Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE | TIMOSEEWO

“Omwana Wange Omwagalwa era Omwesigwa mu Mukama Waffe”

“Omwana Wange Omwagalwa era Omwesigwa mu Mukama Waffe”

TIMOSEEWO atambula ng’ayanguwa okusanga banne, era yeesunga obuvunaanyizibwa obupya obumuweereddwa. Banne bamukulembeddemu era ekibuga Lusitula Timoseewo kye yali amanyi obulungi bakikubye amabega. Kuba akafaananyi nga Timoseewo ajjukira engeri maama we ne jjajjaawe gye bamusiibudde n’essanyu.

Omutume Pawulo amwenya buli lw’atunula ku Timoseewo. Yali akimanyi nti Timoseewo akyalimu ensonyi, naye yali amwagala nnyo olw’obunyiikivu bwe. Timoseewo yali akyali muvubuka, oboolyawo ng’anaatera okuweza emyaka 20 oba nga yaakagisussaamu. Yali ayagala nnyo omutume Pawulo era ng’amussaamu nnyo ekitiibwa. Kati nno ekiseera kyali kituuse Timoseewo atandike okutambula n’omuteme Pawulo ku ŋŋendo ezitali zimu. Baali bakutambulira ku bigere, ku maato, era bandifunye ebizibu ebitali bimu mu ŋŋendo zaabwe. Timoseewo yali tamanyi obanga aliddamu okulaba ku b’ewaabwe.

Kiki ekyakubiriza omuvubuka ono okusalawo bw’atyo? Mikisa ki gye yandifunye mu buweereza bwe? Tuyinza tutya okukoppa okukkiriza kwa Timoseewo?

“OKUVA MU BUWERE”

Kati ka tukube akafaananyi emyaka ebiri oba esatu emabega nga Timoseewo ali mu kibuga Lusitula, gy’ayinza okuba nga gye yazaalibwa. Kaali kabuga akeesudde, era we kaali waaliwo ekiwonvu. Kirabika abantu b’omu kabuga ako baali bamanyi Oluyonaani, naye baayogeranga olulimi olw’omu kitundu ekyo oluyitibwa Olulukawoniya. Lumu akabuga ako kaalimu akakyankalano. Abaminsani babiri, omutume Pawulo ne munne Balunabba, baali bazze mu kabuga ako nga bava mu Ikoniyo, ekibuga ekinene ekyali kiriraanyeewo. Bwe baali babuulira, baalaba omusajja omulema eyalina okukkiriza okw’amaanyi, era Pawulo n’amuwonya!—Ebikolwa 14:5-10.

Abantu ab’omu kabuga ako baali bakkiririza mu nfumo ezaali zigamba nti mu biseera eby’edda, bakatonda bajjanga mu kitundu ekyo ne bafuuka abantu. N’olwekyo abantu baali balowooza nti Pawulo ye katonda ayitibwa Kerume ate Balunabba ye Zewu! Abantu abo baali baagala kuwaayo ssaddaaka, naye olw’okuba Pawulo ne Balunabba baali bawombeefu, baaziyiza abantu abo.—Ebikolwa 14:11-18.

Naye abamu ku bantu b’omu Lusitula tebaakitwala nti Pawulo ne Balunnabba baali bakatonda. Baakimanya nti baali bantu ba ddala abaali bababuulira amawulire amalungi. Ng’ekyokulabirako, omukyala Omuyudaaya ayali yafumbirwa omusajja Omuyonaani * ataali Mukristaayo, awamu ne maama we Looyi, bassaayo nnyo omwoyo ku ebyo Pawulo ne Balunabba bye baayogera. Baali bawulidde amawulire amalungi buli Muyudaaya eyali atya Katonda ge yali ayagala okuwulira; nti Masiya yali yajja era nti obunnabbi bwonna obwali bukwata ku kujja kwe bwali butuukiridde!

Lowooza ku ngeri Timoseewo gye yaganyulwa mu kukyala kwa Pawulo. “Okuva mu buwere,” Timoseewo yali yayigirizibwa Ebyawandiikibwa ebitukuvu eby’Olwebbulaniya. (2 Timoseewo 3:15) Okufaananako maama we ne jjajjaawe, Timoseewo yakiraba nti ebyo Pawulo ne Balunabba bye baali bayigiriza byali bituufu. Ate lowooza ku musajja omulema Pawulo gwe yawonya. Timoseewo ayinza okuba nga yalabanga omusajja oyo ku nguudo z’omu kabuga Lusitula. Kyokka kati omusajja oyo yali atambula! Tekyewuunyisa nti Timoseewo yafuuka Mukristaayo nga maama we Ewuniike ne jjajjaawe Looyi. Ne leero bajjajja n’abazadde balina bingi bye basobola okuyigira ku Looyi ne Ewuniike. Nabo basobola okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku Katonda.

