Buuka ogende ku bubaka obulimu

Olutalo Amagedoni kye Ki?

Olutalo Amagedoni kye Ki?

Bayibuli ky’egamba

 Olutalo Amagedoni lwe lutalo olunaasembayo olujja okubaawo wakati wa gavumenti z’abantu ne Katonda. Ne mu kiseera kino, gavumenti z’abantu n’abo abaziwagira bawakanya Katonda nga bagaana okugondera obufuzi bwe. (Zabbuli 2:2) Olutalo Amagedoni lujja kuzikiriza obufuzi bw’abantu.​—Danyeri 2:44.

 Ekigambo “Amagedoni” kikozesebwa omulundi gumu gwokka mu Bayibuli, mu Okubikkulirwa 16:16. Ekitabo ky’Okubikkulirwa kigamba nti “bakabaka b’ensi yonna” bajja kukuŋŋaanyizibwa wamu “mu kifo ekiyitibwa Amagedoni mu Lwebbulaniya,” era “balwane olutalo olujja okubaawo ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.”​—Okubikkulirwa 16:14.

 Baani abanaalwana mu lutalo Amagedoni? Yesu Kristo y’ajja okuduumira eggye ery’omu ggulu okulwanyisa abalabe ba Katonda era abawangule. (Okubikkulirwa 19:11-16, 19-21) Abalabe abo bazingiramu abo bonna abawakanya obuyinza bwa Katonda era abamunyooma.​—Ezeekyeri 39:7.

 Olutalo Amagedoni banaalulwanira mu kitundu ekimu mu Buwalabu? Nedda. Olutalo olwo terujja kubeera mu kitundu kimu eky’ensi, wabula mu nsi yonna.​—Yeremiya 25:32-34; Ezeekyeri 39:17-20.

 Ekigambo Amagedoni, (mu Lwebbulaniya Har Meghiddohnʹ), kitegeeza “Olusozi Megiddo.” Megiddo kyali kibuga mu Isirayiri ey’edda. Ebyafaayo biraga nti entalo nnyingi zaalwanirwanga okumpi n’ekibuga ekyo, nga n’ezimu ku zo zoogerwako mu Bayibuli. (Ekyabalamuzi 5:19, 20; 2 Bassekabaka 9:27; 23:29) Kyokka, Amagedoni tekitegeeza kifo kyennyini ekyali okumpi n’ekibuga Megiddo eky’edda. Tewali lusozi lunene mu kitundu ekyo, era n’ekitundu kyonna ekya Yezuleeri ekiriraanyeewo tekiyinza kugyaamu abo bonna abajja okulwanyisa Katonda. Mu kifo ky’ekyo, Amagedoni kitegeeza embeera ejja okubaawo mu nsi yonna, amawanga bwe ganaaba geegasse wamu okulwanyisa obufuzi bwa Katonda.

 Embeera eneeba etya ng’olutalo Amagedoni lulwanibwa? Wadde nga tetumanyi ngeri Katonda gy’anaakozesaamu amaanyi ge, ayinza okukozesa ebimu ku ebyo bye yakozesaako mu biseera eby’edda, gamba ng’omuzira, musisi, enkuba ey’amaanyi, omuliro n’amayinja agookya, laddu, n’endwadde. (Yobu 38:22, 23; Ezeekyeri 38:19, 22; Kaabakuuku 3:10, 11; Zekkaliya 14:12) Nga batabuddwatabuddwa, abamu ku balabe ba Katonda bayinza okuttiŋŋana bokka na bokka. Naye bajja kukitegeera nti Katonda y’abalwanyisa.​—Ezeekyeri 38:21, 23; Zekkaliya 14:13.

 Ensi eneesaanawo ku lutalo Amagedoni? Ensi tejja kusaanawo ku lutalo olwo, okuva bwe kiri nti ensi abantu bajja kugibeerako emirembe gyonna. (Zabbuli 37:29; 96:10; Omubuulizi 1:4) Olutalo Amagedoni terujja kusaanyaawo bantu bonna, kubanga “ekibiina ekinene” eky’abaweereza ba Katonda bajja kuwonawo.​—Okubikkulirwa 7:9, 14; Zabbuli 37:34.

 Emirundi egimu Bayibuli bw’ekozesa ekigambo “ensi,” eba etegeeza abantu ababi abatakola Katonda by’ayagala. (1 Yokaana 2:15-17) Mu ngeri eyo, olutalo Amagedoni lujja kuleeta “enkomerero y’ensi.”​—Matayo 24:3, King James Version.

 Olutalo Amagedoni lunaabaawo ddi? Yesu bwe yali ayogera ku ‘kibonyoobonyo ekinene,’ ekijja okukomekkerezebwa n’olutalo Amagedoni, yagamba nti: “Eby’olunaku olwo n’ekiseera, tewali abimanyi, ka babe bamalayika mu ggulu oba Omwana, wabula Kitange yekka.” (Matayo 24:21, 36) Bayibuli eraga nti olutalo Amagedoni lujja kubaawo mu kiseera ky’okubeerawo kwa Yesu, ekyatandika mu mwaka gwa 1914.​—Matayo 24:37-39.