Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Beewaayo Kyeyagalire​—Mu Madagascar

Beewaayo Kyeyagalire​—Mu Madagascar

SYLVIANA, alina emyaka nga 25, agamba nti: “Bwe nnawulira nga mikwano gyange banyumya ku ssanyu lye baafuna mu kuweereza awali obwetaavu obusingako, nnawulira nga nange njagala okufuna ku ssanyu eryo. Naye nnali mpulira nti sisobola kugenda kuweereza mu bitundu awali obwetaavu obusingako.”

Naawe owulira nga Sylviana? Oyagala okuweereza mu bitundu awali obwetaavu obusingako naye nga weebuuza obanga osobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo? Bwe kiba kityo toggwaamu maanyi! Yakuwa ayambye baganda baffe ne bannyinaffe bangi okuvvuunuka okusoomooza okutali kumu ne basobola okugaziya ku buweereza bwabwe. Okusobola okumanya engeri Yakuwa gy’abayambyemu, ka tulabeyo abamu ku bo mu Madagascar, ekizinga ekikwata ekifo eky’okuna mu bunene mu nsi yonna.

Mu myaka ekkumi egiyise , wabaddewo ababuulizi ne bapayoniya abasukka mu 70 okuva mu nsi 11 * abagenze okuweereza mu kitundu kino ekya Afirika ekirimu abantu bangi abaagala okuyiga amazima agali mu Bayibuli. Era wabaddewo n’ababuulizi bangi ab’omu nsi eyo abagenze mu bitundu ebirala eby’ensi eyo okubuulira amawulire ag’Obwakabaka. Ka tulabeyo abamu ku bo.

OKUVVUUNUKA OKUTYA N’EBINTU EBIMALAMU AMAANYI

Perrine and Louis

Ow’oluganda Louis ne mukyala we Perrine, abali mu myaka 30, baava mu Bufalansa ne bagenda e Madagascar. Okumala emyaka mingi baali balowooza ku ky’okugenda mu nsi endala bagaziye ku buweereza bwabwe, naye nga Perrine alimu okutya. Perrine agamba nti: “Nnali ntya okugenda mu kifo kye simanyi. Nnali ntya okuleka ab’eŋŋanda zange, ekibiina, ennyumba, ekitundu kye nnali mmanyidde, n’ebintu bye nnali mmanyidde okukola. Okutya okwo nnali nnina okukuvvuunuka.” Mu 2012, Perrine yafuna obuvumu era ye ne Louis baagenda okuweereza mu Madagascar. Perrine awulira atya olw’ekyo kye baasalawo? Agamba nti: “Tulabye omukono gwa Yakuwa mu bulamu bwaffe era ekyo kyongedde okunyweza okukkiriza kwaffe. Ku mukolo ogw’Ekijjukizo gwe twasooka okufunira mu Madagascar, abayizi baffe aba Bayibuli kkumi baaliwo!”

Kiki ekyayamba Louis ne Perrine okusigala nga bakyaweereza mu Madagascar nga bafunye ebizibu? Baasaba Yakuwa abasobozese okugumiikiriza. (Baf. 4:13) Louis agamba nti: “Twakiraba nti Yakuwa yaddamu okusaba kwaffe n’atuwa emirembe mu mutima. Ebirowoozo twabissa ku birungi bye twali tufuna mu buweereza bwaffe. Era ne mikwano gyaffe mu Bufalansa baatuwandiikira amabaluwa okutugumya n’okutukubiriza obutaggwaamu maanyi.”​—Baf. 4:6, 7; 2 Kol. 4:7.

Yakuwa yawa Louis ne Perrine emikisa. Louis agamba nti: “Mu Okitobba 2014, twagenda mu Ssomero ly’Abakristaayo Abafumbo * eryali mu Bufalansa. Okugenda mu ssomero eryo kyali kirabo kya muwendo nnyo okuva eri Yakuwa.” Bwe baamala essomero eryo, Louis ne Perrine baasanyuka nnyo bwe baasindikibwa okuweereza mu Madagascar.

“KIJJA KUTUSANYUSA NNYO!”

