Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 02

Bayibuli Etuwa Essuubi

Bayibuli Etuwa Essuubi

Abantu okwetooloola ensi boolekagana n’ebizibu ebibaleetera ennaku, okweraliikirira, n’obulumi. Wali oyolekaganyeko n’embeera eyakuleetera okuwulira bw’otyo? Oboolyawo owulira obulumi olw’okuba oli mulwadde oba olw’okuba wafiirwa omuntu wo. Oyinza okwebuuza, ‘Ekiseera kirituuka ne waba nga tewakyali bizibu?’ Bayibuli eddamu ekibuuzo ekyo, era ky’eddamu kizzaamu amaanyi.

1. Bayibuli etuwa etya essuubi?

Bayibuli tekoma ku kulaga nsonga lwaki waliwo ebizibu bingi mu nsi, naye era erimu amawulire amalungi. Eraga nti ebizibu bye twolekagana nabyo bya kaseera buseera era nti binaatera okuggwaawo. Ebyo Bayibuli by’esuubiza bisobola okukuyamba okuba n’essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso ebirungi. (Soma Yeremiya 29:11, 12.) Ebyo by’esuubiza bituyamba okwaŋŋanga ebizibu bye twolekagana nabyo, okuba n’endowooza ennuŋŋamu, n’okuba n’essanyu erya nnamaddala.

2. Bayibuli eraga nti ebiseera eby’omu maaso binaaba bitya?

Bayibuli egamba nti mu biseera eby’omu maaso “okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.” (Soma Okubikkulirwa 21:4.) Ebizibu, gamba ng’obwavu, obutali bwenkanya, obulwadde, n’okufa, ebireetera obulamu okulabika ng’obutali bwa makulu, bijja kuba tebikyaliwo. Bayibuli eraga nti abantu bajja kusobola okunyumirwa obulamu mu Lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna.

3. Oyinza otya okuba omukakafu nti ebyo Bayibuli by’esuubiza bijja kutuukirira?

Bangi babaako ebintu ebirungi bye basuubira, naye tebasobola kuba bakakafu nti ebintu ebyo bye basuubira bijja kubaawo. Kyokka ebyo Bayibuli by’esuubiza bijja kutuukirira. Tusobola okwesiga ebyo Bayibuli by’egamba bwe ‘twekenneenya n’obwegendereza Ebyawandiikibwa.’ (Ebikolwa 17:11) Bwe weekenneenya Bayibuli, ojja kuba osobola okukiraba ggwe kennyini nti ebyo by’eyogera ku biseera eby’omu maaso byesigika.

YIGA EBISINGAWO

Laba ebimu ku bintu Bayibuli by’esuubiza ebijja okubaawo mu biseera eby’omu maaso. Era laba engeri ebisuubizo ebyo gye biyamba abantu leero.

4. Bayibuli esuubiza nti tusobola okubaawo emirembe gyonna nga tetulina kizibu kyonna

Laba wammanga ebimu ku bisuubizo ebiri mu Bayibuli. Biruwa by’osinga okwagala? Lwaki?

Soma ebyawandiikibwa ebiteekeddwa ku bisuubizo ebyo era oddemu ebibuuzo bino:

  • Olowooza ebyawandiikibwa ebyo biwa essuubi? Bisobola okuwa ab’eŋŋanda zo ne mikwano gyo essuubi?

Kuba akafaananyi ng’oli mu nsi

OMUTALI MUNTU . . .

NGA BULI MUNTU . . .

  • alaba abantu be abaafa nga bazuukiziddwa, nga bazzeemu okuba abalamu ku nsi.​—Yokaana 5:28, 29.

  • mulamu bulungi era ng’alina amaanyi ng’ag’omu myaka egy’ekivubuka.​—Yobu 33:25.

  • alumwa olw’okujjukira ebintu ebibi bye yayitamu​—Isaaya 65:17.

  • wa kubaawo emirembe gyonna mu mbeera ennungi.​—Zabbuli 37:29.

5. Bayibuli by’esuubiza bisobola okuleetawo enjawulo mu bulamu bwaffe

Abantu bangi baweddemu amaanyi ate abalala banyiivu olw’ebizibu ebiri mu nsi. Abamu bafuba nnyo okulaba nti embeera mu nsi etereera. Laba engeri ekyo Bayibuli ky’esuubiza nti embeera ejja kutereera gye kiyambamu abantu leero. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Mu vidiyo eyo, kintu ki ekitali kya bwenkanya ekyali kimazeeko Rafika emirembe?

  • Wadde ng’obutali bwenkanya obwo tebwavaawo, Bayibuli yamuyamba etya?

Ebyo Bayibuli by’esuubiza ebikwata ku biseera eby’omu maaso bisobola okutuyamba okwaŋŋanga ebintu ebimalamu amaanyi n’okuba abasanyufu nga twolekagana n’ebizibu. Soma Engero 17:22 ne Abaruumi 12:12, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Olowooza ebyo Bayibuli by’eyogera ku biseera eby’omu maaso bisobola okuleetawo enjawulo mu bulamu bwo kati? Lwaki ogamba bw’otyo?

ABAMU BAGAMBA NTI: “Ebyo Bayibuli by’esuubiza ebikwata ku biseera eby’omu maaso birungi nnyo naye tebisobola kutuukirira.”

  • Olowooza lwaki kikulu ggwe kennyini okwekenneenya obukakafu obulaga nti ebyo Bayibuli by’esuubiza bijja kutuukirira?

MU BUFUNZE

Bayibuli erimu ebisuubizo bingi ebikwata ku biseera eby’omu maaso ebirungi. Ekyo kituwa essuubi era kituyamba okwaŋŋanga ebizibu.

Okwejjukanya

  • Lwaki abantu beetaaga okuba n’essuubi?

  • Kiki Bayibuli ky’eyogera ku biseera eby’omu maaso?

  • Okuba n’essuubi ku biseera eby’omu maaso kiyinza kitya okukuyamba kati?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Laba engeri essuubi gye lisobola okukuyambamu ng’oyolekagana n’ebizibu.

“Essuubi​—Oyinza Kulifuna Otya?” (Awake!, Apuli 22, 2004)

Laba engeri essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso gye liyinza okuyambamu abalina obulwadde obutawona.

“Bw’Oba Olina Obulwadde Obutawona, Bayibuli Esobola Okukuyamba?” (Kiri ku mukutu)

Ng’olaba vidiyo y’oluyimba eno, kuba akafaananyi ng’oli wamu n’ab’omu maka go nga muli mu Lusuku lwa Katonda Bayibuli lw’esuubiza.

Buliba Buti (3:37)

Laba engeri obulamu bw’omusajja eyali alwanirira okutereeza embeera mu nsi gye bwakyuka bwe yamanya ebyo Bayibuli by’esuubiza ku biseera eby’omu maaso.

“Nnali Ndowooza nti Nsobola Okugonjoola Ebizibu Ebiri mu Nsi” (Omunaala gw’Omukuumi, Jjulaayi 1, 2013)