Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Burnett, Simone, Eston, ne Caleb

Beewaayo Kyeyagalire​—Mu Oceania

Beewaayo Kyeyagalire​—Mu Oceania

RENEÉ, mwannyinaffe ali mu myaka 30, yakulira mu maka g’Abajulirwa ba Yakuwa mu Australia. Agamba nti: “Emirundi mingi twagendanga okuweereza mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Taata ne maama baafubanga okulaba nti tunyumirwa okuweereza mu ngeri eyo! Bwe nnazaala abaana bange ababiri, nnayagala nabo bafune ku ssanyu eriva mu kuweereza mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako.”

Omwami wa Reneé ayitibwa Shane, anaatera okuweza emyaka 40, naye yalina ekiruubirirwa kye kimu. Agamba nti: “Oluvannyuma lw’okuzaala omwana waffe ow’okubiri, twasoma ekitundu mu Omunaala gw’Omukuumi ekyali kyogera ku maka agamu ag’Abajulirwa ba Yakuwa abaagenda mu bitundu by’omu Pacific okubuulira mu bizinga by’e Tonga. * Ekyo kyatukubiriza okuwandiikira ofiisi y’ettabi ey’omu Australia n’ey’omu New Zealand nga twagala okumanya wa awaali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. * Ebbaluwa yaffe baagiddamu ne batukkiriza okugenda okuweereza mu Tonga, ekifo kyennyini kye twali tusomyeko!”

Jacob, Reneé, Skye, ne Shane

Oluvannyuma lwa Shane, Reneé, n’abaana baabwe, Jacob ne Skye, okumala omwaka nga gumu nga bali mu Tonga, waabalukawo obwegugungo mu nsi eyo, ekyo ne kibaleetera okuddayo mu Australia, naye baasigala balina ekiruubirirwa eky’okugaziya ku buweereza bwabwe. Mu 2011, baagenda mu Norfolk, akazinga k’omu Pacific akeesudde mayiro nga 900 ebuvanjuba wa Australia. Waliwo ebirungi byonna ebyavaamu? Omwana waabwe Jacob, ow’emyaka 14, agamba nti: “Ng’oggyeeko okuba nti Yakuwa yatulabirira, era yatuyamba okunyumirwa okubuulira!”

OKUWEEREREZA AWAMU NG’AMAKA

Okufaananako Shane, Reneé, n’abaana baabwe, waliwo amaka g’Abajulirwa ba Yakuwa mangi abasazeewo okugenda okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Kiki ekibakubiriza okuweereza mu ngeri eyo?

“Abantu bangi mu kitundu ekyo baali baagala nnyo okuwulira amawulire amalungi. Twali twagala okutandika okuyiga nabo Bayibuli obutayosa.”​—Burnett

Burnett ne mukyala we Simone abali mu myaka 30 n’abaana baabwe, Eston ow’emyaka 12 ne Caleb ow’emyaka 9, baagenda mu Burketown, akabuga akeesudde akali mu Queensland, Australia. Burnett agamba nti: “Abajulirwa ba Yakuwa baalinga babuulira mu kitundu ekyo buli luvannyuma lw’emyaka esatu oba ena. Abantu bangi mu kitundu ekyo baali baagala nnyo okuwulira amawulire amalungi. Twali twagala okutandika okuyiga nabo Bayibuli obutayosa.”

Jim, Jack, Mark, ne Karen

Mark ne mukyala we Karen, abali mu myaka 50, awamu n’abaana baabwe abasatu Jessica, Jim, ne Jack, baaweereza mu bibiina ebiwerako okuliraana Sydney, Australia, nga tebannagenda mu Nhulunbuy, ekitundu eky’ebirombe ekisangibwa mu Northern Territory. Mark agamba nti: “Njagala nnyo abantu, era nnali njagala okugenda okuweereza mu kitundu awali obwetaavu obw’amaanyi mu kibiina ne mu mulimu gw’okubuulira.” Kyokka mu kusooka Karen yali atya okugenda. Karen agamba nti: “Oluvannyuma lwa Mark n’abalala okunzizzaamu amaanyi, nnakkiriza okugenda. Ndi musanyufu nnyo okuba nti nnasalawo okugenda!”

Benjamin, Jade, Bria, ne Carolyn

Mu 2011, Benjamin ne mukyala we Carolyn awamu ne bawala baabwe ababiri, Jade ne Bria, baava mu Queensland, Australia, ne baddayo mu Timor-Leste, ensi eri ku kizinga Timor eky’omu Indonesia. Ben agamba nti: “Nze ne Carolyn twaweerezaako mu Timor-Leste nga bapayoniya ab’enjawulo. Twanyumirwa nnyo omulimu gw’okubuulira era ab’oluganda mu kitundu ekyo baali balungi nnyo. Kyatuluma nnyo okuvaayo era twali bamalirivu okuddayo. Bwe twazaala abaana, kyatuleetera okwongezaayo enteekateeka zaffe ez’okuddayo naye twasigala tuli bamalirivu okuddayo.” Carolyn agamba nti: “Twayagala abaana baffe bakole emikwano n’abaminsani, Ababeseri, ne bapayoniya ab’enjawulo, era twali twagala banyumirwe okuweereza Yakuwa.”

OKUTEEKATEEKA OKUGENDA

Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Ani ku mmwe ayagala okuzimba omunaala atasooka kutuula wansi n’abalirira ebyetaagisa?” (Luk. 14:28) N’olwekyo, ab’omu maka bwe baba balowooza ku ky’okugenda mu kitundu ekirala, kibeetaagisa okusooka okubalirira ebizingirwamu. Biki bye bayinza okulowoozaako?