Nadine and Didier

Didier ne mukyala we Nadine, we baaviira mu Bufalansa okugenda mu Madagascar mu 2010, baali basussa mu myaka 50. Didier agamba nti: “Bwe twali tukyali bavubuka twaweereza nga bapayoniya, naye oluvannyuma ne tuzaala abaana basatu. Abaana abo bwe baakula twatandika okulowooza ku ky’okuweereza mu nsi endala.” Nadine agamba nti: “Bwe nnalowooza ku ky’okubeera ewala okuva awali abaana bange nnatyamu naye abaana ne batugamba nti: ‘Bwe mugenda okuweereza mu nsi endala awali obwetaavu obusingako, kijja kutusanyusa nnyo!’ Ebyo bye baatugamba byatuzzaamu amaanyi ne tusalawo okugenda. Wadde nga kati abaana baffe tubali wala, kitusanyusa nnyo okuba nti tutera okunyumya nabo.”

Didier ne Nadine, tekyabanguyira kuyiga lulimi Olumalagase. Nadine agamba nti: “Tetukyali ba myaka 20.” Naye ekizibu ekyo baakyaŋŋanga batya? Okusooka baagenda mu kibiina ekyogera Olufalansa. Oluvannyuma bwe baawulira nga beetegefu okubeera mu kibiina ekyogera Olumalagase, beegatta ku kibiina ekyo. Nadine agamba nti: “Abantu bangi be tusanga nga tubuulira baagala nnyo okuyiga Bayibuli. Emirundi mingi bwe tumala okubabuulira batwebaza. Mu butuufu, mu kusooka nnalinga ng’aloota. Nnyumirwa nnyo okuweereza nga payoniya mu nsi eno. Buli ku makya bwe nzuukuka mba nneesunga okugenda okubuulira.”

Didier ayogera ku kusoomooza okumu kwe yayitamu ng’atandise okuyiga Olumalagase. Agamba nti: “Lumu bwe nnali nkubiriza olukuŋŋaana mu Lumalagase, nnali sitegeera ebyo ab’oluganda ne bannyinaze bye baali baddamu. Nnabeebazanga bwebaza. Kyokka waliwo mwannyinaze gwe nneebaza ng’alina ky’azzeemu naye abo abaali bamutudde emabega ne bankolera obubonero obulaga nti ekyo kye yali azzeemu tekyali kituufu. Amangu ago nnalonda ow’oluganda omulala, era ndowooza kye yaddamu kyali kituufu.”

YAKKIRIZA OKUGENDA

Ku lukuŋŋaana olunene olwaliwo mu 2005, Thierry ne mukyala we, Nadia, baalaba omuzannyo ogwalina omutwe “Ba n’Ebiruubirirwa Ebiweesa Katonda Ekitiibwa.” Omuzannyo ogwo ogukwata ku Timoseewo gwabakwatako nnyo era ne bamalirira okugenda okuweereza awali obwetaavu obusingako. Thierry agamba nti: “Bwe twali tukyakuba engalo ng’omuzannyo ogwo guwedde, nnabuuza mukyala wange nti, ‘Tugenda kuweerereza wa?’ Mukyala wange yanziramu nti naye yali alowooza ku kintu kye kimu.” Amangu ddala Thierry ne mukyala we baatandika okukola enteekateeka okutuuka ku kiruubirirwa kyabwe ekyo. Nadia agamba nti, “Twatandika okweggyako ebintu ebimu ne tusigaza bitono ddala!”

Ku kkono: Nadia ne Marie-Madeleine. Ku ddyo: Thierry

Baatuuka mu Madagascar mu 2006 era baatandikirawo okunyumirwa omulimu gw’okubuulira. Nadia agamba nti: “Abantu be tusanga nga tubuulira batusanyusa nnyo.”