“OKUYITA MU KUBONAABONA KUNGI”

Abo abaafuuka Abakristaayo mu Lusitula bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo okuyiga ku ssuubi abagoberezi ba Yesu Kristo lye balina. Naye era baakitegeera nti okufuuka abagoberezi ba Yesu kyandibaviiriddeko okubonaabona ennyo. Abayudaaya ab’omu Ikoniyo ne mu Antiyokiya abaali bayigganya abatume bajja mu kabuga Lusitula, Pawulo ne Balunabba mwe baali. Baakuma omuliro mu bantu ab’omu kabuga ako ne beefuulira Pawulo ne Balunabba. Baakuba Pawulo amayinja, era ne bamuwalula ne bamufulumya wabweru w’akabuga ako nga balowooza nti afudde.—Ebikolwa 14:19.

Naye, abayigirizwa abaali mu Lusitula baanoonya Pawulo, era baasanyuka nnyo bwe baamusanga ng’akyali mulamu. Pawulo yayoleka obuvumu n’ayimuka n’addayo mu Lusitula. Ku lunaku olwaddako, yagenda ne Balunabba e Derube, ne beeyongera okubuulira. Bwe baamala okubaaako abantu be bayamba okufuuka abayigirizwa, baddayo mu Lusitula wadde nga kyali kiyinza okuteeka obulamu bwabwe mu kabi. Kiki kye baakola nga bazzeeyo mu Lusitula? Ebyawandiikibwa bigamba nti ‘baagumya abayigirizwa,’ era ne “babakubiriza okunywerera mu kukkiriza.” Kuba akafaananyi nga Timoseewo awuliriza Pawulo ne Balunabba nga bagamba Abakristaayo abo nti essuubi ery’ekitalo lye baalina lyali lisingira wala okubonaabona kwe baali bayitamu mu kiseera ekyo. Baabagamba nti: “Tuteekwa okuyita mu kubonaabona kungi okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda”—Ebikolwa 14:20-22.

Timoseewo yassaayo omwoyo eri ebyo omutume Pawulo bye yali ayigiriza

Timoseewo yali alabye Pawulo ng’ayita mu kubonaabona kungi okusobola okubuulira abalala amawulire amalungi. N’olwekyo, Timoseewo yali akimanyi bulungi nti singa akoppa Pawulo, abantu b’omu Lusitula bandimuyigganyizza, aboolyawo ne kitaawe kennyini yandimuyigganyizza. Wadde kyali kityo, Timoseewo teyatya kusalawo kuweereza Katonda mu bujjuvu. Leero, waliwo abavubuka bangi abalinga Timoseewo. Bafuna emikwano egirina okukkiriza okunywevu, era eginaabayamba okunyweza okukkiriza kwabwe. Era basigala baweereza Katonda ow’amazima, wadde nga bayigganyizibwa.

‘AB’OLUGANDA BAALI BAMWOGERAKO BULUNGI’

Nga bwe kyogeddwako waggulu, oluvannyuma lw’emyaka ebiri oba esatu, Pawulo, ku luno ng’awerekeddwako Siira, yaddamu okukyala mu Lusitula. Lowooza ku ngeri Timoseewo gye yasanyukamu ng’azzeemu okulaba Pawulo. Pawulo naye ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo. Yali alaba ebirungi ebyava mu mulimu gw’okubuulira gwe yali akoze mu Lusitula. Looyi ne muwala we Ewuniike, kati baali bakazi Bakristaayo abaali bajjudde ‘okukkiriza okutaliimu bukuusa,’ era Pawulo yali abaagala nnyo olw’okukkiriza kwe baalina. (2 Timoseewo 1:5) Ate ye Timoseewo?

Pawulo yakitegeera nti Timoseewo yali akulaakulanye nnyo mu by’omwoyo. ‘Ab’oluganda baali bamwogerako bulungi,’ si mu Lusitula mwokka, naye ne mu Ikoniyo ekyali kyesudde mayiro nga 20 okuva mu Lusitula. (Ebikolwa 16:2) Kiki ekyayamba Timoseewo okwekolera erinnya eddungi bwe lityo?

