Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKY’OKUYIGA 2

Okuba Omwetoowaze

Okuba Omwetoowaze

OBWETOOWAZE KYE KI?

Omuntu omwetoowaze assa ekitiibwa mu balala. Teyeetwala kuba wa kitalo era tasuubira balala kumuyisa mu ngeri ya njawulo. Omuntu omwetoowaze afaayo ku balala era aba mwetegefu okubaako by’abayigirako.

Abantu abamu balowooza nti omuntu omwetoowaze aba munafu, naye ekyo si kituufu. Obwetoowaze buyamba omuntu okukkiriza ensobi ze n’okkiriza nti waliwo ebintu by’atasobola kukola, era ekyo kyetaagisa obuvumu.

LWAKI KIKULU OKUBA OMWETOOWAZE?

  • Obwetoowaze bunyweza enkolagana. Ekitabo The Narcissism Epidemic kigamba nti: “Okutwalira awamu, abantu abeetoowaze banguyirwa okukola emikwano. Era banguyirwa okwogera n’abalala n’okukolagana nabo.”

  • Obwetoowaze buyamba omwana wo ng’akuze. Omwana wo bw’ayiga okuba omwetoowaze kijja kumuyamba kati ne mu biseera eby’omu maaso, gamba ng’anoonya omulimu. Leonard Sax, omukugu mu mbeera z’abantu, yagamba nti: “Omuntu eyeetwala okuba ow’ekitalo, atamanyi busobozi bwe we bukoma, emirundi mingi agwa yintaviyu ng’anoonya omulimu. Naye oyo afaayo okumanya ekyo ayagala okumuwa omulimu ky’ayagala, emirundi mingi aweebwa omulimu.” *

ENGERI GY’OYINZA OKUYIGIRIZA OMWANA WO OKUBA OMWETOOWAZE

Muyambe okwetunuulira mu ngeri entuufu.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Omuntu yenna bwe yeetwala okuba nti wa waggulu, naye nga talina bw’ali, aba yeerimbalimba.”​—Abaggalatiya 6:3.

  • Weewale okugamba omwana wo ebintu ebitasoboka. Okugamba omwana wo ebintu gamba nga “Ebirooto byo byonna bisobola okutuukirira” ne “Osobola okuba ekyo kyonna ky’oyagala okubeera” kiyinza okulabika ng’ekiyamba omwana, naye si bwe kiri mu bulamu obwa bulijjo. Abaana bo bajja kuganyulwa nnyo singa beeteerawo ebiruubirirwa bye basobola okutuukako era ne bafuba okubituukako.

  • Ekintu ky’aba akoze obulungi ky’oba omwebaliza. Okugamba obugambi omwana wo nti “gw’osinga” tekimuyamba kuba mwetoowaze. Mutegeeze ekyo ky’oba omusiimyeeko.

  • Teerawo omwana wo ekkomo ku ngeri gy’akozesaamu emikutu emigattabantu. Emirundi mingi abantu bakozesa emikutu emigattabantu okwewaana olw’ebyo bye baba batuuseeko n’okulaga nti ba kitalo, era ekyo tekyoleka bwetoowaze.

  • Kubiriza omwana wo okwetonda mu bwangu. Yamba omwana wo okulaba ensobi gy’aba akoze n’okugikkiriza.

Muyigirize okusiima.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Mulage nti musiima.”​—Abakkolosaayi 3:15.

  • Okusiima obutonde. Abaana basaanidde okuyiga okusiima ebintu ebiri mu butonde n’okukimanya nti bingi ku byo tubyetaaga okusobola okuba abalamu. Twetaaga empewo ey’okussa, amazzi ag’okunywa, n’emmere ey’okulya. Kozesa ebyokulabirako ng’ebyo okuyigiriza abaana bo okusiima Katonda olw’ebintu ebirungi bye yatonda.

  • Okusiima abalala. Yamba omwana wo okukijjukiranga nti abantu abalala bonna balina kye bamusingako era nti mu kifo ky’okukwatirwa abalala obuggya olw’ebintu bye bakola obulungi, asaanidde okubayigirako.

  • Okukiraga nti asiima. Yigiriza abaana bo okwebaza, mu bigambo ne mu bikolwa. Okusiima kuyamba omuntu okuba omwetoowaze.

Yamba abaana bo okukimanya nti okuweereza abalala kirimu emiganyulo.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: ‘Mu buwombeefu, mukitwale nti abalala babasinga, nga temufaayo ku byammwe byokka naye nga mufaayo ne ku by’abalala.’​—Abafiripi 2:3, 4.

  • Tendeka abaana bo okukola emirimu gy’awaka. Bw’ogaana omwana wo okukola emirimu awaka obanga amugamba nti, ‘Oli wa waggulu nnyo okukola bino!’ Omwana wo muyambe okukiraba nti alina kusooka kukola mirimu gya waka nga tannazannya. Muyambe okulaba engeri okukola emirimu gy’awaka gye kiganyulamu abalala, n’engeri gye kijja okuleetera abalala okumwagala n’okumuwa ekitiibwa.

  • Mulage nti okuweereza abalala nkizo. Abaana bwe babaako bye bakolera abalala, kibayamba okufuuka ab’obuvunaanyizibwa. N’olwekyo, yamba omwana wo okumanya abo abeetaaga obuyambi. Kubaganya naye ebirowoozo ku ebyo by’ayinza okukola okubayamba. Siima omwana wo ng’aliko ky’akolera abalala era muwagire.

^ lup. 8 Biggiddwa mu kitabo The Collapse of Parenting.