Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE | SAALA

“Oli Mukazi Alabika Obulungi Ennyo”

“Oli Mukazi Alabika Obulungi Ennyo”

SAALA yayimirira mu nnyumba n’atunulatunula. Kuba akafaananyi ng’olaba omukazi oyo eyali alabika obulungi ennyo ng’ali awo ayimiridde alowooza. Yandiba nga yali anakuwadde? Bwe kiba bwe kityo, ekyo tekyewuunyisa. Ye n’omwami we Ibulayimu, baali bamaze emyaka mingi mu nnyumba eyo, era nga bye bayiseemu bingi. * Ago ge gaali amaka gaabwe.

Baali babeera mu kibuga Uli ekyali kikulaakulanye ennyo, era nga kirimu n’eby’obugagga bingi. Kirabika nabo baalina eby’obugagga bingi. Naye eby’obugagga Saala si bye yali atwala ng’ekikulu, wabula amaka ge mwe yali amanyidde okubeera. Ye n’omwami we Ibulayimu baali bamaze emyaka mingi mu maka ago. Ate era baasaba Katonda waabwe Yakuwa emirundi mingi nga bali mu maka ago.

Wadde kyali kityo, Saala yali mwetegefu okuva mu maka ago. Wadde nga mu kiseera ekyo yali aweza emyaka nga 60 egy’obukulu, baali bagenda mu kifo kye yali tamanyi era gye bandifunidde ebizibu ebitali bimu, ate nga tasuubira kudda. Kiki ekyaviirako obulamu bwa Saala okukyuka bwe butyo? Tuyinza tutya okukoppa okukkiriza kwe?

“VA MU NSI YO”

Kirabika Saala yakulira mu kibuga Uli. Ekitundu ekibuga ekyo we kyali kati kyafuuka matongo. Naye mu kiseera Saala we yabeererawo, abasuubuzi abaavanga ebule n’ebweya baasabazanga ebyamaguzi byabwe ku Mugga Fulaati nga babitwala mu kibuga ekyo. Abantu bangi baagendanga mu kibuga ekyo, ebyombo bingi byagobanga ku myalo gyakyo, era n’ebyamaguzi byabanga bingi nnyo mu butale bwakyo. Ekyo nno kye kibuga Saala mwe yakulira. Kirabika abantu bangi mu kibuga ekyo yali abamanyi era nga nabo bamumanyi. Ate era yalina ab’eŋŋanda ze bangi mu kibuga ekyo.

Mu Bayibuli, Saala ayogerwako ng’omukazi eyalina okukkiriza okw’amaanyi. Naye ye yali tasinza katonda ow’omwezi abantu b’omu Uli gwe baasinzanga. Yeekaalu mwe baasinzizanga katonda oyo yali ngulumivu nnyo ng’esobola okulabibwa abantu bonna abaali mu kibuga. Ye yasinzanga Yakuwa, Katonda ow’amazima. Bayibuli tetubuulira ekyamuyamba okuba n’okukkiriza okw’amaanyi, kubanga mu kusooka kitaawe yali asinza ebifaananyi. Saala yafumbirwa Ibulayimu, omusajja eyali amusinga emyaka kkumi. * (Olubereberye 17:17) Oluvannyuma Ibulayimu yayogerwako nga “kitaawe w’abo bonna abalina okukkiriza.” (Abaruumi 4:11) Obufumbo bwabwe bwali bunywevu nnyo, nga bawaŋŋaana ekitiibwa, era nga bakolera wamu okugonjoola ebizibu bye baabanga bafunye. N’ekisinga obukulu, bombi baali baagala nnyo Katonda waabwe Yakuwa.

Saala yali ayagala nnyo omwami we, era amaka gaabwe gaali kumpi n’ab’eŋŋanda zaabwe. Naye baalina ekizibu. Bayibuli egamba nti Saala “yali mugumba.” (Olubereberye 11:30) Mu kiseera ekyo, obutazaala kyali kizibu kya maanyi nnyo. Naye Saala yanywerera ku Katonda we ne ku mwami we. Lutti, omwana wa muganda wa Ibulayimu, yakulira mu maka gaabwe n’afuuka ng’omwana waabwe yennyini. Oluvannyuma baafuna obubaka obwakyusa obulamu bwabwe.

