Buuka ogende ku bubaka obulimu

Okutuuka ku Biruubirirwa eby’eby’Omwoyo

Abajulirwa ba Yakuwa bakizudde nti Bayibuli ebayamba okunyweza okukkiriza kwabwe era n’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda.

Beewaayo Kyeyagalire

Bannyinaffe bangi abaweererezaako mu nsi endala mu kusooka baali batya okugenda. Baafuna batya obuvumu? Era kiki kye bayize?

Beewaayo Kyeyagalire—Mu Ghana

Wadde ng’abo abagenda okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako boolekagana n’okusoomooza okutali kumu, bafuna emikisa mingi.

Beewaayo Kyeyagalire—Mu Guyana

Biki bye tuyigira ku abo abeewaayo okugenda okubuulira mu bitundu awali obwetaavu obusingako? Ebyo bye tubayigirako biyinza bitya okukuyamba okweteekateeka okuweerereza mu nsi endala bwe kiba nga kye kiruubirirwa kyo?

Beewaayo Kyeyagalire​—Mu Madagascar

Manya ebikwata ku bamu ku babuulizi abava mu nsi endala ne bannansi abagenze okuweereza mu bitundu awali obwetaavu obusingako mu Madagascar.

Beewaayo Kyeyagalire—Mu Micronesia

Abo abava mu nsi endala ne bagenda okubuulira ku bizinga ebiri ku Nnyanja Pacific boolekagana n’okusoomoozebwa kwa mirundi esatu. Ababuulizi b’Obwakabaka abo basobodde batya okwolekagana n’okusoomoozebwa okwo?

Beewaayo Kyeyagalire​—Mu Myanmar

Kiki ekyaleetera Abajulirwa ba Yakuwa bangi okugenda okuyambako mu mulimu gw’okubuulira e Myanmar?

Beewaayo Kyeyagalire—Mu New York

Lwaki omwami omu ne mukyala we baasalawo okuva mu nnyumba yaabwe ennene ne badda mu ggalagi?

Beewaayo Kyeyagalire​—Mu Oceania

Abajulirwa ba Yakuwa abaweereza awali obwetaavu obusingako mu Oceania boolekaganye batya n’okusoomooza kwe basanze?

Beewaayo Kyeyagalire—Mu Russia

Soma ku ngeri ab’oluganda abafumbo n’abatali bafumbo gye bagenze okuweereza mu Russia awali obwetaavu obusingako. Beeyongedde okwesiga Yakuwa!

Beewaayo Kyeyagalire—Mu Taiwan

Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu 100 be baagenda okuweereza mu Taiwan awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Manya ebibakwatako n’ebyo ebibayambye okweyongera okuweereza mu nsi eyo.

Beewaayo Kyeyagalire—Mu Butuluuki

Mu 2014, Abajulirwa ba Yakuwa baakola kaweefube ow’enjawulo ow’okubuulira mu Butuluuki. Lwaki baakola kaweefube oyo? Biki ebyavaamu?

Beewaayo Kyeyagalire—Mu Bugwanjuba bwa Afirika

Kiki ekyakubiriza ab’oluganda ab’omu Bulaaya okugenda okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako, era birungi ki ebivuddemu?

Twasalawo Okweggyako Ebintu Ebimu

Okwogera okwali ku lukuŋŋaana olunene kwaleetera omwami omu ne mukyala we ab’omu Colombia okulowooza ku bintu bye baali batwala nga bikulu.

Kye Nnasalawo Okukola nga Nkyali Muto

Omulenzi omuto ow’omu Columbus, Ohio, Amerika yasalawo okuyiga Olukambodiya. Lwaki? Ekyo kyakwata kitya ku biseera bye eby’omu maaso?