Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Beewaayo Kyeyagalire mu Norway

Beewaayo Kyeyagalire mu Norway

EMYAKA mitono egiyise, Roald ne mukyala we Elsebeth, abaali banaatera okuweza emyaka 50 baali babeera mu kibuga Bergen ekya Norway era nga bali bulungi mu by’enfuna. Bombi awamu ne muwala waabwe Isabel ne mutabani waabwe Fabian, baali baweereza Yakuwa n’obwesigwa mu kibiina kyabwe. Roald yali aweereza ng’omukadde ate nga Elsebeth aweereza nga payoniya. Isabel ne Fabian nabo baali babuulizi banyiikivu.

Kyokka, mu Ssebutemba 2009, baasalawo okugenda mu kifo ekyesudde bamaleyo wiiki emu nga babuulira. Roald ne Elsebeth awamu ne Fabian, eyalina emyaka 18, baagenda e Nordkyn, ekisangibwa mu bitundu bya Finnmark. Nga bali eyo, baabuulira abantu b’oku kyalo ky’e Kjøllefjord, nga bali wamu n’ab’oluganda abalala abaali bagenze mu kitundu ekyo okubuulira. Roald agamba nti, “Ku ntandika ya wiiki eyo, nnawulira nga ndi musanyufu nnyo okuba nti nnali nsobodde okukola enteekateeka okugenda mu kitundu ekyo mmaleyo wiiki nnamba nga mbuulira.” Kyokka wiiki eyo bwe yali enaatera okuggwako, waliwo ekintu ekyaleetera Roald okubulwa otulo. Kiki ekyo?

EKIBUUZO KYE NNALI SISUUBIRA

Roald agamba nti, “Lumu, Mario, ow’oluganda eyali aweereza nga payoniya mu Finnmark, yatubuuza obanga twandyagadde okugenda okuweereza mu kabuga Lakselv omwali ekibiina ekyalimu ababuulizi 23.” Ekyo Roald kyamwewuunyisa nnyo. Agamba nti: “Nze ne Elsebeth twali twagala okugenda okuweereza mu kifo awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako naye ng’ekyo twagala kukikola ng’abaana baffe bamaze okukula ne bava awaka.” Kyokka, mu kaseera akatono Roald ke yali amaze ng’abuulira mu kitundu ekyo yali akirabye nti abantu b’omu kitundu ekyo baali baagala nnyo okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Baali beetaaga okuyambibwa mu bwangu. Roald agamba nti “Ekibuuzo ow’oluganda oyo kye yatubuuza nnakirowoozaako nnyo era kyambuza otulo okumala ennaku eziwera.” Oluvannyuma ow’oluganda Mario yatwala Roald n’ab’omu maka ge mu kabuga Lakselv, akasangibwa mayiro 150 mu bukiikaddyo bwa Kjøllefjord. Mario yali ayagala beerabireko n’agaabwe ekibiina ekiri mu Lakselv.

Bwe baatuuka e Lakselv, omu ku bakadde ababiri abaweereza mu kibiina ky’omu kitundu ekyo ayitibwa Andreas, yabalambuza ekitundu era n’abalaga n’Ekizimbe ky’Obwakabaka. Ab’oluganda mu kibiina ekyo baasanyukira nnyo Roald ne Elsebeth era ne babasaba basengukire mu kitundu ekyo babayambeko mu mulimu gw’okubuulira. Ow’oluganda Andreas yagamba Roald ne Fabian nti yali amaze n’okubafunira emirimu! Kiki ow’oluganda Roald n’ab’omu maka ge kye bandikoze?

KIKI KYE BAASALAWO OKUKOLA?