Ibulayimu yajja eri Saala nga yenna musanyufu. Katonda waabwe yali ayogedde naye, oboolyawo okuyitira mu malayika. Kuba akafaananyi nga Saala atunuulidde Ibulayimu, era ng’amubuuza nti: “Akugambye ki? Mbuuliraako bambi.” Oboolyawo Ibulayimu yasooka n’asiriikiriramu, n’alyoka amugamba ebyo Katonda bye yali amugambye nti: “Va mu nsi yo ne mu b’eŋŋanda zo ogende mu nsi gye nnaakulaga.” (Ebikolwa 7:2, 3) Kirabika baatuula ne balowooza nnyo ku ekyo Katonda kye yali abagambye. Baali ba kuva mu bulamu obulungi bwe baalimu bagende mu kifo kye baali batamanyi! Ibulayimu ateekwa okuba nga yeebuuza obanga Saala yandimuwagidde n’akkiriza enkyukakyuka ey’amaanyi eyali egenda okujjawo mu bulamu bwe.

Ebyo ebyaliwo mu bulamu bwa Ibulayimu ne Saala bitukwatako bitya? Tuyinza okugamba nti, ‘Nze Katonda taŋŋambangako kukola kintu ng’ekyo.’ Wadde kiri kityo, naffe oluusi twolekagana n’okusalawo okufaananako bwe kutyo. Abantu abasinga obungi beerowoozaako nnyo, era baagala okuba n’ebintu ebingi. Naffe tuyinza okwagala okuba nga bo. Naye Bayibuli etugamba okukulembeza Katonda by’ayagala so si ffe bye twagala. (Matayo 6:33) Nga tufumiitiriza ku ngeri Saala gye yasalawo, buli omu ku ffe ayinza okwebuuza nti, ‘Nze nnaasalawo ntya?’

BAAVA “MU NSI” EYO

Bwe baali bateekateeka okugenda, Saala ateekwa okuba nga yafuna obuzibu okusalawo ebintu bye yanditutte ne bye yandirese. Yali tasobola kutwala bintu ebizito ennyo endogoyi oba eŋŋamira bye zitandisobodde kwetikka, oba ebyandibakaluubirizza ku lugendo lwabwe. Awatali kubuusabuusa, ebintu byabwe ebisinga obungi baalina okubitunda oba okubigaba. Ate era, ekibuga kye baalimu obulamu bwali bulungi. Mwalimu obutale n’amaduuka nga basobola okugula emmere, ennyama, ebibala, engoye, n’ebintu ebirala. Obulamu obwo obulungi baali bagenda kubuvaamu.

Olw’okukkiriza, Saala yaleka amaka ge agaali galabika obulungi

Oboolyawo ekyasinga okuzibuwalira Saala kwe kuleka ennyumba yaabwe. Abanoonyereza ku bintu eby’edda baakizuula nti ennyumba nnyingi mu kibuga Uli zaali za mulembe nnyo, era kirabika n’eya Ibulayimu ne Saala bw’etyo bwe yali. Ezimu ku nnyumba ezo zaabanga za bisenge ebisukka mu kkumi na bibiri, era nga zirimu n’amazzi. N’ennyumba ezitaabanga za mulembe nnyo nazo zaabanga zizimbiddwa bulungi, nga ziriko enzigi n’ebisiba. Weema Ibulayimu ne Saala ze baali bagenda okubeeramu nazo zandibawadde obukuumi ne batayingirirwa babbi, oba okuttibwa empologoma, engo, amalubu, oba emisege, ebyali ebingi ennyo mu kiseera ekyo?

Kiki ekirala Saala kye yali agenda okuleka? Katonda yabagamba ‘okuva mu nsi yaabwe ne mu b’eŋŋanda zaabwe,’ era ekyo kirabika tekyali kyangu n’akamu eri Saala. Ayinza okuba nga yalina baganda be ne bannyina, n’ab’eŋŋanda ze abalala be yali ayagala ennyo. Abo bonna yali tagenda kuddamu kubalabako. Kyokka, ebyo byonna Saala yabissa ku bbali ne yeeyongera okweteekerateekera olugendo.

Wadde nga Saala yafuna okusoomoozebwa kwa maanyi, olunaku olw’okusitula okugenda we lwatuukira, yali amaze okweteekateeka. Teera naye yali wa kugenda nabo, wadde nga yalina emyaka nga 200. (Olubereberye 11:31) Saala yalina okulabirira taata we oyo eyali akaddiye ennyo. Lutti naye yalina okugenda nabo nga ‘bava mu nsi y’Abakaludaaya.’Ebikolwa 7:4.

