Buuka ogende ku bubaka obulimu

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

“Nnali Njagala Nnyo Omuzannyo gwa Tayikondo”

“Nnali Njagala Nnyo Omuzannyo gwa Tayikondo”
  • Yazaalibwa: 1962

  • Ensi: Amerika

  • Ebyafaayo: Yeemaliranga nnyo ku muzannyo gwa tayikondo

OBULAMU BWANGE BWE BWALI

 Obuvune obwatuuka ku munnange gwe nnali nzannya naye, bwali bwa maanyi nnyo okusinga bwe nnali nsuubira. Nnamusamba ennyindo mu butanwa. Omutima gwannumiriza nnyo, era ne nneebuuza obanga nsaanidde okweyongera okuzannya omuzannyo gwa tayikondo. Lwaki ensobi eyo yandeetera okwebuuza obanga nnandyeyongedde okuzannya omuzannyo gwe nnali njagala ennyo era gwe nnali mmaze emyaka mingi nga nzannya? Ka nsooke mbabuulire ekyandeetera okuzannya omuzannyo gwa tayikondo.

 Nnakulira kumpi n’ekibuga Buffalo, eky’omu Amerika, mu maka agaalimu emirembe era twali Bakatoliki. Nnasomera mu masomero ga Bakatoliki era nga mpeereza ku wolutaali. Bazadde baffe baali baagala nze ne mwannyinaze omukulu tubeere bulungi mu bulamu. N’olwekyo, banzikirizanga okwenyigira mu mizannyo egyazannyibwanga oluvannyuma lw’okusoma, oba okukola omulimu ogw’ekiseera ekitono, kasita nnakolanga obulungi ku ssomero. Ekyo kyandeetera okuba omuntu ow’obuvunaanyizibwa nga nkyali muto.

 Bwe nnali wa myaka 17, nnatandika okuzannya omuzannyo gwa tayikondo. Okumala emyaka mingi, nnatendekebwanga essaawa ssatu olunaku, okumala ennaku mukaaga mu wiiki. Ate era, buli wiiki nnamalanga essaawa nnyingi nga nneegezaamu obukodyo obw’enjawulo mu birowoozo, nga kwe ntadde n’okulaba vidiyo eziraga engeri y’okukugukamu. Nnanyumirwanga nnyo okwegezaamu nga nsibye ku maaso, ne bwe nnabanga nkozesa eby’okulwanyisa. Nnabanga nsobola okumenya olubaawo oba bbulooka nga nkuba ekikonde kimu. Nnafuuka omu ku bazannyi abasingayo obulungi era nnawangula ebikopo ebiwerako mu mpaka. Omuzannyo gwa tayikondo gwafuuka ekintu ekisinga obukulu mu bulamu bwange.

 Nnali ndowooza nti nfunye buli kimu kye nnali nneetaaga mu bulamu, okusobola okuba obulungi. Nnayita bulungi emisomo gyange egyo ku yunivasite. Nnali nkola nga yinginiya wa kompyuta mu kampuni esinga obunene. Nnaweebwanga ensako mu kampuni, nnalina ennyumba, era nnalina n’omubeezi. Eri abalala nnali ndabika ng’ali obulungi, naye saali musanyufu olw’okuba nnalina ebibuuzo bingi ebikwata ku bulamu.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE

 Okusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye nnalina, nnatandika okugendanga mu kkanisa emirundi ebiri mu wiiki era n’okusabanga Katonda annyambe. Naye lumu, bye twanyumya ne mukwano gwange byakyusa obulamu bwange. Nnamubuuza nti: “Wali weebuuzizzaako ekigendererwa ky’obulamu?” era nnagattako nti: “Waliwo ebizibu bingi n’obutali bwenkanya bungi!” Yaŋŋamba nti naye yali yeebuuzizzaako ebibuuzo ebyo, naye n’afuna eby’okuddamu ebimatiza okuva mu Bayibuli. Yampa akatabo, Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi. a Yaŋŋamba nti: Abajulirwa ba Yakuwa baali bamuyigiriza Bayibuli. Sakkiririzaawo olw’okuba nnali ndowooza nti sisaanidde kusoma bitabo bya ddiini ndala etali yange. Kyokka, olw’okuba nnali njagala okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye nnalina, kyampaliriza okwagala okulaba obanga Abajulirwa ba Yakuwa bye bayigiriza bikola amakulu.

 Nnasanyuka nnyo okumanya Bayibuli ky’eyigiriza. Nnayiga nti Katonda yali ayagala abantu babeera ku nsi emirembe gyonna mu bulamu obulungi era nti ekigendererwa kye ekyo tekikyukanga. (Olubereberye 1:28) Kyanneewuunyisa nnyo okulaba erinnya lya Katonda, Yakuwa, mu Bayibuli yange era n’okuyiga nti eryo lye linnya bulijjo lye nsaba mu ssaala ya Mukama Waffe. (Zabbuli 83:18; Matayo 6:9) Ate era, nnategeera ensonga lwaki Katonda akyaleesewo okubonaabona. Buli kimu kye nnali njiga kyali kikola amakulu. Era nnawulira essanyu lingi.