Fabian yagamba nti: “Saagala kusengukira mu kifo kino.” Fabian yali tayagala kuleka kibiina kye ne mikwano gye agende mu Lakselv. Ate era yali akyasoma eby’amasannyalaze nga tannamaliriza misomo gye. Naye ye Isabel (eyalina emyaka 21 mu kiseera ekyo) bwe baamubuuza kye yali alowooza ku ky’okusengukira mu kitundu ekyo, yagamba nti: “Ekyo kyennyini bulijjo kye mbadde njagala okukola!” Kyokka, Isabel agamba nti: “Bwe nneeyongera okukirowoozaako, nnatandika okwebuuza, ‘naye ddala kya magezi okusengukira mu kitundu ekyo? Siiwulire kiwuubaalo nga ndeseewo mikwano gyange? Nsigale mu kibiina kyange kye mmanyidde?’” Ate ye Elsebeth yawulira atya? Agamba nti, “Nnawulira nga Yakuwa yali atuwadde enkizo ey’amaanyi, naye era nnalowooza ne ku nnyumba yaffe gye twali twakamala okuddaabiriza awamu n’ebintu byonna bye twalina bye twali tukoleredde okumala emyaka 25.”

Wiiki eyo bwe yagwako, Roald n’ab’omu maka ge baddayo e Bergen, naye baasigala balowooza ku b’oluganda abaali mu Lakselv. Elsebeth agamba nti, “Nnasaba nnyo Yakuwa era nneeyongera okuwuliziganya n’ab’oluganda ab’omu Lakselv. Twabasindikiranga ebifaananyi byaffe era nabo baatusindikiranga ebyabwe.” Roald agamba nti: “Kyantwalira ekiseera okusalawo okusengukira mu kitundu ekyo. Ate era nnalowooza nnyo ku ngeri gye twandyeyimirizzaawo. Nnasaba nnyo Yakuwa, ne njogerako n’ab’omu maka gange awamu n’ab’oluganda abakulu mu by’omwoyo.” Fabian agamba nti: “Gye nnakoma okukirowoozaako gye nnakoma okukiraba nti saalina nsonga erimu ggumba yali esobola kunnemesa kugenda. Nnasaba nnyo Yakuwa, era buli lwe nnasabanga nneeyongeranga okwagala okugenda.” Ate kiki ekyayamba Isabel okusalawo okugenda? Okusobola okweteekerateekera okugenda okuweereza mu kitundu ekyo, yasalawo okutandika okuweereza nga payoniya. Oluvannyuma lw’emyezi mukaaga ng’aweereza nga payoniya, era ng’amala ekiseera kiwanvuko nga yeesomesa Bayibuli, yawulira nga mwetegefu okugenda e Lakselv.

BYE BAAKOLA OKUSOBOLA OKUTUUKA KU KIRUUBIRIRWA KYABWE

Roald n’ab’omu maka ge balina ebintu bye baakola okusobola okugenda okuweereza mu Lakselv. Roald yalina omulimu omulungi naye yasaba mukama we amukkirize abe nga takola okumala omwaka mulamba. Kyokka mukama we yamugamba nti yali asobola okumukkiriza okukolanga wiiki bbiri, awummulenga wiiki mukaaga. Roald agamba nti, “Omusaala gwange gwakendeerezebwa nnyo, naye nnali mumativu.”

Elsebeth agamba nti: “Mwami wange yaŋŋamba okunoonya ennyumba mu Lakselv era nti ennyumba yaffe ey’omu Bergen ngifuniremu abapangisa. Ekyo tekyali kyangu naye nnasobola okukikola. Oluvannyuma lw’ekiseera, abaana baffe baafuna emirimu egitali gya kiseera kyonna, era kati batuyambako okugula emmere n’okusasula ebisale by’entambula.”

Isabel agamba nti: “Okuva bwe kiri nti akabuga ke twasengukiramu kaali katono, tekyali kyangu kufuna mulimu gwandinnyambye kweyimirizaawo nga mpeereza nga payoniya. Ebiseera ebimu nnawulira nga sirina ssuubi lya kufuna mulimu.” Okusobola okweyimirizaawo, Isabel yakolanga obulimu obutonotono, era mu mwaka ogwasooka yakola obulimu obw’enjawulo mwenda. Olwo ate Fabian? Yagamba nti, “Okusobola okumaliriza emisomo gyange mu by’amasannyalaze, nnalina okufuna awantu we nkolera nsobole okweyongera okukuguka. Nnafuna we nkolera mu Lakselv. Nnamaliriza emisomo gyange, era ne nfuna omulimu mu by’amasannyalaze ogutaali gwa kiseera kyonna.”

