Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AMAGEZI AGAYAMBA AMAKA | OKUKUZA ABAANA

Okuyigiriza Abaana Bo Ebikwata ku Kwegatta

Okuyigiriza Abaana Bo Ebikwata ku Kwegatta

OKUSOOMOOZA

Emyaka mitono emabega, abazadde be baateranga okusooka okwogera n’abaana baabwe ebikwata ku by’okwegatta, era ekyo baagendanga bakikola mpolampola okusinziira ku myaka gy’abaana baabwe.

Naye kati ebintu bikyuse. Ekitabo ekiyitibwa The Lolita Effect kigamba nti: “Leero abaana balaba oba bawulira ebintu ebikwata ku kwegatta nga bakyali bato ddala, era programu z’abaana eziba ku mikutu gy’empuliziganya zibaamu ebintu ebikwata ku kwegatta.” Naye ddala ekyo kiyamba abaana oba kibakosa?

KY’OSAANIDDE OKUMANYA

Ebintu ebikwata ku kwegatta biri buli wamu. Mu kitabo kye ekiyitibwa Talk to Me First, Deborah Roffman yagamba nti, “Emboozi abantu ze banyumya, obulango, firimu, ebitabo, ennyimba, programu za ttivi, emizannyo, ebipande ebitimbibwa ku makubo, amasimu, ne kompyuta, bijjuddeko ebintu ebikwata ku kwegatta, era ekyo kireetedde [abaana abato, abavubuka, n’abo abanaatera okuyingira emyaka gy’obuvubuka] okulowooza nti okwegatta kye kintu ekisingayo obukulu mu bulamu.”

Bannabyabusuubuzi balina kinene kye bakoze. Bannabyabusuubuzi batunda obugoye bw’abaana obw’enkunamyo, mu ngeri eyo ne baba nga batendeka abaana okussa ennyo essira ku ndabika yaabwe ey’okungulu okuviira ddala nga bakyali bato. Ekitabo ekiyitibwa So Sexy So Soon kigamba nti: “Abasuubuzi bakimanyi nti abaana baagala nnyo okuba nga bannaabwe, . . . era baagala okuleetera abaana okululunkanira ebintu.”

Okumanya obumanya ebikwata ku kwegatta tekimala. Nga bwe waliwo enjawulo wakati w’okumanya okuvuga emmotoka n’okuba omuvuzi omwegendereza, waliwo enjawulo wakati w’okumanya ebikwata ku kwegatta n’okukozesa okumanya okwo okusalawo mu ngeri ey’amagezi.

Ensonga enkulu: Weetaaga okuyamba abaana bo okutendeka “obusobozi bwabwe obw’okutegeera” basobole “okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.”Abebbulaniya 5:14.

BY’OSAANIDDE OKUKOLA

Kimanye nti buvunaanyizibwa bwo. Wadde nga kiyinza obutakwanguyira kubuulira baana bo ebikwata ku kwegatta, osaanidde okukikola. Obwo buvunaanyizibwa bwo.Amagezi okuva mu Bayibuli: Engero 22:6.

Genda ng’obategeezaako ebintu bitonotono. Mu kifo ky’okutuuza omwana wo okumala ekiseera kiwanvu ng’omubuulira ebikwata ku by’okwegatta, osobola okukozesa akadde k’omala naye nga mutambula oba nga mukola emirimu, okubaako by’omutegeeza ku nsonga eyo. Okusobola okuyamba omwana wo okukweyabiza, mubuuze ebibuuzo ebimuleetera okuwa endowooza ye. Ng’ekyokulabirako, mu kifo ky’okubuuza omwana wo nti, “Onyumirwa okulaba obulango obulimu ebifaananyi ebikubiriza ebikolwa eby’okwegatta?” oyinza okumubuuza nti, “Olowooza lwaki bannabyabusuubuzi bateeka ebifaananyi ng’ebyo mu bulango bwabwe?” Omwana wo bw’amala okukuddamu, osobola okumubuuza nti, “Ekyo okitwala otya?”Amagezi okuva mu Bayibuli: Ekyamateeka 6:6, 7.

Babuulire ebintu okusinziira ku myaka gyabwe. Abaana abakyali abato ennyo oyinza okubayigiriza amannya g’ebitundu eby’ekyama, n’engeri gye bayinza okwekuumamu abantu ababa baagala okubakabassanya. Bwe bagenda bakula, osobola okubabuulira ebisingawo. We batuukira mu myaka egya kaabuvubuka, basaanidde okuba nga bategeera bulungi ebikwata ku kwegatta n’engeri entuufu gye basaanidde okukozesaamu ekirabo ekyo.

Bayigirize empisa ennungi. Okuviira ddala ng’abaana bo bakyali bato, bayigirize ensonga lwaki kikulu okuba abeesigwa n’okuba n’empisa ennungi. Ekiseera bwe kituuka okubabuulira ebikwata ku by’okwegatta, oba n’omusingi omulungi kw’otandikira. Kikulu okutegeeza abaana bo endowooza gy’olina ku kwegatta. Ng’ekyokulabirako, bwe kiba nti okkiriza nti kikyamu omuntu okwegatta nga tannayingira bufumbo, ekyo kitegeeze abaana bo era obabuulire n’ensonga lwaki kikyamu era lwaki kya kabi. Ekitabo ekiyitibwa Beyond the Big Talk kigamba nti: “Abavubuka abakimanyi nti bazadde baabwe bakitwala nti kikyamu omuntu okwegatta nga tannayingira bufumbo, emirundi mingi beewala okwegatta nga tebannayingira bufumbo.”

Teekawo ekyokulabirako ekirungi. Kolera ku ebyo by’oyigiriza abaana bo. Ng’ekyokulabirako, osanyukira okusaaga okw’obuwemu? Oyambala enkunamyo? Ozannyirira n’abantu b’otofaanaganya nabo kikula? Okukola ebintu ng’ebyo kiyinza okuleetera abaana bo obutatwala by’obayigiriza ng’ebikulu.Amagezi okuva mu Bayibuli: Abaruumi 2:21.

Ba n’endowooza ennuŋŋamu. Okwegatta kirabo okuva eri Katonda era singa kikozesebwa mu ngeri entuufu, kwe kugamba, oluvannyuma lw’omuntu okuyingira obufumbo, kireeta essanyu. (Engero 5:18, 19) Tegeeza omwana wo nti ekiseera ekituufu bwe kirituuka n’ayingira obufumbo, ajja kusobola okwegatta awatali kweraliikirira kufuna bizibu abo abeegatta nga tebannayingira bufumbo bye bafuna.1 Timoseewo 1:18, 19.