“Ebyawandiikibwa ebitukuvu” maama we ne jjajjaawe bye baamuyigiriza “okuva mu buwere,” byalimu okubuulirira okulungi okuyamba abavubuka okukula nga ba buvunaanyizibwa. (2 Timoseewo 3:15) Lowooza ku kubuulirira nga kuno: “Ojjukiranga Omutonzi wo mu biro eby’obuvubuka bwo.” (Omubuulizi 12:1) Timoseewo bwe yafuuka Omukristaayo, ebigambo ebyo biteekwa okuba nga bayafuuka bya makulu nnyo gy’ali. Yakiraba nti engeri esingayo obulungi gye yandijjukiddemu Omutonzi we kwe kubuulira abalala amawulire amalungi agakwata ku Kristo. Timoseewo yagenda afuna obuvumu okubuulira abalala amawulire amalungi agakwata ku Yesu Kristo.

Abasajja abaali abalabirizi mu kibiina Ekikristaayo beetegereza engeri Timoseewo gye yali akulaakulanamu. Bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo bwe baalaba engeri omuvubuka oyo gye yali ayigirizaamu abalala n’okubazzaamu amaanyi. N’ekisinga obukulu, Yakuwa yali alaba ebyo Timoseewo bye yali akola. Katonda yawa obunnabbi obukwata ku Timoseewo, oboolyawo nga bulaga emirimu gye yandikoze ng’aweereza mu bibiina eby’enjawulo. Pawulo yakiraba nti Timoseewo asobola okumuyambako mu mulimu gwe ogw’obumisani, era ab’oluganda mu kibiina ky’e Lusitula baamusemba. Baamussaako emikono, akabonero akaali kalaga nti afunye enkizo ey’enjawulo okuweereza Katonda.1 Timoseewo 1:18; 4:14.

Timoseewo, ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo olw’ab’oluganda okumwesiga ne bamuwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi bwe butyo. Yali mwetegefu okugenda ne Pawulo. * Naye taata wa Timoseewo ataali mukkiriza, yawulira atya bwe yakitegeera nti Timoseewo agenda kufuuka muminsani? Oboolyawo kye yali ayagaliza mutabani we kyali kya njawulo. Ate maama wa Timoseewo ne jjajjaawe baawulira batya? Baasanyuka, oba beeraliikirira olw’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi Timoseewo bwe yali afunye?

Kye tumanyi kiri nti Timoseewo yakkiriza obuvunaanyizibwa obwali bumuweereddwa. Nga bwe twalabye ku ntandikwa, Timoseewo yali atandise obulamu obupya obw’okuweereza ng’omuminsani wamu ne Pawulo. Yali agenda kutambulanga eŋŋendo ez’ewala okuva awaka, era nga gy’agenda tamanyiiyo. Oluvannyuma lw’okutambula olunaku lwonna, abasajja abo abasatu baalwaddaaki ne batuuka mu Ikoniyo. Timoseewo yeetegereza nga Pawulo ne Siira babuulira ab’oluganda mu Ikoniyo ebyo ebyali bisaliddwawo akakiiko akafuzi akaali mu Yerusaalemi, n’engeri gye baazimbamu okukkiriza kw’ab’oluganda abo. (Ebikolwa 16:4, 5) Naye ago gaali gakyali mabaga.

Oluvannyuma lw’okukyalira ebibiina by’omu Ggalatiya, abaminsani abo baava ku nguudo ennungi ez’Abaruumi ne batindigga olugendo lwa mayiro bikumi na bikumi nga bayita mu nsenyi z’e Fulugiya, ne bagenda e bukiikakkono gye baava ne boolekera ebugwanjuba. Nga bagoberera obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, baagenda e Tulowa, ne balinnya ekyombo ne boolekera e Makedoni. (Ebikolwa 16:6-12) Mu kiseera ekyo, Pawulo yali akirabye nti Timoseewo wa mugaso nnyo gy’ali. Pawulo yatuuka n’okuleka Timoseewo ne Siira e Beroya. (Ebikolwa 17:14) Ate era yatuuka n’okutuma Timoseewo e Ssessalonika, ng’ali yekka. Timoseewo bwe yatuuka e Ssessalonika, yanyweza Abakristaayo abeesigwa abaali eyo nga Pawulo ne banne bwe baakolanga.—1 Abassessaloniika 3:1-3.

