Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKY’OKUYIGA 6

Obukulu bw’Okuba n’Empisa

Obukulu bw’Okuba n’Empisa

WEMPISA KYE KI?

Abantu abalina empisa baba bamanyi ekituufu n’ekikyamu. Ekyo kye batwala nti kituufu oba nti kikyamu tekisinziira ku nneewulira yaabwe. Baba n’emisingi gye bagoberera mu bulamu bwabwe, ka kibe nti waliwo abalala ababalaba oba nedda.

LWAKI KIKULU OKUMANYA EKITUUFU N’EKIKYAMU?

Abaana bawulira endowooza nnyingi ezitali ntuufu ku bikwata ku kituufu n’ekikyamu. Baziwulira mu bayizi bannaabwe, mu nnyimba, mu firimu, ne ku ttivi. Endowooza ng’ezo ziyinza okubaleetera okutandika okubuusabuusa ebyo bye baayigirizibwa ebikwata ku kituufu n’ekikyamu.

Ekyo kizibu kya maanyi eri abaana abali mu myaka egy’obutiini. Ekitabo Beyond the Big Talk kigamba nti mu kiseera ekyo abaana baba “beetaga okukimanya nti abantu bangi bajja kubapikiriza okukola ebintu ebitali bimu abalala basobole okubaagala, era beetaaga okuyiga okunywerera ku kituufu ne bwe kiba nti ekyo bannaabwe tebakyagala.” Abazadde basaanidde okuyigiriza abaana baabwe ebintu ebyo ng’abaana abo tebannayingira mu myaka gya butiini.

OKUYIGIRIZA ABAANA EMPISA

Bayambe okutegeera obulungi ekituufu n’ekikyamu.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: ‘Abantu abakulu bakozesa obusobozi bwabwe obw’okutegeera ne babutendeka okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.’​—Abebbulaniya 5:14.

  • Kozesa ebigambo ebibayamba okwawulawo ekituufu ku kikyamu. Kozesa embeera ezibaawo mu bulamu obwa bulijjo olage enjawulo. Oyinza okukozesa ebigambo, gamba nga: “Ekyo kya mazima; ekyo si kya mazima.” “Ekyo kya bwesigwa; ekyo si kya bwesigwa.” “Ekyo kya kisa; ekyo si kya kisa.” Bw’okola bw’otyo, kiyamba omwana okumanya ebisaana n’ebitasaana.

  • Balage ensonga lwaki ekintu ekimu kituufu oba kikyamu. Oyinza okubabuuza ebibuuzo nga bino: Lwaki kikulu okuba ab’amazima? Okulimba kuyinza kutya okwonoona enkolagana yo n’abalala? Lwaki kikyamu okubba? Kubaganya ebirowoozo n’omwana wo mu ngeri eneemuyamba okuyiga okusalawo ekituufu n’ekikyamu.

  • Kirage nti kikulu nnyo okuba n’empisa ennungi. Oyinza okubagamba nti: “Bw’oba ow’amazima, abalala bajja kukwesiga,” oba “Bw’oba ow’ekisa, abantu bajja kukwagala.”

Fuba okulaba nti buli omu mu maka gammwe aba muntu wa mpisa.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Mumanyire ddala ekyo kye muli.”​—2 Abakkolinso 13:5.

  • Bonna mu maka basaanidde okuba nga batambulira ku mitindo gy’empisa emirungi ne kiba nti osobola okugamba nti:

    • “Ffe mu maka gaffe tetulimba.”

    • “Tetulwana era tetukaayuukira balala.”

    • “Tetuvuma.”

Ekyo kijja kuyamba omwana wo okukiraba nti empisa kitundu kya bulamu bwammwe.

  • Gifuule mpisa yo okwogera n’omwana wo ku mitindo gy’empisa gye mugoberera. Kozesa ebintu ebibaawo mu bulamu obwa bulijjo okuyigiriza omwana wo. Osobola okugeraageranya emitindo gy’empisa gye mugoberera ku egyo abantu abalagibwa ku ttivi oba abaana ku ssomero gye bagoberera. Buuza omwana wo ebibuuzo nga bino: “Ggwe kiki kye wandikoze?” “Kiki kye twandikoze ng’amaka?”

Bayambe okuba abamalirivu okukola ekituufu.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Mubeerenga n’omuntu ow’omunda omulungi.”​—1 Peetero 3:16.

  • Musiime olw’okweyisa obulungi. Omwana wo bwe yeeyisa obulungi musiime era mutegeeze ensonga lwaki ky’akoze kirungi. Ng’ekyokulabirako, oyinza okumugamba nti: “Obadde mwesimbu. Ekyo kinsanyusizza nnyo.” Omwana wo bw’akugamba nti alina ekikyamu kye yakoze, sooka omwebaze olw’okuba omwesimbu nga tonnaba kumuwabula.

  • Mugolole. Yamba omwana wo okukkiriza ensobi ye. Omwana wo alina okumanya ekikyamu kye yakoze n’engeri ekyo kye yakoze gye kyawukana ku mitindo gy’empisa gye mugoberera ng’amaka. Abazadde abamu tebaagala kugamba baana baabwe nti bakoze ensobi olw’okuba tebaagala baana baabwe bawulire bubi. Naye omuzadde bw’ayamba omwana okumanya ensonga lwaki kye yakoze kibi kitendeka omwana ne kimuyamba okwewala okukola ebintu ebibi mu biseera eby’omu maaso.