Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Ebisolo Bigenda mu Ggulu?

Ddala Ebisolo Bigenda mu Ggulu?

Bayibuli ky’egamba

 Bayibuli eyigiriza nti ku bitonde byonna ebiri ku nsi, abantu batono nnyo abagenda mu ggulu. (Okubikkulirwa 14:1, 3) Bagenda mu ggulu okufugira awamu ne Yesu nga bakabaka era bakabona. (Lukka 22:28-30; Okubikkulirwa 5:9, 10) Abantu abasinga obungi bajja kuzuukizibwa babeere mu lusuku lwa Katonda ku nsi.—Zabbuli 37:11, 29.

 Tewali Bayibuli weeyogerera nti waliyo eggulu ly’ebisolo, era waliwo ensonga lwaki kiri bw’ekityo. Ebisolo tebisobola kutuukiriza bisaanyizo ‘eby’okuyitibwa okw’omu ggulu.’ (Abebbulaniya 3:1) Ebisaanyizo ebyo bizingiramu okufuna okumanya, okwoleka okukkiriza, era n’okugondera amateeka ga Katonda. (Matayo 19:17; Yokaana 3:16; 17:3) Abantu bokka be baatondebwa okubeerawo emirembe gyonna.—Olubereberye 2:16, 17; 3:22, 23.

 Okusobola okugenda mu ggulu, ebitonde ebiri ku nsi biba birina okusooka okuzuukizibwa. (1 Abakkolinso 15:42) Bayibuli erimu ebyawandiikibwa bingi ebyogera ku kuzuukira. (1 Bassekabaka 17:17-24; 2 Bassekabaka 4:32-37; 13:20, 21; Lukka 7:11-15; 8:41, 42, 49-56; Yokaana 11:38-44; Ebikolwa 9:36-42; 20:7-12) Kyokka, buli kuzuukira okwogerwako kwali kuzingiramu bantu so si bisolo.

Kiki ekituuka ku bisolo nga bifudde?

 Bayibuli eraga nti abantu n’ebisolo byonna biramu, eyo ye nsonga lwaki Katonda atwala obulamu abantu bwe balina okuba nga bwe bumu n’obwo ebisolo bwe zirina. (Okubala 31:28) Abantu n’ebisolo byakolebwa mu bintu bibiri: “enfuufu y’ensi” ‘n’omukka ogw’obulamu.’—Olubereberye 2:7

  Bayibuli eyigiriza nti abantu n’ebisolo byonna bifa. (Eby’Abaleevi 21:11; Ezeekyeri 18:20) Era byonna bwe bifa, bidda mu nfuufu y’ensi. (Omubuulizi 3:19, 20) Mu ngeri endala, biba tebikyaliwo. *

Ebisolo bikola ekibi?

  Nedda. Okukola ekibi kitegeeza okulowooza, okuwulira, oba okukola ekintu ekikontana n’amateeka ga Katonda. Okukola ekibi, ekitonde kiba kirina okuba n’obusobozi bw’okumanya engeri y’okweyisaamu, kyokka ebisolo tebirina busobozi obwo. Ebisolo bikola ebintu nga bigoberera amagezi agaabitonderwamu mu bbanga entono lye bibeerawo. (2 Peetero 2:12) Ebbanga lye birina okubaawo bwe ligwako, bifa wadde nga tebirina kibi.

Kikkirizibwa okuyisa obubi ebisolo?

 Nedda. Katonda yawa abantu obuyinza ku bisolo naye teyabawa buyinza kubibonyaabonya. (Olubereberye 1:28; Zabbuli 8:6-8) Katonda afaayo ku bulamu bwa buli kisolo nga mw’otwalidde n’obunyonyi obutono. (Yona 4:11; Matayo 10:29) Yalagira abaweereza be okuyisa obulungi ebisolo.—Okuva 23:12; Ekyamateeka 25:4; Engero 12:10.

^ lup. 5 Okumanya ebisingawo, laba essuula 6 ey’akatabo, Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?