Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

Nnali Nnwanyisa Obutali Bwenkanya n’Ebikolwa eby’Obukambwe

Nnali Nnwanyisa Obutali Bwenkanya n’Ebikolwa eby’Obukambwe
  • NNAZAALIBWA: 1960

  • ENSI: LEBANOONI

  • EBYAFAAYO: NNALI KAFULU MU KUNGUFU

OBULAMU BWANGE BWE BWALI:

Nnakulira mu kibuga Rmaysh, okumpi n’ensalo ya Lebanooni ne Isiraeri. Olw’okuba kyali kiseera kya lutalo, bbomu ez’omu ttaka zaabwatukanga buli kiseera era nnalabanga abantu be zaabanga zikutuddeko emikono n’amagulu. Obulamu tebwali bwangu, era obumenyi bw’amateeka n’ebikolwa eby’obukambwe byali bingi.

Ewaka twali bakatuliki ab’omu kiwayi ekiyitibwa Maronite Church ekisangibwa mu Lebanooni. Twali abantu 12 awaka, era taata yakolanga nnyo okusobola okutulabirira, naye maama yafubanga nnyo okututwala mu kkereziya okusaba. Nga wayiseewo ekiseera, nnakiraba nti okufaananako ebibiina ebirwanirira eddembe ly’abantu, kkereziya nayo yali eremereddwa okuyamba abantu abayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya.

Bwe nnali mu myaka egy’obutiini, nnatandika okwagala ennyo kungufu. Nnatendekebwa nnyo ne nkuguka mu kukyanga emikono n’amagulu ne mu kukozesa eby’okulwanyisa aba kungufu bye bakozesa. Nnagambanga nti, ‘Wadde nga sisobola kukomya lutalo, nsobola okulwanyisa abantu abeenyigira mu bikolwa eby’obukambwe.’ Bwe nnalabanga abantu nga balwana, nnagendanga mangu ne mbataasa. Nnali mukambwe era nga n’akantu akatono ennyo kannyiiza. Abantu mu bukiikaddyo bwa Lebanooni baali bantya olw’engeri gye nnali nnwanyisaamu obutali bwenkanya n’ebikolwa eby’obukambwe.

Mu 1980, nneegatta ku kibiina ekitendeka kungufu ekyali mu kibuga Beirut. Wadde nga bbomu n’emizinga byakasukibwanga buli lunaku, nneeyongera okugenda okutendekebwa. Mu bulamu bwange nnalowoozanga ku kulya, ku kwebaka, n’okubeera nga Bruce Lee, Omucayina enzaalwa ya Amerika eyali omuzannyi wa firimu era nnantameggwa mu kungufu. Nnakoppa omusono gwe ogw’enviiri, entambula ye, n’engeri gye yaleekaanangamu ng’alwana. Nnali siseka!

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:

Nnalina ekiruubirirwa eky’okugenda e China nneeyongere okukuguka mu kungufu. Lumu bwe nnali ndi mu kutendekebwa okwa kaasammeeme nga nneetegekera okugenda e China, nnawulira omuntu akonkona ku luggi. Mukwano gwange yali azze n’Abajulirwa ba Yakuwa babiri. Nnali nyambadde yunifoomu yange enzirugavu era nga ntuuyanye nnyo. Nnabagamba nti, “Sirina kye mmanyi ku bikwata ku Bayibuli.” Saakimanya nti okuva ku olwo obulamu bwange bwali bugenda kukyuka.

Abajulirwa ba Yakuwa abo baakozesa Bayibuli okundaga ensonga lwaki abantu ku lwabwe tebasobola kumalawo butali bwenkanya n’ebikolwa eby’obukambwe. Bannyinyonnyola nti Sitaani Omulyolyomi y’akubiriza ebikolwa ebyo. (Okubikkulirwa 12:12) Nneewuunya nnyo okulaba nti baali bakkakkamu era nga bakakafu ku ekyo kye baali boogerako. Nnasanyuka nnyo bwe banjigiriza erinnya lya Katonda. (Zabbuli 83:18) Ate era bandaga 1 Timoseewo 4:8, awagamba nti: “Okutendeka omubiri kugasa kitono, naye okwemalira ku Katonda kugasa mu bintu byonna, kubanga kuzingiramu ekisuubizo eky’obulamu obwa kaakano n’obwo obugenda okujja.” Ebigambo ebyo byankwatako nnyo.

Eky’ennaku, saddamu kulaba Bajulirwa ba Yakuwa abo kubanga ab’awaka baabagaana okudda. Wadde kyali kityo, nnasalawo nve ku kungufu nsobole okutandika okuyiga Bayibuli. Ekyo baganda bange tebaakisanyukira, naye nze nnali mumalirivu okunoonya Abajulirwa ba Yakuwa banjigirize Bayibuli.

Nnanoonya Abajulirwa ba Yakuwa naye ne bambula. Mu kiseera ekyo taata yafa era amaka gaffe gaafuna ebizibu ebirala bingi era ebyo byonna byannakuwaza nnyo. Lumu mukozi munnange ayitibwa Adel gwe nnali nkola naye mu kampuni emu enzimbi yambuuza ensonga lwaki nnali munakuwavu. Nnakimanya nti Mujulirwa wa Yakuwa era yambuulirako ku ssuubi ery’okuzuukira eriri mu Bayibuli. Adel yali wa kisa era nga mugumiikiriza, era twamala emyezi mwenda ng’anjigiriza Bayibuli.

Bwe nneeyongera okuyiga Bayibuli nnakiraba nti nnali nneetaaga okukola enkyukakyuka mu bulamu bwange. Ekyo tekyali kyangu kubanga nnasunguwalanga mangu. Bayibuli yannyamba okuyiga okufuga obusungu. Ng’ekyokulabirako, mu Matayo 5:44 Yesu yagamba nti: “Mweyongere okwagala abalabe bammwe era n’okusabira abo ababayigganya.” Ate Abaruumi 12:19 wagamba nti: “Temuwooleranga ggwanga, . . . kubanga kyawandiikibwa nti: ‘“Okuwoolera eggwanga kwange; nze ndisasula,” bw’ayogera Yakuwa.’” Ebyawandiikibwa ebyo n’ebirala bingi byannyamba okufuuka omuntu ow’emirembe.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:

Wadde ng’ab’awaka tekyabasanyusa bwe nnasalawo okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, kati bassa ekitiibwa mu Bajulirwa ba Yakuwa. Omu ku baganda bange kati naye Mujulirwa wa Yakuwa, era ne maama we yafiira naye yali ayagala nnyo Abajulirwa ba Yakuwa.

Ate era nnafuna omukyala omulungi era omwesigwa ayitibwa Anita, era nga ffembi tuli babuulizi ab’ekiseera kyonna. Okuva mu mwaka gwa 2000, nze ne Anita tubadde mu kibuga Eskilstuna eky’omu Sweden, nga tuyamba abantu aboogera Oluwalabu okuyiga Bayibuli.

Ne leero mpulira bubi nnyo bwe ndaba ng’abantu babonaabona olw’ebikolwa eby’obukambwe. Naye olw’okuba kati mmanyi ensibuko y’ebikolwa ebyo era nga nkimanyi nti Katonda anaatera okubikomya, ndi musanyufu era nnina emirembe mu mutima.Zabbuli 37:29.

Nze ne mukyala wange kitusanyusa nnyo okuyigiriza abalala ebikwata ku Yakuwa