Baasitula ne batambula olugendo lwa mayiro nga 600 okutuuka e Kalani nga bayita ku lubalama lw’Omugga Fulaati. Bwe baatuuka e Kalani, baasooka ne babeerako awo okumala ekiseera. Teera alabika yali akaddiye nnyo mu kiseera ekyo nga tasobola kweyongerayo. Baabeera mu kitundu ekyo okutuusa Teera lwe yafa ng’awezezza emyaka 205 egy’obukulu. Nga tebannasimbula kuva mu kitundu ekyo, Yakuwa yaddamu n’ayogera ne Ibulayimu n’amugamba ave mu nsi eyo agende mu nsi gye yandimulaze. Kyokka ku mulundi guno, Yakuwa Katonda alina kye yasuubiza Ibulayimu. Yamusuubiza nti: “Ndikufuula eggwanga eddene.” (Olubereberye 12:2-4) Naye we baaviira e Kalani, Ibulayimu yalina emyaka 75, nga Saala alina emyaka 65, era nga tebalina mwana. Kati olwo Ibulayimu yandifuuse atya eggwanga? Yandiwasizza omukazi omulala? Mu biseera ebyo, abasajja abasinga obungi baawasanga abakazi bangi, era oboolyawo Saala yeebuuza obanga Ibulayimu yandiwasizza omukazi omulala.

Oluvannyuma baava e Kalani ne beeyongerayo ku lugendo lwabwe. Naye mu kiseera ekyo waliwo abaali babeegasseeko. Bayibuli egamba nti Ibulayimu n’ab’omu maka ge baagenda n’ebintu byonna bye baali bafunye era “n’abantu be baali bafunye mu Kalani.” (Olubereberye 12:5) Abantu abo baali baani? Kirabika baali bakozi baabwe. Ibulayimu ne Saala bateekwa okuba nga baabuulirako abantu abo ebikwata ku Yakuwa Katonda waabwe. Ebitabo ebimu ebyogera ku byafaayo by’Abayudaaya bigamba nti abantu aboogerwako mu lunyiriri olwo baali beegasse ku Ibulayimu ne Saala okusinza Yakuwa. Bwe kiba bwe kityo, okukkiriza Saala kwe yalina kuteekwa okuba nga kwe kwamuleetera okubuulirako abalala ebikwata ku Katonda we ne ku ssuubi lye yalina. Ekyo kikulu nnyo gye tuli, kubanga ennaku zino abantu bangi tebalina kukkiriza era baweddemu essuubi. Bw’obaako ekintu ekipya ky’oyize mu Bayibuli, kiba kirungi n’okibuulirako omuntu omulala.

‘BAASERENGETA E MISIRI’

Bwe baasomoka Omugga Fulaati, kirabika nga Nisaani 14, mu mwaka gwa 1943 E.E.T., baagenda ebukiikaddyo okwolekera ensi Katonda gye yali abasuubizza. (Okuva 12:40, 41) Saala ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo bwe yatuuka mu nsi eyo eyali erabika obulungi, era nga n’embeera y’obudde nnungi. Yakuwa yaddamu n’alabikira Ibulayimu okumpi n’emiti eminene egya Moole, okumpi n’e Sekemu, n’amugamba nti: “Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno.” Ekigambo ekyo “ezzadde” Ibulayimu ateekwa okuba nga yakirowoozaako nnyo! Kiteekwa okuba nga kyamujjukiza ebigambo Yakuwa bye yayogera mu lusuku Edeni nti ezzadde ly’omukazi lirizikiriza Sitaani. Yakuwa yali yagamba dda Ibulayimu nti okuyitira mu zzadde lye, abantu ku nsi bandifunye emikisa.Olubereberye 3:15; 12:2, 3, 6, 7.

Amaka ga Ibulayimu nago gaafuna ebizibu ebituuka ku bantu mu nsi eno. Enjala yagwa mu nsi ya Kanani, Ibulayimu n’asalawo okutwala ab’omu maka ge e Misiri. Naye waliwo Ibulayimu kye yeekengera. Bw’atyo yagamba Saala nti: “Nkwegayiridde mpuliriza! Nkimanyi nti oli mukazi alabika obulungi ennyo. Abamisiri bwe banaakulaba bajja kugamba nti, ‘Ono mukazi we.’ Olwo nze banzite, naye ggwe bakuleke. Nkwegayiridde, gamba nti oli mwannyinaze ebintu biŋŋendere bulungi ku lulwo, era obulamu bwange busobole okuwonawo.” (Olubereberye 12:10-13) Lwaki Ibulayimu yagamba Saala ebigambo ebyo?

Ibulayimu teyali mulimba, era teyali mutiitiizi ng’abamu bwe bagamba. Mu butuufu, Saala yali mwannyina. Ate era Ibulayimu yali mutuufu okutya. Ibulayimu ne Saala baali bakimanyi nti ekigendererwa kya Katonda eky’okussaawo eggwanga eryandivudde mu Ibulayimu kyali kikulu nnyo okusinga ekintu ekirala kyonna. N’olwekyo, baalina okukola kyonna ekisoboka okukakasa nti Ibulayimu tatuukibwako kabi konna. Ate era, abanoonyereza ku bintu eby’edda baakizuula nti mu Misiri abo abaabanga mu buyinza oluusi battanga abasajja ne beddiza bakyala baabwe. N’olwekyo ekyo Ibulayimu kye yakola kyali kya magezi, era ne Saala yakola bulungi okumuwagira.

