Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
  • NNAZAALIBWA: 1966

  • ENSI: FINLAND

  • EBYAFAAYO: NNALI MULWANIRIZI WA DDEMBE

OBULAMU BWANGE BWE BWALI:

Okuviira ddala mu buto nnali njagala nnyo obutonde. Ffenna awaka twagendanga ku nnyanja ezitali zimu ne mu bibira ebirabika obulungi ebyetoolodde akabuga Jyväskylä, ak’omu Finland. Ate era njagala nnyo ebisolo. Bwe nnali nkyali muto nnanyumirwanga nnyo okuzannya n’embwa ne kkapa. Bwe nnagenda nkula, nnayisibwanga bubi okulaba ng’abantu babonyaabonya ebisolo. Ekiseera kyatuuka ne nneegatta ku kibiina ekirwanirira eddembe ly’ebisolo.

Twafubanga nnyo okulwanirira eddembe ly’ebisolo. Twakubirizanga abantu okufaayo ku bisolo era twekalakaasanga olw’amadduuka agatunda ebyoya by’ebisolo n’olw’abo abattanga ebisolo nga baagala okubinoonyerezaako. Twatandikawo n’ekibiina ekipya ekirwanirira eddembe ly’ebisolo. Olw’okuba twakolanga kyonna ekisoboka okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe, ekyo tekyasanyusanga ba buyinza. Bankwatanga ne bantwala mu kkooti.

Ng’oggyeko eky’abantu okubonyaabonya ebisolo, nnayisibwanga bubi olw’ebizibu ebirala ebiriwo mu nsi. Nneegatta ku bibiina ebitali bimu nga mw’otwalidde ekya Amnesty International n’ekya Greenpeace. Nnafubanga nnyo okulaba nti ebibiina ebyo bituukiriza ebigendererwa byabyo. Nnalwaniriranga abaavu, abo abatalina kya kulya, n’abalala abali mu mbeera enzibu.

Naye oluvannyuma nnakiraba nti sisobola kutereeza nsi. Wadde ng’ebibiina ebyo byagonjoola ebimu ku bizibu ebitonotono, ebizibu eby’amaanyi byali byeyongera bweyongezi. Ebikolwa ebibi byali ng’ebimaamidde ensi yonna, era nga tewali n’omu afaayo. Ekyo kyammalamu nnyo amaanyi.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:

Bwe nnalaba nga sisobola kugonjoola bizibu biriwo mu nsi, nnatandika okulowooza ku Katonda ne ku Bayibuli. Emabegako, Abajulirwa ba Yakuwa baali batandise okunjigiriza Bayibuli. Wadde nga baali ba kisa era nga banfaako nnyo, saali mwetegefu kukyusa ngeri gye nnali nneeyisaamu. Naye oluvannyuma, endowooza yange yakyuka.

Nnatandika okusoma Bayibuli, era bye nnasoma byanzizaamu nnyo amaanyi. Nnasangamu ebyawandiikibwa bingi ebitukubiriza okufaayo ku bisolo. Ng’ekyokulabirako, Engero 12:10 wagamba nti “abantu abalungi balabirira ebisolo byabwe.” (Good News Translation) Ate era nnayiga nti Katonda si y’atuleetera ebizibu. Wabula, biva ku kuba nti abantu abasinga obungi tebagoberera bulagirizi bwe. Kyansanyusa nnyo okukimanya nti Yakuwa alina okwagala kungi era mugumiikiriza.​—Zabbuli 103:8-14.

Mu kiseera ekyo, nnalagiriza akatabo akayitibwa Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Nga wayiseewo ekiseera kitono, omwami ne mukyala we Abajulirwa ba Yakuwa bajja ewange ne bansaba okunjigiriza Bayibuli era ne nzikiriza. Ate era nnatandika okugenda mu nkuŋŋaana zaabwe ez’Ekikristaayo ezibeera ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Ekyo kyansobozesa okwongera okutegeera ebyo bye nnali njiga mu Bayibuli.

Bayibuli ennyambye okukola enkyukakyuka nnyingi. Nnalekera awo okunywa ssigala n’okwekamirira omwenge. Nnatandika okweyonja era ne ndekera awo okukozesa olulimi olubi. Sikyalina ndowooza mbi ku b’obuyinza. (Abaruumi 13:1) Ate era sikyali mugwenyufu.

Ekyasinga okunzibuwalira kwali kuva mu bibiina ebirwanirira eddembe ly’obuntu n’ery’ebisolo, era kyantwalira ekiseera kiwanvu. Mu kusooka, nnali ndowooza nti kwandibadde kubalyamu lukwe. Naye oluvannyuma nnakitegeera nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okugonjoola ebizibu byonna ebiriwo mu nsi. Nnasalawo amaanyi gange gonna ngamalire ku kuwagira Obwakabaka obwo n’okuyamba abalala okuyiga ebibukwatako.​—Matayo 6:33.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:

Bwe nnali nkyali mulwanirizi wa ddembe, nnalina obukyayi ku bantu abamu be nnatwalanga nti babi. Naye bwe nnatandika okuyiga Bayibuli, endowooza yange yakyuka. Kati nfuba okulaga abantu bonna okwagala. (Matayo 5:44) Emu ku ngeri gye mbalagamu okwagala kwe kubabuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Amawulire ago amalungi gayamba abantu okuba ab’emirembe n’okufuna essuubi erya nnamaddala, era ekyo kinsanyusa nnyo.

Ensonga zonna nzirese mu mikono gya Yakuwa era ndi mukakafu nti tajja kuleka bisolo oba abantu okubonaabona emirembe gyonna. Ate era, tajja kuleka nsi eno erabika obulungi okuzikirizibwa. Anaatera okumalawo ebizibu byonna ng’akozesa Obwakabaka bwe. (Isaaya 11:1-9) Okumanya amazima gano kindeetedde essanyu lingi, era kinkubiriza okuyamba abalala okugamanya. Nnali ndowooza nti nsobola okugonjoola ebizibu ebiri mu nsi, naye kati sikyalina ndowooza eyo.