Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKY’OKUYIGA 3

Obutapondooka

Obutapondooka

KITEGEEZA KI OBUTAPONDOOKA?

Omuntu atapondooka taggwaamu maanyi ne bwe waba nga waliwo ebitamugendedde bulungi. Ekyo omuntu agenda ayiga kiyige. Omwana bw’aba ayiga okutambula agwa enfunda n’enfunda. Mu ngeri y’emu, omuntu okusobola okutuuka ku buwanguzi mu bulamu, aba alina okwolekagana n’ebizibu ebitali bimu.

LWAKI KIKULU OBUTAPONDOOKA?

Abaana abamu bwe balemererwa okukola ekintu ekimu, bwe boolekagana n’ekizibu, oba bwe wabaawo abanenyezzaako, baggwaamu amaanyi. Abalala babiviirako ddala. Naye abaana balina okumanya ebintu bino ebikulu:

  • Ffenna wabaawo ebintu ebitulema.​—Yakobo 3:2.

  • Buli muntu wabaawo lw’ayolekagana n’ebizibu.​—Omubuulizi 9:11.

  • Twetaaga okuwabulwa okusobola okulongoosa mu bye tukola.​—Engero 9:9.

Obutapondooka kiyamba omwana obutatya kwaŋŋanga bizibu.

ENGERI GY’OYINZA OKUYIGIRIZA OMWANA WO OBUTAPONDOOKA

Bwe wabaawo ekirema omwana wo.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Omutuukirivu ayinza okugwa emirundi musanvu, naye addamu n’ayimuka.”​—Engero 24:16.

Yamba omwana wo okutunuulira ebintu mu ngeri ennuŋŋamu. Ng’ekyokulabirako, kiki ky’anaakola singa agwa ekigezo ku ssomero? Ayinza okubivaako n’agamba nti, “Nze sisobola kukola bulungi!”

Okusobola okuyigiriza omwana wo obutapondooka, muyambe okumanya engeri gy’ayinza okukola obulungi. Mu ngeri eyo ajja kufuba okugonjoola ekizibu mu kifo ky’okudda mu kwekubagiza.

Ate era weewale okugonjoolera omwana ekizibu. Mu kifo ky’ekyo, muyambe okulowooza ku ngeri gy’ayinza okukyegonjooleramu. Oyinza okumubuuza nti, “Kiki ky’oyinza okukola okusobola okutegeera obulungi essomo lye wagudde?”

Bw’afuna ekizibu.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Temumanyi kijja kutuuka ku bulamu bwammwe enkya.”​—Yakobo 4:14.

Embeera eyinza okukyuka ekiseera kyonna. Omuntu omugagga leero, ayinza okuba omwavu enkya, omuntu omulamu leero, ayinza okuba omulwadde enkya. Bayibuli egamba nti: “Abawenyuka emisinde, bulijjo si be bawangula empaka, ab’amaanyi, bulijjo si be bawangula olutalo, . . . kubanga ebiseera ebizibu n’ebintu ebitasuubirwa bibatuukako bonna.”​—Omubuulizi 9:11.

Ng’omuzadde, awatali kubuusabuusa ofuba okukuuma omwana wo aleme kutuukibwako kabi. Wadde kiri kityo, waliwo ebizibu ebimu ebijja okutuuka ku mwana wo.

Kyo kituufu nti omwana wo ayinza obutafuna bizibu gamba ng’okufiirwa omulimu. Wadde kiri kityo, oyinza okumuyamba okwaŋŋanga ebizibu gamba nga, okulekebwawo mikwano gye, oba okufiirwa omu ku b’eŋŋanda zammwe. *

Omwana wo bw’awabulwa.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Wulirizanga okubuulirirwa . . . olyoke obe wa magezi gye bujja.”​—Engero 19:20.

Okuwabula omwana tekuba kumumalako mirembe, wabula kimuyamba okumanya we yeetaaga okulongoosaamu.

Bw’oyigiriza omwana wo okukkiriza okuwabulwa, ggwe n’omwana wo muganyulwa nnyo. Taata omu ayitibwa John agamba nti: “Abaana bwe batayambibwa kutereeza nsobi zaabwe, tebayiga. Baba bajja kugwa mu bizibu bingi, era ne bwe bakula, ojja kuba nga buli kiseera obeera mu kugonjoola bizibu bye baba beeretedde. Ekyo kireetera omuzadde n’omwana ennaku.”

Oyinza otya okuyamba omwana wo okuganyulwa mu kuwabulwa okumuweebwa? Omwana wo k’abe ng’awabuliddwa ku ssomero oba awantu awalala wonna, weewale okugamba nti okuwabula okwo kubadde tekusaana. Mu kifo ky’ekyo, oyinza okubuuza omwana wo nti:

  • “Olowooza lwaki baakuwabudde?”

  • “Oyinza otya okulongoosaamu?”

  • “Kiki ky’onookola omulundi omulala ng’oyolekaganye n’embeera ng’eyo?”

Kijjukire nti okuwabula kujja kuyamba omwana wo kati ne gye bujja ng’akuze.

^ lup. 21 Laba ekitundu “Yamba Omwana Wo Okugumira Ennaku,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 1, 2008.