Waayita mbale Ibulayimu bye yali yeekengedde ne bituukirira. Abazaana ba Falaawo bwe baalaba nga Saala alabika bulungi nnyo, baagenda ne bategeeza mukama waabwe. Amangu ago Falaawo yalagira bamutwalire Saala. Teeberezaamu engeri Ibulayimu ne Saala gye baawuliramu mu kaseera ako. Kyokka kirabika Saala bwe yatuuka eri Falaawo, yayisibwa ng’omugenyi ow’ekitiibwa. Oboolyawo Falaawo yali alowooza nti eby’obugagga bye yalina byali bijja kusikiriza Saala, oluvannyuma ateese ne Ibulayimu “mwannyina” asobole okumutwala abe mukazi we.Olubereberye 12:14-16.

Teeberezaamu Saala bwe yawulira ng’atuuse mu lubiri lwa Falaawo, era nga bamuleetedde emmere eya buli kika. Yasikirizibwa ebintu ebyali mu lubiri lwa Falaawo, oboolyawo ebyali bisinga n’ebyo ye ne Ibulayimu bye baalina mu kibuga Uli? Teeberezaamu engeri Sitaani gye yandisanyuseemu singa Saala yasalawo okuleka Ibulayimu n’afumbirwa Falaawo! Naye ekyo Saala teyakikola. Yali mwesigwa eri omwami we n’eri Katonda we. Tekyandibadde kirungi nnyo singa abafumbo bonna beesigwa nga Saala mu nsi eno ejjudde obugwenyufu! Naawe osobola okuba omwesigwa nga Saala?

Wadde nga waaliwo ebyandimusikirizza mu lubiri lwa Falaawo, Saala yanywerera ku mwami we

Yakuwa yayingira mu nsonga n’alwaza Falaawo n’ab’omu nnyumba ye endwadde ey’amaanyi. Falaawo bwe yakitegeera nti Saala yali mukyala wa Ibulayimu, yamuzzaayo mangu eri omwami we era n’alagira Ibulayimu n’ab’omu maka ge bonna okwamuka Misiri. (Olubereberye 12:17-20) Ibulayimu ng’ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo bwe baamuddiza mukyala we! Kijjukire nti yali amugambye nti: “Nkimanyi nti oli mukazi alabika obulungi ennyo.” Naye Ibulayimu yali tayagala Saala lwa ndabika ye yokka. Obulungi bwa Saala tebwali bwa kungulu kwokka, wabula bwali butuukira ddala munda mu mutima. Obulungi obw’engeri eyo Yakuwa Katonda bw’ayagala. (1 Peetero 3:1-5) Obwo bwe bulungi ffenna bwe tusaanidde okufuba okuba nabwo. Bwe tukulembeza ebintu eby’omwoyo mu kifo ky’okunoonya eby’obugagga, bwe tufuba okuyamba abalala okuyiga ebikwata ku Katonda, era bwe tufuba okunywerera ku kituufu wadde nga tukemeddwa okukola ekibi, tuba tukoppa okukkiriza kwa Saala.

^ lup. 3 Mu kusooka Ibulayimu yali ayitibwa Ibulaamu ate nga Saala ayitibwa Salaayi, naye amannya Katonda gye yabawa oluvannyuma ge gasinga okumanyibwa.Olubereberye 17:5, 15.

^ lup. 8 Saala yali mwannyina wa Ibulayimu. Teera ye yali kitaabwe bombi, naye nga bannyaabwe ba njawulo. (Olubereberye 20:12) Wadde nga mu kiseera kino kya muzizo omusajja okuwasa mwannyina, kikulu okukijjukira nti mu kiseera ekyo ebintu byali bya njawulo. Abantu baali kumpi batuukiridde nga Adamu ne Kaawa bwe baali nga tebannayonoona, era baawangaalanga nnyo. Kyali tekimenya mateeka abantu okufumbiriganwa wadde nga baluganda. Naye oluvannyuma lw’emyaka 400, abantu baali tebakyawangaala nnyo. Mu kiseera ekyo, amateeka Katonda ge yawa Musa gaagaana omuntu okufumbiriganwa n’omuntu gw’alinako oluganda olw’okumpi.Eby’Abaleevi 18:6.