero 3:8, 9; Matayo 24:14; 1 Timoseewo 2:3, 4) Okuyitira mu mulimu gw’okubuulira ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna, abantu bayigirizibwa Bayibuli basobole okuyiga ebikwata ku Katonda, basobole okugondera amawulire amalungi agakwata ku Yesu. Ekyo kijja kubasobozesa okubeera ku nsi etalibaamu ntalo.

^ lup. 9 Obwakabaka bwa Katonda era bujja kuggyawo okufa, okwafuuka omulabe waffe. Ng’ekitundu ekiri ku lupapula 16, bwe kiraga, Katonda ajja kuzuukiza abantu bukadde na bukadde nga mw’otwalidde n’abo abaafiira mu ntalo.

^ lup. 10 Okumanya ebisingawo, laba essuula 9 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.