Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Katonda Maanyi Bwanyi?

Ddala Katonda Maanyi Bwanyi?

Bayibuli ky’egamba

 Katonda ayolesa amaanyi ge amangi ennyo mu butonde bwonna. Ng’eyogera ku ngeri Katonda gye yatondamu obuwumbi n’obuwumbi bw’emmunyeenye, Bayibuli egamba nti: “Muyimuse amaaso gammwe mutunule waggulu mulabe. Ani yatonda ebintu ebyo? Y’Oyo aggyayo eggye lyabyo okusinziira ku muwendo gwabyo; byonna abiyita amannya. Olw’amaanyi ge amangi ennyo n’olw’amaanyi ge agawuniikiriza, tewali na kimu ku byo kibulako.”—Isaaya 40:25, 26.

 BNaye Katonda si maanyi bwanyi. Bayibuli egamba nti alina enneewulira. Asobola okwoleka okwagala era asobola okukyawa. (Zabbuli 11:5; Yokaana 3:16) Bayibuli era eraga nti ebyo abantu bye bakola bisobola okusanyusa Katonda oba okumunyiiza.—Zabbuli 78:40, 41.