EBY’OMWOYO: Ben agamba nti: “Twali twagala okuweereza abalala, so si okubafuukira omugugu. N’olwekyo, bwe twali tetunnagenda, twasooka kwenyweza mu by’omwoyo. Era twayongeramu amaanyi mu mulimu gw’okubuulira ne mu ngeri gye twali twenyigira mu mirimu gy’ekibiina.”

Jacob, eyayogeddwako waggulu, agamba nti: “Bwe twali tetunnagenda ku kizinga ky’e Norfolk, twasooka kusoma ebitundu mu Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! ebikwata ku b’omu maka agatali gamu abaagenda okuweereza awali obwetaavu obusingako. Twakubaganya ebirowoozo ku bizibu ebitali bimu bye baayolekagana nabyo n’engeri Yakuwa gye yabayambamu.” Mwannyina, Skye, ow’emyaka 11 agamba nti: “Nnasaba nnyo Yakuwa oluusi nga ndi nzekka oba oluusi nga ndi wamu ne maama ne taata!”

ENNEEWULIRA: Reneé agamba nti: “Okuva bwe kiri nti twali tubeera kumpi n’ab’eŋŋanda zaffe ne mikwano gyaffe, tekyali kyangu kuva mu kitundu mwe twali tubeera. Naye mu kifo ky’okumalira ebirowoozo ku ekyo, nnalowooza nnyo ku ngeri okugenda okuweereza mu kitundu ekirala gye kyandiganyuddemu ab’omu maka gaffe.”

EMPISA Z’OMU KITUNDU: Ab’omu maka bangi basooka kunoonyereza ebikwata ku bitundu gye baba baagala okugenda. Mark agamba nti: “Twasoma bingi ebikwata ku Nhulunbuy. Ab’oluganda mu Nhulunbuy baatuweerezanga empapula z’amawulire ez’omu kitundu ekyo, ne kituyamba okutegeera ebikwata ku bantu b’omu kitundu ekyo n’empisa zaabwe.”

Shane, eyagenda okuweereza ku kizinga ky’e Norfolk, agamba nti: “Essira nnalissa ku kukulaakulanya engeri ez’Ekikristaayo. Nnali nkimanyi nti singa mba mwesimbu, mukkakkamu, mwesigwa, era nga ndi mukozi nnyo, nnali nsobola okubeera mu kitundu kyonna.”

OKWOLEKAGANA N’OKUSOOMOOZA OKUTALI KUMU

Abo abasobodde okuweereza mu bitundu omuli obwetaavu obusingako bagamba nti kikulu nnyo okuba omwetegefu okutuukana n’embeera n’okuba n’endowooza ennuŋŋamu nga wazzeewo embeera enzibu ezibadde zitasuubirwa. Lowooza ku byokulabirako bino wammanga:

Reneé agamba nti: “Nnayiga okukola ebintu mu ngeri ez’enjawulo. Ng’ekyokulabirako, ennyanja bw’efuukuuka, emmeeri tezireeta bintu ku kizinga Norfolk, era ebintu biba bya bbula era nga bya buseere. Ekyo bwe kibaawo, bwe mba ntegeka emmere, nfuba okubeera omutetenkanya.” Omwami we, Shane, agamba nti: “Tufuba okukekkereza ssente zaffe kituyambe obutasaasaanya kusukka ku mbalirira yaffe eya wiiki.”

Omwana waabwe, Jacob, ayogera ku kusoomooza okumu kwe yayolekagana nakwo. Agamba nti: “Ekibiina mwe twali kyalimu abantu musanvu bokka, nga bonna bakulu. Bwe kityo, saalina mikwano gya myaka gyange! Naye bwe nnabuulirangako n’abantu abakulu, ekiseera bwe kyagenda kiyitawo baafuuka mikwano gyange.”

Jim, kati alina emyaka 21, naye yayolekagana n’okusoomooza okufaananako ng’okwo. Agamba nti: “Okuva bwe kiri nti ekibiina ekisingayo okuba okumpi ne Nhulunbuy kyesudde mayiro ezisukka 450, tufuba okukozesa mu bujjuvu akakisa ke tufuna nga tugenze ku nkuŋŋaana ennene. Tutuuka bukyali tusobole okunyumyako n’ab’oluganda. Buli mwaka tuba twesunga nnyo okugenda ku nkuŋŋaana ennene!”

“KIRUNGI OKUBA NTI TWAJJA OKUWEEREZA ENO!”

Bayibuli egamba nti: “Omukisa gwa Mukama gwe gugaggawaza.” (Nge. 10:22) Bakkiriza bannaffe okwetooloola ensi abaweerezzaako mu bitundu awali obwetaavu obusingako bakirabye nti ddala ebigambo ebyo bituufu.

Mark agamba nti: “Omukisa ogusingayo obunene gwe tufunye kwe kuba nti abaana baffe baganyuddwa nnyo. Abaana baffe abakulu bakakafu nti Yakuwa alabirira abo bonna abakulembeza Obwakabaka mu bulamu bwabwe. Ekyo kituleetedde essanyu eritagambika.”

Shane agamba nti: “Enkolagana yange ne mukyala wange n’abaana bange yeeyongedde okunywera. Bwe mpulira nga boogera ku ngeri Yakuwa gy’abayambyemu, kindeetera essanyu lingi.” Mutabani we Jacob agamba nti: “Nnyumiddwa nnyo okuweereza mu kitundu kino. Kirungi okuba nti twajja okuweereza eno!”

^ lup. 3 Laba Watchtower eya Ddesemba 15, 2004, lup. 8-11.

^ lup. 3 Mu 2012, ofiisi y’ettabi ey’omu Australia n’ey’omu New Zealand zaagattibwa wamu. Kati eri ofiisi emu eyitibwa Australasia.