 Siryerabira ngeri gye nnawuliramu bwe nnasooka okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Buli omu yandaga okwagala era nga ayagala okumanya erinnya lyange. Mu lukuŋŋaana lwe nnasooka okugendamu, okwogera kwa bonna kwali kukwata ku ssaala Katonda z’awulira. Omutwe ogwo gwankwatako nnyo, olw’okuba nnali nsaba Katonda annyambe. Oluvannyuma, nnagenda ku mukolo ogw’okujjukira okufa kwa Yesu. Mu nkuŋŋaana ezo, kyanneewuunyisa nnyo okulaba nga n’abaana abato bagoberera mu Bayibuli zaabwe, ng’ebyawandiikibwa bisomebwa. Mu kusooka, nnali simanyi kubikula byawandiikibwa, naye Abajulirwa ba Yakuwa bannyamba ne banjigiriza engeri y’okubikulamu ebyawandiikibwa mu Bayibuli.

 Bwe nneeyongera okugenda mu nkuŋŋaana, nnatandika okusiima engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye baali bayigirizaamu. Mu buli lukuŋŋaana nnayiganga ebintu bingi, era nnavanga mu nkuŋŋaana nga nziziddwamu amaanyi. Oluvannyuma Abajulirwa ba Yakuwa baatandika okunjigiriza Bayibuli.

 Bye nnalaba mu Bajulirwa ba Yakuwa, byali byawukanira ddala nnyo ku ebyo bye nnalabanga mu kkanisa yange. Abajulirwa ba Yakuwa baali bumu era nga bafuba okukola kyonna kye basobola okusanyusa Katonda. Nnatandika okukiraba nti be bokka abooleka akabonero akaawulawo Abakristaayo ab’amazima, nga kwe kwagalana.—Yokaana 13:35.

 Gye nnakoma okuyiga Bayibuli, gye nnakoma okukola enkyukakyuka nsobole okukolera ku mitindo gya Bayibuli. Kyokka, nnali mpulira nti sisobola kulekayo muzannyo gwa tayikondo. Nnali njagala nnyo okutendekebwa n’okuvuganya. Bwe nnayogerako n’Omujulirwa wa Yakuwa eyali ansomesa Bayibuli, yaŋŋamba mu ngeri ey’ekisa nti, “Weeyongere okusoma, nkimanyi nti ojja kusalawo bulungi.” Ekyo kyennyini kye nnali nneetaaga okuwulira. Gye nnakoma okuyiga, gye nnakoma okwagala okusanyusa Yakuwa Katonda.

 Ekintu ekyandeetera okukyuka, ky’ekyo kye nnayogeddeko ku ntandikwa, bwe nnasamba munnange gwe nnali nzannya naye ennyindo mu butanwa. Akabenje ako, kandeetera okulowooza obanga nnandibadde mugoberezi wa Kristo ow’emirembe singa nneeyongera okuzannya omuzannyo gwa tayikondo. Nnali nnayiga mu Isaaya 2:3, 4 nti, abo abakolera ku bulagirizi bwa Yakuwa “tebaliyiga kulwana nate.” Ate era, Yesu yayigiriza abalala obuteenyigira mu bikolwa bya bukambwe, ne bwe baba bayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya. N’olwekyo, nnaleka omuzannyo gwe nnali njagala ennyo. (Matayo 26:52).

 Oluvannyuma lw’ekyo, nnakolera ku magezi ga Bayibuli agatukubiriza okubeera “n’ekiruubirirwa eky’okwetendeka mu kwemalira ku Katonda.” (1 Timoseewo 4:7) Ebiseera byonna n’amaanyi bye nnakozesanga mu muzannyo gwa tayikondo, nnatandika okubikozesa okukola ebintu eby’omwoyo. Muganzi wange yali takkiriziganya n’ebyo bye nnali njiga mu Bayibuli, n’olwekyo, twayawukana. Nnabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa nga Jjanwali 24, 1987. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, nnatandika okuweereza ng’omubuulizi ow’ekiseera kyonna, nga mpaayo obudde bwange okuyigiriza abalala ebikwata ku Bayibuli. Okuva olwo, mpeereza ng’omubuulizi ow’ekiseera kyonna, era nnaweerezaako ne ku kitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa ekiri mu Amerika.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU

 Olw’okuba kati mmanyi amazima agakwata ku Katonda, nnafuna ekyali kimbulako mu bulamu bwange. Si kyawulira ng’atalina ssanyu. Mu kifo ky’ekyo, nnina obulamu obw’amakulu, essuubi erya nnamaddala erikwata ku biseera eby’omu maaso, era n’essanyu erya nnamaddala. Nkyakola dduyiro, Naye okutendeka omubiri si kya kitwala ng’ekintu ekikulu gye ndi. Ekintu kye nkulembeza mu bulamu bwange, kwe kuweereza Yakuwa Katonda.

 Bwe nnali nkyazannya omuzannyo gwa tayikondo, nneekengeranga buli muntu era nnabanga mwetegefu okwerwanako nga waliwo ayagala okuntuusaako akabi. Leero nfaayo ku buli muntu, olw’okuba mba njagala okumuyamba. Bayibuli ennyambye okufuuka omuntu omugabi era n’okuba omwami omulungi eri mukyala wange, Brenda.

 Nnali njagala nnyo omuzannyo gwa tayikondo. Naye kati waliwo ekintu ekisinga obulungi kye nsinga okwagala Bayibuli ekiggyayo bulungi bw’egamba nti: “Okutendeka omubiri kugasa kitono, naye okwemalira ku Katonda kugasa mu bintu byonna, kubanga kutuwa essuubi ery’obulamu obw’omu kiseera kino n’obwo obugenda okujja.”—1 Timoseewo 4:8.

a Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa naye kati tekakyafulumizibwa.