Kyokka bwe waali wayise emyaka mukaaga bukya Thierry ne Nadia bagenda mu Madagascar, baafuna ekizibu eky’amaanyi. Maama wa Nadia, Marie-Madeleine, eyali abeera mu Bufalansa yagwa n’amenyeka omukono era n’afuna n’ebisago ku mutwe. Oluvannyuma lw’okwebuuza ku musawo eyali ajjanjaba Madeleine, Thierry ne Nadia baabuuza Madeleine obanga yandyagadde okugenda okubeera nabo mu Madagascar. Wadde nga mu kiseera ekyo Madeleine yalina emyaka 80, yakkiriza okugenda. Awulira atya okubeera mu nsi endala? Agamba nti: “Oluusi tekimbeeredde kyangu kumanyiira bintu ebimu, naye mpulira nga ndi wa mugaso mu kibiina. N’ekisinga okunsanyusa kiri nti okubeera mu nsi eno kisobozesezza abaana bange okweyongera okubuulira mu nsi eno awali obwetaavu obusingako.”

“NNALABA OMUKONO GWA YAKUWA”

Riana ng’awa emboozi mu Luntanduloyi

Ow’oluganda Riana ali mu myaka 20 yakulira mu Alaotra Mangoro, ekitundu ekigimu ennyo ekisangibwa mu buvanjuba bwa Madagascar. Yakola bulungi ku ssomero era yali ayagala okuluubirira obuyigirize obwa waggulu. Naye oluvannyuma lw’okuyiga Bayibuli, yakyusa endowooza ye. Agamba nti: “Nnafuba okumaliriza emisomo gyange egya sekendule nga bukyali. Nnasaba Yakuwa nti, ‘Bwe nnaayita ebigezo ebisembayo, nja kutandika okuweereza nga payoniya.’” Oluvannyuma lw’okumalako sekendule, Riana yatuukiriza kye yasuubiza. Yagenda n’atandika okubeera n’ow’oluganda omu eyali aweereza nga payoniya, n’afuna omulimu ogutaali gwa kiseera kyonna, era n’atandika okuweereza nga payoniya. Agamba nti, “Ekyo kye kintu ekisingayo obulungi kye nnali nsazeewo.”

Kyokka ab’eŋŋanda za Riana tebaategeera lwaki yagaana okufuna obuyigirize obwa waggulu. Riana agamba nti: “Taata wange, taata wange omuto, ne jjajja wange baŋŋamba okufuna obuyigirize obwa waggulu. Naye nnali mumalirivu obutakkiriza kintu kyonna kundeetera kulekera awo kuweereza nga payoniya.” Waayita ekiseera kitono Riana n’ayagala okuweereza awali obwetaavu obusingako. Ekimu ku byamuleetera okweteerawo ekiruubirirwa ekyo kye ki? Agamba nti: “Ababbi baatuyingirira ne babba ebintu byange bingi. Ekyo kyandeetera okulowooza ku bigambo bya Yesu ebikwata ku kweterekera ‘eby’obugagga mu ggulu.’ Nnasalawo okwongera okufuba okukolerera eby’obugagga eby’omwoyo.” (Mat. 6:19, 20) Riana yagenda okuweerereza mu kitundu kya Madagascar eky’ebukiikaddyo. Ekitundu ekyo kiri mayiro nga 800 okuva gye yali abeera era kikalu nnyo. Kibeeramu abantu abayitibwa Abantanduloyi. Lwaki yagenda mu kitundu ekyo?

Ng’ebula omwezi gumu ababbi bamubbe, Riana yatandika okuyiga Bayibuli n’abasajja babiri Abantanduloyi. Yayigayo ebigambo ebitonotono mu Luntanduloyi era n’alowooza ne ku bantu Abantanduloyi abangi abaali batannawulira ku mawulire g’Obwakabaka. Agamba nti, “Nnasaba Yakuwa annyambe okugenda mu kitundu abantu abo gye babeera mbuulireyo.”