ENGERI ABALALA GYE BAAGAZIYAMU OBUWEEREZA BWABWE

Marelius ne mukyala we, Kesia, nabo baali baagala okuweereza mu kitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Marelius, kati alina emyaka 29, agamba nti: “Emboozi awamu n’ebyokulabirako ebyabanga ku nkuŋŋaana za disitulikiti byankwatako nnyo ne njagala okugaziya ku buweereza bwange.” Kyokka, Kesia, kati alina emyaka 26, yali tayagala kusengukira mu kitundu kiri wala n’ab’ewaabwe. Okugatta ku ekyo, Marelius yali akola omulimu ogw’ekiseera kyonna asobole okusasula ebbanja ly’ennyumba gye baali baguze. Marelius agamba nti: “Twasaba Yakuwa atuyambe okukola enkyukakyuka ezeetaagisa tusobole okugenda okuweereza mu kitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako.” Kye baasooka okukola kwe kwongera ku biseera bye baali bamala nga basoma Bayibuli. Oluvannyuma, baatunda ennyumba yaabwe, ne baleka emirimu gyabwe, era mu Agusito 2011 baagenda okuweereza mu kibuga Alta ekiri mu bukiikakono bwa Norway. Okusobola okweyimirizaawo nga baweereza nga bapayoniya, Marelius akola gwa kubalirira bitabo ate Kesia atunda dduuka.

Knut ne mukyala we Lisbeth, kati abali mu myaka 30, baakwatibwako nnyo ebyo bye baasoma mu Yearbook ebikwata ku b’oluganda abaweereza mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Lisbeth agamba nti, “Ebyo bye twasoma byatuleetera okulowooza ku ky’okugenda okuweereza mu nsi endala, naye muli nnali mpulira nti ekyo ffe twali tetusobola kukikola.” Wadde kyali kityo, balina ebintu bye baakola okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyabwe ekyo. Knut agamba nti: “Twatunda ennyumba yaffe, era okusobola okukekkereza ku ssente, twasalawo okubeera ne maama wange mu nnyumba emu. Okusobola okweteekateeka okuweereza mu nsi endala, twasalawo okumala omwaka mulamba nga tuweereza mu kibiina ky’Olungereza eky’omu Bergen, era bwe twali eyo twali tubeera ne maama wa Lisbeth.” Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, Knut ne Lisbeth baakiraba nti baali basobola okugenda okuweereza mu nsi endala. Baasalawo okugenda mu Uganda. Buli mwaka baddayoko e Norway okumala emyezi ebiri okukola basobole okufunayo akasente akanaabayamba okweyimirizaawo okumala omwaka mulamba nga baweereza mu Uganda.

‘MULEGEEKO MUTEGEERE NGA YAKUWA MULUNGI’

Mikisa ki ab’oluganda abo gye bafunye? Roald agamba nti: “Kati ebiseera bye tumala awamu ng’amaka bingiko okusinga ku ebyo bye twamalanga awamu nga tukyali e Bergen. Enkolagana yaffe mu maka yeeyongedde okunywera. Okulaba abaana baffe nga bakulaakulana mu by’omwoyo kituleetedde essanyu lingi.” Agattako nti: “Kati eby’obugagga tetukyabitwala ng’ekintu ekikulu.”

