Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 01

Bayibuli Eyinza Etya Okukuyamba?

Bayibuli Eyinza Etya Okukuyamba?

Ffenna tulina ebibuuzo bye twebuuza ku bulamu, ku kubonaabona, ku kufa, ne ku biseera eby’omu maaso. Ate era waliwo ebintu bye tulowoozaako ennyo, gamba ng’engeri y’okwebeezaawo, oba okuba n’amaka amasanyufu. Abantu bangi bakirabye nti ng’oggyeeko okuba nti Bayibuli eddamu ebibuuzo ebikulu bye beebuuza, era erimu amagezi agabayamba mu bulamu bwabwe. Olowooza baani abasobola okuganyulwa mu ebyo ebiri mu Bayibuli?

1. Ebimu ku bibuuzo Bayibuli by’eddamu bye biruwa?

Bayibuli eddamu ebibuuzo bino ebikulu: Obulamu bwatandika butya? Lwaki weetuli? Lwaki abantu abatalina musango babonaabona? Kiki ekituuka ku muntu ng’afudde? Bwe kiba nti abantu bonna baagala emirembe, lwaki waliwo entalo nnyingi? Kiki ekinaatuuka ku nsi mu biseera eby’omu maaso? Bayibuli etukubiriza okunoonya eby’okuddamu mu bibuuzo ng’ebyo, era abantu bangi bakizudde nti eby’okuddamu by’ewa byesigika.

2. Bayibuli eyinza etya okutuyamba okunyumirwa obulamu?

Bayibuli erimu amagezi amalungi. Ng’ekyokulabirako, eraga engeri abantu gye bayinza okufunamu essanyu erya nnamaddala mu maka. Ewa obulagirizi ku ngeri y’okwaŋŋangamu ebyeraliikiriza n’engeri y’okunyumirwamu emirimu gyaffe. Ojja kuyiga ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku nsonga ezo awamu n’endala nnyingi bwe tunaaba tukubaganya ebirowoozo. Ojja kukiraba nti “buli Kyawandiikibwa [buli ekiri mu Bayibuli] . . . kigasa.”​—2 Timoseewo 3:16.

Ekitabo kino si Bayibuli, wabula kikuyamba ggwe kennyini okwekenneenya ebiri mu Bayibuli. N’olwekyo, tukukubiriza okusoma ebyawandiikibwa ebiri mu masomo ag’enjawulo era obigeraageranye n’ebyo by’oyiga.

YIGA EBISINGAWO

Laba engeri Bayibuli gy’eyambyemu abantu, engeri gy’oyinza okunyumirwa okugisoma, era n’ensonga lwaki kikulu okuba n’omuntu akuyamba okugitegeera.

3. Bayibuli esobola okutuwa obulagirizi

Bayibuli eringa ekitangaala ekitumulisa. Esobola okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi n’okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso.

Soma Zabbuli 119:105, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Omuwandiisi wa zabbuli eyo yali atwala atya Bayibuli?

  • Ggwe Bayibuli ogitwala otya?

4. Bayibuli esobola okuddamu ebibuuzo bye twebuuza

Bayibuli yayamba omukazi omu okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye yali amaze emyaka mingi nga yeebuuza. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Mu vidiyo eyo, bibuuzo ki omukazi oyo bye yali yeebuuza?

  • Okuyiga Bayibuli kwamuyamba kutya?

Bayibuli etukubiriza okubuuza ebibuuzo. Soma Matayo 7:7, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Bibuuzo ki bye weebuuza Bayibuli by’eyinza okuddamu?

5. Osobola okunyumirwa okusoma Bayibuli

Abantu bangi banyumirwa okusoma Bayibuli era bagiganyulwamu. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Mu vidiyo eyo, abavubuka baali batwala batya okusoma?

  • Wadde nga tebanyumirwa kusoma, lwaki yo Bayibuli banyumirwa okugisoma?

Bayibuli egamba nti ebigirimu bisobola okutubudaabuda n’okutuwa essuubi. Soma Abaruumi 15:4, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Bayibuli esuubiza okutubudaabuda n’okutuwa essuubi. Ekyo okyagala?

6. Abalala basobola okutuyamba okutegeera Bayibuli

Ng’oggyeeko okwesomera Bayibuli ku lwabwe, bangi bakizudde nti okugikubaganyaako ebirowoozo n’abalala kibaganyudde nnyo. Soma Ebikolwa 8:26-31, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

Omusajja Omwesiyopiya yali yeetaaga obuyambi okusobola okutegeera Ebyawandiikibwa. Abantu bangi leero bakizudde nti baganyulwa nnyo bwe bakubaganya ebirowoozo n’abalala ku Bayibuli

ABAMU BAGAMBA NTI: “Okusoma Bayibuli n’okugyekenneenya kuba kumala biseera.”

  • Ggwe olowooza otya? Lwaki ogamba bw’otyo?

MU BUFUNZE

Bayibuli erimu amagezi agatuyamba mu bulamu, eddamu ebibuuzo ebikulu, era ebigirimu bibudaabuda abantu era bibawa essuubi.

Okwejjukanya

  • Magezi ga ngeri ki agali mu Bayibuli?

  • Ebimu ku bibuuzo Bayibuli by’eddamu bye biruwa?

  • Biki bye wandyagadde okuyiga mu Bayibuli?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Laba engeri amagezi agali mu Bayibuli gye gali ag’omuganyulo leero.

“Bayibuli by’Eyigiriza Bikola Ekiseera Kyonna” (Omunaala gw’Omukuumi Na. 1 2018)

Laba engeri Bayibuli gye yayambamu omusajja eyalina enneewulira etali nnungi okuva mu buto.

Engeri Gye Nnatandika Okufuna Essanyu mu Bulamu (2:53)

Laba amagezi amalungi Bayibuli g’ewa ab’omu maka.

“Ebintu 12 Ebisobozesa Amaka Okuba Amanywevu” (Zuukuka! Na. 2 2018)

Laba engeri Bayibuli gy’etereezaamu endowooza enkyamu abantu bangi gye balina ku ani afuga ensi.

Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli? (3:14)