Oluvannyuma Pawulo yawandiika bw’ati ku Timoseewo: “Sirina mulala alina ndowooza ng’eyiye ajja okubafaako mu bwesimbu.” (Abafiripi 2:20) Pawulo yali tamuwaana buwaanyi. Timoseewo yali mukozi munyiikivu, yali mwetoowaze, era yagumiikiriza embeera enzibu. Timoseewo nga yateerawo abavubuka ekyokulabirako ekirungi! Abavubuka, nammwe musobola okwekolera erinnya eddungi ng’obulamu bwammwe mubukozesa okuweereza Yakuwa, nga muba ba kisa eri abalala, era nga mubawa ekitiibwa.

“FUBA NNYO OKUJJA GYE NDI”

Timoseewo yatandika okuweereza Katonda mu bujjuvu ng’akyali muvubuka

Timoseewo yamala emyaka nga 14, ng’aweereza ne mukwano gwe Pawulo. Baayita mu bizibu bingi nga bali wamu, naye era baafuna emikisa mingi. (2 Abakkolinso 11:24-27) Timoseewo yatuuka n’okusibibwa mu kkomera olw’okukkiriza kwe. (Abebbulaniya 13:23) Ate era okufaananako Pawulo, Timoseewo yali ayagala nnyo Bakristaayo banne era ng’abafaako nnyo. Pawulo yatuuka n’okumuwandiikira nti: “Nzijukira amaziga go.” (2 Timoseewo 1:4) Okufaananako Pawulo, kirabika Timoseewo naye yayiga ‘okukaabira awamu n’abo abakaaba,’ asobole okubazzaamu amaanyi n’okubabudaabuda. (Abaruumi 12:15) Ka ffenna tufengayo nnyo ku baganda baffe!

Oluvannyuma lw’ekiseera, Timoseewo yafuuka omulabirizi omulungi ennyo. Pawulo yamuwa obuvunaanyizibwa obw’okukyalira ebibiina okubizzaamu amaanyi era n’okulonda abasajja abaali batuukiriza ebisaanyizo okuweereza ng’abakadde oba abaweereza mu kibiina.1 Timoseewo 5:22.

Pawulo yali ayagala nnyo Timoseewo, era yamubuuliriranga nga taata bw’abuulirira mutabani we, era ekyo kyayamba nnyo Timoseewo. Yakubiriza Timoseewo okunyweza ebirabo eby’eby’omwoyo bye yalina n’okweyongera okukulaakulana. (1 Timoseewo 4:15, 16) Yakubiriza Timoseewo okunywerera ku kituufu, n’obuteenyooma olw’okuba yali akyali muvubuka. (1 Timoseewo 1:3; 4:6, 7, 11, 12) Ate era, kirabika Timoseewo yalwalalwanga olubuto. Pawulo yamuwa amagezi ku ngeri y’okwaŋŋangamu ekizibu ekyo.1 Timoseewo 5:23.

Ekiseera kyatuuka, Pawulo n’amanya nti yali anaatera okufa; kirabika yali anaatera okuttibwa. Yawandiikira Timoseewo ebbaluwa ye eyasembayo, eyalimu ebigambo bino ebyali byoleka enneewulira ya Pawulo: “Fuba nnyo okujja gye ndi mu bwangu.” (2 Timoseewo 4:9) Pawulo yali ayagala nnyo Timoseewo, era yamuyita “omwana wange omwagalwa era omwesigwa mu Mukama waffe.” (1 Abakkolinso 4:17) Pawulo yayagala nnyo okulaba ku mukwano gwe omulundi ogusembayo! Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Abalala bwe baba n’ebizibu nga baagala okubudaabudibwa, basobola okujja gye ndi?’

Tetumanyi obanga Timoseewo yasobola okusanga Pawulo ng’akyali mulamu. Kye tumanyi kiri nti Pawulo n’abalala buli lwe baabanga beetaaga okubudaabudibwa n’okuzzibwamu amaanyi, Timoseewo yabangako ky’akolawo mu bwangu. Timoseewo yatuukana n’amakulu g’erinnya lye eritegeeza nti, “Oyo Awa Katonda Ekitiibwa.” Ate era, yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi, ffenna abakulu n’abato, kye tusobola okukoppa.

^ lup. 9 Laba ekitundu ekirina omutwe, “Obadde Okimanyi?” ekiri mu katabo kano.

^ lup. 20 Timoseewo yakkiriza n’okukomolebwa nga Pawulo bwe yamusaba, si lwa kuba nti lyali teeka eri Abakristaayo, naye lwa kuba Pawulo yali tayagala kwesittaza Bayudaaya be bandibuulidde olw’okuba abamu ku bo baali bamanyi nti taata wa Timoseewo teyali Muyudaaya.—Ebikolwa 16:3.