Elsebeth yakiraba nti kyali kimwetaagisa okuyigayo olulimi olulala. Lwaki? Ekibiina ky’omu Lakselv kibuulira ne mu bitundu by’e Karasjok, era abantu abasinga obungi mu bitundu ebyo boogera Lusami. Abantu aboogera Olusami basangibwa mu bukiikakono bwa Norway, Sweden, Finland, ne Russia. N’olwekyo, okusobola okutuusa amawulire amalungi ku bantu abo, Elsebeth yasalawo okuyiga Olusami. Kati asobola okubuulira abantu aboogera olulimi olwo. Elsebeth awulira atya? Agamba nti: “Kati nnina abayizi ba Bayibuli mukaaga. Mpulira nga tewali kifo kirala kisinga kino we njagala kubeera!”

Fabian, kati aweereza nga payoniya era ng’omuweereza mu kibiina, agamba nti ye ne Isabel bayambye abavubuka basatu mu kibiina ky’e Lakselv okwongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Abavubuka abo bonsatule kati banyiikivu nnyo mu mulimu gw’okubuulira. Mu butuufu, babiri ku bo baabatizibwa era baaweereza nga bapayoniya abawagizi mu Maaki 2012. Omu ku bavubuka abo eyali atandise okunafuwa mu by’omwoyo yeebaza nnyo Fabian ne Isabel olw’okumuyamba okunywera mu by’omwoyo. Fabian agamba nti: “Ebyo bye yayogera byankwatako nnyo. Bwe tuyamba abalala kituleetera essanyu!” Isabel agamba nti: “Ekiseera kye tumaze nga tuweereza mu kitundu kino kinnyambye ‘okulegako ne ntegeera nga Yakuwa mulungi.’” (Zab. 34:8) Agattako nti: “Okuweereza mu kitundu kino kindeetedde essanyu lingi!”

Kati Marelius ne Kesia balina ebintu bitono naye basanyufu nnyo. Ekibiina ky’omu Alta, gye baagenda okuweereza, kati kirimu ababuulizi 41. Marelius agamba nti: “Bwe nzijukira ebiseera eby’emabega, kinsanyusa nnyo bwe ndowooza ku nkyukakyuka ezitali zimu ze tukoze mu bulamu bwaffe. Twebaza nnyo Yakuwa olw’okutusobozesa okuweereza nga bapayoniya mu kitundu kino. Tewali kintu kirala kyandituleetedde ssanyu nga lino lye tulina.” Kesia agamba nti: “Nneeyongedde okwesiga Yakuwa n’omutima gwange gwonna, era Yakuwa atulabiridde bulungi nnyo. Ate era nkirabye nti okuba nga sibeera kumpi na baŋŋanda zange kinnyambye okwongera okusiima akaseera konna ke mba nfunye okubeerako awamu nabo. Sejjusangako olw’okusalawo okugenda okuweereza mu kitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako.”

Knut ne Lisbeth obulamu babusanga batya mu Uganda? Knut agamba nti: ‘Kyatutwalira ekiseera kiwanvu okumanyiira embeera mu Uganda era n’okumanya empisa za Bannayuganda. Wadde ng’amazzi gatera okubula, amasannyalaze gavaavaako, era nga n’embuto zitera okutuluma, tulina abantu bangi be tuyigiriza Bayibuli!’ Lisbeth agamba nti: ‘Abantu abasinga obungi ababeera mu bitundu ebituliraanye tebawulirangako mawulire malungi. Kyokka bwe tugenda mu bitundu ebyo, tusanga abantu bangi abasoma Bayibuli era nga baagala okuyiga Bayibuli. Okuyigiriza Bayibuli abantu ng’abo abawombeefu kituleetera essanyu lingi!’

Ng’Omukulembeze waffe, Kristo Yesu, ateekwa okuba nga musanyufu nnyo bw’ayima eyo mu ggulu n’alaba ng’omulimu gw’okubuulira gwe yatandikawo gweyongera okusaasaana mu bitundu ebitali bimu eby’ensi! Mazima ddala, abantu ba Katonda bonna basanyufu okwewaayo kyeyagalire okukola omulimu Yesu gwe yabalagira okukola ogw’okufuula “abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa.”​—Mat. 28:19, 20.