Riana yagenda mu kitundu ekyo era amangu ddala nga yaakakituukamu yayolekagana n’okusoomooza okw’amaanyi. Mu kitundu ekyo teyasobola kufunayo mulimu gwa kukola. Omusajja omu yamubuuza nti: “Lwaki wajja eno? Wajja kunoonya mirimu? Abantu bava mu kitundu kino ne bagenda gye wava okunoonya emirimu!” Nga wayise wiiki bbiri zokka, Riana yava mu kitundu ekyo n’agenda ku lukuŋŋaana olunene nga kyenkana talina ssente yonna era ng’asobeddwa. Ku lunaku olwasembayo olw’olukuŋŋaana olwo, ow’oluganda omu yasonseka akantu mu nsawo y’ekkooti ya Riana. Zaali ssente ezimumala okuddayo mu kitundu ky’ Abantanduloyi n’okutandikawo bizineesi y’okutunda yogati. Riana agamba nti: “Nnalaba omukono gwa Yakuwa mu kiseera ekituufu. Kati nnali nsobola okweyongera okuyamba abo abaali batawulirangako bikwata ku Yakuwa!” Era waaliwo n’eby’okukola bingi mu kibiina. Riana agamba nti: “Buli wiiki nnalinanga okuwa emboozi ya bonna. Yakuwa yali antendeka ng’akozesa ekibiina kye.” N’okutuusa leero, Riana akyabuulira mu kitundu ekyo era akyayamba Abantanduloyi bangi okuyiga ebikwata ku Yakuwa.

‘KATONDA OW’AMAZIMA YAMUWA OMUKISA’

Bayibuli egamba nti: “Buli eyeenoonyeza omukisa mu nsi Katonda ow’amazima alimuwa omukisa.” (Is. 65:16) Bwe tufuba okuvvuunuka ebintu ebitulemesa okugaziya ku buweereza bwaffe, Yakuwa atuwa emikisa. Lowooza ku Sylviana eyayogeddwako ku ntandikwa y’ekitundu kino. Yali alowooza nti tasobola kugenda kuweereza mu kitundu awali obwetaavu obusingako. Lwaki yali alowooza bw’atyo? Agamba nti: “Okugulu kwange okwa kkono kumpi ku kwa ddyo. Bwe kityo ntambula mpenyera era nkoowa mangu.”

Sylviana (ku kkono) ne Sylvie Ann (ku ddyo) nga bali ne Doratine ku lunaku lwe yabatizibwa

Wadde kiri kityo, mu 2014, Sylviana yeegatta ku muvubuka ayitibwa Sylvie Ann, eyali aweereza nga payoniya mu kibiina kye, ne bagenda mu kyalo ekyali mayiro 53 okuva ewaabwe. Wadde nga yalina ekizibu ky’okugulu, Sylviana yatuuka ku kiruubirirwa kye era Yakuwa yamuwa emikisa. Agamba nti: “Oluvannyuma lw’okumala omwaka gumu gwokka nga tuweerereza ku kyalo ekyo, omuwala gwe nnali njigiriza Bayibuli ayitibwa Doratine era maama, yabatizibwa ku lukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu.”

“NJA KUKUYAMBA”

Nga bye tulabye ku baganda baffe bwe biraga, bwe tufuba okuvvuunuka ebizibu ebiyinza okutulemesa okugaziya ku buweereza bwaffe, tulaba engeri Yakuwa gy’atuukirizaamu ekisuubizo kino mu bulamu bwaffe: “Nja kukuwa amaanyi era nja kukuyamba.” (Is. 41:10) N’ekivaamu, enkolagana yaffe ne Yakuwa yeeyongera okunywera. Ate era bwe twewaayo kyeyagalire okugaziya ku buweereza bwaffe mu nsi yaffe oba mu nsi endala, kiba kituteekerateekera emirimu emingi ennyo gye tugenda okukola mu nsi empya. Nga Didier eyayogeddwako waggulu bwe yagamba, “Okuweereza awali obwetaavu obusingawo, kituteekerateekera ebiseera eby’omu maaso.” Ka tusabe n’abalala bangi beeweeyo mu kutendekebwa okwo.

^ lup. 4 Ab’oluganda abo baava mu nsi zino: Canada, Czech Republic, Bufalansa, Bugirimaani, Guadeloupe, Luxembourg, New Caledonia, Sweden, Switzerland, Bungereza, ne Amerika.

^ lup. 8 Kati liyitibwa Essomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka. Abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna abaweerereza mu nsi endala era nga batuukiriza ebisaanyizo, basobola okusaba okugenda mu ssomero eryo mu nsi yaabwe oba mu nsi endala mwe basobola okulifunira mu lulimi lwabwe.