Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Sitaani Gyali?

Ddala Sitaani Gyali?

Bayibuli ky’egamba

 Yee, Sitaani gyali. Ye “mufuzi w’ensi,” era kitonde kya mwoyo. Yafuuka mubi era n’ajeemera Katonda. (Yokaana 14:30; Abeefeso 6:11, 12) Bayibuli etuyamba okumanya ebikwata ku Sitaani okuyitira mu mannya g’emuwa n’engeri gy’emwogerako:

Si ye ndowooza embi eri mu bantu

 Abamu bagamba nti Sitaani y’endowooza embi eri mu bantu. Kyokka, Bayibuli eyogera ku mboozi eyaliwo wakati wa Katonda ne Sitaani. Katonda atuukiridde era taliimu ndowooza mbi yonna, n’olwekyo tasobola kuba nga yali ayogera na ndowooza mbi eyamulimu. (Ekyamateeka 32:4; Yobu 2:1-6) Ate era, Sitaani yakema Yesu ataalina kibi kyonna. (Matayo 4:8-10; 1 Yokaana 3:5) N’olwekyo, Bayibuli eraga nti Sitaani ddala gyali era nti si ye ndowooza embi eba mu bantu.

 Kyanditwewuunyisizza okuba nti abantu bangi tebakikkiriza nti Sitaani gyali? Nedda, kubanga Bayibuli egamba nti Sitaani akozesa obulimba okutuukiriza ebigendererwa bye. (2 Abassessalonika 2:9, 10) Akakodyo akamu k’akozesa kwe kuleetera abantu okulowooza nti taliiyo.—2 Abakkolinso 4:4.

Endowooza enkyamu endala ezikwata ku Sitaani

  Endowooza enkyamu: Lusifa lye linnya lya Sitaani eddala.

 Ekituufu: Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “Lusifa” mu Bayibuli ezimu, kitegeeza “ayakaayakana.” (Isaaya 14:12) Ennyiriri eziriranyeewo ziraga nti ekigambo ekyo kyakozesebwanga ku bakabaka b’e Babulooni, Katonda be yali ow’okuzikiriza olw’amalala gaabwe. (Isaaya 14:4, 13-20) Ekigambo “ayakaayakana” kyakozesebwanga okusekerera bakabaka b’e Babulooni oluvannyuma lw’okuwangulwa.

  Endowooza enkyamu: Katonda akozesa Sitaani okubonereza abantu.

 Ekituufu: Sitaani mulabe wa Katonda; si muweereza we. Sitaani Omulyolyomi aziyiza era ayogera eby’obulimba ku bantu abaweereza Katonda.​—1 Peetero 5:8; Okubikkulirwa 12:10.